Zabbuli
Zabbuli ya Dawudi.
141 Ai Yakuwa, nkukoowoola.+
Yanguwa ojje onnyambe.+
Mpuliriza nga nkukoowoola.+
2 Okusaba kwange ka kube ng’obubaani+ obuteekeddwateekeddwa mu maaso go,+
Emikono gyange egiyimusiddwa ka gibe ng’ekiweebwayo eky’akawungeezi eky’emmere ey’empeke.+
3 Ai Yakuwa, ssaawo omukuumi ku kamwa kange,
Ssaawo omukuumi ku luggi lw’emimwa gyange.+
4 Tokkiriza mutima gwange kwagala kintu kyonna kibi+
Okwegatta wamu n’ababi mu kukola ebintu ebibi;
Ka nneme kulyanga ku mmere yaabwe ennungi.
5 Omutuukirivu bw’ankuba, kiba kikolwa ekyoleka okwagala okutajjulukuka;+
Bw’annenya, kiba ng’amafuta agafukiddwa ku mutwe gwange,+
Omutwe gwange ge gutayinza kugaana.+
Ne bwe banaaba bali mu buzibu nja kweyongera okusaba.
6 Abalamuzi b’abantu ne bwe basuulibwa okuva waggulu ku kagulungujjo,
Abantu bajja kussaayo omwoyo eri ebigambo byange, kubanga bisanyusa.
7 Ng’omuntu bw’akabala ettaka n’alikubaakuba,
N’amagumba gaffe bwe gatyo bwe gasaasaanyiziddwa ku mumwa gw’amagombe.*
8 Naye amaaso gange gatunuulira ggwe, Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna.+
Nzirukidde gy’oli.
Obulamu bwange tobuggyaawo.
9 Nkuuma nneme kugwa mu mutego gwe banteze,
Nneme kugwa mu byambika by’ababi.
10 Ababi bajja kugwa mu bitimba byabwe,+
Naye nze nja kuyitawo mirembe.