Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Olubereberye—II
OKUVA ku kutondebwa kw’omusajja eyasooka, Adamu, okutuuka ku kufa kwa mutabani wa Yakobo, Yusufu, ekitabo ky’Olubereberye kyogera ku byaliwo mu kiseera eky’emyaka 2,369 egy’ebyafaayo by’omuntu. Essuula ezisooka 10 nga mw’otwalidde n’ennyiriri 9 ez’essuula 11, zirimu ebikwata ku kutondebwa okutuuka ku kiseera eky’okuzimba omunaala gw’e Babeeri, ebyayogerwako mu magazini ey’omwezi oguwedde.a Ekitundu kino kirimu ensonga enkulu eziri mu ssuula ezisigaddeyo mu kitabo ky’Olubereberye, ezikwata ku ngeri Katonda gye yakolaganamu ne Ibulayimu, Isaaka, Yakobo, ne Yusufu.
IBULAYIMU AFUUKA MUKWANO GWA KATONDA
Emyaka nga 350 oluvannyuma lw’Amataba, omusajja ow’omuwendo ennyo eri Katonda azaalibwa mu lunyiriri lwa mutabani wa Nuuwa, Seemu. Erinnya lye ye Ibulaamu, oluvannyuma eryakyusibwa ne lifuuka Ibulayimu. Ng’akolera ku kiragiro kya Katonda, Ibulaamu ava mu kibuga ky’Abakaludaaya ekiyitibwa Uli era n’atandika okubeeranga mu weema mu nsi Yakuwa gy’asuubiza okumuwa ne bazzukulu be. Olw’okukkiriza n’obuwulize bwe, Ibulayimu ayitibwa “mukwano gwa Katonda.”—Yakobo 2:23.
Yakuwa azikiriza abantu ababi ab’omu Sodomu ne Ggomola n’ebibuga ebiriraanyewo, kyokka Lutti ne bawala be bawonyezebwawo. Ekisuubizo kya Katonda kituukirizibwa, Isaaka, mutabani wa Ibulayimu bw’azaalibwa. Emyaka bwe giyitawo, okukkiriza kwa Ibulayimu kugezesebwa nga Yakuwa amulagira okuwaayo omwana we nga ssaddaaka. Ibulayimu mwetegefu okukikola naye aziyizibwa malayika. Awatali kubuusabuusa Ibulayimu musajja alina okukkiriza, era akakasibwa nti mu zzadde lye, amawanga gonna mwe galiweebwa omukisa. Okufa kwa mukyala we omwagalwa, Saala, kuleetera Ibulayimu ennaku nnyingi.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
12:1-3—Endagaano ya Ibulayimu yatandika ddi okukola, era yali ya kumala bbanga ki? Endagaano Yakuwa gye yakola ne Ibulaamu nti “mu [Ibulaamu] ebika byonna eby’omu nsi mwe biriweerwa omukisa” kirabika yatandika okukola nga Ibulaamu amaze okusomoka omugga Fulaati ng’agenda e Kanani. Kino kiteekwa okuba nga kyaliwo nga Nisani 14, omwaka 1943 B.C.E.—gye myaka 430 ng’Abaisiraeri tebannanunulibwa okuva e Misiri. (Okuva 12:2, 6, 7, 40, 41) Endagaano ya Ibulayimu ye “ndagaano eteridiba.” Esigala ng’ekyakola okutuusa ng’ebika byonna eby’omu nsi biweereddwa omukisa era nga n’abalabe ba Katonda bamaze okuzikirizibwa.—Olubereberye 17:7; 1 Abakkolinso 15:23-26.
15:13—Emyaka 400 egy’okubonyaabonyezebwa kw’ezzadde lya Ibulaamu gyatuukirizibwa ddi? Ekiseera eky’okubonyabonyezebwa kyatandika mu 1913 B.C.E., Isaaka, mutabani wa Ibulayimu lwe yava ku mabeere nga wa myaka nga 5, era nga muganda we ow’emyaka 19, Isimaeri ‘amuduulira.’ (Olubereberye 21:8-14; Abaggalatiya 4:29) Kyakoma ng’Abaisiraeri banunulibwa okuva mu buddu e Misiri mu 1513 B.C.E.
