1 Samwiri
13 Sawulo yalina emyaka . . .* we yatandikira okufuga,+ era yafugira Isirayiri emyaka ebiri. 2 Sawulo yalonda abasajja 3,000 okuva mu Isirayiri; 2,000 ku bo baali ne Sawulo e Mikumasi ne mu kitundu kya Beseri eky’ensozi, ate 1,000 baali ne Yonasaani+ e Gibeya+ ekya Benyamini. Abantu abalala bonna yabasiibula buli omu n’addayo mu weema ye. 3 Awo Yonasaani n’alwanyisa ekibinja ky’abasirikale Abafirisuuti+ ekyali e Geba+ n’akiwangula, Abafirisuuti ne bakiwulirako. Awo Sawulo n’alagira ne bafuuwa eŋŋombe+ mu ggwanga lyonna, ng’agamba nti: “Abebbulaniya ka bawulire!” 4 Isirayiri yonna n’efuna amawulire agagamba nti: “Sawulo alwanyisizza ekibinja ky’abasirikale Abafirisuuti n’akiwangula, era kati Abafirisuuti bakyayidde ddala Isirayiri.” Awo abantu ne bayitibwa okugoberera Sawulo e Girugaali.+
5 Awo Abafirisuuti nabo ne bakuŋŋaana okulwanyisa Abayisirayiri, nga balina amagaali g’olutalo 30,000 n’abasajja 6,000 abeebagala embalaasi, n’abasirikale bangi nnyo ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja;+ baayambuka ne basiisira e Mikumasi ebuvanjuba wa Besi-aveni.+ 6 Abasajja ba Isirayiri ne balaba nga bali mu buzibu bwa maanyi, olw’okuba omulabe yali abali bubi; awo abantu ne beekweka mu mpuku,+ mu mpompogoma z’omu njazi, mu gayinja, mu bisenge eby’omu ttaka, ne mu binnya omuterekebwa amazzi. 7 Abebbulaniya abamu baasomoka Yoludaani ne bagenda mu kitundu kya Gaadi ne mu Gireyaadi.+ Naye ye Sawulo yali akyali Girugaali, era abantu bonna abaali bamugoberera baali bakankana olw’okutya. 8 Yalindirira okumala ennaku musanvu, ekiseera Samwiri kye yali amulagaanyizza, naye Samwiri n’atajja Girugaali, era abantu ne batandika okumuvaako nga bwe bagenda. 9 Sawulo n’alyoka agamba nti: “Mundeetere ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka ez’emirembe.” N’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa.+
10 Bwe yali yaakamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Samwiri n’atuuka. Awo Sawulo n’agenda okumusisinkana amulamuse. 11 Samwiri n’amugamba nti: “Kiki ky’okoze?” Sawulo n’addamu nti: “Ndabye ng’abantu banvaako nga bagenda,+ ate nga naawe tojjidde mu kiseera kye walagaanya, era nga n’Abafirisuuti bakuŋŋaanidde e Mikumasi.+ 12 Awo ne ŋŋamba muli nti, ‘Abafirisuuti bajja kujja e Girugaali bannwanyise nga sinnaba kwegayirira Yakuwa ankwatirwe ekisa.’ Kyenvudde mpalirizibwa okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa.”
13 Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti: “Okoze kya busirusiru. Togondedde kiragiro Yakuwa Katonda wo kye yakuwa.+ Singa okigondedde, Yakuwa yandinywezezza obwakabaka bwo ku Isirayiri emirembe gyonna. 14 Naye obwakabaka bwo tebujja kuwangaala.+ Yakuwa ajja kufuna omusajja asanyusa omutima gwe,+ era Yakuwa ajja kumussaawo abeere omukulembeze w’abantu be,+ kubanga togondedde ekyo Yakuwa kye yakulagira.”+
15 Awo Samwiri n’asituka n’ava e Girugaali n’agenda e Gibeya ekya Benyamini, era Sawulo n’abala abantu; abantu abaali bakyali naye baali abasajja nga 600.+ 16 Sawulo ne mutabani we Yonasaani awamu n’abantu abaali bakyali nabo baali babeera mu Geba+ ekya Benyamini, ate bo Abafirisuuti baali basiisidde e Mikumasi.+ 17 Abazigu baavanga mu lusiisira lw’Abafirisuuti nga bali mu bibinja bisatu. Ekibinja ekimu kyakwatanga ekkubo erigenda mu Ofula, mu kitundu ky’e Swali; 18 ekibinja ekirala kyakwatanga ekkubo erigenda e Besu-kolooni,+ ate ekibinja eky’okusatu kyakwatanga ekkubo erigenda ku nsalo eriraanye Ekiwonvu Zeboyimu, okwolekera eddungu.
19 Mu kiseera ekyo mu Isirayiri yonna temwalimu muweesi, kubanga Abafirisuuti baali bagambye nti: “Tetwagala Bebbulaniya kukola kitala wadde effumu.” 20 Abayisirayiri bonna baalina kugendanga eri Abafirisuuti okuwagala enkumbi zaabwe, n’ensuuluulu zaabwe, n’embazzi zaabwe, n’ebiwabyo byabwe. 21 Omuwendo ogwasasulwanga okuwagala enkumbi, ensuuluulu, amakabi, embazzi, oba okuwanga omuwunda gwalinga pimu* emu. 22 Ku lunaku olw’okulwana olutalo, tewaali muntu n’omu ku abo abaali ne Sawulo ne Yonasaani eyalina ekitala oba effumu;+ Sawulo ne mutabani we Yonasaani be bokka abaalina eby’okulwanyisa.
23 Ekibinja ky’abasirikale Abafirisuuti kyali kigenze awasomokerwa olukonko lw’e Mikumasi.+