1 Samwiri
4 Samwiri yayogera ne Isirayiri yonna.
Awo Abayisirayiri ne bagenda okulwana n’Abafirisuuti; baasiisira okumpi n’e Ebenezeri, ate bo Abafirisuuti ne basiisira mu Afeki. 2 Abafirisuuti ne basimba ennyiriri okulwanyisa Abayisirayiri, naye Abayisirayiri olutalo ne lubagendera bubi, ne bawangulwa Abafirisuuti, era ne babattamu abasajja nga 4,000 mu ddwaniro. 3 Abantu bwe baddayo mu lusiisira, abakadde ba Isirayiri ne bagamba nti: “Lwaki Yakuwa alese Abafirisuuti okutuwangula*+ leero? Ka tuggye essanduuko y’endagaano ya Yakuwa mu Siiro+ tugitwale ebeere naffe etununule mu mukono gw’abalabe baffe.” 4 Awo abantu ne batuma abasajja e Siiro ne baggyayo essanduuko y’endagaano ya Yakuwa ow’eggye, atuula waggulu* wa bakerubi.+ Ne batabani ba Eli ababiri, Kofuni ne Fenekaasi,+ nabo baali eyo n’essanduuko y’endagaano ya Katonda ow’amazima.
5 Essanduuko y’endagaano ya Yakuwa olwatuuka mu lusiisira, Abayisirayiri bonna ne baleekaanira waggulu, ensi n’ekankana. 6 Abafirisuuti bwe baawulira okuleekaana ne bagamba nti: “Okuleekaana okwo okuli mu lusiisira lw’Abebbulaniya kutegeeza ki?” Oluvannyuma baakitegeera nti Essanduuko ya Yakuwa yali ezze mu lusiisira. 7 Abafirisuuti ne batya nnyo, ne bagamba nti: “Katonda azze mu lusiisira!”+ Ate era ne bagamba nti: “Zitusanze, kubanga ekintu nga kino tekibangawo! 8 Zitusanze! Ani anaatununula mu mukono gwa Katonda ono ow’ekitiibwa? Oyo ye Katonda eyatta Abamisiri abangi mu ddungu.+ 9 Mmwe Abafirisuuti, mubeere bavumu era mukirage nti muli basajja, muleme kuweereza Bebbulaniya nga bo bwe babaweereza;+ mukirage nti muli basajja era mulwane!” 10 Awo Abafirisuuti ne balwana ne bawangula Abayisirayiri,+ era buli Muyisirayiri n’addukira mu weema ye. Abattibwa baali bangi nnyo; Abayisirayiri abaafa baali abasirikale 30,000 abatambuza ebigere. 11 Ate era Essanduuko ya Katonda yawambibwa, era ne batabani ba Eli ababiri, Kofuni ne Fenekaasi, ne bafa.+
12 Awo omusajja ow’omu kika kya Benyamini n’ava mu ddwaniro n’adduka n’atuuka e Siiro ku lunaku olwo, ng’ayuzizza ebyambalo bye era ng’ayiye n’enfuufu ku mutwe gwe.+ 13 We yatuukira, Eli yali atudde ku ntebe ku mabbali g’ekkubo ng’alindirira, kubanga omutima gwe gwali mweraliikirivu nnyo olw’Essanduuko ya Katonda ow’amazima.+ Omusajja n’ayingira mu kibuga n’ababuulira ebibaddewo, ekibuga kyonna ne kitandika okukuba emiranga. 14 Eli bwe yawulira emiranga, n’agamba nti: “Oluyoogaano olwo lwaki?” Omusajja oyo y’omu n’ayanguwa n’ayingira n’ategeeza Eli ebyali bibaddewo. 15 (Eli yalina emyaka 98, era yali takyalaba.)+ 16 Omusajja n’agamba Eli nti: “Nze nnavudde mu ddwaniro, era nnadduseeyo lwa leero.” Awo n’amubuuza nti: “Kiki ekibaddewo mwana wange?” 17 Eyali aleese amawulire n’amuddamu nti: “Abayisirayiri badduse Abafirisuuti era bawanguddwa bubi nnyo;+ batabani bo ababiri, Kofuni ne Fenekaasi, nabo bafudde,+ era Essanduuko ya Katonda ow’amazima ewambiddwa.”+
18 Bwe yayogera ku Ssanduuko ya Katonda ow’amazima, Eli n’ava ku ntebe n’agwa kya bugazi ku mabbali g’omulyango, ensingo ye n’emenyeka n’afa, olw’okuba yali mukadde era nga munene nnyo. Yali alamulidde Isirayiri emyaka 40. 19 Muka mwana we, mukyala wa Fenekaasi, yali lubuto ng’anaatera okuzaala. Bwe yawulira nti Essanduuko ya Katonda ow’amazima ewambiddwa era nti ne ssezaala we ne bba bafudde, n’afukamira era ebisa ne bitandikirawo okumuluma n’azaala. 20 Bwe yali afa, abakazi abaali bayimiridde we yali ne bamugamba nti: “Totya, kubanga ozadde omwana ow’obulenzi.” Kyokka teyabaddamu era teyakifaako.* 21 Naye omwana yamutuuma Ikabodi,*+ ng’agamba nti: “Ekitiibwa kivudde mu Isirayiri ne kigenda mu buwaŋŋanguse;”+ yali ayogera ku kuwambibwa kw’Essanduuko ya Katonda ow’amazima ne ku ekyo ekyali kituuse ku ssezaala we era ne bba.+ 22 Yagamba nti: “Ekitiibwa kivudde mu Isirayiri ne kigenda mu buwaŋŋanguse, olw’okuba Essanduuko ya Katonda ow’amazima ewambiddwa.”+