EKITUNDU EKY’OKUSOMA 26
Weeteekereteekere Olunaku lwa Yakuwa
“Olunaku lwa Yakuwa lugenda kujja ng’omubbi bw’ajja ekiro.”—1 BAS. 5:2.
OLUYIMBA 143 Weeyongere Okulindirira n’Obugumiikiriza
OMULAMWAa
1. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okuwonawo ku lunaku lwa Yakuwa?
BAYIBULI bw’eyogera ku ‘lunaku lwa Yakuwa,’ etegeeza ekiseera Yakuwa lw’ajja okuzikiriza abantu ababi era anunule abantu be. Mu biseera eby’edda, Yakuwa alina amawanga ge yabonereza. (Is. 13:1, 6; Ezk. 13:5; Zef. 1:8) Mu kiseera kyaffe, “olunaku lwa Yakuwa” lujja kutandika nga bannabyafuzi bazikiriza Babulooni Ekinene, era lukomekkerezebwe ku lutalo Amagedoni. Okusobola okuwonawo ku ‘lunaku’ olwo, tusaanidde okweteekateeka kati. Yesu yagamba nti tusaanidde okweteekerateekera “ekibonyoobonyo ekinene,” ekiraga nti tulina ‘okubeera abeetegefu.’—Mat. 24:21; Luk. 12:40.
2. Lwaki tusobola okuganyulwa mu ebyo ebiri mu 1 Abassessalonika?
2 Mu bbaluwa omutume Pawulo gye yasooka okuwandiikira Abassessalonika, yakozesa ebyokulabirako ebiwerako okuyamba Abakristaayo okweteekerateekera olunaku lwa Yakuwa olw’omusango. Pawulo yali akimanyi nti olunaku lwa Yakuwa lwali terugenda kujjirawo mu kiseera ekyo. (2 Bas. 2:1-3) Wadde kiri kityo, yakubiriza ab’oluganda abo okweteekerateekera olunaku olwo ng’olwali lugenda okujja amangu ddala, era naffe tusaanidde okukolera ku kulabula okwo. Ka twetegereze engeri gye yannyonnyolamu ebintu bino: (1) engeri olunaku lwa Yakuwa gye lwandizze, (2) abo abatandiwonyeewo ku lunaku olwo, (3) n’engeri gye tuyinza okweteekateekamu okusobola okuwonawo.
OLUNAKU LWA YAKUWA LUNNAJJA LUTYA?
3. Olunaku lwa Yakuwa lugenda kujja lutya ng’omubbi? (Laba n’ekifaananyi.)
3 “Ng’omubbi bw’ajja ekiro.” (1 Bas. 5:2) Kino kye kimu ku byokulabirako ebisatu Pawulo by’akozesa okulaga engeri olunaku lwa Yakuwa gye lugenda okujjamu. Ababbi batera okujja ekiro abantu we baba batabasuubirira. N’olunaku lwa Yakuwa nalwo lujja kujja mu kiseera abantu we batalusuubirira. N’Abakristaayo ab’amazima nabo bayinza okwewuunya engeri ebintu gye bijja okukyuka amangu. Naye obutafaananako bantu babi, ffe tetujja kuzikirizibwa.
4. Mu ngeri ki olunaku lwa Yakuwa gye luli ng’ebisa ebijjira omukazi ali olubuto?
4 “Ng’ebisa bwe bijjira omukazi ali olubuto.” (1 Bas. 5:3) Omukazi ali olubuto aba tamanyi kiseera kyennyini ebisa we binaatandikira kumuluma. Wadde kiri kityo, aba akimanyi nti ekiseera kijja kutuuka bitandike okumuluma. Era ekiseera bwe kituuka bitandika okumuluma era aba tasobola kubiziyiza. Mu ngeri y’emu, naffe tetumanyi lunaku na ssaawa olunaku lwa Yakuwa we lunaatandikira. Wadde kiri kityo, tuli bakakafu nti olunaku olwo lujja, era nti Yakuwa ajja kuzikiriza abantu bonna ababi mu bwangu.
