Beera n’Okukkiriza ng’Okwa Ibulayimu!
“Abayima [“abanywerera,” “NW”] mu kukkiriza be baana ba Ibulayimu.”—ABAGGALATIYA 3:7.
1. Ibulaamu yayolekagana atya n’okugezesebwa okuppya mu Kanani?
IBULAAMU yaleka obulamu obw’okwejalabya mu Uli olw’okugondera ekiragiro kya Yakuwa. Obuzibu bwe yasanga mu myaka egyaddirira bwali bumuteekateeka okwolekagana n’okugezesebwa eri okukkiriza kwe mu Misiri. Baibuli egamba: “Ne wagwa enjala mu nsi.” Ekyo nga kyandisobodde okuleetera Ibulaamu okwemulugunya embeera gye yalimu! Kyokka, alina kye yakolawo okusobola okukola ku byetaago by’ab’omu maka ge. “Ibulaamu n’aserengeta mu Misiri, okutuula omwo; kubanga enjala yali nnyingi mu nsi.” Amaka ga Ibulaamu amanene gaamanyibwa mangu mu Misiri. Yakuwa yandituukirizza ebisuubizo bye n’akuuma Ibulaamu n’atatuukibwako kabi?—Olubereberye 12:10; Okuva 16:2, 3.
2, 3. (a) Lwaki Ibulaamu teyayogera mazima ku bikwata ku mukyala we? (b) Kiki Ibulaamu kye yagamba mukyala we okukola basobole okwewala akabi?
2 Tusoma bwe tuti mu Olubereberye 12:11-13: “Awo, bwe yali ng’anaatera okuyingira mu Misiri, n’alyoka agamba Salaayi mukazi we nti Laba, mmanyi nga [ggwe oli] mukazi mulungi okulaba: kale, Abamisiri bwe balikulaba, kyebaliva boogera nti Oyo ye mukazi we: era balinzita nze, naye ggwe balikuwonya mulamu. Oyogeranga, nkwegayiridde, nga [ggwe oli] mwannyinaze: ndyoke ndabe ebirungi ku bubwo, n’obulamu bwange buwone ku lulwo.” Wadde nga Salaayi yali asukka emyaka 65 egy’obukulu, yali aky’alabika bulungi nnyo. Ekyo kyateeka obulamu bwa Ibulaamu mu kabi.a (Olubereberye 12:4, 5; 17:17) Ekisingawo n’obukulu, ensonga ezikwata ku kigendererwa kya Yakuwa zaali zikwatibwako, kubanga yali agambye nti amawanga gonna ag’oku nsi gandiweereddwa omukisa okuyitira mu zzadde lya Ibulaamu. (Olubereberye 12:2, 3, 7) Okuva Ibulaamu bw’ataalina mwana, kyali kikulu nnyo asigale nga mulamu.
3 Ibulaamu yategeeza mukyala we ku kakodyo ke baali boogeddeko emabega, ak’okugamba nti yali mwannyina. Weetegereze nti wadde yalina obuyinza, teyabukozesa bubi, wabula yeegayirira mukyala we akolaganire wamu naye era amuwe obuwagizi. (Olubereberye 12:11-13; 20:13) Mu kino Ibulaamu yateerawo abaami ekyokulabirako eky’obukulembeze obulungi, era ne Salaayi mu kubeera omuwulize, yateerawo abakyala ekyokulabirako ekirungi.—Abaefeso 5:23-28; Abakkolosaayi 4:6.