16:2—Kyali kisaanira Salaayi okuwaayo omuzaana we Agali okuba muka Ibulaamu? Salaayi kye yakola kyali kituukagana n’empisa y’omu kiseera ekyo—eyali nti omukyala omugumba yali avunaanyizibwa okufunira bbaawe omukyala omulala asobole okumuzaalira omusika. Empisa ey’okubeera n’abakazi abangi yasookera mu lunyiriri lwa Kayini. Oluvannyuma, yafuuka empisa yaabwe era n’egobererwa abaweereza ba Yakuwa abamu. (Olubereberye 4:17-19; 16:1-3; 29:21-28) Kyokka, Yakuwa teyava ku mutindo gwe ogwasooka ogw’omusajja okuba n’omukazi omu. (Olubereberye 2:21, 22) Nuuwa ne batabani be, Katonda be yaddamu okuwa etteeka erigamba nti ‘mwalenga mweyongerenga, mujjuze ensi,’ kirabika nga buli omu yalina omukyala omu. (Olubereberye 7:7; 9:1; 2 Peetero 2:5) Era omutindo guno ogw’omusajja okubeera n’omukyala omu, ne Yesu Kristo yaguggumiza.—Matayo 19:4-8; 1 Timoseewo 3:2, 12.
19:8—Kyali kikyamu Lutti okuba omwetegefu okuwaayo bawala be eri abantu b’omu Sodomu? Okusinziira ku mpisa y’abantu b’omu kitundu ky’Ebuvanjuba, bwali buvunaanyizibwa bw’oyo akyazizza abagenyi okubakuuma, n’okubalwanirira ne bwe kiba nga kyetaagisa kufa. Lutti yali mwetegefu okukola ekyo. Yafuluma n’obuvumu, n’aggalawo oluggi, n’ayolekagana nabo. We yatuukira okuba omwetegefu okuwaayo bawala be, Lutti ateekwa okuba nga yali akitegeddeko nti abagenyi be baali batumiddwa Katonda, era alina okuba nga yalowooza nti Katonda yandikuumye bawala be nga bwe Yakuuma ssenga we Saala mu Misiri. (Olubereberye 12:17-20) Mazima ddala, Lutti ne bawala be tebaatukako kabi konna.
19:30-38—Yakuwa yabuusa amaaso ekikolwa kya Lutti eky’okutamiira n’okuzaala abaana mu bawala be? Yakuwa tabuusa maaso butamiivu wadde ekikolwa eky’okusula ne gw’olinako oluganda. (Eby’Abaleevi 18:6, 7, 29; 1 Abakkolinso 6:9, 10) Mu butuufu Lutti yanyolwanga nnyo “olw’empisa ez’obukaba” ez’abantu b’omu Sodomu. (2 Peetero 2:6-8) Olw’okuba bawala ba Lutti baasooka kumuwa mwenge n’atamiira kiraga nti baali bakimanyi nti teyandikkiriza kusula nabo singa yali tatamidde. Naye, olw’okuba baali bagwira mu nsi eyo, bawala be baalowooza nti eyo ye ngeri yokka gye bandikuumyemu olulyo lwa Lutti obutasanawo. Ebyo ebiri mu Baibuli birambika bulungi oluganda olwaliwo wakati wa Abamowaabu (okuva mu Mowaabu), Abamoni (okuva mu Benami) ne bazzukulu ba Ibulayimu, Abaisiraeri.
Bye Tuyigamu:
13:8, 9. Ibulayimu nga yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu kumalawo obutakkaanya! Tetulekanga okwagala ensimbi, okukulembeza bye twagala n’amalala okwonoona enkolagana yaffe ennungi n’abalala.
15:5, 6. Ibulayimu bwe yagenda ng’akaddiwa kyokka nga tannafuna mwana, yayogerako ne Katonda we ku nsonga eyo era Yakuwa yamugumya. Kiki ekyavaamu? Ibulayimu “n’akkiriza [Yakuwa].” Bwe tweyabiza Yakuwa okuyitira mu kusaba, ne tukkiriza engeri gyatugumyamu okuyitira mu Baibuli era ne tumugondera, okukkiriza kwaffe kujja kunywezebwa.
15:16. Yakuwa teyassa mu nkola musango gwe yali asalidde Abaamoli (oba, Abakanani) okumala emirembe ena. Lwaki? Kubanga Katonda mugumiikiriza. Yalindirira okutuusa bwe kyeyolekera ddala nti abantu abo tebakyasobola kukola nkyukakyuka. Okufaananako Yakuwa, tulina okuba abagumiikiriza.
18:23-33. Yakuwa tamala gazikiriza bantu. Akuuma abatuukirivu.
19:16. Lutti ‘yalwa,’ era kyenkana bamalayika baamusika busisi n’ab’omu maka ge okubaggya mu kibuga kya Sodomu. Kiba kya magezi obuteerabira bukulu bwa biseera bye tulimu nga bwe tulindirira enkomerero y’ensi eno embi.
