ESSUULA 20
“Omutima Gwe gwa Magezi”—Kyokka Mwetoowaze
1-3. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa mwetoowaze?
TAATA alina ekintu ekikulu ky’ayagala okuyigiriza omwana we omuto. Ayagala okutuuka ku ntobo y’omutima gw’omwana we. Ekyo yandikikoze atya? Yandyesimbye mu maaso g’omwana we n’ayogera n’obukambwe? Oba yandikutamye n’ayogera n’omwana we mu ngeri ey’obukkakkamu era esikiriza? Mazima ddala taata ow’amagezi, era omwetoowaze, yandikikoze mu bukkakkamu.
2 Yakuwa taata wa ngeri ki? Wa malala oba mwetoowaze? Mukambwe oba mukkakkamu? Yakuwa amanyi byonna, era wa magezi mangi. Naye, okyetegerezza nti okumanya n’amagezi tebifuula bantu kuba beetoowaze? Baibuli egamba, ‘okumanya kuleetera omuntu okwekulumbaza.’ (1 Abakkolinso 3:19; 8:1) Kyokka, Yakuwa mwetoowaze wadde ‘ng’alina omutima ogw’amagezi.’ (Yobu 9:4) Naye, ekyo tekitegeeza nti Yakuwa si wa kitiibwa, wabula kitegeeza nti si wa malala. Lwaki kiri bwe kityo?
3 Yakuwa mutukuvu. N’olwekyo, amalala, engeri eyonoona, tagirina. (Makko 7:20-22) Ate era, weetegereze nnabbi Yeremiya kye yagamba Yakuwa: “Emmeeme yo [Yakuwa kennyini] ejja kunzijukira era okutame we ndi.”a (Okukungubaga 3:20, NW) Kiteebereze! Yakuwa, Omufuzi w’Obutonde Bwonna, yali mwetegefu ‘okukutama,’ oba okwessa wansi ayogere ne Yeremiya. (Zabbuli 113:7) Yee, Yakuwa mwetoowaze. Naye, obwetoowaze bwa Katonda buzingiramu ki? Bulina kakwate ki n’amagezi? Lwaki bukulu gye tuli?
Engeri Yakuwa gy’Ali Omwetoowaze
4, 5. (a) Obwetoowaze kye ki, era bwolesebwa butya, era lwaki tebulina kutwalibwa ng’obunafu oba obutiitiizi? (b) Yakuwa yayoleka atya obwetoowaze mu ngeri gye yakolaganamu ne Dawudi, era Yakuwa okuba nti mwetoowaze kikulu kwenkana wa gye tuli?
4 Obwetoowaze bwe butaba na malala. Obwetoowaze bweyolekera mu ngeri ng’obukkakkamu, obugumiikiriza, n’obutaba mukakanyavu. (Abaggalatiya 5:22, 23) Kyokka, engeri zino ezisanyusa Katonda tezisaanidde kulowoozebwako ng’ezooleka obunafu oba obutiitiizi. Mu kuzooleka, Yakuwa aba takontana na busungu bwe obw’obutuukirivu oba amaanyi ge ag’okuzikiriza. Okwawukana ku ekyo, obwetoowaze n’obukkakkamu bwa Yakuwa, byoleka amaanyi ge amangi, n’obusobozi bwe obw’okwefuga. (Isaaya 42:14) Obwetoowaze bulina kakwate ki n’amagezi? Ekitabo ekimu ekyogera ku Baibuli kigamba: ‘Obwetoowaze bunnyonnyolwa ng’obuteerowoozaako era gwe musingi gw’amagezi.’ N’olwekyo, amagezi aga nnamaddala, gagendera wamu n’obwetoowaze. Obwetoowaze bwa Yakuwa butuganyula butya?
