Okubikkulirwa
2 “Malayika+ ow’omu kibiina ky’e Efeso+ muwandiikire nti: Oyo akutte emmunyeenye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo era atambulira wakati w’ebikondo by’ettaala ebya zzaabu omusanvu,+ agamba bw’ati: 2 ‘Mmanyi ebikolwa byo n’okufuba kwo n’obugumiikiriza bwo, era mmanyi nti toyinza kugumiikiriza basajja babi, era mmanyi nti wagezesa abo abeeyita abatume+ so nga si batume, n’okizuula nti balimba. 3 Ate era oyoleka obugumiikiriza, ogumidde ebintu bingi ku lw’erinnya lyange+ era tokooye.+ 4 Naye nnina kye nkuvunaana: waleka okwagala kwe walina mu kusooka.
5 “‘N’olwekyo, jjukira gye wava n’ogwa, weenenye+ okole ebikolwa byo eby’edda. Bw’oteenenye+ nzija gy’oli, era nja kuggyawo ekikondo ky’ettaala+ yo mu kifo kyakyo. 6 Naye waliwo ekintu ekirungi ky’okola: okyawa ebikolwa by’akabiina ka Nikolaawo+ nange bye nkyawa. 7 Oyo alina okutu awulire omwoyo kye gugamba ebibiina:+ Awangula+ nja kumukkiriza okulya ku muti ogw’obulamu+ oguli mu lusuku lwa Katonda.’
8 “Malayika ow’omu kibiina ky’e Sumuna muwandiikire nti: oyo ‘ow’Olubereberye era ow’Enkomerero,’+ eyafa era n’aba mulamu agamba bw’ati:+ 9 ‘Mmanyi okubonaabona kwo n’obwavu bwo—naye oli mugagga+—n’okuvvoola kw’ovvoolebwa abo abeeyita Abayudaaya so nga si Bayudaaya, wabula kkuŋŋaaniro lya Sitaani.+ 10 Totya bintu ebibi ebinaatera okukutuukako.+ Laba! Omulyolyomi ajja kusuulanga abamu ku mmwe mu kkomera, mugezesebwe mu bujjuvu era mubonaabone okumala ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuukira ddala ku kufa, nja kukuwa engule ey’obulamu.+ 11 Oyo alina okutu awulire+ omwoyo kye gugamba ebibiina: Oyo awangula,+ okufa okw’okubiri+ tekulimukolako kabi.’
12 “Malayika ow’omu kibiina ky’e Perugamo muwandiikire nti: Oyo alina ekitala ekyogi, ekiwanvu, era ekisala eruuyi n’eruuyi, agamba bw’ati:+ 13 ‘Mmanyi gy’obeera, kwe kugamba, awali entebe ya Sitaani; naye onyweredde ku linnya lyange+ era teweegaana kukkiriza kw’onninamu+ wadde ne mu nnaku za Antipasi, omujulirwa wange omwesigwa+ eyattirwa+ ewammwe, Sitaani gy’abeera.
14 “‘Naye nnina ebitonotono bye nkuvunaana. Eyo olinayo abanyweredde ku kuyigiriza kwa Balamu+ eyayigiriza Balaki+ okussa enkonge mu maaso g’abaana ba Isirayiri balye ebiweereddwayo eri ebifaananyi era beenyigire mu bikolwa eby’obugwenyufu.*+ 15 Ate era olina n’abo abanyweredde ku njigiriza z’akabiina ka Nikolaawo.+ 16 Kale weenenye. Bw’oteenenye nzija mangu era nja kulwana nabo nga nkozesa ekitala ekiwanvu eky’omu kamwa kange.+
17 “‘Oyo alina okutu awulire omwoyo kye gugamba ebibiina:+ Oyo awangula+ nja kumuwa ku mmaanu eyakwekebwa,+ era nja kumuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eppya eritamanyiddwa muntu yenna okuggyako oyo anaaweebwa erinnya eryo.’
18 “Malayika ow’omu kibiina ky’e Suwatira+ muwandiikire nti: Omwana wa Katonda alina amaaso agali ng’ennimi z’omuliro+ n’ebigere ebiri ng’ekikomo ekirungi+ agamba bw’ati: 19 ‘Mmanyi ebikolwa byo, okwagala kwo, okukkiriza kwo, obuweereza bwo n’obugumiikiriza bwo, era mmanyi nti ebikolwa byo eby’oluvannyuma bisinga eby’olubereberye.
20 “‘Naye nnina kye nkuvunaana: ogumiikiriza omukazi oyo Yezebeeri+ eyeeyita nnabbi, ayigiriza era n’akyamya abaddu bange okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu*+ n’okulya ebiweereddwayo eri ebifaananyi. 21 Nnamuwa ekiseera yeenenye naye tayagala kwenenya alekeyo ebikolwa bye eby’obugwenyufu.* 22 Laba! Nnaatera okumusuula ku ndiri era n’abo abenda naye nja kubatuusaako okubonaabona okw’amaanyi singa tebeenenya ne balekayo ebikolwa bye. 23 Era abaana be nja kubaleetera ekirwadde kibatte, ebibiina byonna bimanye nti nze nkebera ebirowoozo eby’omunda ddala* n’emitima, era nti buli omu ku mmwe nja kumuwa ekimugwanira, okusinziira ku bikolwa bye.+
24 “‘Naye mmwe mmwenna abasigaddewo abali mu Suwatira, mmwe mmwenna abatagoberera kuyigiriza okwo, abatamanyi ebyo abamu bye bayita “ebintu bya Sitaani eby’omunda,”+ mbagamba nti: Sibatikka mugugu mulala. 25 Naye munywerere ku ekyo kye mulina okutuusa lwe ndijja.+ 26 Era oyo awangula n’anywerera ku bikolwa byange okutuukira ddala ku nkomerero, ndimuwa obuyinza ku mawanga,+ 27 nga nange bwe nnabufuna okuva eri Kitange, era alirunda abantu n’omuggo ogw’ekyuma+ baatikeyatike ng’ebibya eby’ebbumba, 28 era ndimuwa emmunyeenye ey’oku makya.+ 29 Oyo alina okutu awulire omwoyo kye gugamba ebibiina.’