EKITUNDU EKY’OKUSOMA 46
Ba Mugumu—Yakuwa Ye Muyambi Wo
“Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.”—BEB. 13:5.
OLUYIMBA 55 Temubatyanga!
OMULAMWAa
1. Kiki ekisobola okutubudaabuda bwe tuba nga tuwulira nti tuli ffekka oba nga tuwulira nti ebizibu bitusukkiriddeko? (Zabbuli 118:5-7)
WALI owuliddeko nti oli wekka era nti tewali asobola kukuyamba kwaŋŋanga bizibu by’oyolekagana nabyo? Bangi baali bawuliddeko bwe batyo nga mw’otwalidde n’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa. (1 Bassek. 19:14) Singa ekyo kikutuukako jjukiranga ekisuubizo kya Yakuwa kino: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.” N’olwekyo, nga tetuliimu kubuusabuusa kwonna tusobola okugamba nti: “Yakuwa ye muyambi wange; siityenga.” (Beb. 13:5, 6) Ebigambo ebyo omutume Pawulo yabiwandiikira bakkiriza banne mu Buyudaaya awo nga mu 61 E.E. Era bitujjukiza ebigambo ebiri mu Zabbuli 118:5-7.—Soma.
2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino, era lwaki?
2 Okufaananako omuwandiisi wa zabbuli, Pawulo yali akimanyi bulungi nti Yakuwa ye yali Omuyambi we. Ng’ekyokulabirako, Ng’ebula emyaka egisukka mu ebiri nga tannawandiikira Bebbulaniya bbaluwa, Pawulo yawona okufiira mu nnyanja eyali efuukuuse ennyo bwe yali ku lugendo olumu. (Bik. 27:4, 15, 20) Mu lugendo olwo lwonna ne mu kiseera nga tannatambula lugendo olwo, Yakuwa yayamba Pawulo mu ngeri ezitali zimu. Tugenda kulabayo engeri ssatu gye yamuyambamu. Yakuwa yayamba Pawulo ng’akozesa Yesu ne bamalayika, ng’akozesa ab’obuyinza, era ng’akozesa ne bakkiriza banne. Okwetegereza engeri Yakuwa gye yayambamu Pawulo, kijja kutuleetera okweyongera okwesiga Yakuwa nti bwe tunaamukoowoola nga tuli mu buzibu, ajja kutuyamba nga bwe yasuubiza.
YAMUYAMBA NG’AKOZESA YESU NE BAMALAYIKA
3. Kiki Pawulo ky’ayinza okuba nga yeebuuza, era lwaki?
3 Pawulo yali yeetaaga okuyambibwa. Awo nga mu mwaka gwa 56 E.E., bwe yali mu Yerusaalemi, abantu baamusikaasikanya ne bamufulumya mu yeekaalu era ne bagezaako okumutta. Enkeera Pawulo bwe yaleetebwa mu maaso g’Olukiiko Olukulu, abalabe be kaabula kata bamugajambule. (Bik. 21:30-32; 22:30; 23:6-10) Mu kiseera ekyo Pawulo ayinza okuba nga yeebuuza nti, ‘Embeera eno nnaagigumira kutuusa ddi?’
4. Yakuwa yayamba atya Pawulo ng’akozesa Yesu?
4 Buyambi ki Pawulo bwe yafuna? Ekiro nga Pawulo amaze okukwatibwa, “Mukama waffe,” Yesu yayimirira kumpi naye n’amugamba nti: “Beera mugumu! Nga bw’obadde ompaako obujulirwa mu Yerusaalemi, bw’otyo bw’oteekwa okumpaako obujulirwa mu Rooma.” (Bik. 23:11) Ebigambo ebyo nga biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo Pawulo amaanyi. Yesu yasiima Pawulo olw’obujulirwa bwe yali awadde mu Yerusaalemi, era yamusuubiza nti yali ajja kutuuka mirembe e Rooma yeeyongera okuwa obujulirwa. Oluvannyuma lwa Yesu okumugamba ebigambo ebyo, Pawulo ateekwa okuba nga yawulira nga talina kutya kwonna ng’alinga omwana ali mu mikono gya kitaawe.