Taata ow’amagezi aba mukkakkamu era mwetoowaze ng’akolagana n’abaana be
5 Kabaka Dawudi yayimba bw’ati eri Yakuwa: “Ompadde engabo ey’obulokozi bwo: n’omukono gwo ogwa ddyo gumpaniridde, n’obuwombeefu bwo bungulumizizza.” (Zabbuli 18:35) Yakuwa yeetoowaza okusobola okukolagana n’omuntu ono eyali tatuukiridde, n’amukuuma era n’amuwanirira buli lunaku. Dawudi yakitegeera nti yandifunye obulokozi, era n’afuuka kabaka omukulu, kubanga Yakuwa yali mwetegefu okwetoowaza mu ngeri eno. Mazima ddala, ani ku ffe eyandibadde n’essuubi ery’okulokolebwa singa Yakuwa teyali mwetoowaze, nga mwetegefu okwessa wansi asobole okutuyisa mu ngeri ey’okwagala era ey’obukkakkamu?
6, 7. (a) Yakuwa mwetoowaze mu ngeri ki? (b) Kakwate ki akaliwo wakati w’obukkakkamu n’amagezi, era ani ataddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi ku nsonga eno?
6 Obwetoowaze ngeri nnungi abantu abeesigwa gye balina okukulaakulanya. Ekwataganyizibwa n’amagezi. Ng’ekyokulabirako Engero 11:2 lugamba: ‘Amagezi gali n’abeetoowaze.’ Kyokka, Baibuli teyogera ku Yakuwa ng’omwetoowaze mu ngeri gy’eyogera ku bantu. Lwaki? Mu Byawandiikibwa, abantu bwe boogerwako ng’abeetoowaze, kiba kiraga nti obusobozi bwabwe buliko we bukoma. Obusobozi bw’omuyinza w’Ebintu byonna tebuliiko kkomo, okuggyako eryo ly’ayinza okweteekako okusobola okutuukana n’emitindo gye egy’obutuukirivu. (Makko 10:27; Tito 1:2) Ate era, olw’okuba y’Ali Waggulu Ennyo, tali wansi wa muntu yenna. N’olwekyo, Yakuwa tayinza kwogerwako ng’omwetoowaze mu ngeri abantu gye boogerwako.
7 Kyokka, Yakuwa mwetoowaze mu ngeri nti mwetegefu okukolagana n’abantu. Yakuwa era mukkakkamu. Ayigiriza abaweereza be nti obukkakkamu bwetaagisa bwe tuba ab’okwoleka amagezi aga nnamaddala. Ekigambo kye kyogera ku ‘bukkakkamu obugendera awamu n’amagezi.’b (Yakobo 3:13, NW) Lowooza ku kyokulabirako ekirungi ennyo Yakuwa ky’ataddewo ku nsonga eno.
Yakuwa Awuliriza era Awa Abalala Obuvunaanyizibwa
8-10. (a) Lwaki kyewuunyisa nti Yakuwa mwetegefu okuwa abalala obuvunaanyizibwa n’okubawuliriza? (b) Omuyinza w’Ebintu Byonna alaze atya obwetoowaze ng’akolagana ne bamalayika be?
8 Waliwo obukakafu obulaga nti Yakuwa mwetegefu okuwa abalala obuvunaanyizibwa n’okubawuliriza. Eky’okuba nti mwetegefu okukola ekyo, mazima ddala kyewuunyisa nnyo. Yakuwa teyeetaaga buyambi oba okubuulirirwa. (Isaaya 40:13, 14; Abaruumi 11:34, 35) Wadde kiri kityo, enfunda n’enfunda Baibuli eraga nti Yakuwa yeetoowaza mu ngeri ezo.
9 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kyaliwo mu bulamu bwa Ibulayimu. Ibulayimu yafuna abagenyi basatu, era omu yamuyita ‘Yakuwa.’ Mu butuufu, abagenyi abo baali bamalayika, era omu ku bo yajjira mu linnya lya Yakuwa. Malayika oyo bwe yayogeranga era n’akola ekintu kyonna, tuyinza okugamba nti Yakuwa ye yali ayogera era ye yali akola ekintu ekyo. Okuyitira mu malayika ono, Yakuwa yagamba Ibulayimu nti yali awulidde ‘okukaaba okunene okuva mu Sodomu ne Ggomola.’ Yakuwa yagamba: “Nnakka kaakano ndabe nga bakolera ddala ng’okukaaba kwayo bwe kuli, okwatuuka eri nze; era obanga tekyali bwe kityo, n[n]aamanya.” (Olubereberye 18:3, 20, 21) Kya lwatu, obubaka obwo okuva eri Yakuwa bwali tebutegeeza nti Omuyinza w’Ebintu Byonna yali agenda ‘kukka’ ye kennyini. Wabula, yatuma bamalayika okumukiikirira. (Olubereberye 19:1) Lwaki? Yakuwa alaba byonna yali tayinza ‘kumanya’ mbeera yali mu kitundu ekyo ku lulwe? Yali asobola. Naye yasalawo okuwa bamalayika abo omulimu ogw’okuzuula ekyali kigenda mu maaso n’okukyalira Lutti n’amaka ge mu Sodomu.
