ESSUULA 32
Engeri Yesu Gye Yakuumibwamu
EMIRUNDI egimu, Yakuwa akola ebintu mu ngeri eyewuunyisa okusobola okukuuma abaana abato oba ebitonde ebirala ebikyali ebito ebitasobola kwekuuma. Singa ogendako mu bitundu eby’omu byalo, oyinza okulaba emu ku ngeri Yakuwa gy’akolamu kino. Naye mu kusooka oyinza obutategeerera ddala ekyo ekiba kigenda mu maaso.
Akanyonyi kajja ne kagwa okumpi ne w’oyimiridde. Kalabika ng’akafunye ekizibu. Bw’okasemberera, nako keeyongerayo mu maaso nga kalinga akamenyese ekimu ku biwaawaatiro byako. Bwe weeyongera okukagoberera, nako nga keeyongererayo. Awo ogenda okulaba nga kabuuka kagenda. Mu butuufu, ekiwaawaatiro kyako kibadde tekimenyese. Omanyi akanyonyi ako kye kabadde kakola?—
Okumpi awo n’akanyonyi ako we kaagudde, waabaddewo obwana bwako nga kabukwese mu nsiko. Maama waabwo yabadde atya nti ojja kubulaba obutuuseeko akabi. N’olwekyo yeefudde ng’amenyese ekiwaawaatiro asobole okukuggya awali obwana bwe. Omanyi oyo ayinza okutukuuma ng’akanyonyi bwe kakuuma obwana bwako?— Mu Bayibuli, Yakuwa ageraageranyizibwa ku kinyonyi ekiyitibwa empungu ekiyamba abaana baakyo.—Ekyamateeka 32:11, 12.
Omwana wa Yakuwa gw’asingayo okwagala ye Yesu. Yesu bwe yali mu ggulu, yali muntu wa mwoyo era nga wa maanyi nnyo nga Kitaawe. Yali asobola okwerabirira. Naye Yesu bwe yali ku nsi nga muwere, yali tasobola kwerabirira. Yali yeetaaga obukuumi.
Okusobola okukola Katonda by’ayagala ku nsi, Yesu yalina okufuuka omuntu omukulu atuukiridde. Kyokka Sitaani yagezaako okutta Yesu ng’ekyo tekinnabaawo. Ebyo ebikwata ku ngeri Sitaani gye yagezaako okutta Yesu ng’akyali muto era n’engeri Yakuwa gye yamukuumamu, byewuunyisa. Wandyagadde okubimanya?—
Nga wayiseewo akaseera katono oluvannyuma lw’okuzaalibwa kwa Yesu, Sitaani yakozesa ekintu ekyalabika ng’emmunyeenye okwaka mu ggulu ku luuyi olw’Ebuvanjuba. Abasajja abalaguzisa emmunyeenye baatambula mayiro nnyingi nga baagoberera emmunyeenye eyo okutuukira ddala e Yerusaalemi. Nga bali eyo, baabuuza ekifo kabaka w’Abayudaaya gye yali ow’okuzaalibwa. Abo abaali bamanyi ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nsonga eyo bwe baabuuzibwa, baddamu nti: “Mu Besirekemu.”—Matayo 2:1-6.
Nga kabaka omubi Kerode ow’omu Yerusaalemi amaze okuwulira ebikwata ku kabaka eyali yaakazaalibwa mu Besirekemu, akabuga akaali okumpi awo, yagamba abasajja abalaguzisa emmunyeenye nti: ‘Munoonye muzuule omwana, oluvannyuma mukomewo mumbuulire.’ Omanyi ensonga lwaki Kerode yali ayagala okumanya Yesu we yali?— Kubanga Kerode yali akwatiddwa obuggya era ng’ayagala okutta Yesu!
Katonda yakuuma atya Omwana we?— Abasajja abalaguzisa emmunyeenye bwe bajja okulaba Yesu, baamuwa ebirabo. Oluvannyuma Katonda yabalabula mu kirooto baleme okuddayo eri Kerode. N’olwekyo mu kifo ky’okuddayo e Yerusaalemi, baayita mu kkubo eddala nga baddayo ewaabwe. Kerode yanyiiga nnyo bwe yakitegeera nti abalaguzisa emmunyeenye bagenze. Ng’ayagala okutta Yesu, Kerode yalagira batte abaana ab’obulenzi bonna abaali mu Besirekemu abaali bataweza myaka ebiri. Naye mu kiseera ekyo Yesu yali takyali mu Besirekemu.
