KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE | NUUWA
‘Yawonyezebwawo n’Abalala Musanvu’
KUBA akafaananyi nga Nuuwa n’ab’omu maka ge bali mu lyato. Bawulira enkuba etonnya obutasalako era amazzi gasuukunda eryato. Enkuba eteekwa okuba nga yali ya maanyi nnyo.
Mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo, Nuuwa alina okuba nga yasanyuka nnyo okulaba nga mukyala we, batabani be, ne baka batabani be bonna bali naye mu lyato era nga balamu bulungi. Ateekwa okuba nga yakulembera ab’omu maka ge mu kusaba nga beebaza Katonda.
Nuuwa yalina okukkiriza okw’amaanyi. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa Katonda we yamuwonyaawo n’ab’omu maka ge. (Abebbulaniya 11:7) Naye enkuba bwe yatandika okutonnya baali bakyetaaga okuba n’okukkiriza? Yee, kubanga ennaku ezandiddiridde zandibadde nzibu nnyo. Mu ngeri y’emu, mu nnaku zino enzibu naffe twetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. Ka tulabe bye tusobola okuyigira ku Nuuwa.
“ENNAKU AMAKUMI ANA EMISANA N’EKIRO”
Enkuba yatonnyera “ennaku amakumi ana emisana n’ekiro.” (Olubereberye 7:4, 11, 12) Amazzi bwe geeyongera okutumbiira, Nuuwa yakiraba nti Yakuwa Katonda we yali awonyaawo abatuukirivu ate nga mu kiseera kye kimu azikiriza ababi.
Amataba bwe gaali tegannajja, waaliwo ebikolwa ebibi bingi nnyo ku nsi. Sitaani yaleetera bamalayika bangi okujeemera Katonda. Baaleka “ebifo byabwe ebituufu bye baalina okubeeramu” mu ggulu ne bajja ku nsi ne bafuna abakazi. Abakazi abo baazaala abaana abawagguufu abaayitibwanga Abanefuli. (Yuda 6; Olubereberye 6:4) Ekyo kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Sitaani kubanga kyaviirako abantu okwongera okwonooneka.
Amataba bwe gaatandika, bamalayika abo abajeemu beeyambulako emibiri gy’abantu ne baddayo mu ggulu era okuva olwo tebakyasobola kweyambaza mibiri gya bantu. Bakazi baabwe, abaana baabwe abawagguufu, n’abantu bonna ababi abaaliwo mu kiseera ekyo baafiira mu mataba.
Okuviira ddala mu kiseera kya Enoka, ng’ekyabulayo ebyasa nga musanvu amataba gajje, Yakuwa yalabula abantu nti yali agenda kuzikiriza ababi. (Olubereberye 5:24; Yuda 14, 15) Kyokka, okuva mu kiseera ekyo abantu baali beeyongera bweyongezi kuba babi. Ekiseera kyatuuka Katonda n’abazikiriza. Abantu bwe baali bazikirizibwa, Nuuwa n’ab’omu maka ge baasanyuka?
Nedda, era ne Katonda teyasanyuka. (Ezeekyeri 33:11) Yakuwa yali akoze kyonna ekisoboka okuwonyaawo abantu. Yatuma Enoka okubalabula, era n’agamba Nuuwa okuzimba eryato. Nuuwa n’ab’omu maka ge baamala emyaka mingi nga bazimba eryato eryo eryali eddene ennyo, era abantu baali babalaba. Okugatta ku ebyo, Nuuwa yali ‘mubuulizi w’obutuukirivu.’ (2 Peetero 2:5) Okufaananako Enoka, Nuuwa yalabula abantu nti Katonda yali agenda kuzikiriza abantu ababi. Abantu baakolawo ki? Yesu eyali mu ggulu mu kiseera ekyo ng’alaba ebigenda mu maaso, oluvannyuma yagamba nti abantu b’omu kiseera kya Nuuwa ‘tebeefiirayo okutuusa amataba lwe gajja ne gabasaanyaawo bonna.’—Matayo 24:39.