10 Ate era Yakuwa awuliriza. Lumu yasaba bamalayika be okumuwa ebirowoozo ku ngeri y’okusuula obufuzi bwa Kabaka Akabu omubi. Yakuwa yali teyeetaaga buyambi ng’obwo. Kyokka, yakkiriza amagezi agaamuweebwa omu ku bamalayika era n’agamba malayika oyo agasse mu nkola. (1 Bassekabaka 22:19-22) Obwo tebwali bwetoowaze bwa maanyi?
11, 12. Ibulayimu yategeera atya obwetoowaze bwa Yakuwa?
11 Yakuwa mwetegefu n’okuwuliriza abantu abatatuukiridde abaagala okumutegeeza ebibeeraliikiriza. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa bwe yasooka okutegeeza Ibulayimu ku kigendererwa kye eky’okuzikiriza Sodomu ne Ggomola, omusajja oyo omwesigwa yasoberwa. Yagamba nti, “Kitalo okole bw’otyo.” Yagattako: “Omulamuzi w’ensi zonna talikola bya butuukirivu?” Yabuuza obanga Yakuwa teyandizikirizza bibuga bwe byandibaddemu abantu abatuukirivu 50. Yakuwa yamukakasa nti teyandibizikirizza. Ibulayimu yaddamu okumubuuza obanga yandibizikirizza bwe kyandibadde ng’abatuukirivu baali 45, 40, n’okweyongerayo wansi. Wadde nga Yakuwa yamukakasanga buli lwe yabuuza, Ibulayimu yeeyongera okubuuza Yakuwa okutuusa omuwendo bwe gwatuuka ku kkumi. Oboolyawo Ibulayimu yali tannategeerera ddala mu bujjuvu engeri Yakuwa gy’ali omusaasizi. Ka kibe ki ekyaleetera Ibulayimu okubuuza Yakuwa mu ngeri eyo, olw’obugumiikiriza n’obwetoowaze, Yakuwa yaleka mukwano gwe era omuweereza we Ibulayimu okwogera ekyamuli ku mutima.—Olubereberye 18:23-33.
12 Bantu bameka abagezi era abayivu abandiwulirizza n’obugumiikiriza omuntu ow’amagezi amatono ennyo?c N’olwekyo, Katonda waffe yalaga obwetoowaze obw’ekitalo bwe yakola bw’atyo. Bwe yali ayogera ne Yakuwa, Ibulayimu era yakitegeera nti Yakuwa ‘alwawo okusunguwala.’ (Okuva 34:6) Oboolyawo ng’akitegedde nti yali tateekeddwa kubuusabuusa ebyo Ali Waggulu Ennyo by’akola, emirundi ebiri Ibulayimu yeegayirira nti: “Nkwegayiridde, Mukama t[o]sunguwala.” (Olubereberye 18:30, 32) Kya lwatu, Yakuwa teyasunguwala. Mazima ddala, alina ‘obukkakkamu obugendera awamu n’amagezi.’
Yakuwa Si Mukakanyavu
13. Okusinziira ku ngeri gye bikozesebwamu mu Baibuli, ebigambo ‘si mukakanyavu’ bitegeeza ki, era lwaki kituukirawo okubikozesa ku Yakuwa?