5. Mu ngeri ki ekibonyoobonyo ekinene gye kiringa obudde obukya?
5 Ng’obudde bwe bukya. Ekyokulabirako eky’okusatu Pawulo ky’akozesa era kyogera ku babbi abajja ekiro. Naye ku luno, kirabika Pawulo ageraageranya olunaku lwa Yakuwa ku budde nga bukya. (1 Bas. 5:4) Ababbi ababba ekiro bayinza okutwalirizibwa ne batafaayo ku budde. Obudde buyinza okukya nga bakyabba, era abantu ne babalaba. Mu ngeri y’emu, n’ekibonyoobonyo ekinene bwe kinajja kijja kusanga abo abakola ebintu ebibi nga bakyabikola era kijja kubaanika. Obutafaananako bantu abo, ffe tusobola okweteekerateekera olunaku olwo nga twewala okukola ebintu ebitasanyusa Yakuwa era nga tukola ebintu ‘ebirungi, eby’obutuukirivu, n’eby’amazima.’ (Bef. 5:8-12) Ate era Pawulo akozesa ebyokulabirako ebirala bibiri ng’ayogera ku abo abatagenda kuwonawo.
BAANI ABATAGENDA KUWONAWO KU LUNAKU LWA YAKUWA?
6. Abantu abasinga obungi beebase mu ngeri ki? (1 Abassessalonika 5:6, 7)
6 “Abo abeebaka.” (Soma 1 Abassessalonika 5:6, 7.) Abo abatagenda kuwonawo ku lunaku lwa Yakuwa Pawulo yabageraageranya ku bantu abeebase. Omuntu aba yeebase tamanya biba bimwetoolodde era tamanya na budde, ne kiba nti tasobola kumanya ddi ebintu ebikulu we bibeererawo era tasobola kubaako na ky’akolawo. Abantu bangi leero bali mu tulo otw’eby’omwoyo. (Bar. 11:8) Tebakkiriza nti tuli mu “nnaku ez’enkomerero,” era nti n’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okujja. Bwe wabalukawo ebizibu eby’amaanyi mu nsi, abantu abamu baba baagala okuwulira obubaka bwaffe obw’Obwakabaka. Naye oluvannyuma baddamu ne beebaka mu by’omwoyo. Kyokka n’abo abakimanyi nti olunaku lwa Yakuwa lujja, balowooza nti lukyali wala nnyo. (2 Peet . 3:3, 4) Naye ffe tukimanyi nti kikulu okukolera ku kulabula okutuweebwa okuva mu byawandiikibwa ne tusigala nga tuli bulindaala buli lunaku.
7. Abo abagenda okuzikirizibwa bafaananako batya abantu abatamiivu?
7 “Abo abatamiira.” Abo abagenda okuzikiririzibwa omutume Pawulo yabageraageranya ku batamiivu. Abatamiivu tebanguwa kubaako na kye bakolawo nga waliwo ekigenda okubatuukako, era batera okusalawo mu ngeri etali ya magezi. Mu ngeri y’emu, ababi tebakolera ku kulabula Katonda kw’atuwa. Basalawo okutambuza obulamu bwabwe mu ngeri egenda okubaviirako okuzikirizibwa. Naye Abakristaayo bakubirizibwa okusigala nga bali bulindaala. (1 Bas. 5:6) Omwekenneenya wa Bayibuli omu agamba nti: “Omuntu ali obulindaala aba mukkakkamu era ebintu abitunuulira mu ngeri entuufu, ekyo ne kimusobozesa okusalawo obulungi.” Lwaki tusaanidde okusigala nga tuli bulindaala? Ekyo kituyamba obuteenyigira mu bya bufuzi n’obukuubagano obuli mu nsi. Ng’olunaku lwa Yakuwa lugenda lusembera, tujja kweyongera okupikirizibwa okwenyigira mu bintu ng’ebyo. Wadde kiri kityo, tetusaanidde kweraliikirira ekyo kye tunaakolawo nga tupikirizibwa. Omwoyo gwa Yakuwa gusobola okutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu era n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi.—Luk. 12:11, 12.