Omanyi engeri Yesu gye yawonamu okuttibwa?— Abalaguzisa emmunyeenye bwe baali bazzeeyo ewaabwe, Yakuwa yagamba Yusufu bba wa Maliyamu okuddukira e Misiri. Nga bali eyo, Kerode yali tayinza kutta Yesu. Oluvannyuma lw’emyaka, nga Maliyamu ne Yusufu bakomyewo ne Yesu okuva e Misiri, Katonda yaddamu okulabula Yusufu. Yamugamba mu kirooto okugenda e Nazaaleesi, Yesu gy’atandituukidwako kabi.—Matayo 2:7-23.
Olaba engeri Yakuwa gye yakuumamu Omwana we?— Olowooza ani alinga obunyonyi obuto maama waabwo bwe yakweka mu nsiko oba alinga Yesu bwe yali ng’akyali muto? Si ye ggwe?— Naawe waliwo abaagala okukutuusaako akabi. Obamanyi?—
Bayibuli egamba nti Sitaani alinga empologoma ewuluguma eyagala okutulya. Ng’empologoma bw’etera okulumba ebisolo ebito, Sitaani ne badayimooni be nabo baagala okutuusa akabi ku baana abato. (1 Peetero 5:8) Naye Yakuwa asinga Sitaani amaanyi. Yakuwa asobola okukuuma abaana abato oba okumalawo ebizibu byonna Sitaani by’abatuusaako.
Okusinziira ku ebyo bye twayiga mu Ssuula ey’ekkumi, okyajjukira ekyo Omulyolyomi ne badayimooni be kye baagala tukole?— Yee, baagala twenyigire mu bikolwa eby’okwegatta ebitasanyusa Katonda. Naye baani bokka abasaanidde okwegatta?— Yee, abantu abakulu abatafaananya kikula era nga bafumbo.
Naye eky’ennaku kiri nti abantu abamu abakulu baagala okwegatta n’abaana abato. Bwe beegatta n’abaana abo, kiyinza okuviirako abaana abalenzi n’abawala okutandika okukola ebintu ebibi bye bayigidde ku bakulu. Era bayinza okutandika okukozesa ebitundu byabwe eby’ekyama mu ngeri etasaana. Kino kye kyaliwo edda ennyo mu kibuga Sodoma. Bayibuli egamba nti abantu b’omu kibuga ekyo, ‘okuva ku mulenzi okutuuka ku musajja omukadde,’ baali baagala okwegatta n’abasajja abaali bazze okukyalira Lutti.—Olubereberye 19:4, 5.
N’olwekyo, nga Yesu bwe yali yeetaaga obukuumi, naawe weetaaga okukuumibwa, abantu abakulu n’abaana abalala baleme okwegatta naawe. Emirundi mingi, abantu bano beefuula okuba mikwano gyo. Bayinza n’okubaako kye bakuwa singa obagamba nti tojja kubuulirako muntu yenna ekyo kye baagala okukukola. Naye okufaananako Sitaani ne badayimooni be, abantu bano beerowoozaako bokka era baagala kwesanyusa bokka. Era baagala okwesanyusa nga beegatta n’abaana abato. Kino kikyamu nnyo!
Omanyi kye bayinza okukola?— Bayinza okugezaako okukwata ku bitundu byo eby’ekyama. Oba bayinza n’okuteeka ebitundu byabwe eby’ekyama ku bibyo. Naye tokkirizanga muntu yenna kuzanyisa bitundu byo eby’ekyama, k’abe muganda wo, mwannyoko, maama wo oba taata wo.
Oyinza otya okwekuuma abantu abakola ebintu ebibi ng’ebyo?— Okusookera ddala, tokkiriza muntu yenna kuzannyisa bitundu byo eby’ekyama. Singa omuntu agezaako okukola ekyo, yogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Nvaako! Ŋŋenda kukuloopa!” Omuntu oyo bw’akugamba nti ggwe ali mu nsobi olw’ekyo ekibaddewo, tokkiriza. Si kituufu. Ggwe genda omuloope k’abe ani! Ekyo osaanidde okukikola ne bw’akugamba nti ekyo kye mukoze mulina kukikuuma nga kyama. Omuntu oyo ne bw’akusuubiza okukuwa ebirabo oba ne bw’akutiisatiisa, osaanidde okuva waali n’omuloopa.
Tolina kutya, naye olina okuba omwegendereza. Bazadde bo bwe bakulabula ku bantu abamu oba ku bifo ebiyinza okuba eby’akabi gy’oli, osaanidde okubawuliriza. Ekyo bw’onookikola, kijja kukuyamba okwewala abantu ababi abasobola okukutuusaako kabi.
Soma ebyawandiikibwa bino ebiraga engeri gy’oyinza okwewala ebikolwa ebikyamu eby’okwegatta: Olubereberye 39:7-12; Engero 4:14-16; 14:15, 16; 1 Abakkolinso 6:18; ne 2 Peetero 2:14.