13 Obwetoowaze bwa Yakuwa bweyoleka mu ngeri endala ennungi—obutaba mukakanyavu. Engeri eno tesangikasangika mu bantu abatatuukiridde. Yakuwa bulijjo mwetegefu okuwuliriza ebitonde bye ebitegeera ate era takalambira ku nsonga kasita eba nga tekontana na misingi gye egy’obutuukirivu. Era ‘obutaba mukakanyavu’ y’emu ku ngeri amagezi ga Katonda gye goolesebwamu. Yakobo 3:17 (NW) lugamba: “Amagezi agava waggulu . . . si makakanyavu.” Mu ngeri ki Katonda ow’amagezi amangi gy’atali mukakanyavu? Okusooka, atuukana bulungi nnyo na buli mbeera yonna eriwo. Jjukira nti erinnya lye litutegeeza nti Yakuwa afuuka kyonna ekyetaagisa okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye. (Okuva 3:14) Ekyo tekiraga nti atuukana n’embeera ebaawo era nti si mukakanyavu?
14, 15. Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku ggaali lya Yakuwa ery’omu ggulu, kutuyigiriza ki ku ntegeka ya Yakuwa ey’omu ggulu, era eyawukana etya ku bibiina by’abantu?
14 Waliwo ennyiriri mu Baibuli ezituyamba okutegeera obulungi nti Yakuwa asobola okutuukana na buli mbeera ebaawo. Nnabbi Ezeekyeri yayolesebwa entegeka ya Yakuwa ey’omu ggulu ey’ebitonde eby’omwoyo. Yalaba eggaali eddene ennyo, Yakuwa lye yali avuga. Ekyali kyewuunyisa ye ngeri gye lyatambulangamu. Nnamuziga zaalyo ennene ennyo zaalina ensonda nnya era nga zijjudde amaaso ne ziba nga ziyinza okutunula mu buli kifo, era nga ziyinza okukyuka embagirawo awatali kuyimirira. Era eggaali lino eddene ennyo lyali terisikondoka ng’ekimotoka ekinene ekikoleddwa omuntu. Lyali liyinza okutambulira ku sipiidi y’ekimyanso kya laddu! (Ezeekyeri 1:1, 14-28) Yee, entegeka ya Yakuwa, ekulemberwa Omuyinza w’Ebintu Byonna, etuukana n’embeera yonna ebaawo, oba n’ebyetaago by’erina okukolako.
15 Abantu bayinza kugezaako bugeza okukoppa enkola eyo ey’okutuukana n’embeera yonna ebaawo. Emirundi mingi, abantu n’ebibiina byabwe tebatuukana na mbeera eriwo. Okuwaayo ekyokulabirako: Emmeeri eyeetikka amafuta oba eggaali y’omukka etambuza eby’amaguzi biba binene nnyo era nga bya maanyi nnyo. Naye biyinza okutuukagana n’embeera eziyinza okukyuka embagirawo? Singa wabaawo ekintu ekyekiika mu kkubo ly’eggaali y’omukka, eba teyinza kukyuka n’edda eky’ennyuma ereme okukitomera. Era teyinza kuyimirira mbagirawo. Bwe basiba ebiziyiza by’eggaali y’omukka ennene ennyo, eyimirira oluvannyuma lw’ebbanga lya mayiro nnamba! Mu ngeri y’emu, emmeeri gaggadde enneetissi y’amafuta eyinza okweyongera mu maaso mayiro nga ttaano nga yingini yaayo emaze okuggibwamu omuliro. Ggiya z’emmeeri eyo ne bwe ziwangibwa okugizza ekyennyumannyuma, emmeeri eyo eyinza okweyongera mu maaso mayiro nga bbiri! Kye kimu eri ebibiina by’abantu ebikakanyavu era ebitayinza kutuukana na mbeera ebaawo. Olw’amalala, n’abantu bagaana okutuukana n’embeera ezigenda zikyukakyuka. Obukakanyavu ng’obwo, buviiriddeko kampuni okugwa era ne gavumenti okuwambibwa. (Engero 16:18) Nga tuli basanyufu nnyo nti Yakuwa n’entegeka ye tebali nga bibiina by’abantu ebyo!