KIKI KYE TUSAANIDDE OKUKOLA OKWETEEKERATEEKERA OLUNAKU LWA YAKUWA?
8. Okusinziira ku 1 Abassessalonika 5:8, ngeri ki ezinaatuyamba okusigala nga tuli bulindaala? (Laba n’ekifaananyi.)
8 ‘Twambale eky’omu kifuba n’enkoofiira.’ Pawulo atugeraageranya ku basirikale abambadde ebyambalo by’olutalo era nga beetegefu okulwana. (Soma 1 Abassessalonika 5:8.) Omusirikale asuubirwa okuba nga buli kiseera mwetegefu. Naffe bwe tutyo bwe tusaanidde okuba. Tukiraga nti twetegekedde olunaku lwa Yakuwa nga twambala eky’omu kifuba eky’okukkiriza n’okwagala era n’enkoofiira ey’essuubi. Engeri ezo zijja kutuyamba nnyo.
9. Okukkiriza kwaffe kutukuuma kutya?
9 Eky’omu kifuba kyakuumanga omutima gw’omusirikale. Mu ngeri y’emu, okukkiriza n’okwagala bikuuma omutima gwaffe ogw’akabonero. Engeri ezo zijja kutuyamba okukoppa Yesu n’okusigala nga tuweereza Yakuwa. Olw’okukkiriza, tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa empeera singa tusigala nga tumuweereza n’omutima gwaffe gwonna. (Beb. 11:6) Era okukkiriza kujja kutuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Omukulembeze Waffe Yesu ne bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu. Okufumiitiriza ku baweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino abasobodde okukuuma obwesigwa bwabwe wadde nga bayigganyizibwa oba nga boolekagana n’ebizibu by’ebyenfuna, kijja kutuyamba okunyweza okukkiriza tusobole okusigala nga tuli beesigwa nga twolekaganye n’ebizibu. Ate era twewala okugwa mu katego ak’okwagala ennyo ssente n’eby’obugagga nga tukoppa abo abakoze enkyukakyuka mu bulamu bwabwe okusobola okukulembeza obwakabaka.b
10. Okwagala Yakuwa ne bantu bannaffe kituyamba kitya okweyongera okubuulira?
10 Okwagala nakwo kutuyamba okusigala nga tutunula era nga tuli bulindaala. (Mat. 22:37-39) Okwagala Katonda kutuyamba okweyongera okubuulira wadde nga kino kiyinza okutuviiramu ebizibu. (2 Tim. 1:7, 8) Olw’okuba twagala n’abo abataweereza Yakuwa, tubuulira mu bitundu gye tubeera, era tubuulira nga tukozesa essimu n’amabaluwa. Tweyongera okubuulira nga tulina essuubi nti abo be tubuulira bajja kukola enkyukakyuka batandike okuweereza Yakuwa.—Ezk. 18:27, 28.
