Yakuwa—Kifo Kyaffe eky’Okubeeramu
“Ai Yakuwa, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu mu mirembe gyonna.”—ZAB. 90:1, NW.
1, 2. Ndowooza ki abaweereza ba Katonda gye balina ku nteekateeka eno ey’ebintu, era maka ki ge balina?
OWULIRA ng’oli mugwira mu nteekateeka eno ey’ebintu? Bw’oba nga bw’otyo bw’owulira, si gwe asoose okuwulira bw’otyo. Waliwo n’abaweereza ba Katonda abalala bangi abaali bawulira ng’abagenyi oba abagwira mu nteekateeka eno ey’ebintu. Ng’ekyokulabirako, abaweereza ba Katonda abeesigwa abaasiisiranga mu bifo eby’enjawulo mu nsi y’e Kanani, ‘baayatula mu lujjudde nti baali bagenyi era batuuze ab’akaseera obuseera mu nsi gye baalimu.’—Beb. 11:13.
2 Mu ngeri y’emu, n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, abalina ‘obutuuze bwabwe mu ggulu,’ beetwala “ng’abagwira era abatuuze ab’akaseera obuseera” mu nteekateeka eno ey’ebintu. (Baf. 3:20; 1 Peet. 2:11) Abagoberezi ba Kristo ‘ab’endiga endala’ nabo ‘si ba nsi, nga ne Yesu bw’ataali wa nsi.’ (Yok. 10:16; 17:16) Kyokka abantu ba Katonda balina “amaka.” Amaka ago tetusobola kugalaba na maaso gaffe, naye amaka ago ge gasingayo okubaamu obukuumi n’okwagala. Musa yawandiika nti: “Ai Yakuwa, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu mu mirembe gyonna.”a (Zab. 90:1, NW) Mu ngeri ki Yakuwa gye yali ‘ekifo eky’okubeeramu’ eri abaweereza be mu biseera by’edda? Mu ngeri ki gy’ali ‘ekifo eky’okubeeramu’ eri abaweereza be leero? Era anaabeera atya ekifo eky’okubeeramu eri abaweereza be mu biseera eby’omu maaso?
YAKUWA YALI ‘KIFO EKY’OKUBEERAMU’ ERI ABAWEEREZA BE AB’EDDA
3. Mu Zabbuli 90:1, Yakuwa ageraageranyizibwa ku ki, era lwaki?
3 Ebiseera ebimu Bayibuli egeraageranya Yakuwa ku bintu bye tusobola okulaba, ekyo ne kituyamba okumutegeera obulungi. Ng’ekyokulabirako, Zabbuli 90:1 wageraageranya Yakuwa ku ‘kifo eky’okubeeramu’ oba amaka. Bwe tulowooza ku maka, tulowooza ku kifo omuli okwagala, obukuumi, n’emirembe. Lwaki Yakuwa ageraageranyizibwa ku maka? Bayibuli egamba nti Katonda kwagala. (1 Yok. 4:8) Ate era egamba nti Yakuwa ye Katonda ow’emirembe era nti akuuma abantu be. (Zab. 4:8) Kino kyeyolekera mu ngeri gye yakolaganamu n’abasajja abeesigwa ab’edda, gamba nga Ibulayimu.
4, 5. Mu ngeri ki Katonda gye yali ‘ekifo eky’okubeeramu’ eri Ibulayimu?
4 Kizibu okutegeerera ddala engeri Ibulayimu gye yawuliramu Yakuwa bwe yamugamba nti: “Va mu nsi ya nnyo, era awali ekika kyo . . . oyingire mu nsi gye ndikulaga.” Kyokka ebigambo bino Yakuwa bye yazzaako, biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo Ibulayimu amaanyi. Yakuwa yamugamba nti: ‘Ndikufuula eggwanga eddene, era nnaakuwanga omukisa, era nnaakuzanga erinnya lyo. Nnaabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n’oyo anaakukolimiranga nnaamukolimiranga nze.’—Lub. 12:1-3.
