Beera n’Endowooza Katonda gy’Alina ku Mwenge
OTEEKWA okuba ng’oli musanyufu nnyo olw’ebirabo ebingi Yakuwa by’akuwa. Era oli musanyufu nnyo nti Yakuwa akuwadde eddembe okusalawo engeri y’okukozesaamu ebirabo ebyo. Omwenge kirabo okuva eri Katonda. Bayibuli egamba nti: “Omugaati gufumbibwa kuleeta nseko, n’omwenge guleeta essanyu mu bulamu.” (Mub. 10:19; Zab. 104:15) Naye oyinza okuba ng’okirabye nti abantu bangi bafunye ebizibu bingi olw’okunywa omwenge. Ate era, okwetooloola ensi yonna abantu balina endowooza za njawulo era bagoberera emitindo gya njawulo bwe kituuka ku kunywa omwenge. Kati olwo, kiki ekiyinza okuyamba Abakristaayo okusalawo obulungi bwe kituuka ku kunywa omwenge?
Ka tube nga tubeera mu kitundu ki eky’ensi oba nga tuli mu mbeera ki, bwe tusalawo nga tugoberera endowooza ya Katonda, kituganyula era kituyamba okuba abasanyufu.
Oyinza okuba ng’okirabye nti abantu bangi mu nsi batera okunywa omwenge era abamu banywa mungi nnyo. Abamu banywa omwenge kubanga gubaleetera okuwulira obulungi. Abalala bagunywa basobole okwerabira ebizibu byabwe. Ate mu bitundu ebimu, omuntu bw’anywa omwenge omungi atwalibwa nti mukulu oba nti wa maanyi.
Kyokka Abakristaayo bagoberera obulagirizi obulungi obubaweebwa Omutonzi waabwe. Ng’ekyokulabirako, Omutonzi waffe atulabula ku kabi akali mu kunywa omwenge omungi. Tuyinza okuba nga twali tusomye ku ebyo ebiri mu Engero 23:29-35 awalaga obulungi embeera omuntu atamidde gy’abaamu n’ebimu ku bizibu by’afuna.a Daniel, aweereza ng’omukadde mu kibiina mu nsi emu ey’omu Bulaaya, ayogera ku ngeri obulamu bwe gye bwalimu nga tannafuuka Mukristaayo. Agamba nti: “Nnanywanga omwenge mungi, era ekyo kyanviirako okusalawo obubi. Nnafuna ebizibu bingi nnyo era buli lwe mbirowoozaako mpulira bubi.”
Abakristaayo bayinza batya okukozesa obulungi eddembe lyabwe ery’okwesalirawo ne beewala ebizibu ebiva mu kunywa ennyo omwenge? Bwe tuba nga tulina bye tusalawo, tulina okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa.
Ka tulabe ekyo Bayibuli ky’eyogera ku mwenge, n’ensonga eziviirako abantu abamu okunywa omwenge.
BAYIBULI KY’EYOGERA KU KUNYWA OMWENGE
Bayibuli tevumirira kunywa mwenge gwa kigero. Mu butuufu, eraga nti okunywa omwenge kisobola okuleetera omuntu essanyu. Egamba nti: “[Lya] emmere yo ng’osanyuka era onywe omwenge gwo n’omutima omusanyufu.” (Mub. 9:7) Ne Yesu emirundi egimu yanywanga ku mwenge, era n’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bangi baanywanga omwenge.—Mat. 26:27-29; Luk. 7:34; 1 Tim. 5:23.
Wadde nga Bayibuli tevumirira kunywa mwenge gwa kigero, evumirira okutamiira. Egamba nti: “Temutamiiranga mwenge.” (Bef. 5:18) Ate era ekiraga nti “abatamiivu . . . tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.” (1 Kol. 6:10) Kya lwatu, Yakuwa avumirira okunywa omwenge omungi n’obutamiivu. Mu kifo ky’okusalawo okunywa omwenge nga tusinziira ku ndowooza zaffe oba embeera mwe twakulira, kya magezi okugoberera obulagirizi Katonda bw’atuwa.
Abantu abamu bagamba nti basobola okunywa omwenge omungi naye ne batatamiira. Kyokka ekyo kya bulabe. Bayibuli ekiraga bulungi nti “okufugibwa omwenge omungi” kisobola okuviirako omuntu okwenyigira mu bikolwa ebibi n’okufiirwa enkolagana ye ne Katonda. (Tit. 2:3; Nge. 20:1) Ate era Yesu yalabula nti okunywa omwenge omungi kuyinza okuviirako omuntu obutayingira mu nsi ya Katonda empya. (Luk. 21:34-36) Kati olwo, kiki ekiyinza okuyamba Omukristaayo okwewala ebizibu ebiva mu kunywa omwenge omungi?