5. Yakuwa yayamba atya Pawulo ng’akozesa malayika? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)
5 Bizibu ki ebirala Pawulo bye yayolekagana nabyo? Nga wayise emyaka ng’ebiri oluvannyuma lw’ebyo ebyaliwo mu Yerusaalemi, Pawulo bwe yali mu kyombo ekyali kigenda e Yitale, omuyaga ogw’amaanyi gwajja ku nnyanja ne kiba nti bonna abaali mu kyombo baalowooza nti baali bagenda kufa. Naye Pawulo ye teyatya. Lwaki? Yagamba abo be yali nabo mu kyombo nti: “Katonda gwe nsinza era gwe mpeereza, yatumye malayika we ekiro n’ayimirira okumpi nange, n’aŋŋamba nti, ‘Totya Pawulo. Oteekwa okuyimirira mu maaso ga Kayisaali, era laba! Katonda ajja kuwonyaawo obulamu bw’abo bonna b’oli nabo mu kyombo.’” Yakuwa yakozesa malayika okukakasa Pawulo ekintu kye kimu kye yali yamukakasa okuyitira mu Yesu. Era Pawulo yatuuka e Rooma nga Yakuwa bwe yali amusuubizza.—Bik. 27:20-25; 28:16.
6. Kiki Yesu kye yatusuubiza ekisobola okutuzzaamu amaanyi, era lwaki?
6 Buyambi ki bwe tufuna? Naffe Yesu atuyamba nga bwe yayamba Pawulo. Ng’ekyokulabirako, Yesu yasuubiza abagoberezi be bonna nti: “Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” (Mat. 28:20) Ebigambo bya Yesu ebyo bituzzaamu nnyo amaanyi. Lwaki? Kubanga ebiseera ebimu twolekagana n’ebizibu ebitali byangu kugumira. Ng’ekyokulabirako, bwe tufiirwa omuntu waffe, obulumi bwe tufuna buyinza obutamala nnaku bunaku wabula myaka. Abalala boolekagana n’ebizibu ebijjawo olw’obukadde. Ate abalala oluusi wabaawo ennaku lwe bawulira nga bennyamidde nnyo. Wadde nga twolekagana n’ebizibu ng’ebyo, tweyongera okugumiikiriza kubanga tukimanyi nti Yesu ali naffe “ennaku zonna” nga mw’otwalidde n’ennaku ezisingayo okuba embi mu bulamu bwaffe.—Mat. 11:28-30.
7. Okusinziira ku Okubikkulirwa 14:6, Yakuwa atuyamba atya leero?
7 Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti Yakuwa atuyamba okuyitira mu bamalayika. (Beb. 1:7, 14) Ng’ekyokulabirako, bamalayika batuyamba era batuwa obulagirizi nga tukola omulimu gw’okubuulira “amawulire amalungi ag’Obwakabaka” eri abantu aba “buli ggwanga n’ekika n’olulimi.”—Mat. 24:13, 14; soma Okubikkulirwa 14:6.
YAMUYAMBA NG’AKOZESA AB’OBUYINZA
8. Yakuwa yayamba atya Pawulo okuyitira mu muduumizi w’amagye?
8 Buyambi ki Pawulo bwe yafuna? Mu mwaka gwa 56 E.E., Yesu yakakasa Pawulo nti yandituuse e Rooma. Kyokka waliwo Abayudaaya mu Yerusaalemi abaali bakoze olukwe okuteega Pawulo bamutte. Naye Kulawudiyo Lusiya eyali omuduumizi w’amagye bwe yawulira ku lukwe olwo, yayamba Pawulo. Amangu ddala Kulawudiyo yasindika Pawulo e Kayisaliya ekyali kyesudde mayiro nga 65 okuva e Yerusaalemi era yamuwa abasirikale bangi okumukuuma. Nga Pawulo ali eyo, Gavana Ferikisi yalagira “akuumirwe mu lubiri lwa Kerode.” Era eyo kyali kizibu Abayudaaya abaali baagala okumutta okumutuusako obulabe.—Bik. 23:12-35.