5 Yakuwa yasuubiza nti yali ajja kuba kifo eky’okubeeramu eri Ibulayimu n’ezzadde lye. (Lub. 26:1-6) Yakuwa yatuukiriza ekisuubizo ekyo. Ng’ekyokulabirako, teyakkiriza Falaawo owa Misiri ne Kabaka Abimereki owa Gerali okutta Ibulayimu n’okutwala mukazi we Saala. Era Yakuwa yakuuma Isaaka ne Lebbeeka mu ngeri efaananako bw’etyo. (Lub. 12:14-20; 20:1-14; 26:6-11) Bayibuli egamba nti: “[Yakuwa] teyaganya muntu kuboonoona; weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe; ng’ayogera nti Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta, so temukolanga bubi bannabbi bange.”—Zab. 105:14, 15.
6. Kiki Isaaka kye yagamba Yakobo, era Yakobo ayinza okuba nga yawulira atya?
6 Omu ku bannabbi abo yali Yakobo muzzukulu wa Ibulayimu. Ekiseera bwe kyatuuka Yakobo okuwasa omukazi, kitaawe Isaaka yamugamba nti: “Towasanga mukazi ku bawala ba Kanani. Golokoka, ogende e Padanalaamu, eri ennyumba ya Bessweri kitaawe wa nnyoko; weewasize omukazi alivaayo ku bawala ba Labbaani.” (Lub. 28:1, 2) Yakobo yakolera ku ebyo kitaawe bye yamugamba. Yakobo yaleka ab’ewaabwe e Kanani, n’atindigga olugendo oluwanvu okugenda e Kalani, era nga kirabika yagenda yekka. (Lub. 28:10) Yakobo ayinza okuba nga yeebuuza: ‘Eno gye ŋŋenda, nnaamalayo bbanga lyenkana wa? Kojja wange anaasanyuka okundaba era anaampa omukazi atya Katonda?’ Kyokka waliwo ekintu akyaliwo nga Yakobo ali e Luzi, ekifo ekiri mayiro nga 60 okuva e Beeruseba, ekyamuyamba okulekera awo okweraliikirira. Kiki ekyaliwo?
7. Katonda yayamba atya Yakobo okulekera awo okweraliikirira?
7 Yakobo bwe yali e Luzi, Yakuwa yamulabikira mu kirooto n’amugamba nti: ‘Laba, nze ndi wamu naawe, era nnaakukuumanga gy’onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno; kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okukola bye nkugambyeko.’ (Lub. 28:15) Ng’ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo Yakobo amaanyi! Yakobo ateekwa okuba nga yali yeesunga okulaba engeri Yakuwa gye yandituukirizzaamu ekisuubizo ekyo. Bwe kiba nti wava mu nsi yo n’ogenda okuweereza mu nsi endala, oteekwa okuba ng’otegeera bulungi engeri Yakobo gye yawuliramu. Naye era oteekwa okuba ng’okirabye nti Yakuwa akulabiridde mu ngeri ezitali zimu.
8, 9. Mu ngeri ki Yakuwa gye yali ‘ekifo eky’okubeeramu’ eri Yakobo, era ekyo kituyigiriza ki?
8 Yakobo bwe yatuuka e Kalani, kojja we Labbaani yasanyuka nnyo okumulaba era oluvannyuma yamuwa Leeya ne Laakeeri okuba bakazi be. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, Labbaani yagezzaako okukumpanya Yakobo era yakyusakyusa empeera ye emirundi kkumi! (Lub. 31:41, 42) Wadde kyali kityo, Yakobo yagumira embeera eyo nga mukakafu nti Yakuwa yali ajja kweyongera okumulabirira. Katonda we yagambira Yakobo okuddayo e Kanani, Yakobo yalina “ebisibo binene, n’abazaana n’abaddu, n’eŋŋamira n’endogoyi.” (Lub. 30:43) Yakobo yasiima nnyo Yakuwa olw’ebyo bye yali amukoledde, era yamusaba ng’agamba nti: ‘Sisaanira newakubadde akatono kusaasira kwonna, n’amazima gonna, bye walaga omuddu wo; kubanga nnawunguka omugga guno Yoludaani nga nnina muggo gwokka; naye kaakano nfuuse ebibiina bibiri.’—Lub. 32:10.
