Obuweereza Bwaffe—Mulimu Ogwoleka Obusaasizi
1 Yesu yakiraba nti abantu bangi abaali bawuliriza obubaka bwe “baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng’endiga ezitalina musumba.” (Mat. 9:36) Mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala, yabayigiriza amakubo ga Yakuwa, n’ababudaabuda, era n’abayamba mu by’omwoyo. Bwe tufumiitiriza ku ngeri za Yesu, tutandika okulowooza nga ye, era ne twoleka obusaasizi nga tuli mu buweereza bwaffe.
2 Lowooza ku ekyo Yesu kye yakola, abantu bwe baamutuukirira nga balina obwetaavu obw’amaanyi. (Luk. 5:12, 13; 8:43-48) Yabalumirirwa nnyo, naddala abo abaalina ebizibu eby’amaanyi. (Mak. 7:31-35) Yali amanyi engeri abalala gye beewuliramu era yabafaako. Teyatunuuliranga ndabika ya muntu ey’okungulu. (Luk. 7:36-40) Mu butuufu, Yesu yayolekera ddala engeri ya Katonda ey’obusaasizi.
3 ‘Yabasaasira’: Mu buweereza bwe, Yesu teyatuusanga butuusa luwalo. ‘Yasaasiranga’ abantu. (Mak. 6:34) Mu ngeri y’emu, naffe tetutwala butwazi bubaka eri bantu, naye tugezaako okubayamba basobole okuwonawo. Gezaako okutegeera ensonga lwaki abantu abamu be tubuulira tebawuliriza. Biki ebibeeraliikiriza oba ebitutte ebirowoozo byabwe? Kyandiba nti babuzaabuziddwa abakulembeze b’eddiini ez’obulimba? Bwe tulaga nti tubafaako, kiyinza okubaleetera okuwuliriza amawulire amalungi.—2 Kol. 6:4, 6.
4 Omuntu w’omusaasira akwatibwako. Ng’ekyokulabirako: Mu ngeri ey’ekikangabwa, omukyala omu yafiirwa muwala we ow’emyezi esatu. Abajulirwa babiri bwe bamukyalira, yabaaniriza ng’ayalaga abalage nti bye bayigiriza ku nsonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona, bikyamu. Kyokka, oluvannyuma omukyala oyo yagamba nti: “Bampuliriza nga bwe bansaasira, era bwe baali bagenda, nnawulira bulungi ne mbasaba bakomewo omulundi omulala.” Olaga obusaasizi eri buli abo b’obuulira?
5 Okuba abasaasizi, kijja kutuyamba okubudaabuda abalala era kiweese Yakuwa “Kitaffe ow’okusaasira,” ekitiibwa.—2 Kol. 1:3.