Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira Omuntu Ayogera Olulimi lw’Otomanyi
Lwaki Kikulu: Yakuwa ayagala abantu okuva “mu buli ggwanga” okuyiga ebimukwatako. (Bik. 10:34, 35) Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagamba nti amawulire amalungi gandibuuliddwa “mu nsi yonna” era “eri amawanga gonna.” (Mat. 24:14) Nnabbi Zekkaliya yalagula nti abantu “okuva mu nnimi zonna ez’amawanga” bandiwulirizza amawulire ago. (Zek. 8:23) Okusinziira ku kwolesebwa omutume Yokaana kwe yafuna, abo abanaawonawo mu kibonyoobonyo ekinene bajja kuba “bava mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi.” (Kub. 7:9, 13, 14) N’olwekyo, bwe tusanga omuntu ayogera olulimi lwe tutamanyi mu kitundu kye tubuuliramu, tusaanidde okugezaako okumubuulira.
Mu Mwezi Guno Gezaako Kino:
Mu kusinza kwammwe okw’amaka okunaddako, mwegezeemu ku ngeri gye muyinza okubuulira omuntu ayogera olulimi lwe mutamanyi.