1 Samwiri
20 Awo Dawudi n’adduka okuva e Nayosi mu Laama, n’agenda eri Yonasaani n’amugamba nti: “Kiki kye nnakola?+ Nsobi ki gye nnakola, era kibi ki kye nnakola kitaawo, alyoke ayagale okunzita?” 2 Awo Yonasaani n’amugamba nti: “Ekyo kikafuuwe!+ Tojja kufa. Kitange tasobola kukola kintu kyonna, ka kibe kinene oba kitono, nga takimbuulidde. Lwaki yandibadde ankweka ekintu ekyo? Ekyo tekisoboka.” 3 Naye Dawudi era n’alayira n’agamba nti: “Kitaawo akimanyi bulungi nti onjagala nnyo,+ n’olwekyo ayinza okugamba nti, ‘Yonasaani takimanya, bw’anaakimanya ajja kunakuwala.’ Naye mazima nga Yakuwa bw’ali omulamu era nga naawe bw’oli omulamu, nsigazzaayo ebbanga ttono okufa!”+
4 Awo Yonasaani n’agamba Dawudi nti: “Kyonna ky’oŋŋamba nja kukikukolera.” 5 Dawudi n’agamba Yonasaani nti: “Enkya kuboneka kwa mwezi,+ era nsuubirwa okutuula ne kabaka okuliira awamu naye; ndeka ŋŋende nneekweke ku ttale okutuusa ku lunaku olw’okusatu akawungeezi. 6 Kitaawo bw’anaalaba nga siriiwo n’abuuza, ojja kumugamba nti, ‘Dawudi yansabye mmukkirize agende mangu e Besirekemu+ mu kibuga ky’ewaabwe, yeegatte ku b’ewaabwe bonna ku kuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka.’+ 7 Bw’anaagamba nti, ‘Kirungi!’ kinaaba kitegeeza mirembe eri omuweereza wo. Naye bw’anaasunguwala, ng’omanya nti amaliridde okuntuusaako akabi. 8 Laga omuweereza wo okwagala okutajjulukuka+ kubanga wakola naye endagaano+ mu maaso ga Yakuwa. Naye bwe mba nga nnina ensobi gye nnakola,+ ggwe kennyini nzita. Lwaki ompaayo eri kitaawo?”
9 Awo Yonasaani n’agamba nti: “Ekyo tokirowooza nako! Bwe nnaakitegeera nti kitange amaliridde okukutuusaako akabi, siikubuulire?”+ 10 Awo Dawudi n’agamba Yonasaani nti: “Ani anambuulira obanga kitaawo akuzzeemu bubi?” 11 Yonasaani n’agamba Dawudi nti: “Jjangu tugende ku ttale.” Awo bombi ne bagenda ku ttale. 12 Yonasaani n’agamba Dawudi nti: “Yakuwa Katonda wa Isirayiri k’abeere mujulirwa nti enkya mu budde nga buno, oba ku lunaku olw’okusatu, nja kukemereza kitange. Bw’anaaba nga by’akulowooleza birungi, siikutumire ne nkutegeeza? 13 Naye kitange bw’anaaba ayagala okukukola ekintu ekibi ne sikubuulira era ne sikuleka kugenda mirembe, Yakuwa ambonereze era ayongere ku kibonerezo kyange. Yakuwa k’abeere naawe+ nga bwe yali ne kitange.+ 14 Ggwe tondage kwagala okutajjulukuka okwa Yakuwa nga nkyali mulamu, ne bwe nnaaba nga nfudde?+ 15 Tolekangayo kulaga ba nnyumba yange kwagala okutajjulukuka,+ Yakuwa ne bw’anaaba azikirizza abalabe bo bonna n’abamalawo ku nsi.” 16 Awo Yonasaani n’akola endagaano n’ennyumba ya Dawudi ng’agamba nti, “Yakuwa ajja kuvunaana abalabe ba Dawudi.” 17 Awo Yonasaani n’addamu okulayiza Dawudi olw’okwagala Dawudi kwe yalina gy’ali, kubanga Yonasaani yali ayagala Dawudi nga bwe yali yeeyagala.+
18 Yonasaani n’agamba Dawudi nti: “Enkya kuboneka kwa mwezi,+ era bajja kukwebuuza, kubanga ekifo kyo kijja kuba kyereere. 19 Ku lunaku olw’okusatu bajja kweyongera okukwebuuza, era ojja kugenda mu kifo gye weekweka ku lunaku luli,* obeere okumpi n’ejjinja lino. 20 Nja kulasa obusaale busatu ku luuyi olumu olw’ejjinja, nga nninga aliko kye ndasa. 21 Bwe nnaatuma omuweereza nja kumugamba nti, ‘Genda onoonye obusaale.’ Bwe nnaamugamba nti, ‘Obusaale buli awo okumpi ne w’oli, bulonde,’ awo oyinza okukomawo, kubanga Yakuwa nga bw’ali omulamu, kijja kuba kitegeeza mirembe gy’oli, era nti tewali kabi konna. 22 Naye bwe nnaagamba omulenzi nti, ‘Obusaale buli eri mu maaso,’ awo ojja kugenda, kubanga Yakuwa ajja kuba akugambye ogende. 23 Yakuwa k’abe omujulirwa emirembe gyonna ow’ebyo buli omu by’asuubizza munne.”+