11. Okwagala bakkiriza bannaffe kituyamba kitya? (1 Abassessalonika 5:11)
11 Ate era twagala ne bakkiriza bannaffe. Okwagala okwo tukwoleka ‘nga tuzziŋŋanamu amaanyi era nga tuzimbagana.’ (Soma 1 Abassessalonika 5:11.) Ng’abasirikale bwe bayambagana mu lutalo, naffe tusaanidde okuzziŋŋanamu amaanyi. Kya lwatu nti omusirikale bw’aba mu lutalo ayinza okutuusa ekisago ku munne nga tagenderedde. Mu ngeri y’emu, naffe tetusaanidde kulumya baganda baffe mu bugenderevu oba okubeesasuza nga baliko kye batukoze. (1 Bas. 5:13, 15) Ate era tusaanidde okwoleka okwagala nga tussaamu ekitiibwa ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina. (1 Bas. 5:12) Pawulo we yawandiikira ebbaluwa ya 1 Abassessalonika, ekibiina ky’e Ssessalonika kyali tekinnaweza mwaka bukya kitandikibwawo. Kiyinzika okuba nti ab’oluganda abaali batwala obukulembeze mu kibiina ekyo baali tebannafuna bumanyirivu, era bayinza okuba baakolanga ensobi. Wadde kyali kityo, baali beetaaga okussibwamu ekitiibwa. Ng’ebula akaseera katono ekibonyoobonyo ekinene kituuke, tujja kwetaaga obulagirizi okuva eri abakadde okusinga bwe kiri kati. Mu kiseera ekyo, kiyinzika okuba nga tujja kuba tetukyasobola kuwuliziganya n’ab’oluganda abali ku kitebe ekikulu oba ku ofiisi y’ettabi. Eyo ye nsonga lwaki kikulu okweyongera okwagala n’okuwa abakadde ekitiibwa mu kiseera kino. N’olwekyo, ka tweyongere okwagala abakadde n’okubassaamu ekitiibwa, era tubuuse amaaso obutali butuukirivu bwabwe, nga tukijjukira nti Yakuwa abawa obulagirizi ng’ayitira mu Yesu Kristo.
12. Essuubi lye tulina likuuma litya ebirowoozo byaffe?
12 Ng’enkoofiira bwe yakuumanga omutwe gw’omusirikale, essuubi lyaffe ery’obulokozi likuuma ebirowoozo byaffe. Essuubi lyaffe bwe liba erinywevu, lituyamba okukiraba nti ebintu by’ensi butaliimu. (Baf. 3:8) Essuubi eryo era lituyamba okusigala nga tuli bakkakkamu era nga tuli bulindaala. Ekyo kye kyayamba Wallace ne Laurinda, abaweerereza mu Afirika. Mu bbanga lya wiiki ssatu, buli omu yafiirwa muzadde we. Olw’ekirwadde kya COVID-19, baali tebasobola kuddayo waabwe. Wallace agamba nti: “Essuubi ery’okuzuukira linnyamba okubalowoozaako. Sirowooza ku mbeera gye baalimu nga banaatera okufa, wabula ndowooza ku mbeera gye balibaamu nga nnakabalaba mu nsi empya. Buli lwe mbajjukira ne nnennyamira, essuubi lino linzikakkanya.”
13. Kiki kye tulina okukola okufuna omwoyo omutukuvu?
13 “Temuzikiza muliro ogw’omwoyo omutukuvu.” (1 Bas. 5:19) Pawulo yageraageranya omwoyo omutukuvu ku muliro oguli munda mu ffe. Bwe tuba n’omwoyo omutukuvu, tuba twagala nnyo okukola ekituufu, era tuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. (Bar. 12:11) Kiki kye tulina okukola okusobola okufuna omwoyo omutukuvu? Tulina okusaba Yakuwa, okusoma Ekigambo kye, n’okukuŋŋaana awamu n’abantu be. Bwe tukola bwe tutyo, kituyamba okukulaakulanya “ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo.”—Bag. 5:22, 23.
