1 Samwiri
26 Oluvannyuma lw’ekiseera, abasajja b’e Zifu+ baagenda eri Sawulo e Gibeya,+ ne bamugamba nti: “Dawudi yeekwese ku Kasozi Kakira akatunudde mu Yesimoni.”*+ 2 Awo Sawulo n’agenda mu ddungu ly’e Zifu okunoonya Dawudi, ng’ali n’abasajja ba Isirayiri 3,000 abalondemu.+ 3 Sawulo n’asiisira okumpi n’oluguudo ku Kasozi Kakira akatunudde mu Yesimoni. Mu kiseera ekyo Dawudi yali abeera mu ddungu, era yakitegeerako nti Sawulo yali amuwondedde mu ddungu. 4 Dawudi n’atuma abakessi okukakasa obanga ddala Sawulo yali azze. 5 Oluvannyuma Dawudi yagenda mu kifo Sawulo we yali asiisidde, n’alaba Sawulo ne Abuneeri+ mutabani wa Neeri omukulu w’eggye lye we baali beebase; Sawulo yali yeebase munda mu lusiisira ng’abasajja be bamwetoolodde. 6 Awo Dawudi n’abuuza Akimereki Omukiiti+ ne Abisaayi+ mutabani wa Zeruyiya,+ muganda wa Yowaabu nti: “Ani anaagenda nange eri Sawulo mu lusiisira?” Abisaayi n’addamu nti: “Nze nja kugenda naawe.” 7 Ekiro Dawudi ne Abisaayi ne bagenda abasirikale we baali, ne basanga Sawulo nga yeebase mu lusiisira, ng’effumu lye lisimbiddwa mu ttaka okumpi n’omutwe gwe, nga Abuneeri n’abasirikale ba Sawulo beebase nga bamwetoolodde.
8 Abisaayi n’agamba Dawudi nti: “Olwa leero Katonda agabudde omulabe wo mu mukono gwo.+ Kale kaakano ka mmufumite effumu omulundi gumu limuyitemu likwase n’ettaka, era nja kuba seetaaga kumufumita gwa kubiri.” 9 Naye Dawudi n’agamba Abisaayi nti: “Tomukolako kabi, kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe ku oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta+ n’atabaako musango?”+ 10 Dawudi era n’agamba nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu, Yakuwa kennyini y’anaamutta,+ oba olunaku lujja kutuuka+ afe, oba ajja kugenda mu lutalo afiireyo.+ 11 Mu maaso ga Yakuwa tekiba kituufu n’akamu nze okugolola omukono gwange ku oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta!+ Kale kaakano ggyawo effumu n’ensumbi y’amazzi ebiri okumpi n’omutwe gwe, tugende.” 12 Awo Dawudi n’aggyawo effumu n’ensumbi y’amazzi ebyali okumpi n’omutwe gwa Sawulo, ne bagenda. Tewali muntu n’omu eyalaba,+ oba eyamanya, oba eyazuukuka, kubanga bonna baali beebase, olw’okuba Yakuwa yali abaleetedde otulo tungi nnyo. 13 Awo Dawudi n’agenda emitala, n’ayimirira waggulu ku lusozi ng’abeesudde ebbanga ddene.
14 Awo Dawudi n’akoowoola abasirikale ne Abuneeri+ mutabani wa Neeri ng’agamba nti: “Tonziremu Abuneeri?” Abuneeri n’amuddamu nti: “Ani oyo akoowoola kabaka?” 15 Dawudi n’agamba Abuneeri nti: “Toli musajja? Ani alinga ggwe mu Isirayiri? Kale lwaki tokuumye mukama wo kabaka? Kubanga omu ku basirikale abadde azze okutta mukama wo kabaka.+ 16 Ky’okoze si kirungi. Nga Yakuwa bw’ali omulamu, basajja mmwe mugwanidde kufa, kubanga temukuumye mukama wammwe, Yakuwa gwe yafukako amafuta.+ Kaakano tunulatunula olabe! Effumu lya kabaka n’ensumbi y’amazzi+ ebibadde okumpi n’omutwe gwe biri ludda wa?”
17 Sawulo n’ategeera nti eryo ddoboozi lya Dawudi n’agamba nti: “Eryo ddoboozi lyo mwana wange Dawudi?”+ Dawudi n’amuddamu nti: “Lino ddoboozi lyange mukama wange kabaka.” 18 Era n’agattako nti: “Lwaki mukama wange awondera omuweereza we?+ Kiki kye nkoze, era musango ki gwe nnazza?+ 19 Nkwegayiridde mukama wange kabaka, wuliriza omuweereza wo ky’agamba: Yakuwa bw’aba nga y’akumpendulidde, k’akkirize* ekiweebwayo kyange eky’emmere ey’empeke. Naye bwe kiba nga bantu be bakuwendudde,+ ka bakolimirwe mu maaso ga Yakuwa, kubanga bangobye leero nneme kuba na mugabo mu busika bwa Yakuwa,+ nga bagamba nti, ‘Genda oweereze bakatonda abalala!’ 20 Kale toleka musaayi gwange kuyiika ku ttaka wala okuva mu maaso ga Yakuwa. Kabaka wa Isirayiri azze okunoonya enkukunyi emu bw’eti,+ ng’alinga omuntu agoba enkwale ku nsozi.”
21 Awo Sawulo kwe kumuddamu nti: “Nnyonoonye.+ Komawo mwana wange Dawudi; sijja kuddamu kukukolako kabi, kubanga obulamu bwange obututte nga bwa muwendo mungi mu maaso go+ leero. Nkoze kya busirusiru era nkoze ensobi ya maanyi.” 22 Awo Dawudi n’agamba nti: “Effumu lya kabaka liirino, omu ku basajja ajje alinone. 23 Yakuwa y’anaasasula buli muntu ng’obutuukirivu bwe bwe buli+ era ng’obwesigwa bwe bwe buli, kubanga olwa leero Yakuwa akuwaddeyo mu mukono gwange, naye ne sigolola mukono gwange ku oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta.+ 24 Ng’obulamu bwo bwe bubadde obw’omuwendo mu maaso gange olwa leero, obulamu bwange nabwo ka bube bwa muwendo mu maaso ga Yakuwa, era k’annunule mu nnaku yange yonna.”+ 25 Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti: “Oweebwe omukisa mwana wange Dawudi. Ojja kukola ebintu eby’ekitalo era ojja kutuuka ku buwanguzi.”+ Awo Dawudi n’agenda, ne Sawulo naye n’addayo ewuwe.+