Teeberezaamu embeera bwe yali nga Nuuwa n’ab’omu maka ge bali mu lyato okumala ennaku 40 ng’enkuba etonnya. Bo omunaana bateekwa okuba nga baali beekolera mirimu gyabwe gamba ng’okulabirira ebisolo ebyali mu lyato. Baagenda okuwulira ng’eryato lyesuukunda era nga litandika okuseeyeeya ku mazzi. Amazzi geeyongera okutumbiira ne galisitula ne “liwanikibwa waggulu w’ensi.” (Olubereberye 7:17) Yakuwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna ng’alina amaanyi mangi nnyo!
Nuuwa ateekwa okuba nga yeebaza nnyo Katonda si lwa kumuwonyaawo n’ab’omu maka ge kyokka, naye era n’olw’okuba omusaasizi n’abatuma okulabula abantu ng’amataba teganajja. Kyali kiyinza okulabika nga Nuuwa n’ab’omu maka ge abaali bamala ebiseera okulabula abantu, kubanga abantu baali bakakanyavu nnyo. Nuuwa ateekwa okuba nga yalina baganda be, bannyina, n’ab’eŋŋanda ze abalala, kyokka teri n’omu ku bo yamuwuliriza okuggyako ab’omu maka ge bokka. (Olubereberye 5:30) Naye Nuuwa n’ab’omu maka ge bwe baali mu lyato, balina okuba nga baabudaabudibwa nnyo bwe baalowoozanga ku kiseera kye baamala nga bagezaako okutaasa obulamu bw’abantu abo.
Yakuwa takyukanga. (Malaki 3:6) Yesu Kristo yagamba nti ekiseera kye tulimu kifaananako “ennaku za Nuuwa.” (Matayo 24:37) Tuli mu kiseera ekizibu ennyo, ekijja kukoma ng’omulembe guno omubi guzikiriziddwa. Nga Nuuwa bwe yakola, leero abaweereza ba Katonda balabula abantu baleme kuzikirizibwa. Onookolera ku kulabula okwo? Bw’oba nga oli omu ku abo abakolera ku kulabula okwo, naawe onoolabula abalala? Nuuwa n’ab’omu maka ge baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi.
“BAAWONYEZEBWA AMAZZI”
Eryato bwe lyali liseeyeeya ku mazzi abo abaali munda bateekwa okuba nga baawulira nga liyuuga olw’amayengo amanene. Kyandiba nti Nuuwa yatya ng’alowooza nti oboolyawo amayengo ago gandimenye eryato eryo? Nedda. Abantu abatalina kukkiriza be bayinza okulowooza bwe batyo naye ye Nuuwa yalina okukkiriza. Bayibuli egamba nti: ‘Olw’okukkiriza, Nuuwa yazimba eryato.’ (Abebbulaniya 11:7) Yali akkiririza mu ki? Yakuwa yali yakola endagaano nti yandiwonyezzaawo Nuuwa n’abo bonna be yandibadde nabo mu lyato. (Olubereberye 6:18, 19) Katonda eyatonda eggulu n’ensi awamu n’ebintu byonna yandiremereddwa okukuuma eryato eryo ne litamenyeka? Nedda. Nuuwa yali mukakafu nti Yakuwa yandituukiriza ekisuubizo kye, era bwe kityo bwe kyali. Nuuwa n’ab’omu maka ge “baawonyezebwa amazzi.”—1 Peetero 3:20.