LOWOOZA KU NSONGA LWAKI ONYWA OMWENGE, GWENKANA WA GW’ONYWA, NA DDI LW’OGUNYWA
Bwe tuba tusalawo obanga tunaanywa omwenge, kya kabi okusalawo nga tugoberera endowooza z’abantu be tubeeramu oba ku buwangwa bwaffe. Bwe kituuka ku kulya n’okunywa, Abakristaayo basaanidde okusalawo nga beesigama ku bulagirizi Yakuwa bw’abawa. Bayibuli egamba nti: “Obanga mulya, nga munywa, oba nga mukola ekintu ekirala kyonna, mukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.” (1 Kol. 10:31) Lowooza ku bibuuzo bino wammanga awamu n’emisingi gya Bayibuli:
Nnywa omwenge abalala baleme okumboola? Okuva 23:2 wagamba nti: “Togobereranga abangi okukola ebintu ebibi.” Mu kyawandiikibwa ekyo, Yakuwa yali alabula Abayisirayiri obutakoppa bantu abaali bakola ebitamusanyusa. Okubuulirira okwo kukwata ne ku Bakristaayo leero. Bwe tugoberera endowooza z’abantu ezikwata ku mwenge kiyinza okutuleetera okulekera awo okugoberera emitindo gya Yakuwa ne tufiirwa enkolagana yaffe naye.—Bar. 12:2.
Nnywa omwenge abalala bantwale nti ndi wa maanyi? Mu buwangwa obumu, okunywa omwenge omungi kitwalibwa nti kintu kya bulijjo era kikkirizibwa. (1 Peet. 4:3) Naye weetegereze amagezi Bayibuli g’ewa mu 1 Abakkolinso 16:13: “Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bavumu, mubeere ba maanyi.” Omwenge gusobola okuleetera omuntu okuba ow’amaanyi? Nedda. Omwenge gusobola okuleetera omuntu okuba nga talowooza bulungi n’asalawo bubi. N’olwekyo okunywa omwenge omungi tekiraga nti omuntu wa maanyi, wabula kiraga nti musirusiru. Isaaya 28:7 walaga nti omuntu bw’anywa omwenge omungi awaba n’ava mu kkubo olw’okuba aba atagalatagala era yeesittala.
Amaanyi ge twetaaga okukola ekituufu gava eri Yakuwa era atwetaagisa okubeera nga tutunula era nga tuli banywevu mu kukkiriza. (Zab. 18:32) Okusobola okukola ekyo, tulina okwewala embeera eziyinza okuteeka obulamu bwaffe mu kabi era tulina okusalawo mu ngeri etusobozesa okusigala nga tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Yesu bwe yali ku nsi yakyoleka nti alina amaanyi ng’ago, kubanga yali muvumu era yali mumalirivu okukola ekituufu. N’olw’ensonga eyo, abantu bangi baamussangamu ekitiibwa.
Nnywa omwenge nsobole okwerabira ebizibu byange? Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Bwe nnali nneeraliikirira nnyo, [Yakuwa] wambudaabuda era n’oŋŋumya.” (Zab. 94:19) Bw’owulira nti ebizibu bikuyitiriddeko, noonya obuyambi okuva eri Yakuwa, so si kulowooza nti omwenge gwe gunaakuyamba. Engeri emu gy’oyinza okufunamu obuyambi ng’obwo kwe kusaba ennyo Yakuwa. Ate era bangi bakizudde nti okwebuuza ku Mukristaayo akuze mu by’omwoyo mu kibiina kibayambye nnyo. Mu butuufu, omuntu okunywa omwenge ng’alowooza nti gujja kumuyamba okwerabira ebizibu bye kiyinza okumulemesa okuba omumalirivu okukola ekituufu. (Kos. 4:11) Daniel, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Nnabeeranga mweraliikirivu era ng’omuntu wange ow’omunda annumiriza. Nnanywanga omwenge nsobole okwerabira ebizibu byange, naye byeyongeranga bweyongezi. Mikwano gyange gyanvaako era nnawulira nga mpeddemu ekitiibwa.” Kiki ekyayamba Daniel? Agamba nti: “Yakuwa ye yali asobola okunnyamba, so si mwenge. Oluvannyuma nnasobola okugumira ebizibu byange era ne mbivvuunuka.” Bulijjo Yakuwa aba mwetegefu okutuyamba ka kibe nti embeera yaffe erabika ng’etasobola kutereera.—Baf. 4:6, 7; 1 Peet. 5:7.