14. Biki bye tusaanidde okwewala bwe tuba ab’okweyongera okufuna omwoyo omutukuvu? (Laba n’ekifaananyi.)
14 Yakuwa bw’amala okutuwa omwoyo gwe omutukuvu, tusaanidde okwegendereza tuleme ‘kuzikiza muliro ogw’omwoyo omutukuvu.’ Yakuwa omwoyo gwe omutukuvu aguwa abo bokka abasigala nga bayonjo mu birowoozo ne mpisa. Ajja kutuggyako omwoyo gwe omutukuvu singa tweyongera okulowooza n’okukola ebintu ebibi. (1 Bas. 4:7, 8) Ate era okusobola okweyongera okufuna omwoyo omutukuvu, tusaanidde okwewala ‘okunyooma obunnabbi.’ (1 Bas. 5:20) ‘Obunnabbi’ obwogerwako wano butegeeza obubaka bwe tufuna okuva eri Yakuwa okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu. Obubaka obwo buzingiramu ebyo ebikwata ku lunaku lwa Yakuwa n’obukulu bw’ebiseera bye tulimu. Tetusaanidde kulowooza nti olunaku lwa Yakuwa terujja kujja mu kiseera kyaffe. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okulukuumira mu birowoozo nga tweyisa bulungi era nga tuba banyiikivu mu kukola “ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda” buli lunaku.—2 Peet. 3:11, 12.
“MWEKENNEENYENGA EBINTU BYONNA”
15. Tuyinza tutya okwewala okubuzaabuzibwa obulimba ne ppokoppoko wa badayimooni? (1 Abassessalonika 5:21)
15 Mu kiseera ekitali kya wala, abalabe ba Katonda bajja kulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu!’ (1 Bas. 5:3) Ppokoppoko oyo ajja okuva eri badayimooni ajja kubuna ensi, era abantu abasinga obungi bajja kubuzaabuzibwa. (Kub. 16:13, 14) Ate ffe? Tetujja kubuzaabuzibwa singa ‘tuneekenneenya’ oba tunaagezesa “ebintu byonna.” (Soma 1 Abassessalonika 5:21.) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okwekenneenya,’ kirina akakwate n’engeri abantu gye baagezesangamu zzaabu oba ffeeza okulaba oba nga mutuufu. Mu ngeri y’emu, tusaanidde okugezesa ebyo bye tusoma oba bye tuwulira okulaba oba nga ddala bituufu. Ekyo kyali kikulu eri Abassessalonika, era kikulu nnyo gye tuli naddala ng’ekibonyoobonyo ekinene kisembedde. Mu kifo ky’okumala gakkiriza buli kimu abantu kye boogera, tusaanidde okukozesa obusobozi bwaffe obw’okutegeera nga tugeraageranya ebyo bye tusoma ne bye tuwulira ku ebyo ebiri mu Bayibuli n’ebituweebwa ekibiina kya Yakuwa. Bwe tunaakola bwe tutyo, tetujja kubuzaabuzibwa ppokoppoko wa badayimooni.—Nge. 14:15; 1 Tim. 4:1.
16. Ssuubi ki lye tulina, era kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?
16 Abantu ba Katonda bajja kuwonawo ku kibonyoobonyo ekinene ng’ekibiina. Kyokka kinnoomu tetumanyi kiyinza kututuukako nkya. (Yak. 4:14) Wadde kiri kityo, ka tube nga tunaayita mu kibonyoobonyo ekinene oba tunaafa nga tekinnatuuka, bwe tusigala nga tuli beesigwa, Yakuwa ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo. Abaafukibwako amafuta bajja kubeera ne Yesu mu ggulu. Ab’endiga endala bajja kunyumirwa obulamu obutaggwaawo ku nsi. N’olwekyo, ka ffenna tube bamalirivu okukuumira ebirowoozo ku ssuubi lye tulina era n’okwongera okweteekerateekera olunaku lwa Yakuwa.
OLUYIMBA 150 Noonya Katonda Akununule
a Mu 1 Abassessalonika essuula 5, mulimu ebyokulabirako ebiwerako ebituyamba okutegeera engeri olunaku lwa Yakuwa gye lugenda okujjamu. “Olunaku” olwo kye ki, era lunajja lutya? Baani abanaawonawo nga luzze, era baani abataawonewo? Tuyinza tutya okulweteekerateekera? Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, tugenda kwekenneenya ebigambo by’omutume Pawulo.
b Laba ekitundu “Beewaayo Kyeyagalire.”