Kolera ku ‘Tteeka ery’Ekisa’
LISAa bwe yabuuzibwa ekyamusikiriza okuyiga amazima, yagamba nti: “Ekisa ab’oluganda ne bannyinaffe kye bandaga kye kyasinga okunkwatako.” Ne mwannyinaffe ayitibwa Anne yagamba nti, “Ekisa kye kyansikiriza okusinga ebyo bye baali bayigiriza.” Bannyinaffe abo bombi kati banyumirwa nnyo okusoma Bayibuli n’okugifumiitirizaako. Naye bombi bagamba nti ekisa kye baalagibwa kye kyasinga okubasikiriza okuyiga amazima.
Tuyinza tutya okulaga abalala ekisa ekiyinza okubaleetera okukwatibwako? Ka tulabe engeri bbiri ze tuyinza okukikolamu: okuyitira mu bye twogera n’okuyitira mu bye tukola. Oluvannyuma tujja kulaba baani be tulina okulaga ekisa.
“ETTEEKA ERY’EKISA” LIBEERENGA KU LULIMI LWO
Omukyala omulungi ayogerwako mu Engero essuula 31 alina “etteeka ery’ekisa” ku lulimi lwe. (Nge. 31:26) Aleka “etteeka” eryo okufuga ebyo by’ayogera n’engeri gy’abyogeramu. Ne bataata basaanidde okuba n’etteeka eryo ku lulimi lwabwe. Abazadde bangi bakimanyi nti okwogera n’abaana baabwe mu ngeri ey’obukambwe kikosa enneewulira y’abaana baabwe era abaana ng’abo tebatera kukolera ku ebyo bye baba babagambye. N’olwekyo, abazadde bwe boogera n’abaana baabwe mu ngeri ey’ekisa, abaana kibabeerera kyangu okukolera ku ebyo bye babagamba.
K’obe ng’oli muzadde oba toli muzadde, oyinza otya okwogera mu ngeri ey’ekisa? Ebigambo ebisooka mu Engero 31:26, bituwa eky’okuddamu. Wagamba nti: “Ayogera eby’amagezi.” Ekyo kizingiramu okwegendereza ebigambo bye twogera n’engeri gye tubyogeramu. Kiba kirungi okwebuuza nti, ‘Ebigambo bye ŋŋenda okwogera binaaleetera omuntu okwongera okusunguwala, oba binakkakkanya embeera?’ (Nge. 15:1) Kiba kirungi okusooka okulowooza nga tetunnayogera.
Olugero olulala lugamba nti: “Ayogera nga tasoose kulowooza, ebigambo bye bifumita ng’ekitala.” (Nge. 12:18) Bwe tulowooza ku ngeri ebigambo bye tugenda okwogera n’engeri gye tugenda okubyogeramu gye kiyinza okukwata ku balala, ekyo kijja kutuleetera okwegendereza bye twogera. Bwe tukolera ku ‘tteeka ery’ekisa,’ kijja kutuyamba okwewala okukozesa ebigambo ebirumya abalala n’okwogera mu ngeri etali ya kisa. (Bef. 4:31, 32) Mu kifo ky’ekyo, tujja kwogera ebigambo eby’ekisa era ebizzaamu amaanyi. Yakuwa yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eyo bwe yali ayogera ne nnabbi we Eriya, eyali atidde ennyo. Malayika eyali akiikiridde Yakuwa yayogera ne Eriya mu ‘ddoboozi erya wansi era erikkakkamu.’ (1 Bassek. 19:12) Kyokka, okubeera ow’ekisa kisingawo ku kwogera obwogezi mu ngeri ey’ekisa. Tulina n’okukola ebikolwa ebyoleka ekisa. Mu ngeri ki?
EBIKOLWA EBY’EKISA BIKWATA KU BALALA
Bwe twogera mu ngeri ey’ekisa era ne tukola ebikolwa ebyoleka ekisa tuba tukoppa Yakuwa. (Bef. 4:32; 5:1, 2) Lisa, eyayogeddwako waggulu, yayogera ku ngeri Abajulirwa ba Yakuwa gye baamulagamu ekisa. Yagamba nti: “Nze n’ab’omu maka gange bwe twagambibwa okuva mu nnyumba amangu ddala, abaami babiri Abajulirwa ba Yakuwa ne bakyala baabwe bajja ne batuyambako okutikka ebintu. Mu kiseera ekyo nnali sinnaba na kutandika kuyiga Bayibuli!” Ebikolwa ebyo eby’ekisa byakwata nnyo ku Lisa era n’atandika okuyiga Bayibuli.
Anne, eyogeddwako ku ntandikwa naye yayogera ku kisa Abajulirwa ba Yakuwa kye baamulaga. Yagamba nti: “Okusinziira ku ngeri abantu okutwalira awamu gye beeyisaamu mu nsi, nnali nneekengera nnyo abantu era nnali sibeesiga.” Agattako nti: “Bwe nnasisinkana Abajulirwa ba Yakuwa, saabeesiga mu kusooka. Nneebuuza nti, ‘Lwaki banfaako nnyo?’ Naye ekisa oyo eyanjigiriza Bayibuli kye yandaga kyandeetera okumwesiga.” Biki ebyavaamu? Anne agamba nti: “Nnatandika okussaayo ennyo omwoyo ku ebyo bye nnali njiga.”
