Okubikkulirwa
1 Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe yamuwa+ okulaga abaddu be+ ebintu ebiteekwa okubaawo amangu. Era Yesu yatuma malayika we n’ategeeza omuddu we Yokaana+ okubikkulirwa okwo mu bubonero. 2 Yokaana yawa obujulirwa ku kigambo Katonda kye yawa, ne ku bujulirwa Yesu Kristo bwe yawa, kwe kugamba, ku bintu byonna bye yalaba. 3 Alina essanyu oyo asoma mu ddoboozi eriwulikika ebigambo by’obunnabbi buno, n’abo ababiwulira era abakwata ebintu ebiwandiikiddwa mu bwo,+ kubanga ekiseera ekigereke kiri kumpi.
4 Nze Yokaana mpandiikira ebibiina omusanvu+ ebiri mu ssaza ly’e Asiya:
Mbaagaliza ekisa eky’ensusso n’emirembe ebiva eri “Oyo aliwo era eyaliwo era agenda okujja,”+ n’eri emyoyo omusanvu+ egiri mu maaso g’entebe ye, 5 n’eri Yesu Kristo, “Omujulirwa Omwesigwa,”+ “Omubereberye okuva mu bafu,”+ era “Omufuzi wa bakabaka b’ensi.”+
Oyo atwagala+ era eyatusumulula okuva mu bibi byaffe okuyitira mu musaayi gwe+— 6 n’atufuula obwakabaka,+ bakabona+ ba Katonda we era Kitaawe—aweebwe ekitiibwa n’obuyinza emirembe n’emirembe. Amiina.
7 Laba! Ajja n’ebire era buli liiso lirimulaba,+ era n’abo abaamufumita balimulaba; era ebika byonna eby’oku nsi birikuba ebiwoobe ku lulwe.+ Weewaawo, Amiina.
8 “Nze Alufa era nze Omega,*+ aliwo era eyaliwo era agenda okujja, Omuyinza w’Ebintu Byonna,”+ Yakuwa* Katonda bw’agamba.
9 Nze Yokaana muganda wammwe, era agabana nammwe ku kubonaabona+ ne ku bwakabaka+ era ne ku kugumiikiriza+ ng’omugoberezi wa Yesu,+ nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo olw’okwogera ebikwata ku Katonda n’olw’okuwa obujulirwa ku Yesu. 10 Omwoyo omutukuvu gwantwala mu lunaku lwa Mukama waffe ne mpulira eddoboozi eddene emabega wange eryalinga ery’ekkondeere, 11 nga ligamba nti: “By’olaba biwandiike mu muzingo oguweereze ebibiina omusanvu: eky’e Efeso,+ eky’e Sumuna,+ eky’e Perugamo,+ eky’e Suwatira,+ eky’e Saadi,+ eky’e Firaderufiya,+ n’eky’e Lawodikiya.”+
12 Awo ne nkyuka okulaba eyali ayogera nange, era bwe nnakyuka, ne ndaba ebikondo by’ettaala ebya zzaabu musanvu,+ 13 era wakati w’ebikondo by’ettaala waaliwo eyali afaanana ng’omwana w’omuntu+ ng’ayambadde ekyambalo ekituukira ddala ku bigere, era nga yeesibye mu kifuba omusipi ogwa zzaabu. 14 Omutwe gwe n’enviiri ze byali byeru ng’ebyoya by’endiga ebyeru, era byali byeru ng’omuzira. Ate amaaso ge gaali ng’ennimi z’omuliro,+ 15 era ebigere bye byali ng’ekikomo ekirungi+ ekyakaayakana mu kyoto mwe basaanuusiza ebyuma; eddoboozi lye lyali ng’ery’amazzi amangi agayira. 16 Yalina emmunyeenye musanvu+ mu mukono gwe ogwa ddyo era mu kamwa ke mwali muvaamu ekitala ekyogi, ekiwanvu, ekisala eruuyi n’eruuyi,+ era obwenyi bwe bwali ng’enjuba eyaka ennyo.+ 17 Bwe nnamulaba, ne ngwa ku bigere bye nga nninga afudde.
N’ankwatako n’omukono gwe ogwa ddyo n’aŋŋamba nti: “Totya. Nze ow’Olubereberye+ era ow’Enkomerero,+ 18 era omulamu;+ nnafa,+ naye laba! kati ndi mulamu emirembe n’emirembe,+ era nnina ebisumuluzo by’okufa n’eby’amagombe.*+ 19 N’olwekyo, wandiika ebintu by’olabye n’ebiriwo n’ebigenda okubaawo oluvannyuma lwa bino. 20 Amakulu g’ekyama ekitukuvu eky’emmunyeenye omusanvu z’olabye mu mukono gwange ogwa ddyo, n’ag’ebikondo by’ettaala ebya zzaabu omusanvu ge gano: Emmunyeenye omusanvu zitegeeza bamalayika ab’ebibiina omusanvu, ate ebikondo by’ettaala omusanvu bitegeeza ebibiina omusanvu.+