Footnote
b Ng’ayogera ku ekyo ekyaliwo e Meriba, Profesa John A. Beck agamba nti: “Okusinziira ku kitabo ekimu ekyogera ku byafaayo by’Abayudaaya, abo abaali bawakanya Musa baagamba nti: ‘Musa amanyi bulungi enkula y’olwazi luno! Ddala bw’aba ayagala okutukakasa nti akola eby’amagero, k’atuggire amazzi mu lwazi luno olulala.’” Kya lwati nti ebyo bigambibwa bugambibwa.