9 Ebyokulabirako ebyo biraga obutuufu bw’ebigambo bya Musa bino: “Ai Yakuwa, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu mu mirembe gyonna”! (Zab. 90:1, NW) Yakuwa takyukanga. Ne leero Yakuwa ‘kifo eky’okubeeramu’ eri abaweereza be abeesigwa. (Yak. 1:17) Mu ngeri ki?
YAKUWA“KIFO KYAFFE EKY’OKUBEERAMU” LEERO
10. Kiki ekiraga nti Yakuwa kifo eky’okubeeramu eri abaweereza be leero?
10 Kuba akafaananyi ng’oli mu kkooti era ng’owa obujulizi obulumiriza omusajja omugezigezi, ow’amaanyi, omulimba, atalina kisa, omutemu, era ng’alina abantu bangi abali ku ludda lwe. Wandiwulidde otya ng’ovudde mu kkooti ng’oddayo eka? Wandiwulidde ng’olina obukuumi? Nedda! Mu butuufu oyinza n’okusaba ab’obuyinza bakuwe obukuumi. Mu ngeri y’emu, abaweereza ba Yakuwa bonna bawa obujulizi obulumiriza omulabe wa Yakuwa lukulwe era omubi ennyo, Sitaani! (Soma Okubikkulirwa 12:17.) Naye Sitaani asobodde okulemesa abantu ba Katonda okuwa obujulirwa? Nedda! Mu butuufu, bagenda bugenzi mu maaso olw’okuba Yakuwa kye kiddukiro kyabwe, oba ‘ekifo kyabwe eky’okubeeramu,’ naddala mu nnaku zino ez’oluvannyuma. (Soma Isaaya 54:14, 17.) Kyokka, Yakuwa tasobola kweyongera kuba kifo kyaffe eky’okubeeramu omuli obukuumi singa tukkiriza Sitaani okutulimbalimba.
11. Kiki kye tuyigira ku basajja abeesigwa ab’edda?
11 Waliwo n’ekintu ekirala kye tusobola okuyigira ku basajja abo abaali abeesigwa. Wadde nga baali babeera mu nsi y’e Kanani, tebakoppa mpisa z’abantu b’omu nsi eyo ezaali embi era baazikyayira ddala. (Lub. 27:46) Obulamu bwabwe baabutambulizanga ku misingi, so si ku mateeka. Baali bamanyi ebyo Katonda by’ayagala ne by’atayagala. N’olwekyo, beewalira ddala okuba ab’ensi. Abasajja abo abeesigwa baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo! Ofuba okubakoppa ng’olonda emikwano n’eby’okwesanyusaamu? Kya nnaku nti ab’oluganda abamu bakiraze, mu ngeri emu oba endala, nti baagala okubeera mu nsi ya Sitaani. Bw’oba nga naawe bw’otyo bw’oli, saba Yakuwa akuyambe. Kijjukire nti ensi eno efugibwa Sitaani, ate nga Sitaani yeefaako yekka era talina kalungi konna k’atwagaliza.—2 Kol. 4:4; Bef. 2:1, 2.
12. (a) Yakuwa ayamba atya abantu be? (b) Owulira otya bw’olowooza ku bintu Yakuwa by’atuteereddewo okutuyamba?