4. Abaweereza ba Katonda abeesigwa bandikoze ki ng’obulamu bwa baganda baabwe buli mu kabi?
4 Salaayi yali asobola okuyita Ibulaamu mwannyina kubanga ddala yali mwannyina. (Olubereberye 20:12) Ate era, kyali tekyetaagisa Ibulaamu kutegeeza bantu bintu ebitabakwatako. (Matayo 7:6) Abaweereza ba Katonda abeesigwa mu kiseera kyaffe bagondera ekiragiro kya Baibuli okubeera abeesigwa. (Abaebbulaniya 13:18) Ng’ekyokulabirako, tebayinza kulimba mu kkooti y’amateeka. Kyokka, obulamu bwa baganda baabwe bwe buba mu kabi, gamba nga mu biseera eby’okuyigganyizibwa oba mu bwegugungo, bagoberera okubuulira kwa Yesu ‘okuba n’amagezi ng’emisota, era abatali bakuusa ng’amayiba.’—Matayo 10:16; laba The Watchtower aka Noovemba 1, 1996, olupapula 18, akatundu 19.
5. Lwaki Salaayi yali mwetegefu okukola Ibulaamu kye yamusaba?
5 Salaayi yayanukula atya Ibulaamu kye yamusaba? Omutume Peetero ayogera ku bakazi abalinga Salaayi nga ‘abaasuubiriranga mu Katonda.’ Bwe kityo, Salaayi yasiima ensonga ez’eby’omwoyo ezaali zizingirwamu. Ng’oggyeko ekyo, yali ayagala bbaawe era ng’amussaamu ekitiibwa. Bwe kityo, Salaayi yasalawo ‘okuwulira bbaawe’ n’akweka ebikwata ku bufumbo bwabwe. (1 Peetero 3:5) Kya lwatu, okukola ekyo kyateeka Salaayi mu kabi. “Awo Ibulaamu bwe yamala okuyingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba omukazi nga mulungi nnyo. N’abakungu ba Falaawo ne bamulaba, ne bamutendereza eri Falaawo; ne batwala omukazi mu nnyumba ya Falaawo.”—Olubereberye 12:14, 15.
Obununuzi bwa Yakuwa
6, 7. Ibulaamu ne Salaayi beesanga mu mbeera ki enzibu, era Yakuwa yanunula atya Salaayi?
6 Ng’embeera eyo eteekwa okuba nga yanakuwaza nnyo Ibulaamu ne Salaayi! Kyalabika nga Salaayi eyali agenda okwonoonebwa. Ate era, nga Falaawo tamanyi kituufu kikwata ku bufumbo bwa Salaayi, yawa Ibulaamu ebirabo bingi gamba nga “endiga, n’ente, n’endogoyi ensajja, n’abaddu, n’abazaana, n’endogoyi enkazi, n’eŋŋamira.”b (Olubereberye 12:16) Nga Ibulaamu ateekwa okuba nga yanyooma nnyo ebirabo ebyo! Wadde embeera yalabika nga mbi nnyo, Yakuwa teyayabulira Ibulaamu.
7 “Mukama n’abonyaabonya Falaawo n’ennyumba ye n’ebibonoobono ebikulu olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu.” (Olubereberye 12:17) Mu ngeri etamanyiddwa, ekyaviirako ‘ebibonoobono’ ebyo kyabikkulwa eri Falaawo. Amangu ddala yabaako kyakola: “Falaawo n’ayita Ibulaamu, n’ayogera nti Kino kiki ky’onkoze? [K]iki ekyakulobera okumbuulira nga ye mukazi wo? Kiki ekyakwogeza nti Ye mwannyinaze? [N] ange n’okutwala ne mmutwala okuba mukazi wange: kale kaakano laba mukazi wo, omutwale, weegendere. Falaawo n’amulagiriza abasajja: ne bamuwerekerako ye ne mukazi we ne byonna bye yalina.”—Olubereberye 12:18-20; Zabbuli 105:14, 15.
