EKITABO EKY’OKUNA
(Zabbuli 90-106)
Essaala ya Musa, omusajja wa Katonda ow’amazima.+
90 Ai Yakuwa, obadde kigo kyaffe+ mu mirembe gyonna.
2 Ensozi nga tezinnazaalibwa,
Era nga tonnakola nsi n’ebigirimu,+
Okuva emirembe gyonna okutuusa emirembe gyonna, ggwe Katonda.+
3 Ozzaayo omuntu mu nfuufu;
Ogamba nti: “Muddeeyo mmwe abaana b’abantu.”+
4 Mu maaso go emyaka olukumi giringa olwa jjo olwayise,+
Giringa ekisisimuka ekimu mu kiro.
5 Obaggyawo mangu;+ babulawo ng’ekirooto
Ku makya baba ng’omuddo ogumera.+
6 Ku makya gumulisa ne gudda buggya,
Naye we buwungeerera guba guwotose nga gukaze.+
7 Obusungu bwo butumalawo.+
N’ekiruyi kyo kitutiisa.
8 Ensobi zaffe oziteeka mu maaso go;+
Ekitangaala ky’omu maaso go kyanika bye tukola mu kyama.+
9 Ennaku zaffe zigenda zikendeera olw’obusungu bwo;
Emyaka gyaffe giggwaawo mangu ng’okussa ekikkowe.
10 Tuwangaala emyaka 70,
Oba 80,+ omuntu bw’aba omugumu ennyo.
Naye giba gijjudde ebizibu n’ennaku;
Giyita mangu ne tubulawo.+
11 Ani ayinza okumanya amaanyi g’obusungu bwo?
Obusungu bwo bwa maanyi ng’okutya kw’ogwanidde okutiibwa.+
12 Tuyigirize engeri gye tusaanidde okubalamu ennaku zaffe+
Tusobole okufuna omutima ogw’amagezi.
13 Komawo, Ai Yakuwa!+ Embeera eno eneemala bbanga ki?+
Saasira abaweereza bo.+
14 Ku makya tukkuse okwagala kwo okutajjulukuka,+
Tusobole okwogerera waggulu n’essanyu era tujaganye+ ennaku zaffe zonna.
15 Tuwe essanyu erituukana n’ennaku z’omaze ng’otulabya ennaku,+
Erituukana n’emyaka gye tumaze nga tubonaabona.+
16 Abaweereza bo ka balabe by’okola
N’abaana baabwe ka balabe obulungi bwo.+
17 Ekisa kya Yakuwa Katonda waffe ka kitubeereko;
Wa emirimu gy’emikono gyaffe omukisa.
Weewaawo, emirimu gy’emikono gyaffe giwe omukisa.+