Ennaku 40 bwe zaggwako, enkuba yalekera awo okutonnya. Okusinziira ku kalenda eriwo mu kiseera kino, ekyo kyaliwo awo nga mu Ddesemba mu mwaka gwa 2370 embala eno nga tennatandika. Naye Nuuwa n’ab’omu maka ge baalina okusigala mu lyato eryo okumala ekiseera. Eryato eryo eryali lijjudde ebitonde ebiramu ebya buli kika lye lyokka eryali liseeyeeya ku guyanja ogwali gubuutikidde ensi yonna. (Olubereberye 7:19, 20) Teeberezaamu omulimu ogw’amaanyi Nuuwa ne batabani be, Kaamu, Seemu, ne Yafesi gwe baakola ogw’okuliisa ebisolo byonna n’okubikuuma nga biyonjo. Okuva bwe kiri nti Katonda yaleetera ebisolo obutaba bikambwe ne bisobola okuyingizibwa mu lyato, yali asobola okubikuumira mu mbeera eyo mu kiseera kyonna eky’amataba.a
Nuuwa ateekwa okuba nga buli lunaku yawandiikanga ebyaliwo. Ebyo bye yawandiika biraga ekiseera enkuba lwe yatandika okutonnya ne lwe yakya. Ate era biraga nti amataba gaamala ku nsi ennaku 150. Oluvannyuma, amazzi gaatandika okukalira. Nga wayiseewo ekiseera, eryato lyatuula ku “nsozi za Alalati,” eziri mu ggwanga lya Butuluuki. Ekyo kiyinza okuba nga kyaliwo mu Apuli w’omwaka 2369 embala eno nga tennatandika. Ensozi ezo zaatandika okulabika mu Jjuuni, oluvannyuma lw’ennaku 73. Mu Ssebutemba oluvannyuma lw’emyezi esatu, Nuuwa yaggyako embaawo ezimu ku kasolya k’eryato basobole okufuna ekitangaala n’empewo. Nga tannakola ekyo, yasindika ebinyonyi bibiri asobole okumanya obanga embeera eyali ebweru w’eryato yali nnungi. Yasooka kusindika nnamuŋŋoona, oluvannyuma n’asindika ejjiba eryakomangawo gy’ali okutuusa lwe lyafuna ekifo aw’okubeera.—Olubereberye 7:24–8:13.
Wadde nga Nuuwa yalina eby’okukola bingi, yafaangayo nnyo ku by’omwoyo. Kuba akafaananyi nga Nuuwa n’ab’omu ge bakuŋŋaana obutayosa okusobola okusabira awamu n’okwogera ku Kitaabwe ow’omu ggulu. Nuuwa yagobereranga obulagirizi bwa Yakuwa nga tannabaako ky’asalawo. Ne bwe yalaba ng’amazzi ‘gakalidde,’ teyava mu lyato, wadde nga yali amazeemu ebbanga erisukka mu mwaka. (Olubereberye 8:14) Yalinda Yakuwa amugambe eky’okukola.
Emitwe gy’amaka balina bingi bye basobola okuyigira ku musajja oyo omwesigwa. Yalina enteekateeka ennungi, yali mukozi nnyo, yali mugumiikiriza, era yalabirira bulungi ab’omu maka ge. N’ekisinga byonna, yakulembeza Yakuwa Katonda by’ayagala. Bwe tunaakoppa Nuuwa, ab’omu maka gaffe bajja kuganyulwa nnyo.
“VA MU LYATO”
Ekiseera kyatuuka Yakuwa n’agamba Nuuwa nti: “Va mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, n’abaana bo, n’abakazi b’abaana bo.” Nuuwa n’ab’omu maka ge baava mu lyato, oluvannyuma ebisolo byonna ne bibagoberera. Olowooza byafuluma nga birwanira omulyango? Nedda! Bayibuli egamba nti byafuluma okusinziira ku “bika byabyo.” (Olubereberye 8:15-19) Nuuwa n’ab’omu maka ge bwe baava mu lyato, baalaba ng’ensi erongooseddwa. Yali tekyalimu Abanefuli, ebikolwa eby’obukambwe, bamalayika abajeemu, n’abantu bonna ababi.b Nuuwa n’ab’omu maka ge baatandika obulamu bupya.
Nuuwa yatandikira ku kusinza Katonda. Yazimba ekyoto n’addira ebimu ku bisolo omusanvu omusanvu Katonda bye yali atwala nti birongoofu, n’abiwaayo nga ssaddaaka. (Olubereberye 7:2; 8:20) Yakuwa yasiima ssaddaaka eyo?
Bayibuli egamba nti: “Mukama n’awulira evvumbe eddungi.” Ennaku ey’amaanyi Katonda gye yalina olw’ensi okujjula ebikolwa eby’obukambwe yali eweddewo, era ng’abantu abaali basigaddewo be baweereza be abeesigwa era abamalirivu okukola by’ayagala. Yakuwa yali akimanyi nti tebatuukiridde, era yagamba nti: “Okulowooza okw’omu mutima gw’omuntu kubi okuva mu buto bwe.” (Olubereberye 8:21) Lowooza ku ngeri endala Yakuwa gye yalagamu abantu obusaasizi.
