EKITUNDU EKY’OKUSOMA 19
“Kabaka ow’Ebukiikakkono” mu Kiseera eky’Enkomerero
“Mu kiseera eky’enkomerero, kabaka ow’ebukiiaddyo alisindikagana naye [kabaka ow’ebukiikakkono].”—DAN. 11:40.
OLUYIMBA 150 Noonya Katonda Akununule
OMULAMWAa
1. Obunnabbi obuli mu Bayibuli butuyamba kumanya ki?
KIKI ekigenda okutuuka ku bantu ba Yakuwa mu kiseera ekitali kya wala? Obunnabbi obuli mu Bayibuli butuyamba okumanya ebintu ebikulu ebigenda okubaawo, ebijja okutukwatako ffenna. Obumu ku bunnabbi obwo butuyamba okumanya ebyo ezimu ku gavumenti ezisingayo okuba ez’amaanyi ku nsi bye zigenda okukola. Obunnabbi obwo obuli mu Danyeri essuula 11, bwogera ku bakabaka babiri abali mu kanyoolagano, era nga bakabaka abo bayitibwa kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo. Ekitundu ekisinga obunene eky’obunnabbi obwo kimaze okutuukirizibwa, era tuli bakakafu nti n’ekitundu ekisigaddeyo kijja kutuukirizibwa.
2. Nga bwe kiragibwa mu Olubereberye 3:15 ne mu Okubikkulirwa 11:7 ne 12:17, biki bye tulina okujjukira nga twekenneenya obunnabbi bwa Danyeri?
2 Okusobola okutegeera obunnabbi obuli mu Danyeri essuula 11, tulina okukijjukira nti bwogera ku bafuzi ne gavumenti ezo zokka ezirina ebintu eby’amaanyi bye zikoze abantu ba Katonda. Abantu ba Katonda batono nnyo bw’obageraageranya ku bantu bonna abali ku nsi, naye gavumenti ezo zibalumba. Lwaki? Kiri kityo kubanga ekigendererwa ekikulu ekya Sitaani n’ensi ye kwe kusaanyaawo abo abaweereza Yakuwa ne Yesu. (Soma Olubereberye 3:15 ne Okubikkulirwa 11:7; 12:17.) Okugatta ku ekyo, obunnabbi obuli mu Danyeri bulina okuba nga bukwatagana n’obunnabbi obulala obuli mu Kigambo kya Katonda. Mu butuufu, okusobola okutegeera amakulu g’obunnabbi bwa Danyeri, tulina okubugeraageranya n’ebyawandiikibwa ebirala ebiri mu Bayibuli.
3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino n’ekiddako?
3 Nga tulowooza ku nsonga ezo, kati tugenda kwekenneenya Danyeri 11:25-39. Tugenda kulaba baani abaali kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo okuva mu 1870 okutuuka mu 1991, era tugenda kulaba ensonga lwaki kibadde kitwetaagisa okukyusa mu ngeri gye tubadde tutegeeramu ekitundu ekimu eky’obunnabbi obwo. Mu kitundu ekiddako, tujja kwekenneenya Danyeri 11:40–12:1, era tujja kulaba enkyukakyuka ekoleddwa mu ngeri gye tubadde tunnyonnyolamu okutuukirizibwa kw’ekitundu ekyo eky’obunnabbi okuva mu 1991 okutuuka ku lutalo Amagedoni. Nga weekenneenya ebitundu bino ebibiri, weetegereze ebyo ebiri ku kipande “Bakabaka Abali ku Mbiranye mu Kiseera eky’Enkomerero.” Naye tulina okusooka okumanya bakabaka abo ababiri aboogerwako mu bunnabbi buno.