19:26. Nga kiba kya busiru okuwugulwa oba okwegomba ebyo bye twaleka mu nsi!
YAKOBO ALINA ABAANA AB’OBULENZI 12
Ibulayimu akola enteekateeka Isaaka okuwasa Lebbeeka, omukazi akkiririza mu Yakuwa. Azaala abalongo Esawu ne Yakobo. Esawu anyooma obusika bwe n’abuguza Yakobo, oluvannyuma eyafuna emikisa okuva eri kitaawe. Yakobo addukira e Padanalaamu, eyo gy’awasizza Leeya ne Laakeeri era n’alabiriranga ebisibo bya taata waabwe okumala emyaka 20 nga tannaba kuvaayo n’ab’omu maka ge. Okuyitira mu Leeya ne Laakeeri, n’abazaana baabwe ababiri, Yakobo afuna abaana ab’obulenzi 12, era n’ab’obuwala. Yakobo ameggana ne malayika era aweebwa emikisa, n’erinnya lye likyusibwa ne liba Isiraeri.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
28:12, 13—Makulu ki agaali mu kirooto kya Yakobo ekikwata ku ‘madaala’? “Amadaala,” gano agaali galabika nga amayinja agambuka waggulu, gaalaga nti waliwo empuliziganya wakati w’ensi n’eggulu. Bamalayika ba Katonda okulinnya nga bwe bakkira ku go, kiraga nti baweereza mu ngeri ey’enjawulo wakati wa Yakuwa n’abantu b’asiima.—Yokaana 1:51.
30:14, 15—Lwaki Laakeeri omukisa ogw’okusula ne bbaawe yaguwaanyisamu amadudayimu? Edda, ekibala ky’amadudayimu kyakozesebwanga okuweweeza obulumi n’okuziyiza oba okuwonya okwesiba kw’ebinywa. Era kyalowoozebwanga nti ekibala kino kirina obusobozi bw’okuleeta okwegomba okw’okwetaba era n’okuyamba omuntu okufuna olubuto. (Oluyimba 7:13) Wadde nga Baibuli tewa nsonga lwaki Laakeeri yawanyisa omukisa gwe, kiyinzika okuba nga yalowooza nti amadudayimu gayinza okumuyambako okufuna olubuto n’awona ekivume ky’okuba omugumba. Kyokka, waayitawo emyaka, Yakuwa n’alyoka “aggula olubuto lwe.”—Olubereberye 30:22-24.
Bye Tuyigamu:
25:23. Yakuwa alina obusobozi bw’okumanya engeri z’omwana atannazaalibwa era n’obw’okulonda oyo gw’aba asiimye okutuukiriza ebigendererwa wadde ng’ekiseera kikyali mu maaso. Kyokka, si yateekateeka ekinaatuuka ku buli muntu oba ky’alibeera mu nkomerero.—Koseya 12:3; Abaruumi 9:10-12.
25:32, 33; 32:24-29. Olw’okuba Yakobo yafuba nnyo okufuna obusika era n’alwana ne malayika ekiro kyonna okufuna emikisa, kiraga nti yasiima nnyo ebintu ebitukuvu. Yakuwa atuteereddewo ebintu ebitukuvu ebiwerako, gamba ng’enkolagana yaffe naye, ekibiina kye, ekinunulo, Baibuli, n’essuubi lyaffe ery’Obwakabaka. Ka naffe tulage nti tulinga Yakobo nga tusiima ebintu ebitukuvu.
34:1, 30. Ekizibu ekyaleetera Yakobo ‘okuboolebwa’ kyaggyawo lwa kuba Dina yakola emikwano n’abantu abaali tebaagala Yakuwa. N’olwekyo, tulina okulonda emikwano n’obwegendereza.