Ettaka Katonda yaliggyako ekikolimo. Adamu ne Kaawa bwe baajeemera Katonda, yakolimira ettaka ne liba nga teribaza mmere. Lameka yatuuma mutabani we erinnya Nuuwa eriyinza okuba nga litegeeza “Ekiwummulo” oba “Okubudaabudibwa,” era n’alagula nti mutabani we yandisobozesezza abantu okufuna ekiwummulo okuva mu kikolimo ekyo. Nuuwa ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo bwe yalaba ng’obunnabbi obwo butuukiridde era nti bwe bandirimye, ettaka lyandibazizza emmere. Eyo y’eyinza okuba emu ku nsonga lwaki Nuuwa yafuuka mulimi.—Olubereberye 3:17, 18; 5:28, 29; 9:20.
Mu kiseera kye kimu, Yakuwa yawa abantu amateeka agandibayambye mu bulamu, nga mw’otwalidde etteeka ery’obutatta, n’ery’obutakozesa bubi musaayi. Ate era Katonda yakola n’abantu endagaano n’asuubiza nti taliddamu kuzikiriza bantu na mataba. Okulaga nti yandinyweredde ku ndagaano ye, yassaawo musoke okuba akabonero k’endagaano eyo. N’okutuusa leero, buli lwe tulaba musoke, tujjukira ekyo Yakuwa Katonda kye yasuubiza.—Olubereberye 9:1-17.
Singa ebyo Bayibuli by’eyogera ku Nuuwa lufumo bufumo, twandibadde tetulaba kabonero ka musoke. Naye Nuuwa muntu eyaliyo ddala era yayolekagana n’ebizibu bingi. Olw’okuba mu kiseera ekyo abantu baawangaalanga nnyo, omusajja oyo omwesigwa yeeyongera okubeerawo emyaka emirala 350 oluvannyuma lw’amataba, era mu myaka egyo waaliwo ebintu ebyamunakuwaza ennyo. Lumu yakola ensobi ey’amaanyi bwe yanywa ennyo omwenge. Ekyo kyaleetera ne muzzukulu we Kanani okukola ekibi eky’amaanyi ekyaviirako abaana be okukolimirwa. Ate era mu kiseera kya Nimuloodi, Nuuwa kyamunakuwaza nnyo okulaba nga bazzukulu be bakola ebintu ebibi, gamba ng’okusinza ebifaananyi n’okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe. Ku luuyi olulala, kyamuzzaamu amaanyi okulaba nga mutabani we Seemu ateerawo ab’omu maka ge ekyokulabirako ekirungi.—Olubereberye 9:21-28; 10:8-11; 11:1-11.
Okufaananako Nuuwa, tusaanidde okusigala nga tuli beesigwa wadde nga tulina ebizibu. Abantu abalala bwe baba tebasinza Katonda ow’amazima, oba abamu bwe balekera awo okumuweereza, ffe tusaanidde okusigala nga tuli beesigwa nga Nuuwa bwe yakola. Bwe tusigala nga tuli beesigwa era bagumiikiriza, Yakuwa atutwala nga tuli ba muwendo nnyo gy’ali. Yesu Kristo yagamba nti: “Oyo agumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.”—Matayo 24:13.
a Abamu bagamba nti Katonda ayinza okuba nga yaleetera ebisolo ebyo obutalumwa nnyo njala, ne kiba nti byali birya emmere ntono ddala. Ka kibe nti bw’atyo bwe yakola oba si bwe yakola, ebitonde byonna ebyali mu lyato yabikuuma nga biramu nga bwe yasuubiza.
b Olusuku olw’omu Adeni nalwo lwali terukyaliwo. Kirabika amataba gaalusaanyawo. Bwe kiba bwe kityo, bakerubi abaali baaweebwa omulimu gw’okukuuma ekkubo erigenda mu lusuku olwo baali basobola okuddayo mu ggulu. Baali bamalirizza omulimu gwe baali bamazeeko emyaka 1600.—Olubereberye 3:22-24.