12 Okusobola okwewala emitego gya Sitaani, twetaaga okukozesa obulungi ebintu byonna Yakuwa by’ataddewo okuyamba abo abamufuula ekifo kyabwe eky’okubeeramu. Mu bino mwe muli enkuŋŋaana, okusinza kw’amaka, n’abakadde mu kibiina abatubudaabuda era abatuzzaamu amaanyi nga twolekagana n’ebizibu. (Bef. 4:8-12) Ow’oluganda George Gangas, eyali ku Kakiiko Akafuzi okumala emyaka mingi, yagamba nti: “Bwe mba mu bantu ba Katonda, mba mpulira ng’ali awaka, mba mpulira nga ndi mu lusuku olw’eby’omwoyo.” Naawe bw’otyo bw’owulira?
13. Ebyo ebiri mu Abebbulaniya 11:13 bituyigiriza ki?
13 Ekintu ekirala kye tuyinza okuyigira ku basajja abeesigwa ab’edda, bwe butatya kuba ba njawulo ku bantu abatwetoolodde. Nga bwe twalabye mu katundu akasooka, abasajja abo ‘baayatula mu lujjudde nti baali bagenyi era abatuuze ab’akaseera obuseera mu nsi gye baalimu.’ (Beb. 11:13) Naawe oli mumalirivu okuba ow’enjawulo ku bantu b’ensi? Kyo kituufu nti ebiseera ebimu ekyo tekiba kyangu. Naye Katonda awamu ne bakkiriza banno basobola okukuyamba okusigala ng’oli wa njawulo ku bantu b’ensi. Kijjukire nti toli wekka. Abo bonna abaweereza Yakuwa balina olutalo lwe balwana! (Bef. 6:12) Kyokka tusobola okuwangula olutalo olwo singa twesiga Yakuwa era ne tumufuula ekifo kyaffe eky’okubeeramu.
14. ‘Kibuga’ ki Ibulayimu kye yali alindirira?
14 Ate era tusaanidde okukoppa Ibulayimu nga tukuumira amaaso gaffe ku mpeera. (2 Kol. 4:18) Omutume Pawulo yagamba nti Ibulayimu “yali alindirira ekibuga ekirina emisingi gyennyini, era nga eyakizimba era eyakikola ye Katonda.” (Beb. 11:10) “Ekibuga” ekyo bwe Bwakabaka bwa Masiya. Ibulayimu yalina okulindirira “ekibuga” ekyo, naye ffe tetukirindirira olw’okuba kati Obwakabaka bwa Masiya bufuga mu ggulu. Ate era, waliwo ebintu bingi ebiraga nti Obwakabaka obwo bunaatera okutandika okufuga ensi yonna. Obwakabaka obwo bwa ddala gy’oli? Engeri gye weeyisaamu n’ebyo by’okulembeza mu bulamu biraga nti Obwakabaka obwo obutwala nga bwa ddala?—Soma 2 Peetero 3:11, 12.
YAKUWA AJJA KWEYONGERA OKUBA ‘EKIFO KYAFFE EKY’OKUBEERAMU’
15. Kiki ekinaatuuka ku abo abatadde obwesige bwabwe mu nsi eno?
15 Ng’enkomerero y’ensi ya Sitaani egenda yeeyongera okusembera, ebizibu mu nsi bijja kweyongera. (Mat. 24:7, 8) Ate ekibonyoobonyo ekinene bwe kinaatandika, obulamu bujja kweyongera okukaluba. Okwetooloola ensi ebintu bingi bijja kwonoonebwa era abantu bajja kutya nnyo. (Kaab. 3:16, 17) Olw’okutya ennyo, abantu bajja kunoonya obuddukiro “mu mpuku ne mu njazi ez’oku nsozi.” (Kub. 6:15-17) Kyokka, tewali mpuku wadde ebibiina by’obufuzi oba eby’obusuubuzi, ebiringa ensozi, bijja kusobola kuwa bantu bukuumi.
