Okubikkulirwa
10 Ne ndaba malayika omulala ow’amaanyi ng’akka okuva mu ggulu, ng’ayambadde* ekire, ku mutwe gwe nga kuliko musoke, obwenyi bwe bwalinga enjuba,+ era amagulu ge* gaalinga empagi z’omuliro. 2 Yalina mu mukono gwe omuzingo omutono oguzinguluddwa. N’ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja ate ekya kkono n’akiteeka ku nsi, 3 n’ayogera n’eddoboozi eddene ng’empologoma ewuluguma.+ Bwe yayogera n’eddoboozi eddene, ebibwatuka omusanvu+ ne byogera n’amaloboozi gaabyo.
4 Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera, nnali ŋŋenda kuwandiika naye ne mpulira eddoboozi okuva mu ggulu+ nga ligamba nti: “Teeka akabonero ku bintu ebibwatuka omusanvu bye byogedde era tobiwandiika.” 5 Malayika gwe nnalaba ng’ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri ggulu, 6 n’alayira mu linnya ly’Oyo abeerawo emirembe n’emirembe,+ eyatonda eggulu n’ebintu ebiririmu n’ensi n’ebintu ebigiriko n’ennyanja n’ebintu ebigirimu,+ n’agamba nti: “Tewajja kubaawo kulwa nate. 7 Naye mu kiseera nga malayika ow’omusanvu+ anaatera okufuuwa ekkondeere lye,+ ekyama ekitukuvu+ Katonda kye yabuulira abaddu be bannabbi+ ng’amawulire amalungi kijja kukomekkerezebwa.”
8 Era ne mpulira eddoboozi okuva mu ggulu+ nga lyogera nange nate, ne liŋŋamba nti: “Genda okwate omuzingo oguzinguluddwa oguli mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi.”+ 9 Ne ŋŋenda eri malayika ne mmugamba ampe omuzingo omutono. N’aŋŋamba nti: “Gukwate ogulye,+ era gujja kukaaya olubuto lwo naye mu kamwa ko gujja kuwoomerera ng’omubisi gw’enjuki.” 10 Ne nzigya omuzingo omutono mu mukono gwa malayika ne ngulya,+ ne guwoomerera ng’omubisi gw’enjuki+ mu kamwa kange; naye bwe nnamala okugulya ne gukaaya olubuto lwange. 11 Ne baŋŋamba nti: “Oteekwa okwogera nate obunnabbi obukwata ku bantu, ku mawanga, ku nnimi, ne ku bakabaka bangi.”