OKUMANYA KABAKA OW’EBUKIIKAKKONO NE KABAKA OW’EBUKIIKADDYO
4. Bintu ki ebisatu ebinaatuyamba okumanya kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo?
4 Mu kusooka, ebigambo “kabaka ow’ebukiikakkono” ne “kabaka ow’ebukiikaddyo” byakozesebwanga okutegeeza abafuzi abaabanga bafuga ebitundu ebyali ebukiikakkono w’ensi ya Isirayiri n’ebukiikaddyo waayo. Lwaki tugamba bwe tutyo? Weetegereze ekyo malayika eyawa Danyeri obubaka kye yagamba: “Nzize okukuyamba okutegeera ebirituuka ku bantu bo mu nnaku ezisembayo.” (Dan. 10:14) Ng’olunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. terunnatuuka, eggwanga lya Isirayiri lye lyali abantu ba Katonda. Naye okuva ku lunaku olwo, Yakuwa yakyoleka kaati nti abagoberezi ba Yesu abeesigwa kati be baali abantu be. N’olwekyo, ekitundu ekisinga obunene eky’obunnabbi obuli mu Danyeri essuula 11 tekikwata ku ggwanga lya Isirayiri, wabula kikwata ku bagoberezi ba Kristo. (Bik. 2:1-4; Bar. 9:6-8; Bag. 6:15, 16) Era abafuzi oba gavumenti ezibadde kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo zizze zikyukakyuka. Wadde kiri kityo, waliwo ebintu ebitali bimu ebitakyuse. Ekisooka, bakabaka abo balina ebintu eby’amaanyi bye bakoze abantu ba Katonda. Eky’okubiri, engeri gye bayisizzaamu abantu ba Katonda ekiraze nti baakyawa Yakuwa, Katonda ow’amazima. N’eky’okusatu, bakabaka abo ababiri buli omu avuganya ne munne mu buyinza.
5. Waaliwo kabaka ow’ebukiikakkono n’ow’ebukiikaddyo wakati w’omwaka gwa 100 n’omwaka gwa 1870? Nnyonnyola.
5 Awo nga ku ntandikwa y’ekyasa eky’okubiri E.E., ekibiina Ekikristaayo kyatandika okubuutikirwa Abakristaayo ab’obulimba abaali batwaliriziddwa enjigiriza ez’ekikaafiiri era abaali bakweka amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Okuva mu kiseera ekyo okutuuka awo ng’ekyasa ekya 19 kinaatera okuggwako, ku nsi tewaaliwo kibiina kya Katonda ekitegeke. Abakristaayo ab’obulimba beeyongera obungi ng’omuddo mu nnimiro ne kiba nti kyali kizibu okumanya Abakristaayo ab’amazima. (Mat. 13:36-43) Lwaki ekyo kikulu okukimanya? Ekyo kiraga nti ebyo bye tusoma ku kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo tebikwata ku bafuzi oba obwakabaka obwaliwo okuva awo nga ku ntandikwa y’ekyasa 2 okutuuka awo ng’ekyasa ekya 19 kinaatera okuggwaako. Tewaaliwo kibiina ky’abantu ba Katonda ekitegeke ekyali kisobola okulumbibwa.b Naye oluvannyuma lw’omwaka gwa 1870, kabaka ow’ebukiikakkono n’ow’ebukiikaddyo baddamu okulabika. Ekyo tukimanya tutya?
6. Abantu ba Katonda baddamu ddi okutegekebwa ng’ekibiina? Nnyonnyola.
6 Okuva mu 1870 n’okweyongerayo, abantu ba Katonda baatandika okutegekebwa ng’ekibiina. Mu mwaka ogwo, Charles T. Russell ne banne baatandika okwekenneenyeza awamu Bayibuli. Ow’oluganda Russell ne banne baakola ng’omubaka eyalagulwako ‘eyayerula ekkubo’ ng’Obwakabaka bwa Masiya bugenda okussibwawo. (Mal. 3:1) Kati ekibiina ky’abantu abaali bategekeddwa era nga basinza Katonda mu ngeri entuufu kyali kizzeemu okubaawo! Mu kiseera ekyo waaliwo gavumenti ezandibadde ziriko ebintu eby’amaanyi bye zikola abantu ba Katonda? Ka tulabe.
KABAKA OW’EBUKIIKADDYO Y’ANI?
7. Okuva awo nga mu 1870 okutuuka mu kiseera kya Ssematalo I, ani yali kabaka ow’ebukiikaddyo?
7 Omwaka gwa 1870 we gwatuukira, Bungereza yali efuuse obwakabaka obusingayo obunene ku nsi, era yalina eggye eryali lisingayo okuba ery’amaanyi. Obwakabaka bwa bungereza obwo lye jjembe ettono eryogerwako mu bunnabbi bwa Danyeri eryawangula amayembe amalala asatu, kwe kugamba, Bufalansa, Sipeyini, ne Budaaki. (Dan. 7:7, 8) Era Bungereza ye yali kabaka ow’ebukiikaddyo okutuukira ddala ku kiseera kya Ssematalo I. Mu kiseera ekyo, Amerika yali afuuse ensi esingayo obugagga era yatandika okukolaganira awamu ne Bungereza.
