1 Samwiri
22 Awo Dawudi n’ava eyo+ n’addukira mu mpuku y’e Adulamu.+ Baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe bonna bwe baakiwulira, ne bagenda gy’ali. 2 Abantu bonna abaalina ebizibu, abaali babanjibwa, n’abaalina okwemulugunya, baamwegattako n’afuuka omukulu waabwe. Abasajja abaali naye baali nga 400.
3 Oluvannyuma Dawudi yava eyo n’agenda e Mizupe mu Mowaabu n’agamba kabaka wa Mowaabu+ nti: “Nkwegayiridde, kkiriza kitange ne mmange babeere nammwe okutuusa lwe ndimanya Katonda ky’alinkolera.” 4 Awo Dawudi n’abalekera kabaka wa Mowaabu, ne babeera naye ebbanga lyonna Dawudi lye yamala mu kifo ekizibu okutuukamu.+
5 Nga wayiseewo ekiseera, nnabbi Gaadi+ yagamba Dawudi nti: “Lekera awo okubeera mu kifo ekizibu okutuukamu. Genda mu Yuda.”+ Awo Dawudi n’avaayo n’agenda mu kibira ky’e Keresi.
6 Awo Sawulo n’awulira nti Dawudi n’abasajja abaali naye bazuuliddwa. Mu kiseera ekyo Sawulo yali Gibeya+ ng’atudde wansi w’omuti omweseri ku kasozi, ng’akutte effumu lye, era nga n’abaweereza be bonna bamwetoolodde. 7 Awo Sawulo n’agamba abaweereza be abaali bamwetoolodde nti: “Muwulire mmwe Ababenyamini. Mutabani wa Yese+ naye anaabawa mmwe mmwenna ebibanja n’ennimiro z’emizabbibu? Mmwenna anaabafuula abakulu b’enkumi oba abakulu b’ebikumi?+ 8 Mmwenna munneekobaanidde! Tewali n’omu yambuulira nga mutabani wange akoze endagaano ne mutabani wa Yese.+ Tewali n’omu ku mmwe eyannumirirwa n’aŋŋamba nti mutabani wange asenzesenze omuweereza wange okunkolera olukwe, nga bwe kiri kati.”
9 Awo Dowegi+ Omwedomu eyali akulira abaweereza ba Sawulo abaaliwo, n’amuddamu nti:+ “Nnalaba mutabani wa Yese ng’agenze e Nobu eri Akimereki mutabani wa Akitubu.+ 10 Akimereki yeebuuza ku Yakuwa ku lulwe era n’amuwa eby’okulya n’ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti.”+ 11 Amangu ago kabaka n’atumya Akimereki kabona mutabani wa Akitubu ne bakabona bonna ab’ennyumba ya kitaawe abaali e Nobu, bonna ne bajja eri kabaka.
12 Sawulo n’agamba nti: “Wuliriza ggwe mutabani wa Akitubu!” Awo n’amuddamu nti: “Mpulira mukama wange.” 13 Sawulo n’amugamba nti: “Lwaki ggwe ne mutabani wa Yese mwanneekobaanira, n’omuwa emigaati n’ekitala, era ne weebuuza ku Katonda ku lulwe? Afuuse mulabe wange era anteega, nga bwe kiri kati.” 14 Awo Akimereki n’addamu kabaka nti: “Ani mu baweereza bo eyeesigika* nga Dawudi?+ Ye bba wa muwala wa kabaka+ era y’akulira abakuumi bo, era assibwamu ekitiibwa mu nnyumba yo.+ 15 Ogwo gwe mulundi gwe nnali nsoose okwebuuza ku Katonda ku lulwe?+ Siyinza kukola kintu ng’ekyo ky’ogambye! Kabaka k’aleme okulowooleza ekintu ekibi kyonna omuweereza we n’ab’ennyumba ya kitange bonna, kubanga omuweereza wo talina kye yali amanyi ku bintu ebyo.”+
16 Naye kabaka n’agamba nti: “Ojja kufa+ Akimereki, ggwe n’ab’ennyumba ya kitaawo bonna.”+ 17 Awo kabaka n’agamba abakuumi* abaali bamwetoolodde nti: “Mugende mutte bakabona ba Yakuwa, kubanga beekobaana ne Dawudi. Baakimanya nti anziruseeko naye ne batambuulira!” Kyokka abaweereza ba kabaka baali tebaagala kugolola mikono gyabwe kutta bakabona ba Yakuwa. 18 Awo kabaka n’agamba Dowegi+ nti: “Ggwe genda otte bakabona!” Amangu ago Dowegi Omwedomu+ n’agenda n’atta bakabona. Ku lunaku olwo yatta abasajja 85 abaali bambadde efodi eya kitaani.+ 19 Ate era yagenda n’e Nobu+ ekibuga kya bakabona, n’atta n’ekitala abasajja n’abakazi, abaana abato n’abayonka, ente, endogoyi, n’endiga.
20 Naye Abiyasaali,+ omu ku batabani ba Akimereki mutabani wa Akitubu, yadduka n’agenda okugoberera Dawudi. 21 Abiyasaali n’agamba Dawudi nti: “Sawulo asse bakabona ba Yakuwa.” 22 Dawudi n’agamba Abiyasaali nti: “Ku lunaku olwo+ Dowegi Omwedomu yaliwo, era nnakimanya nti yali ajja kugamba Sawulo. Nze nvunaanyizibwa okufa kw’abantu bonna ab’omu nnyumba ya kitaawo. 23 Sigala nange. Totya, kubanga oyo yenna ayagala okukutta nange aba ayagala kunzita; nja kukukuuma.”+