Bwe kiba nti ebiseera ebimu onywa omwenge, kirungi okwekebera okulaba obanga weetaaga okukyusaamu ku mirundi gy’ogunywa na gwenkana wa gw’onywa. Oyinza okwebuuza ebibuuzo bino: ‘Waliwo omu ku beŋŋanda zange oba mukwano gwange eyali andabudde ku ngeri gye nnywamu omwenge?’ Bwe kiba bwe kityo, oyinza okuba ng’okunywa omwenge gufuukidde muze oba nga kifuuse kizibu naye nga ggwe tokimanyi. ‘Nnywa omwenge mungi okusinga ku ogwo gwe nnalinga nnywa?’ Ekyo kiyinza okuba nga kiraga nti okunywa omwenge kunaatera okukufuukira omuze. ‘Kinzibuwalira okumala ennaku entonotono oba eziwerako nga sinywedde mwenge?’ Bwe kiba kityo, okunywa omwenge kuyinza okuba nga kukufuukidde muze. Kiyinza okukwetaagisa okufuna obuyambi bw’abasawo okusobola okuvvuunuka ekizibu ekyo.
Olw’okuba okunywa omwenge kisobola okuvaamu ebizibu bingi, Abakristaayo abamu basazeewo obutanywerako ddala ku mwenge. Abalala tebagunywerako ddala kubanga tegubawoomera. Omu ku mikwano gyo bw’aba nga yasalawo obutanywa mwenge, kirungi okussa ekitiibwa mu ekyo kye yasalawo nga tomuvumirira.
Oba oyinza okuba ng’okirabye nti kya magezi okussa ekkomo ku mwenge gw’onywa. Omukristaayo ayinza okussa ekkomo ku bungi bw’omwenge gw’anywa. Oba ayinza okussa ekkomo ku mirundi emeka gy’alina okunywa omwenge, oboolyawo omulundi gumu mu wiiki oba n’anywako kitono oluvannyuma lw’okulya emmere. Abamu basazeewo bika ki eby’omwenge bye balina okunywa, gamba ng’okunywa envinnyo oba bbiya mu kifo ky’okunywa emyenge egy’amaanyi gamba nga walagi. Omuntu bw’aba amaze okweteerawo ekkomo ku mwenge, kiba kimwanguyira okunywerera ku ekyo ky’asazeewo. Omukristaayo akuze mu by’omwoyo tasaanidde kweraliikirira ekyo abalala kye banaalowooza ku ekyo ky’asazeewo era asaanidde okukinywererako.
Bwe tuba tusalawo obanga tunaanywa omwenge, kikulu nnyo n’okulowooza ku ngeri abalala gye bakitwalamu. Abaruumi 14:21 wagamba nti: “Kiba kirungi obutalya nnyama, oba obutanywa mwenge, oba obutakola kintu kyonna ekyesittaza muganda wo.” Oyinza otya okukolera ku magezi ago? Yoleka okwagala. Bw’okizuula nti okunywa omwenge kiyinza okwesittaza omuntu omulala, olw’okuba omwagala tojja kugunywa. Bw’okola bw’otyo oba okiraga nti ofaayo ku nneewulira z’abalala era nti tonoonya bikugasa wekka.—1 Kol. 10:24.
Ate era gavumenti eyinza okuba ng’erina amateeka ge yassaawo agakwata ku mwenge. Omukristaayo aba alina okugondera amateeka ago. Amateeka ago gayinza okuba nga galaga nti omuntu ow’emyaka egimu talina kunywa mwenge. Oba amateeka amalala gayinza okuba nga gagaana omuntu okunywa omwenge ate n’avuga ekidduka oba n’akozesa ebyuma ebitali bimu.—Bar. 13:1-5.
Yakuwa yatuwa ebirabo bingi ebituleetera essanyu, era ekimu ku birabo ebyo ly’eddembe ly’okwesalirawo. Tusobola okukozesa eddembe eryo okusalawo bye tunaalya ne bye tunaanywa. Ebyo bye tusalawo ka bikyoleke nti tusiima eddembe eryo lye yatuwa, era ka tulikozese okukola ebyo Kitaffe ow’omu ggulu by’ayagala.
a Ekitongole ekimu eky’eby’obulamu mu Amerika kyalaga nti okunywa omwenge omungi, ne bwe guba mulungi gumu gwokka, kisobola okuviirako ebizibu, gamba ng’okutta, okwetuga, okukabasanya abalala, obusambattuko mu maka, n’okuvaamu embuto.