9. Gavana Fesuto yayamba atya Pawulo?
9 Nga wayise emyaka ebiri, Pawulo yali akyali musibe mu Kayisaliya. Mu kiseera ekyo Fesuto ye yali addidde Gavana Ferikisi mu bigere. Abayudaaya baasaba Fesuto aleete Pawulo awozesebwa e Yerusaalemi, naye Fesuto yagaana. Kirabika Fesuto yali akitegeddeko nti Abayudaaya ‘baali bategese okuteega Pawulo bamuttire mu kkubo.’—Bik. 24:27–25:5.
10. Kiki Gavana Fesuto kye yakola nga Pawulo asabye okulamulwa Kayisaali?
10 Oluvannyuma Pawulo yawozesebwa e Kayisaliya. Olw’okuba Fesuto yali ayagala “kuganja eri Abayudaaya,” yabuuza Pawulo nti: “Wandyagadde kugenda Yerusaalemi owozesebwe eyo emisango gino mu maaso gange?” Pawulo yali akimanyi nti bwe yandigenze e Yerusaalemi, oboolyawo yandibadde attibwa. Era yali amanyi kye yali asobola okukola okutaasa obulamu bwe, okutuuka e Rooma, n’okweyongera mu maaso n’obuweereza bwe. Yagamba nti: “Njulira Kayisaali!” Oluvannyuma lw’okwebuuza ku bawabuzi be, Fesuto yagamba Pawulo nti: “Ojulidde Kayisaali, era ewa Kayisaali gy’ojja okugenda.” Okusalawo okulungi Fesuto kwe yakola kwataasa Pawulo abalabe ne batamutuusaako kabi. Mu kiseera kitono Pawulo yandibadde atuuse e Rooma ng’ali wala nnyo n’Abayudaaya abaali baagala okumutta.—Bik. 25:6-12.
11. Bigambo ki ebizzaamu amaanyi ebyawandiikibwa Isaaya, Pawulo by’ayinza okuba nga yalowoozaako?
11 Pawulo bwe yali akyalinda okutwalibwa mu Yitale, ayinza okuba nga yalowooza ku kulabula nnabbi Isaaya kwe yaluŋŋamizibwa okuwandiikira abo abawakanya Yakuwa. Yawandiika nti: “Mukole olukwe naye lujja kugwa butaka! Mwogere kye mwagala naye tekijja kutuukirira, kubanga Katonda ali naffe!” (Is. 8:10) Pawulo yali akimanyi nti Katonda yandimuyambye, era ekyo kiteekwa okuba nga kyamuyamba n’okugumira ebizibu bye yafuna oluvannyuma.
12. Yuliyo yayisa atya Pawulo, era ekyo kiyinza okuba nga kyaleetera Pawulo kutegeera ki?
12 Mu mwaka gwa 58 C.E., Pawulo n’abalala baasimbula okugenda e Yitale. Olw’okuba Pawulo yali musibe, yakwasibwa omusirikale Omuruumi eyali ayitibwa Yuliyo. Yuliyo yali asobola okubonyaabonya Pawulo oba okumuyisa obulungi. Yuliyo yakozesa atya obuyinza bwe? Ku lunaku olwaddako bwe baagoba ku mwalo ogumu, Yuliyo yalaga Pawulo ekisa, n’amukkiriza okugenda eri mikwano gye bamulabirire.’ Oluvannyuma Yuliyo yataasa n’obulamu bwa Pawulo. Atya? Abasirikale baali baagala okutta abasibe bonna abaali ku kyombo naye Yuliyo n’abagaana. Lwaki? Kubanga “yali amaliridde okuwonya obulamu bwa Pawulo.” Kirabika Pawulo yakiraba nti Yakuwa ye yakozesa omusirikale oyo okumulaga ekisa.—Bik. 27:1-3, 42-44.
