LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
Vaamu
Yingira
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Tukwanirizza.
Mu layibulale eno mulimu ebitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo ebisobola okukuyamba ng’oliko ky’onoonyereza.
Bw'oba olina by'oyagala okuwanula, genda ku jw.org.
  • Leero

Bbalaza, Maayi 11

Weewalenga enfumo ez’obulimba era ezitalina mugaso.—1 Tim. 4:7.

Bw’owulira ebintu ebibi ebyogerwa ku kibiina kya Yakuwa oba ku b’oluganda abatwala obukulembeze, jjukira engeri abalabe ba Katonda gye baayisaamu Yesu n’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Leero abantu ba Yakuwa bayigganyizibwa era boogerwako ebintu ebibi nga Bayibuli bwe yalagula. (Mat. 5:​11, 12) Tetujja kubuzaabuzibwa ebintu eby’obulimba ebyogerwa ku kibiina kya Yakuwa bwe tumanya oyo ali emabega waabyo era ne tubaako kye tukolawo amangu ddala okubyewala. Kiki kye tusaanidde okukola? Weewale ebintu eby’obulimba ebyogerwa. Omutume Pawulo yawa obulagirizi obutegeerekeka obulungi ku ekyo kye tusaanidde okukola nga tuwulidde ebintu eby’obulimba. Yagamba Timoseewo ‘alagire abamu obutassaayo mwoyo ku ngero ez’obulimba n’okwewala enfumo ez’obulimba.’ (1 Tim. 1:​3, 4) Twewala ebintu eby’obulimba ebyogerwa kubanga tumanyi ali emabega waabyo. Tunywerera ku ‘bigambo eby’omuganyulo’ eby’amazima.—2 Tim. 1:13. w24.04 11 ¶16; 13 ¶17

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2026

Lwakubiri, Maayi 12

Bakozesa ebigambo ebiwaanawaana ne basendasenda emitima gy’abo abatalina bumanyirivu.—Bar. 16:18.

Sigala ng’oli bumu n’abo abeesigwa eri Yakuwa. Katonda ayagala tube bumu mu kusinza. Tujja kusigala nga tuli bumu singa tunywerera ku mazima. Abo bonna abawaba okuva mu mazima, baleetawo enjawukana mu kibiina. Eyo ye nsonga lwaki Katonda atugamba nti, “mubeewale.” Bwe tutabeewala naffe tusobola okuva ku mazima. (Bar. 16:17) Bwe tumanya amazima era ne tuganywererako, kituyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo. (Bef. 4:​15, 16) Kituyamba obutatwalirizibwa njigiriza za Sitaani ez’obulimba ne pokopoko gw’asaasaanya, era mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, Yakuwa ajja kutukuuma. N’olwekyo, weeyongere okunywerera ku mazima era “Katonda ow’emirembe anaabeeranga [naawe].”—Baf. 4:​8, 9. w24.07 13 ¶16-17

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2026

Lwakusatu, Maayi 13

Yawaayo ssaddaaka emu olw’ebibi emirembe n’emirembe.—Beb. 10:12.

Okusingira ddala Yesu yassa essira ku kuyamba abantu abaali bawulira nga bazitoowereddwa olw’ekibi, era yabakubiriza okufuuka abagoberezi be. Yali akimanyi nti ekibi kye kyali kiviirako abantu okubonaabona. Okusingira ddala yayamba abasajja n’abakazi abaali bamanyiddwa okuba aboonoonyi. Yagamba nti: “Abalamu tebeetaaga musawo; abalwadde be bamwetaaga.” Era yagattako nti: “Sajja kuyita batuukirivu wabula aboonoonyi.” (Mat. 9:​12, 13) Ekyo kyennyini Yesu kye yakola. Ng’ekyokulabirako, omukazi omwonoonyi bwe yajja gy’ali n’atonnyesa amaziga ku bigere bye era n’abisimuula ng’akozesa enviiri ze, yamusonyiwa ebibi bye. (Luk. 7:​37-50) Yabuulira omukazi Omusamaliya amazima ag’omuwendo wadde nga yali akimanyi bulungi nti omukazi oyo yali yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. (Yok. 4:​7, 17-19, 25, 26) Era Katonda yamuwa n’obuyinza okuggyawo ekintu ekisingayo obubi ekireetebwa ekibi, nga kwe kufa. Yamusobozesa okuzuukiza abantu ab’enjawulo, omwali abasajja, abakazi, n’abaana.—Mat. 11:5. w24.08 4 ¶9-10

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2026
Tukwanirizza.
Mu layibulale eno mulimu ebitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo ebisobola okukuyamba ng’oliko ky’onoonyereza.
Bw'oba olina by'oyagala okuwanula, genda ku jw.org.
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza