Oluyimba olw’Okwambuka. Zabbuli ya Dawudi.
133 Laba! Nga kirungi era nga kisanyusa
Ab’oluganda okubeera awamu nga bali bumu!+
2 Kiringa amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe+
Agakulukutira ku kirevu,
Ku kirevu kya Alooni,+
Ne gaserengeta ku kitogi ky’ebyambalo bye.
3 Kiringa omusulo gw’oku Lusozi Kerumooni+
Ogugwa ku nsozi za Sayuuni.+
Eyo Yakuwa gye yalagira omukisa gwe okuba
—Obulamu obutaggwaawo.