13. Yakuwa ayinza kukozesa atya ab’obuyinza?
13 Buyambi ki bwe tufuna? Bwe kiba nga kituukagana n’ekigendererwa kye, Yakuwa asobola okukozesa omwoyo gwe omutukuvu okuleetera ab’obuyinza okukola by’ayagala. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Omutima gwa kabaka gulinga emikutu gy’amazzi mu mukono gwa Yakuwa. Aguzza buli gy’ayagala.” (Nge. 21:1) Ebigambo ebyo birina makulu ki? Abantu basobola okusima omukutu ne bawugula amazzi g’omugga okugazza gye baba baagala. Mu ngeri y’emu, Yakuwa asobola okukozesa omwoyo gwe omutukuvu n’akyusa ebirowoozo by’abafuzi ne biba nga bituukagana n’ekigendererwa kye. Ekyo bwe kibaawo, ab’obuyinza babaako ebintu bye basalawo ebiganyula abantu ba Katonda.—Geraageranya Ezera 7:21, 25, 26.
14. Okusinziira ku Ebikolwa 12:5, baani be tusobola okusabira?
14 Kiki kye tusobola okukola? Tusobola okusabira “bakabaka, n’abo bonna abali mu bifo ebya waggulu” bwe baba nga balina bye bagenda okusalawo ebikwata ku bulamu bwaffe obw’Ekristaayo n’obuweereza bwaffe. (1 Tim. 2:1, 2; Nek. 1:11) Ng’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bwe baakola, naffe tunyiikirira okusabira baganda baffe ne bannyinaffe abali mu kkomera. (Soma Ebikolwa 12:5; Beb. 13:3) Ate era tusobola okusabira abakuumi b’amakomera baganda baffe ne bannyinaffe gye basibiddwa. Tusobola okusaba Yakuwa akwate ku mitima gy’abakuumi abo babe nga Yuliyo, basobole okuyisa bakkiriza bannaffe abali mu kkomera mu ngeri ey’ekisa.—Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Ebikolwa 27:3.
YAMUYAMBA OKUYITIRA MU BAKKIRIZA BANNE
15-16. Yakuwa yayamba atya Pawulo ng’ayitira mu Alisutaluuko ne Lukka?
15 Buyambi ki Pawulo bwe yafuna? Bwe yali atwalibwa e Rooma, enfunda n’enfunda Pawulo yafuna obuyambi okuva eri Yakuwa okuyitira mu bakkiriza banne. Ka tulabeyo ebyokulabirako ebimu.
16 Banne ba Pawulo babiri abeesigwa, Alisutaluuko ne Lukka, baasalawo okugenda ne Pawulo e Rooma.b Bassa obulamu bwabwe mu kabi ne bagenda ne Pawulo, wadde nga kirabika tewali n’omu ku bo Yesu gwe yali akakasizza nti yandituuse mirembe e Rooma. Luvannyuma nnyo nga bali ku lugendo olwo lwe baakimanya nti baali bagenda kutuuka mirembe. N’olwekyo, Alisutaluuko ne Lukka bwe baalinnya ekyombo e Kayisaliya, Pawulo ateekwa okuba nga yatuukirira Yakuwa mu kusaba n’amwebaza olw’obuyambi bwe yamuwa okuyitira mu bakkiriza banne abo ababiri abavumu.—Bik. 27:1, 2, 20-25.
17. Yakuwa yayamba atya Pawulo okuyitira mu bakkiriza banne?
17 Bwe yali ku lugenda olwo, emirundi egiwerako Pawulo yafuna obuyambi okuva eri bakkiriza banne. Ng’ekyokulabirako, bwe baatuuka ku mwalo gw’e Sidoni, Yuliyo yakkiriza Pawulo “okugenda eri mikwano gye bamulabirire.” Ate oluvannyuma bwe baatuuka mu kibuga ky’e Putiyooli, Pawulo ne banne ‘baasangayo ab’oluganda ne babeegayirira basigale nabo okumala ennaku musanvu.’ Abakristaayo mu bitundu ebyo bwe baali bakola ku byetaago bya Pawulo ne banne, Pawulo ateekwa okuba nga yabanyumiza ku bintu ebizzaamu amaanyi, era ekyo kiteekwa okuba nga kyabaleetera essanyu. (Geraageranya Ebikolwa 15:2, 3.) Oluvannyuma lw’okuzzibwamu amaanyi mu ngeri eyo, Pawulo ne banne beeyongerayo ku lugendo.—Bik. 27:3; 28:13, 14.