YAKUWA AWA YUSUFU EMIKISA NG’ALI MU MISIRI
Obuggya buleetera batabani ba Yakobo okutunda muganda waabwe Yusufu ng’omuddu. Ng’ali mu Misiri, Yusufu asibibwa mu kkomera olw’okunywerera ku misingi gya Katonda egy’empisa. Ekiseera bwe kiyitawo aggibwa mu kkomera okutaputa ebirooto bya Falaawo, ebyali biragula emyaka omusanvu egy’ekyengera nga giddirirwa emyaka musanvu egy’enjala. Yusufu afuulibwa omukulu w’eby’emmere mu Misiri. Baganda be bajja e Misiri nga banoonya eky’okulya olw’enjala ennyingi. Amaka gaddamu okuba awamu era ne gakkalira ku ttaka eggimu ery’e Goseni. Ng’anaatera okufa, Yakobo awa batabani be emikisa era n’awa obunnabbi obuwa essuubi ekkakafu ery’okufuna emikisa egy’ekitalo mu byasa ebyandizze mu maaso. Omulambo gwa Yakobo gutwalibwa e Kanani okuziikibwa. Yusufu bw’afa ng’aweza emyaka 110 egy’obukulu, omubiri gwe gukolebwako guleme okuvunda, era oluvannyuma gwanditwaliddwa mu Nsi Ensuubize.—Okuva 13:19.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
43:32—Lwaki okulya emmere n’Abebbulaniya kyali kya muzizo eri Abamisiri? Kino kiteekwa okuba nga kyali bwe kityo olw’obusosoze mu by’eddiini n’okwenyumiriza mu ggwanga. N’ekirala, Abamisiri baali tebaagalira ddala basumba. (Olubereberye 46:34) Lwaki? Kyandiba ng’abasumba batwalibwanga nga ba wansi nnyo mu Misiri. Oba kiyinzika okuba nti, okuva ettaka eririmirwako bwe lyali ettono, Abamisiri baayisangamu amaaso abo abaanoonyezanga ebisolo byabwe omuddo.
44:5—Ddala Yusufu yakozesa ekikompe okulagula? Kirabika ekikompe ekya ffeeza n’ebyo ebyakyogerwako, byakozesebwa nga akakodyo ak’okubuzaabuza baganda ba Yusufu. Yusufu yali musinza wa Yakuwa omwesigwa. Teyakozesa kikompe kulagula, nga ne Benyamini bw’atakibba bubbi.
49:10—“Effumu” ne “omuggo gw’oyo afuga” bitegeeza ki? Effumu kaali kabonero akalaga obuyinza omufuzi bw’aba nabwo. Omuggo gw’oyo afuga gwoleka obuyinza bw’alina obw’okuwa ebiragiro. Yakobo okwogera ku bintu bino kiraga nti obuyinza n’amaanyi byandibaddenga mu kika kya Yuda okutuusa Siiro lwe yandizze. Muzzukulu wa Yuda ono ye Yesu Kristo, Yakuwa gw’awadde obuyinza obw’okufuga mu ggulu. Kristo alina obuyinza n’amaanyi okuwa ebiragiro.—Zabbuli 2:8, 9; Isaaya 55:4; Danyeri 7:13, 14.
Bye Tuyigamu:
38:26. Yuda yali mukyamu mu ngeri gye yakwatamu ensonga ezikwata ku Tamali muka mwana we eyali nnamwandu. Kyokka, bwe yategeezebwa nti ye yali nnanyini lubuto lwa Tamali, Yuda yakkiriza ensobi ye. Naffe tulina okuba abangu okukkiriza ensobi zaffe.
39:9. Engeri Yusufu gye yaddamu muka Potifali eraga nti endowooza ye yali ekwatagana n’endowooza ya Katonda ku bikwata ku mpisa, era nti omuntu we ow’omunda yali akulemberwa misingi gya Katonda. Naffe tetwandifubye okukola kye kimu nga tukulaakulana mu kumanya okutuufu okw’amazima?
41:14-16, 39, 40. Yakuwa asobola okukyusa embeera z’abo abamutya. Bwe twolekagana n’ebizibu, kiba kya magezi okuteeka obwesige bwaffe mu Yakuwa era tusigale nga tuli beesigwa gy’ali.
Baalina Okukkiriza okw’Amaanyi
Ibulayimu, Isaaka, Yakobo, ne Yusufu ddala baali abasajja abaalina okukkiriza era abaatyanga Katonda. Ebikwata ku bulamu bwabwe, ebiri mu kitabo ky’Olubereberye, bizimba okukkiriza kwaffe era bituyigiriza ebintu bingi eby’omugaso.
Osobola okuganyulwa mu bintu bino ng’ogoberera enteekateeka ey’okusoma kwa Baibuli okwa buli wiiki mu ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Okufumiitiriza ku bye tulabye kijja kubifuula eby’amakulu gye tuli.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba ekitundu ekigamba nti “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu—Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Olubereberye—I” mu Omunaala gw’Omukuumi aka Jjanwali 1, 2004.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Ibulayimu yali musajja alina okukkiriza
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Yakuwa awa Yusufu emikisa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Lutti omutuukirivu ne bawala be baawonyezebwawo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Yakobo yasiima ebintu ebitukuvu. Naawe obisiima?