24 Awo Dawudi ne yeekweka ku ttale. Ku kuboneka kw’omwezi, kabaka n’atuula ku kijjulo okulya emmere.+ 25 Kabaka yali atudde mu kifo kye ekya bulijjo okumpi n’ekisenge. Yonasaani yali atudde nga batunuuliganye, Abuneeri+ yali aliraanye Sawulo, naye ekifo kya Dawudi kyali kyereere. 26 Sawulo talina kye yayogera ku lunaku olwo kubanga yalowooza nti: ‘Waliwo ekimutuuseeko ekimufudde atali mulongoofu.+ Ateekwa okuba nga si mulongoofu.’ 27 Olunaku olwaddirira okuboneka kw’omwezi, olunaku olw’okubiri, ekifo kya Dawudi era kyali kyereere. Awo Sawulo n’abuuza Yonasaani mutabani we nti: “Lwaki mutabani wa Yese+ teyazze kulya mmere jjo era n’olwa leero?” 28 Yonasaani n’addamu Sawulo nti: “Dawudi yansabye olukusa agende e Besirekemu.+ 29 Yaŋŋambye nti, ‘Nkwegayiridde nzikiriza ŋŋende, kubanga ab’ewaffe bagenda kuwaayo ssaddaaka mu kibuga, era muganda wange yampise. Kale bw’oba ng’onkwatirwa ekisa, nzikiriza ŋŋende ndabe baganda bange.’ Eyo ye nsonga lwaki tazze ku mmeeza ya kabaka.” 30 Awo Sawulo n’asunguwalira nnyo Yonasaani, n’amugamba nti: “Ggwe omwana w’omukazi omujeemu, olowooza sikimanyi nti osazeewo okudda ku ludda lwa mutabani wa Yese, okweswaza n’okuswaza nnyoko?* 31 Mutabani wa Yese bw’anaaba ng’akyali mulamu ku nsi, obwakabaka bwo tebujja kunywera.+ Kale kaakano tuma omuntu amundeetere, kubanga alina okufa.”*+
32 Naye Yonasaani n’agamba Sawulo kitaawe nti: “Nga lwaki attibwa?+ Akoze ki?” 33 Awo Sawulo n’amukasukira effumu amufumite,+ Yonasaani kwe yategeerera nti kitaawe yali amaliridde okutta Dawudi.+ 34 Amangu ago Yonasaani n’asituka ku mmeeza nga musunguwavu nnyo, era teyalya mmere ku lunaku olw’okubiri olwaddirira okuboneka kw’omwezi, kubanga yali munakuwavu nnyo olwa Dawudi,+ n’olw’okuba nti kitaawe yali amuweebudde.
35 Ku makya Yonasaani yagenda ku ttale okusisinkana Dawudi nga bwe baali balagaanye, era yali n’omuweereza omuto.+ 36 Awo n’agamba omuweereza we nti: “Dduka olonde obusaale bwe ndasa.” Omuweereza n’adduka, Yonasaani n’alasa akasaale ne kayisa omuweereza we ne kagwa mu maaso. 37 Omuweereza bwe yatuuka mu kifo awaali akasaale Yonasaani ke yali alasizza, Yonasaani n’amukoowoola ng’agamba nti: “Akasaale tekali eri mu maaso?” 38 Yonasaani n’agamba omuweereza we nti: “Yanguwa! Genda mangu! Tolwawo!” Omuweereza wa Yonasaani n’alonda obusaale n’addayo eri mukama we. 39 Naye omuweereza teyamanya ekyo kye kyali kitegeeza; Yonasaani ne Dawudi be bokka abaali bamanyi kye kitegeeza. 40 Awo Yonasaani n’akwasa omuweereza we eby’okulwanyisa bye n’amugamba nti: “Bitwale mu kibuga.”
41 Omuweereza bwe yagenda, Dawudi n’avaayo mu kifo ekyali okumpi awo ku luuyi olw’ebukiikaddyo. Awo Dawudi n’afukamira era n’akutamya ku mutwe emirundi esatu, ne banywegeragana nga bwe bakaaba, naye Dawudi ye yasinga okukaaba. 42 Yonasaani n’agamba Dawudi nti: “Genda mirembe, kubanga ffembi tulayidde mu linnya lya Yakuwa,+ ne tugamba nti, ‘Yakuwa abeere wakati wange naawe, ne wakati w’ezzadde lyange n’eriryo emirembe gyonna.’”+
Awo Dawudi n’ayimuka n’agenda, Yonasaani naye n’addayo mu kibuga.