8. Bukuumi bwa ngeri ki Yakuwa bw’asuubiza abantu be leero?
8 Leero, Yakuwa tasuubiza nti abaweereza be tebajja kufa, kukolebwako ebikolwa eby’obukambwe, kulumwa njala oba okutuukibwako obutyabaga bw’omu butonde. Tusuubizibwa nti Yakuwa ajja kutukuuma okuva ku bintu ebiyinza okuba eby’akabi eri embeera yaffe ey’eby’omwoyo. (Zabbuli 91:1-4) Okusingira ddala, ekyo akikola ng’atulabula okuyitira mu Kigambo kye ‘n’omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Matayo 24:45) Kiri kitya eri okuyigganyizibwa okuyinza n’okutuviirako okufa? Wadde ng’ayinza okukkiriza abantu abamu okufa, Katonda tagenda kukkiriza bantu be bonna kuzikirizibwa. (Zabbuli 116:15) Era singa abantu abamu abeesigwa bafa, tuli bakakafu nti bajja kuzuukira.—Yokaana 5:28, 29.
Okwerekereza Okusobola Okukuuma Emirembe
9. Kiki ekiraga nti Ibulaamu yatambulanga okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala ng’ali mu Kanani?
9 Enjala bwe yakoma mu Kanani, “Ibulaamu n’alinnya n’ava mu Misiri, ye ne mukazi we ne byonna bye yalina, ne Lutti wamu naye, ne bagenda mu bukiika obwa ddyo [obw’ensozi za Yuda]. Era Ibulaamu yalina obugagga bungi, ente, ne ffeeza, ne zaabu.” (Olubereberye 13:1, 2) Bwe kityo, abatuuze b’omu kitundu bandimututte ng’omusajja ow’obuyinza, omukungu omukulu. (Olubereberye 23:6) Ibulaamu yali tayagala kukkalira mu kitundu yenyigire mu by’obufuzi bw’Abakanani. Mu kifo ky’ekyo “[y]’agenda ng’atambula n’ava mu bukiika obwa ddyo n’atuuka e Beseri, mu kifo eweema ye mwe yasooka okubeera, wakati w’e Beseri ne Ayi.” Nga bwe yakolanga bulijjo, Ibulaamu yakulembezanga okusinza kwa Yakuwa buli we yagendanga.—Olubereberye 13:3, 4.
10. Kizibu ki ekyajjawo wakati w’abalunzi ba Ibulaamu ne Lutti, era lwaki kyali kikulu nnyo okukigonjoola amangu?
10 “Era ne Lutti, eyagenda ne Ibulaamu, yalina embuzi n’ente n’eweema. Ensi n’etebayinza bombi okutuula awamu: kubanga ebintu byabwe byali bingi, n’okuyinza ne batayinza kutuula wamu. Ne wabaawo empaka eri abasumba b’ente za Ibulaamu n’abasumba b’ente za Lutti: era Omukanani n’Omuperizi baatuula mu nsi mu nnaku ezo.” (Olubereberye 13:5-7) Ensi teyaliimu mazzi n’omuddo ebimala okuwanirira ebisibo bya Ibulaamu ne Lutti. Obutakkaanya n’ennyombo ne bijjawo wakati w’abalunzi. Obutategeeragana ng’obwo bwali tebusaanira mu basinza ba Katonda ow’amazima. Singa obutakkaanya obwo bweyongera, empalana yandizzeewo. N’olwekyo, Ibulaamu yandigonjodde atya ensonga eno? Ye yatwala obuvunaanyizibwa bw’okulabirira Lutti, oluvannyuma lwa kitaawe wa Lutti okufa. Era kirabika yamukuza ng’omu ku baana b’omu maka ge. Olw’okuba Ibulaamu ye yali asinga obukulu mu myaka, si ye yali agwanira okutwala ekisinga obulungi?
11, 12. Kiki Ibulaamu kye yaleka Lutti okusalawo, era lwaki Lutti kye yasalawo tekyali kya magezi?