8. Ani abadde kabaka ow’ebukiikaddyo mu kiseera kyonna eky’ennaku ez’enkomerero?
8 Mu kiseera kya Ssematalo I, Amerika ne Bungereza zaalwanira wamu era eggye lyazo lyali lya maanyi nnyo. Mu kiseera ekyo, Bungereza ne Amerika zaafuuka obwakabaka kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika. Nga Danyeri bwe yagamba, kabaka ono yalina “eggye ddene nnyo era ery’amaanyi.” (Dan. 11:25) Mu kiseera kyonna eky’ennaku ez’enkomerero, obufuzi bwa Bungereza ne Amerika bwe bubadde kabaka ow’ebukiikaddyo.c Naye ani abadde kabaka ow’ebukiikakkono?
KABAKA OW’EBUKIIKAKKONO ADDAMU OKULABIKA
9. Kabaka ow’ebukiikakkono yaddamu ddi okulabika, era Danyeri 11:25 lwatuukirizibwa lutya?
9 Mu 1871, omwaka ogwaddako oluvannyuma lwa Russell ne banne okutandika okwekeneenyeza awamu Bayibuli, kabaka ow’ebukiikakkono yaddamu okulabika. Mu mwaka ogwo Otto von Bismarck yawoma omutwe mu kutandikawo obwakabaka bwa Bugirimaani. Kabaka Wilhelm I yafuuka empula w’eggwanga eryo eppya, era yalonda Bismarck okukulira gavumenti ya Bugirimaani.d Mu myaka egyaddirira, Bugirimaani yafuna amatwale agawerako mu Afirika ne mu Guyanja Pacific, era yatandika okuba mu kanyoolagano ne Bungereza. (Soma Danyeri 11:25.) Obwakabaka bwa Bugirimaani bwafuna eggye ery’amaanyi era eggye lya Bugirimaani ery’oku nnyanja lyali likwata kya kubiri mu nsi yonna mu kuba ery’amaanyi. Bugirimaani yakozesa eggye lyayo okulwanyisa abalabe baayo mu ssematalo eyasooka.
10. Danyeri 11:25b, 26 waatuukirizibwa watya?
10 Obunnabbi bwa Danyeri era bwalaga ekyo ekyandituuse ku bwakabaka bwa Bugirimaani n’eggye lyabwo. Obunnabbi bugamba nti kabaka ow’ebukiikakkono “taliyimirira.” Lwaki? “Kubanga balimusalira enkwe. Abo abalya ku mmere ye ennungi be balimusuula.” (Dan. 11:25b, 26a) Mu kiseera kya Danyeri, mu abo abaalyanga ku “mmere ya kabaka” mwe mwali abakungu ba kabaka ‘abaaweerezanga mu lubiri lwe.’ (Dan. 1:5) Obunnabbi obwo bwogera ku baani? Bwogera ku bakungu b’obwakabaka bwa Bugirimaani, omwali abaduumizi b’amagye n’abawi b’amagezi ku nsonga z’eby’okwerinda abaali wansi wa empula, abaalina kye baakola mu kusuula obwakabaka obwo.e Obunnabbi tebwakoma ku kulaga nti obwakabaka obwo bwandigudde, naye era bwalaga n’ebyo ebyandivudde mu kulwanagana ne kabaka ow’ebukiikaddyo. Nga bwogera ku kabaka ow’ebukiikakkono, bugamba nti: “Eggye lye lirikuluggusibwa, era bangi abalittibwa.” (Dan. 11:26b) Nga bwe kyalagulwa, mu ssematalo eyasooka, eggye lya Bugirimaani ‘lyakulugusibwa’ era ‘bangi battibwa.’ Olutalo olwo lwe lwali lukyasinzeeyo okufiiramu abantu abangi mu byafaayo byonna.