18. Kiki ekyaleetera Pawulo okwebaza Katonda n’okuguma?
18 Pawulo bwe yali atambula okwolekera Rooma, ateekwa okuba nga yafumiitiriza ku ebyo bye yawandiikira bakkiriza banne mu kibuga ekyo emyaka esatu emabega, bwe yabagamba nti: “Mmaze emyaka mingi nga njagala okujja gye muli.” (Bar. 15:23) Kyokka yali takirowoozangako nti we yandigendedde gye bali yandibadde musibe. Ng’ateekwa okuba nga yaddamu amaanyi bwe yalaba ab’oluganda mu Rooma nga bamulindiridde ku kkubo okumubuuzaako! ‘Pawulo olwabalaba, yeebaza Katonda era n’aguma.’ (Bik. 28:15) Weetegereze nti Pawulo bwe yalaba baganda be yeebaza Katonda. Lwaki? Ne ku luno yakiraba nti Yakuwa yali amuyamba ng’ayitira mu baganda be abo.
19. Nga bwe kiragibwa mu 1 Peetero 4:10, Yakuwa ayinza atya okutukozesa okuyamba abo abali mu bwetaavu?
19 Kiki kye tusobola okukola? Waliwo bakkiriza banno mu kibiina b’omanyi abalwadde oba aboolekagana n’ebizibu ebirala eby’amaanyi? Olinayo gw’omanyi eyafiirwa omuntu we. Bwe wabaawo omuntu ali mu bwetaavu gwe tumanyi, tusobola okusaba Yakuwa atuyambe okubaako ekintu eky’ekisa kye tukolera omuntu oyo oba kye tumugamba. Ekyo kye tukola oba kye twogera kiyinza okuba nga ky’ekyo muganda waffe oyo ky’abadde yeetaaga okuzzibwamu amaanyi. (Soma 1 Peetero 4:10.)c Abo be tuyamba bayinza okuddamu okukiraba nti ekisuubizo kya Yakuwa kino, “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira,” kibakwatako. Ekyo tekikuleetera ssanyu?
20. Lwaki tusobola okwogera nga tuli bakakafu nti: “Yakuwa ye muyambi wange”?
20 Nga bwe kyali eri Pawulo ne banne, naffe nga tuli mu lugenda olw’obulamu twolekagana n’ebizibu ebiringa emiyaga. Naye tukimanyi nti tusobola okuba abagumu kubanga Yakuwa ali naffe. Atuyamba okuyitira mu Yesu ne bamalayika. Ate era bwe kiba nga kituukagana n’ekigendererwa kye, Yakuwa asobola okutuyamba ng’akozesa ab’obuyinza. Era nga bwe kibadde eri bangi ku ffe, Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu okukwata ku mitima gya bakkiriza bannaffe ne batuyamba. N’olwekyo, okufaananako Pawulo, naffe tusobola okwogera nga tetuliimu kubuusabuusa kwonna nti: “Yakuwa ye muyambi wange; siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?”—Beb. 13:6.
OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi
a Ekitundu kino kiraga engeri ssatu Yakuwa gye yayambamu omutume Pawulo okwaŋŋanga embeera enzibu. Okwejjukanya engeri Yakuwa gye yayambamu abaweereza be mu biseera eby’edda, kijja kutuyamba okweyongera okumwesiga nti ajja kutuyamba nga twaŋŋanga embeera enzibu.
b Emabegako, Alisutaluuko ne Lukka baali batambula ne Pawulo. Abasajja abo abeesigwa era baasigala ne Pawulo ng’asibiddwa mu Rooma.—Bik. 16:10-12; 20:4; Bak. 4:10, 14.