11 Naye, “Ibulaamu n’agamba Lutti nti Waleme okubaawo empaka, nkwegayiridde eri nze naawe, n’eri abasumba bange n’abasumba bo; kubanga tuli ba luganda. Ensi yonna teri mu maaso go? Yawukana nange nkwegayiridde: obanga oneeroboza omukono ogwa kkono, nange naagenda ku mukono ogwa ddyo; naawe bw’oneeroboza omukono ogwa ddyo, nange naagenda ku mukono ogwa kkono.” Okumpi ne Beseri, waliwo “ekifo ekirungi mu Palesitayini we baayimanga okutunuulira ensi.” Oboolyawo ng’ayima mu kifo ekyo, “Lutti [y]ayimusa amaaso ge, n’alaba olusenyi olwa Yoludaani lwonna, nga mulimu amazzi mangi wonna wonna, Mukama nga tannazikiriza Sodom[u] ne Ggomola, nga lufaanana ng’olusuku lwa Mukama, ng’ensi y’e Misiri, ng’ogenda mu Zowaali.”—Olubereberye 13:8-10.
12 Wadde nga Baibuli yayita Lutti ‘omutuukirivu,’ olw’ensonga etemanyiddwa teyakola nga bwe yali asuubirwa mu nsonga eno wadde okumwebuuzaako. (2 Peetero 2:7) “Awo Lutti ne yeeroboza olusenyi lwonna olwa Yoludaani; Lutti n’atambula ebuvanjuba: ne baawukana bokka na bokka. Ibulaamu n’atuula mu nsi ya Kanani, ne Lutti n’atuula mu bibuga eby’omu lusenyi, n’ajjulula eweema ye n’agituusa e Sodom[u].” (Olubereberye 13:11, 12) Sodomu kyali kitutumufu era nga kirimu n’eby’obugagga bingi. (Ezeekyeri 16:49, 50) Wadde nga Lutti kye yasalawo kyandimusobozesezza okugaggawala, tekyali kya magezi ku bikwata ku by’omwoyo. Lwaki? Kubanga Olubereberye 13:13 lugamba nti: “N’abantu ab’omu Sodom[u] baali babi era boonoonyi nnyini mu maaso ga Mukama.” Mu nkomerero, Lutti kye yasalawo kyandireetedde amaka ge ennaku ya maanyi nnyo.
13. Ekyokulabirako kya Ibulaamu kiyinza kitya okuyamba Abakristaayo abayinza okufuna enkaayana mu by’ensimbi?
13 Kyokka, Ibulaamu yakkiririza mu kisuubizo kya Yakuwa nti ezzadde lye mu nkomerero lyanditutte ensi yonna; n’olwekyo kyali tekimwetaagisa kuyombera akatundu obutundu ak’ensi eyo. Yagoberera omusingi gwe tusanga mu 1 Abakkolinso 10:24: “Omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, wabula ebya munne.” Kuno kujjukizibwa kulungi eri abo abayinza okufuna enkaayana ez’eby’ensimbi ne bakkiriza bannaabwe. Mu kifo ky’okugoberera okubuulirira okuli mu Matayo 18:15-17, abamu batutte baganda baabwe mu kkooti. (1 Abakkolinso 6:1, 7) Ekyokulabirako kya Ibulaamu kiraga nti kisingako omuntu okufiirwa ssente naye n’ataleeta kivume ku linnya lya Yakuwa oba okutabangula emirembe gy’ekibiina Ekikristaayo.—Yakobo 3:18.
14. Ibulaamu yandiweereddwa mukisa ki olw’obuteerowoozaako?
14 Ibulaamu yandiweereddwa omukisa olw’obuteerowoozaako. Katonda yagamba: “Era ndifuula n’ezzadde lyo ng’enfuufu ey’oku nsi: era omuntu bw’ayinza okubala enfuufu ey’oku nsi, era n’ezzadde lyo liribalika.” Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo amaanyi Ibulaamu ataalina baana! Katonda yaddako n’alagira: “Golokoka, otambule obune ensi obuwanvu bwayo n’obugazi bwayo; kubanga ndigiwa ggwe.” (Olubereberye 13:16, 17) Ibulaamu teyandikkiriziddwa kukkalira mu mbeera ennungi ezaali mu kibuga. Yali wa kweyawula ku Bakanani. Mu ngeri y’emu leero Abakristaayo bateekwa okweyawula ku nsi. Tebeetwala kuba nti basinga abalala, naye tebakola mukwano gwa ku lusegere n’abo abayinza okubasendasenda okwenyigira mu mpisa ezivumirirwa mu Byawandiikibwa.—1 Peetero 4:3, 4.