Engeri Yakuwa gy’Alagamu nti Si Mukakanyavu
16. Yakuwa yalaga atya nti si mukakanyavu mu ngeri gye yakolaganamu ne Lutti nga tannazikiriza Sodomu ne Ggomola?
16 Lowooza nate ku kuzikirizibwa kwa Sodomu ne Ggomola. Lutti n’amaka ge, baaweebwa ekiragiro kino okuva eri Malayika wa Yakuwa: ‘Muddukire mu nsozi.’ Kyokka, kino tekyasanyusa Lutti. ‘Nedda, Yakuwa nkwegayiridde, nneme kulaga eyo!’ bw’atyo bwe yagamba. Ng’alowooza nti yandifudde bwe yandiddukidde mu nsozi, Lutti yasaba nti ye n’amaka ge bakkirizibwe okuddukira mu kibuga kya Zowaali ekyali okumpi awo. Kijjukire nti Yakuwa yali asazeewo okuzikiriza ekibuga ekyo. Ate era, Lutti teyalina nsonga ntuufu emutiisa. Mazima ddala, Yakuwa yali asobola okuwonyawo Lutti bwe yandiddukidde mu nsozi! Wadde kyali kityo, Yakuwa yakkiriza Lutti bye yasaba era n’atazikiriza Zowaali. Malayika yagamba Lutti: “Nkukkiriza ne mu kigambo ekyo.” (Olubereberye 19:17-22) Awo Yakuwa teyayoleka obutali bukakanyavu?
17, 18. Mu ngeri gye yakolaganamu n’ab’omu kibuga ky’e Nineeve, Yakuwa yalaga atya nti si mukakanyavu?
17 Era, Yakuwa asanyukira abo abeenenya mu bwesimbu, n’abasaasira. Lowooza ku kyaliwo nnabbi Yona bwe yatumibwa mu kibuga Nineeve omwali ebikolwa ebibi era eby’ettemu. Yona yayita mu kibuga ky’e Nineeve, ng’alangirira nti ekibuga ekyo kigenda kuzikirizibwa mu nnaku 40. Kyokka, embeera zaakyuka. Ab’omu kibuga ky’e Nineeve, beenenya!—Yona, essuula 3.
18 Tulina kye tuyiga bwe tugeraageranya ekyo Yakuwa ne Yona kye baakola nga wabaddewo enkyukakyuka eyo. Mu byaliwo bino, Yakuwa yatuukana n’embeera eyaliwo, n’afuuka oyo Asonyiwa ebibi mu kifo ky’okubeera ‘omulwanyi omuzira.’d (Okuva 15:3) Ku luuyi olulala, Yona teyali mwetegefu kutuukana na mbeera eyo eyaliwo era teyalaga busaasizi. Mu kifo ky’obutabeera mukakanyavu nga Yakuwa, yalinga eggaali y’omukka ennene ennyo oba emmeeri gagadde enneetissi y’amafuta bye twayogeddeko emabega. Yali alangiridde nti ekibuga kigenda kuzikirizibwa, n’olwekyo kyali kiteekwa okuzikirizibwa ka kibeere ki! Kyokka, Yakuwa yayigiriza nnabbi ono ataalina bugumiikiriza essomo mu butaba mukakanyavu era n’okubeera omusaasizi.—Yona, essuula 4.
19. (a) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa tatusuubiramu bye tutayinza kukola? (b) Engero 19:17, lulaga lutya nti Yakuwa ‘mulungi era si mukakanyavu,’ era nti mwetoowaze nnyo?
19 N’ekisembayo, Yakuwa tatusuubiramu bye tutayinza kukola. Kabaka Dawudi yagamba: “Amanyi omubiri gwaffe; ajjukira nga ffe tuli nfuufu.” (Zabbuli 103:14) Yakuwa amanyi ekkomo lyaffe n’obutali butuukirivu bwaffe n’okutusinga ffe ffenyini. Tatusuubiramu kye tutayinza kukola. Baibuli eyawulawo abantu ‘abalungi era abatali bakakanyavu’ abalina obuyinza ku bannaabwe okuva ku abo ‘abakambwe.’ (1 Peetero 2:18) Ye Yakuwa muntu wa ngeri ki? Weetegereze Engero 19:17 kye lugamba: “Asaasira omwavu awola Mukama.” Kya lwatu, omuntu omulungi era atali mukakanyavu ye yandyetegerezza ebikolwa eby’ekisa ebikolerwa abaavu. Ekisingawo n’obukulu, ekyawandiikibwa kino kiraga nti Omutonzi w’obutonde bwonna, akitwala nti abanjibwa abantu abakola ebikolwa ng’ebyo eby’obusaasizi! Mazima ddala, obwo bwetoowaze bwa kika kya waggulu.
