Footnote
d Okwawukana ku ekyo, kirabika ng’olukalala olwaluŋŋamizibwa olw’omutume Pawulo olulimu abasajja n’abakazi abeesigwa mu Abebbulaniya essuula 11, lwogera ku bintu ebyaliwo ebiri mu Danyeri. (Danyeri 6:16-24; Abebbulaniya 11:32, 33) Kyokka era, n’olukalala lw’omutume terumenya bonna. Waliwo abantu bangi, nga mw’otwalidde Isaaya, Yeremiya, ne Ezeekyeri, abatali ku lukalala olwo, naye nga kino tekitegeeza nti tebaaliwo.