11. Kiki kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo kye baakola?
11 Nga woogera ku kiseera ekyo nga Ssematalo I anaatera okutuuka, Danyeri 11:27, 28 wagamba nti kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo ‘banditudde ku mmeeza emu buli omu n’alimba munne.’ Era obunnabbi obwo bugamba nti kabaka ow’ebukiikakkono yandikuŋŋaanyizza “ebintu bingi nnyo.” Ekyo kyennyini kye kyaliwo. Bugirimaani ne Bungereza buli emu yagamba ginnaayo nti zaali zaagala mirembe, naye bwe zaatandika okulwanagana mu 1914 kyalaga nti obwo bwali bulimba. Era emyaka egyo ng’omwaka gwa 1914 tegunnatuuka, Bugirimaani yagaggawala nnyo n’eba nga ye yali ey’okubiri mu bugagga mu nsi yonna. Era mu kutuukirizibwa kwa Danyeri 11:29 n’ekitundu ekisooka eky’olunyiriri olwa 30, Bugirimaani yalwanagana ne kabaka ow’ebukiikaddyo naye yawangulwa.
BAKABAKA BALWANYISA ABANTU BA KATONDA
12. Mu kiseera kya ssematalo eyasooka, kiki kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo kye baakola?
12 Okuva mu 1914 n’okweyongerayo, bakabaka ababiri beeyongera okulwanagana n’okulwanyisa abantu ba Katonda. Ng’ekyokulabirako, mu ssematalo eyasooka, gavumenti ya Bugirimaani n’eya Bungereza zaayigganya abantu ba Katonda olw’okugaana okwenyigira mu ntalo. Ate gavumenti ya Amerika yasiba mu kkomera abo abaali batwala obukulembeze mu mulimu gw’okubuulira. Okuyigganyizibwa okwo kwatuukiriza obunnabbi obuli mu Okubikkulirwa 11:7-10.
13. Mu myaka gya 1930 ne mu kiseera kya ssematalo ow’okubiri, kiki kabaka ow’ebukiikakkono kye yakola?
13 Ate mu myaka gya 1930 naddala mu kiseera kya ssematalo ow’okubiri, kabaka ow’ebukiikakkono yalumba abantu ba Katonda awatali kisa. Ekibiina ky’Abanazi bwe kyatandika okufuga Bugirimaani, Hitler n’abawagizi be baawera omulimu gw’abantu ba Katonda. Kabaka ow’ebukiikakkono yatta abantu ba Katonda nga 1,500 era n’asindika abalala bangi mu nkambi z’abasibe. Ebintu ebyo byali byalagulwa mu bunnabbi bwa Danyeri. Kabaka ow’ebukiikakkono ‘yajolonga ekifo ekitukuvu’ era n’aggyawo “ssaddaaka eya buli lunaku” bwe yawera omulimu ogw’okubuulira ogukolebwa abaweereza ba Yakuwa. (Dan. 11:30b, 31a) Hitler, eyali omukulembeze wa Bugirimaani, yatuuka n’okugamba nti yali agenda kusaanyaawo abantu ba Katonda bonna mu Bugirimaani.
KABAKA OW’EBUKIIKAKKONO OMULALA
14. Oluvannyuma lwa ssematalo ow’okubiri, ani yafuuka kabaka ow’ebukiikakkono? Nnyonnyola.
14 Oluvannyuma lwa ssematalo ow’okubiri, gavumenti ya Soviet Union yatandika okufuga ebitundu bingi bye yali ewambye ku Bugirimaani era n’efuuka kabaka ow’ebukiikakkono. Okufaananako gavumenti y’Abanazi, Soviet Union yayoleka obukyayi obw’amaanyi eri omuntu yenna eyali akulembeza Katonda mu bulamu bwe.
15. Kiki kabaka ow’ebukiikakkono kye yakola nga Ssematalo II awedde?
15 Ssematalo II bwe yali yaakaggwa, kabaka omupya ow’ebukiikakkono, kwe kugamba, Soviet Union n’ensi ezaali zigiwagira, baayigannya nnyo abantu ba Katonda. Okubikkulirwa 12:15-17 wageraageranya okuyigganyizibwa kw’abantu ba Katonda ku “mugga.” Ng’obunnabbi obwo bwe bulaga, kabaka oyo obw’ebukiikakkono yawera omulimu gw’okubuulira era n’asindika abantu ba Yakuwa bangi mu buwaŋŋanguse. Mu butuufu, okuva ennaku ez’enkomerero lwe zaatandika, kabaka ow’ebukiikakkono azze ayigganya abantu ba Katonda naye tasobodde kubalemesa kukola mulimu gwabwe.f