20. Bukakafu ki obuliwo obulaga nti Yakuwa awulira okusaba kwaffe era n’akuddamu?
20 Yakuwa mukkakkamu era si mukakanyavu mu ngeri gy’akolaganamu n’abaweereza be leero. Bwe tumusaba n’okukkiriza, atuwuliriza. Wadde nga tatuma bamalayika okwogera naffe, tetwandikitutte nti taddamu kusaba kwaffe. Jjukira nti omutume Pawulo bwe yasaba bakkiriza banne ‘okumusabira’ asumululwe mu kkomera, yagattako: “Ndyoke nkomezebwewo mangu gye muli.” (Abebbulaniya 13:18, 19) N’olwekyo, bwe tusaba Yakuwa ayinza okukola ekyo ky’atandikoze!—Yakobo 5:16.
21. Yakuwa okubeera omwetoowaze tekyandituleetedde kumulowoozaako tutya, naye lwaki twandimusiimye?
21 Kya lwatu, engeri zino zonna ezooleka obwetoowaze bwa Yakuwa, kwe kugamba, obukkakkamu, okuba omwetegefu okuwuliriza, obugumiikiriza, n’obutaba mukakanyavu, teziraga nti asuula omuguluka emisingi gye egy’obutuukirivu. Abakadde b’amakanisa mu Kristendomu bayinza okulowooza nti si bakakanyavu bwe batakubiriza bagoberezi baabwe kunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa. (2 Timoseewo 4:3) Kyokka, enkola y’abantu ey’okusuula omuguluka emitindo egimu okusobola okugonza obugonza ebintu si kye kimu n’obutali bukakanyavu bwa Yakuwa. Yakuwa mutukuvu; tagenda n’akamu kusuula muguluka mitindo gye egy’obutuukirivu. (Eby’Abaleevi 11:44) N’olwekyo, tutwale obutali bukakanyavu bwa Yakuwa ng’obujulizi obulaga obwetoowaze bwe. Toli musanyufu nnyo nti Yakuwa Katonda, asingayo amagezi mu butonde bwonna, mwetoowaze nnyo? Nga kya ssanyu nnyo okufuna enkolagana ennungi ne Katonda ono ow’ekitalo kyokka ate nga mukkakkamu, mugumiikiriza, era nga si mukakanyavu!
a Abawandiisi ab’edda oba abasoferimu, baakyusa olunyiriri luno ne luba nga lugamba nti Yeremiya so si Yakuwa ye yakutama. Baalowooza nga tekisaanira okugamba nti Katonda yakola ekikolwa ekyo eky’obwetoowaze. N’olw’ensonga eyo, enkyusa za Baibuli nnyingi teziggyayo makulu agali mu lunyiriri luno. Kyokka, yo enkyusa eyitibwa The New English Bible eraga bulungi nti Yeremiya ye yagamba Katonda nti: “Nzijukira, okutame we ndi.”
b Enkyusa endala zigamba nti ‘obwetoowaze buva mu magezi’ era ‘obukkakkamu ngeri eyoleka amagezi.’
c Baibuli eraga enjawulo wakati w’obugumiikiriza n’amalala. (Omubuulizi 7:8) Obugumiikiriza bwa Yakuwa nabwo bulaga nti mwetoowaze.—2 Peetero 3:9.
d Mu Zabbuli 86:5, Yakuwa ayogerwako nti ‘mulungi era ayanguwa okusonyiwa.’ Zabbuli eno bwe yavvuunulwa mu Luyonaani, ebigambo ‘ayanguwa okusonyiwa’ byavvuunulwa nti ‘si mukakanyavu.’