15. (a) Eŋŋendo za Ibulaamu mu nsi zaalina makulu ki? (b) Kyakulabirako ki Ibulaamu kye yateerawo amaka Amakristaayo leero?
15 Mu biseera bya Baibuli, ng’omuntu tannafuna ttaka, yalina eddembe okulirambula. Bwe kityo, okutambulatambula mu nsi eyo kyajjukizanga Ibulayimu nti lumu ettaka eryo lyandifuuse lya zzadde lye. Olw’obuwulize, “Ibulaamu n’ajjulula eweema ye, n’ajja n’atuula awali emivule gya Mamule, egiri mu Kebbulooni, n’azimbira eyo ekyoto eri Mukama.” (Olubereberye 13:18) Nate Ibulaamu yalaga nti okusinza yakutwala ng’ekintu ekikulu. Okusaba, okusomera awamu ng’amaka, n’okugenda mu nkuŋŋaana bitwalibwa nga bikulu mu maka gammwe?
Omulabe Alumba
16. (a) Lwaki ebigambo ebiggulawo mu Olubereberye 14:1 byeraliikiriza? (b) Lwaki bakabaka abana okuva ebuvanjuba baalumba?
16 “Awo mu mirembe gya Amulaferi kabaka w’e Sinali, Aliyoki, kabaka w’e Erasali, Kedolawomeeri, kabaka w’e Eramu,c n’egya Tidali, kabaka w’e Goyiyimu, ne balwana.” Mu Lwebbulaniya olwasooka, ebigambo ebiggulawo (“Awo mu mirembe gya . . . ”) byali bireetera omuntu okweraliikirira. Wano byali bisonga ku kiseera eky’okugezesebwa mu nkomerero ekyandivuddemu emikisa.” (Olubereberye 14:1, 2) Okugezesebwa okwo kwatandika bakabaka bano okuva ebuvanjuba n’amaggye gaabwe bwe baalumba Kanani. Baalina kiruubirirwa ki? Kyali okufufuggaza ebibuga ebitaano ebiyitibwa Sodomu, Ggomola, Aduma, Zeboyiyimu, ne Bera ebyali bijeemye. Nga bamaze okufufuggaza ebibuga ebyo ebitaano, ‘bonna awamu baayolekera ekiwonvu Sidimu, ekiyitibwa Ennyanja ey’Omunnyo.’ Lutti n’ab’omu maka ge baali babeera kumpi awo.—Olubereberye 14:3-7.
17. Lwaki okuwambibwa kwa Lutti kwali kugezesa kwa maanyi eri okukkiriza kwa Ibulaamu?
17 Bakabaka Abakanani baalwana bwezizingirire nga balumbiddwa, naye baawangulwa. “[Abawanguzi] ne banyaga ebintu byonna eby’omu Sodom[u] ne Ggomola, n’ebyokulya byabwe byonna, ne beegendera. Ne banyaga Lutti, omwana wa muganda wa Ibulaamu, eyatuulanga mu Sodom[u], n’ebintu bye, ne bagenda.” Mangu amawulire gano ag’ennaku gaatuuka ku Ibulaamu: “Ne wajja omu eyawonawo, n’abuulira Ibulaamu, Omwebbulaniya: oyo [e]yatuulanga awali emivule gya Mamule Omwamoli, muganda wa Esukoli, era muganda wa Aneri; nabo baali nga balagaanye ne Ibulaamu. Ibulaamu [n’] awulira nga baanyaga muganda we.” (Olubereberye 14:8-14) Nga kwali kugezesa kwa maanyi eri okukkiriza kwe! Yandibadde akyasibye ekiruyi olw’okuba omwana wa muganda we yatwala ensi esinga obulungi? Era jjukira nti abo abaalumba baava mu Sinali, ensi ya Ibulaamu. Ibulaamu okubalwanyisa, kyandyonoonye omukisa gwe ogw’okuddayo eka. Ng’oggyeko ekyo, Ibulaamu yandikoze ki ku ggye eryawangula amagye gonna ageeggase ag’omu Kanani?