Weetegereze nti Lisa ne Anne baakwatibwako nnyo olw’okwagala n’ekisa ab’oluganda mu kibiina bye baabalaga, era ekyo kye kyabasikiriza okuyiga amazima. Ekisa ab’oluganda mu kibiina kye baabalaga kyabayamba okutandika okwesiga Yakuwa n’abantu be.
KOPPA KATONDA OLAGE ABALALA EKISA
Abamu bayinza okwogera ebigambo eby’ekisa era ne bassaako akamwenyumwenyu nga boogera n’abalala, olw’okuba bwe batyo bwe baakuzibwa. Kirungi okuba nti abantu abamu bawombeefu olw’embeera gye baakuliramu n’engeri gye baakuzibwamu. Naye bwe kiba nti engeri gye tweyisaamu esinziira ku buwangwa bwaffe n’engeri gye twakuzibwamu byokka, tuyinza okuba nga tetukoppa Katonda mu kwoleka ekisa.—Geraageranya Ebikolwa 28:2.
Ekisa ekya nnamaddala kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. (Bag. 5:22, 23) Ekyo kitegeeza nti twetaaga obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu okusobola okwoleka ekisa ekya nnaddala. Bwe twoleka ekisa ng’ekyo tuba tukoppa Yakuwa ne Yesu. Era ng’Abakristaayo, tufaayo nnyo ku balala. N’olwekyo, okwagala kwe tulina eri Yakuwa Katonda n’eri bantu bannaffe kwe kusaanidde okutuleetera okulaga abalala ekisa. Bwe tukola tutyo, ekisa kye tulaga abalala kiba kisibukira ddala mu mutima era ekyo kisanyusa nnyo Katonda.
BAANI BE TUSAANIDDE OKULAGA EKISA?
Kiyinza okutubeerera ekyangu okulaga ekisa abo abatulaga ekisa oba be tumanyi. (2 Sam. 2:6) Engeri emu gye tukikolamu kwe kubeebaza. (Bak. 3:15) Watya singa muli tuwulira nti waliwo omuntu atasaanidde kulagibwa kisa?
Lowooza ku kino: Yakuwa assaawo ekyokulabirako ekirungi mu kulaga abantu ekisa eky’ensusso, era Ekigambo kye kitukubiriza okukulaakulanya engeri eyo. Ebigambo “ekisa eky’ensusso” bikozesebwa emirundi mingi mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Katonda atulaga atya ekisa?
Lowooza ku bukadde n’obukadde bw’abantu Yakuwa b’alaga ekisa ng’abawa bye beetaaga okusobola okuba abalamu. (Mat. 5:45) Mu butuufu, Yakuwa yalaga abantu ekisa ne bwe baali nga tebannaba kumumanya. (Bef. 2:4, 5, 8) Ng’ekyokulabirako, yawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka ku lw’abantu bonna, era ng’ekyo kye kirabo ekyali kisingayo obulungi kye yalina. Omutume Pawulo yagamba nti ekinunulo kyaweebwayo “okusinziira ku kisa kya Katonda eky’ensusso.” (Bef. 1:7) Wadde nga tukola ebintu ebinyiiza Yakuwa, yeeyongera okutuwa obulagirizi era n’okutuyigiriza. Era ebyo by’atuyigiriza biri “ng’enkuba etonnya empola empola.” (Ma. 32:2) Tetusobola kusasula Yakuwa olw’ekisa ky’atulaga. Mu butuufu singa Yakuwa teyatulaga kisa, tetwandibadde na ssuubi likwata ku biseera eby’omu maaso.—Geraageranya 1 Peetero 1:13.
Awatali kubuusabuusa, tusiima nnyo ekisa Yakuwa ky’atulaga. N’olwekyo, mu kifo ky’okulondamu abo be tulaga ekisa, tusaanidde okukoppa Yakuwa nga tulaga abantu bonna ekisa ekiseera kyonna. (1 Bas. 5:15) Bwe twoleka ekisa buli kiseera, tuba ng’omuliro ogubugumya mu kiseera egy’obunnyogovu. Ekyo kituleetera okuzzaamu amaanyi ab’omu maka gaffe, bakkiriza bannaffe, abo be tukola nabo, abo be tusoma nabo, ne baliraanwa baffe.
Lowooza ku abo abali mu maka mw’obeera n’ab’omu kibiina kyo abayinza okuganyulwa bw’oyogera nabo mu ngeri ey’ekisa era n’obaako ebikolwa eby’ekisa by’obakolera. Mu kibiina kyo muyinza okubaamu omuntu eyeetaaga okuyambako ku mirimu egy’awaka oba okumuyambako okugula ebintu. Ate era bw’oba obuulira n’osanga omuntu eyeetaaga okuyambibwa mu ngeri emu oba endala, bwe kiba kisoboka oyinza okubaako ky’okolawo okumuyamba.
Ka bulijjo tukoppe Yakuwa ng’ebigambo byaffe n’ebikolwa byaffe biraga nti tukolera ku ‘tteeka ery’ekisa.’
a Amannya gakyusiddwa.