16. Ekibiina Ekikristaayo tusaanidde kukitwala tutya, era lwaki?
16 Kyokka Yakuwa Katonda ajja kweyongera okukuuma abo bonna abamutwala ‘ng’ekifo eky’okubeeramu.’ Okufaananako nnabbi Kaabakuuku, abantu abo bajja ‘kusanyukira mu Yakuwa era bajja kujaguliza mu Katonda ow’obulokozi bwabwe.’ (Kaab. 3:18) Yakuwa anaabeera atya ‘ekifo kyaffe eky’okubeeramu’ mu kiseera ekyo ekijja okuba ekizibu ennyo? Ekyo tujja kukimanya mu kiseera ekituufu. Naye tuli bakakafu nti, okufaananako Abaisiraeri abaali bava e Misiri, mu kiseera ekyo ‘ab’ekibiina ekinene’ nabo bajja kuba bategeke bulungi, era bajja kufuna obulagirizi okuva eri Katonda. (Kub. 7:9; soma Okuva 13:18.) Oboolyawo, Katonda ajja kuwa abantu be obulagirizi ng’ayitira mu bibiina. Nnabbi Isaaya yayogera ku “bisenge” abantu ba Katonda mwe bajja okufunira obukuumi. Ebisenge ebyo biyinza okuba nga bye bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi. (Soma Isaaya 26:20.) Enkuŋŋaana z’ekibiina ozitwala ng’ekintu ekikulu ennyo? Bwe wabaawo obulagirizi Yakuwa bw’aba atuwadde okuyitira mu kibiina, otandikirawo okubukolerako?—Beb. 13:17.
17. Mu ngeri ki Yakuwa gy’ali ‘ekifo eky’okubeeramu’ n’eri abaweereza be abaafa?
17 Yakuwa ajja kweyongera okuba ‘ekifo eky’okubeeramu’ n’eri abaweereza be abeesigwa abanaafa ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika. Mu ngeri ki? Ajja kubazuukiza. Oluvannyuma lw’emyaka mingi bukya Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo bafa, Yakuwa yagamba Musa nti: “Nze ndi Katonda wa . . . Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.” (Kuv. 3:6) Yesu bwe yamala okujuliza ebigambo ebyo, yagattako nti: “[Yakuwa] si Katonda wa bafu naye wa balamu, kubanga eri ye bonna balamu.” (Luk. 20:38) Okuva bwe kiri nti tewali kintu kyonna kiyinza kulemesa Yakuwa kuzuukiza baweereza be abaafa nga beesigwa gy’ali, mu maaso ge bali ng’abalamu.—Mub. 7:1.
18. Yakuwa anaaba atya ‘ekifo eky’okubeeramu’ eri abantu be mu nsi empya?
18 Mu nsi empya enaatera okutuuka, Yakuwa ajja kuba ‘kifo eky’okubeeramu’ eri abaweereza be mu ngeri ey’enjawulo. Okubikkulirwa 21:3 wagamba nti: “Laba! Eweema ya Katonda eri wamu n’abantu, era anaabeeranga wamu nabo.” Yakuwa ajja kukozesa Kristo Yesu okufuga abantu be okumala emyaka lukumi. Emyaka olukumi we ginagwerako, Yesu ajja kuba amaze okutuukiriza ekigendererwa kya Kitaawe eri ensi, era ajja kuwaayo Obwakabaka eri Kitaawe. (1 Kol. 15:28) Oluvannyuma lw’emyaka olukumi, abantu bajja kuba batuukiridde era Yakuwa ajja kutandika okubafuga butereevu. Ng’ekiseera ekyo kijja kuba kirungi nnyo! Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka tweyongere okukoppa abaweereza ba Katonda abeesigwa abaaliwo mu biseera by’edda, nga tufuula Yakuwa ‘ekifo kyaffe eky’okubeeramu.’
a Mu Contemporary English Version Zabbuli 90:1 wagamba nti: “Mukama waffe, obadde maka gaffe mu mirembe gyonna.”