16. Soviet Union yatuukiriza etya Danyeri 11:37-39?
16 Soma Danyeri 11:37-39. Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo, kabaka ow’ebukiikakkono yakyoleka nti yali tassa “kitiibwa mu Katonda wa bakitaabe.” Mu ngeri ki? Soviet Union, ng’erina ekigendererwa eky’okusaanyaawo amadiini gonna, yagezaako okuggyawo obuyinza bw’amadiini. Emabegako, mu 1918, gavumenti ya Soviet Union yali yayisa ekiragiro ekyaviirako amasomero okutandika okuyigiriza nti teriiyo Katonda. Kabaka oyo ow’ebukiikakkono ‘yassa atya ekitiibwa mu katonda w’ebigo’? Soviet Union yakozesa ssente nnyingi nnyo okuzimba eggye lyayo era yakola eby’okulwanyisa bingi eby’amaanyi ga nnukiriya okusobola okunyweza obuyinza bwayo. Bombi kabaka ow’ebukiikakkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo baakola eby’okulwanyisa ebisobla okusaanyaawo abantu bukadde na bukadde!
ABALABE ABABIRI BAKOLERA WAMU
17. “Eky’omuzizo ekizikiriza” kye ki?
17 Kabaka ow’ebukiikkono yakolaganira wamu ne kabaka ow’ebukiikaddyo mu kintu kimu ekikulu. Baakolera wamu mu ‘kussaawo eky’omuzizo ekizikiriza.’ (Dan. 11:31) ‘Eky’omuzizo ekyo ekizikiriza’ kye Kibiina ky’Amawanga Amagatte.
18. Lwaki Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kiyitibwa “eky’omuzizo”?
18 Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kiyitibwa “eky’omuzizo” kubanga kyetwala okuba nti kijja kukola ekintu Katonda yekka ky’asobola okukola, kwe kugamba, okuleetawo emirembe mu nsi yonna. Ate era obunnabbi bulaga nti eky’omuzizo ekyo ‘kizikiriza’ kubanga kijja kukola kinene mu kuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba.—Laba ekipande “Bakabaka Abali ku Mbiranye mu Kiseera eky’Enkomerero.”
LWAKI TWETAAGA OKUMANYA EBYAFAAYO BINO?
19-20. (a) Lwaki twetaaga okumanya ebyafaayo bino? (b) Kibuuzo ki ekijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?
19 Twetaaga okumanya ebyafaayo bino kubanga biraga nti okuva mu 1870 okutuuka mu 1991, obunnabbi bwa Danyeri obukwata ku kabaka ow’ebukiikkono ne kabaka ow’ebukiikaddyo bwatuukirizibwa. N’olwekyo, tuli bakakafu nti n’ekitundu ekisigaddeyo eky’obunnabbi obwo ekitannatuukirira kijja kutuukirira.
20 Mu 1991, Soviet Union yasattulukuka. Kati olwo kabaka ow’ebukiikakkono y’ani leero? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
OLUYIMBA 128 Okugumiikiriza Okutuusa ku Nkomerero
a Tulaba obukakafu obulaga nti obunnabbi obuli mu kitabo kya Danyeri obukwata ku “kabaka ow’ebukiikakkono” ne “kabaka ow’ebukiikaddyo” bweyongera okutuukirizibwa. Lwaki tugamba bwe tutyo? Lwaki twetaaga okumanya ebikwata ku bunnabbi buno?
b Olw’ensonga eno eragiddwa mu katundu kano, tetukyagamba nti Empula Awuleriyani owa Rooma (270-275 E.E.) yali “kabaka ow’ebukiikakkono” oba nti Nnaabakyala Zenobiya (267-272 E.E.) yali “kabaka ow’ebukiikaddyo.” Kino kirongoosa mu ebyo ebyafulumira mu ssuula 13 ne 14 ez’akatabo Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!
c Laba akasanduuko “Obufuzi Kirimaanyi Obwa Bungereza ne Amerika mu Bunnabbi bwa Bayibuli.”
d Mu 1890, Kaiser Wilhelm II yagoba Bismarck mu buyinza.
e Baakola ebintu ebitali bimu ebyaleetera gavumenti yaabwe okugwa mu bwangu. Ng’ekyokulabirako, baalekera awo okuwagira kabaka, baabotola ebyama ebikwata ku lutalo, era baawaliriza kabaka okuva mu buyinza.
f Nga bwe kiragibwa mu Danyeri 11:34, kabaka ow’ebukiikakkono yawummuzaamu okuyigganya Abakristaayo okumala akaseera katono. Ng’ekyokulabirako, kino kyaliwo Soviet Union bwe yasattulukuka mu 1991.