18, 19. (a) Ibulaamu yasobola atya okununula Lutti? (b) Ani yamutuusa ku buwanguzi obwo?
18 Nate Ibulaamu yeesigira ddala Yakuwa mu bujjuvu. “N’agenda n’abasajja be abaayigirizibwa okulwana, abaazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi [na] munaana, ne babagoberera okutuusa ku Ddaani. Ne baawukanamu okubalumba ekiro, ye n’abaddu be, ne babakuba, ne babagoberera okutuusa ku Kkoba, ekiri ku mukono ogwa kkono ogw’e Ddamasiko. N’akomyawo ebintu byonna, era n’akomyawo ne muganda we Lutti, n’ebintu bye, era n’abakazi, n’abantu.” (Olubereberye 14:14-16) Olw’obwesige obw’amaanyi bwe yalina mu Yakuwa, Ibulaamu yatuusa amagye ge amatono ennyo ku buwanguzi, n’anunula Lutti n’ab’omu maka ge. Oluvannyuma, Ibulaamu yasisinkana Merukizeddeeki kabaka era kabona wa Ssaalemi. “Ne Merukizeddeeki kabaka w’e Ssaalemi n’aleeta emmere n’omwenge: era ye yali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo. N’amusabira omukisa, n’ayogera nti Ibulaamu aweebwe omukisa, Katonda ali waggulu ennyo, [n] nannyini ggulu n’ensi: era Katonda ali waggulu ennyo atenderezebwe akugabidde abalabe bo mu mukono gwo. [Awo Ibulaamu n’amuwa] ekitundu eky’ekkumi ekya byonna.”—Olubereberye 14:18-20.
19 Yakuwa ye yabatuusa ku buwanguzi obwo. Olw’okukkiriza kwe yalina, Ibulaamu yalaba nate obununuzi bwa Yakuwa. Leero, abantu ba Katonda tebenyigira mu ntalo, naye boolekaganye n’okugezesebwa n’okusoomooza kungi. Ekitundu kyaffe ekiddako kijja kutulaga engeri ekyokulabirako kya Ibulaamu gye kiyinza okutuyamba okwolekagana nabyo.
[Obugambo obuli wansi]
a Okusinziira ku Insight on the Scriptures (ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa), “ekiwandiiko eky’edda kyogera ku Falaawo eyalagira abasajja abalina ebissi okuwamba omukazi afaanana obulungi ate batte omwami we.” N’olwekyo, waliwo ensonga lwaki Ibulaamu yalina okutya.
b Agali, oluvannyuma eyafuuka mukazi wa Ibulaamu, ayinza okuba yali omu ku bazaana abaaweebwa Ibulaamu ku olwo.—Olubereberye 16:1.
c Abavumirira Baibuli baagambanga nti Eramu tabangako na buyinza ku Sinali era nti okulumba kwa Kedolawomeeri kwagunjibwawo bugunjibwa. Okumanya ebyazuulibwa Abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda ebiwagira ebyogerwako bino mu Baibuli, laba The Watchtower aka Jjulaayi 1, 1989, empapula 4-7.
Weetegerezza?
• Enjala mu nsi ya Kanani yagezesa etya okukkiriza kwa Ibulaamu?
• Ibulaamu ne Salaayi baateekawo batya ekyokulabirako ekirungi eri abaami n’abakyala leero?
• Biki bye tuyigira ku ngeri Ibulaamu gye yagonjoolamu enkaayana wakati w’abasumba be n’aba Lutti?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Ibulaamu yakulembeza Lutti by’ayagala so si ebibye
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Ibulaamu yeesiga Yakuwa mu kununula Lutti omwana wa muganda we