Obusika Bwaffe obw’Omuwendo—Butegeeza Ki gy’Oli?
“Mujje, mwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi.”—MATAYO 25:34.
1. Bintu bya ngeri ki abantu bye bafunye ng’obusika?
ABANTU bonna balina ebintu bye baasikira. Eri abamu, bye basikira biyinza okuba eby’obugagga. Abalala buyinza okubeera obwavu. Mu mbeera ezimu, emirembe egy’edda, olw’ebyo bye baalaba oba bye baawulira, baaleetera abalala okukyawa eggwanga eddala. Kyokka, fenna tulina ekintu kye tufaananya. Ffenna twasikira ekibi okuva ku musajja eyasooka, Adamu. Obusika obwo mu nkomerero buvaamu okufa.—Omubuulizi 9:2, 10; Abaruumi 5:12.
2, 3. Busika ki Yakuwa bwe yateekerawo ezzadde lya Adamu ne Kaawa mu lubereberye, naye lwaki tebaabufuna?
2 Yakuwa, nga Kitaffe ow’okwagala ow’omu ggulu, mu lubereberye yawa abantu obusika obw’enjawulo ennyo—obulamu obutaggwaawo mu mbeera etuukiridde mu Lusuku lwe. Bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, baaweebwa entandikwa etuukiridde. Yakuwa Katonda yawa abantu Ensi ng’ekirabo. (Zabbuli 115:16) Yateekawo olusuku lwa Adeni okulaga engeri ensi yonna bwe yandifaananye era n’awa bazadde baffe abaasooka omulimu ogw’ekitalo era ogusanyusa. Baali baakuzaala abaana, okulabirira ensi n’ebimera n’ebisolo byonna ebyagiriko, era n’okufuula ensi yonna Olusuku lwa Katonda. (Olubereberye 1:28; 2:8, 9, 15) Ezzadde lyabwe lyandyenyigidde mu bino. Nga bwali busika bwa kitalo bwe bandituusizza ku zzadde lyabwe!
3 Kyokka, singa baali baakunyumirwa bino byonna, Adamu ne Kaawa n’ezzadde lyabwe baalina okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Baalina okwagala n’okugondera Yakuwa, naye Adamu ne Kaawa baalemererwa okusiima ekyo Katonda kye yali abawadde era ne bajeemera ekiragiro kye. Baafiirwa amaka gaabwe mu Lusuku lwa Katonda era n’essuubi Katonda lye yali abawadde. N’olwekyo, baali tebasobola kutuusa bino ku zzadde lyabwe.—Olubereberye 2:16, 17; 3:1-24.
4. Tuyinza tutya okufuna obusika Adamu bwe yafiirwa?
4 Mu ngeri ey’ekisa, Yakuwa yakola enteekateeka ezzadde lya Adamu ne Kaawa babeere n’omukisa gw’okufuna obusika Adamu bwe yafiirwa. Mu ngeri ki? Mu kiseera kya Katonda ekigereke, Omwana we, Yesu Kristo, yawaayo obulamu bwe obutuukiridde ku lw’ezzadde lya Adamu. Okuyitira mu nteekateeka eno, Kristo yabanunula bonna. Kyokka, obusika tebumala gafuukirawo bwabwe. Beetaaga ennyimirira esiimibwa mu maaso ga Katonda, gye bayinza okufuna nga bakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu etangirira ebibi era nga booleka okukkiriza nga babeera bawulize. (Yokaana 3:16, 36; 1 Timoseewo 2:5, 6; Abaebbulaniya 2:9; 5:9) Engeri gye weeyisaamu mu bulamu bwo eraga nti osiima enteekateeka eyo?
Obusika Obwayitira mu Ibulayimu
5. Ibulayimu yasiima atya enkolagana gye yalina ne Yakuwa?
5 Ng’atuukiriza ekigendererwa kye eri ensi, Yakuwa yakolagana ne Ibulayimu mu ngeri ey’enjawulo. Yagamba omusajja oyo omwesigwa okuva mu nsi ye agende mu nsi Katonda kennyini gye yandimulaze. Ibulayimu yamugondera. Ibulayimu bwe yatuukayo, Yakuwa yagamba nti ezzadde lya Ibulayimu, so si Ibulayimu yennyini, lye lyandifunye ettaka ng’obusika. (Olubereberye 12:1, 2, 7) Ibulayimu yakitwala atya? Yali mwetegefu okuweereza Yakuwa wonna wonna era mu ngeri yonna Katonda gye yandimugambye ezzadde lye lisobole okufuna obusika. Ibulayimu yaweereza Yakuwa mu nsi etali yiye okumala emyaka 100, okutuusa bwe yafa. (Olubereberye 12:4; 25:8-10) Gwe ekyo wandikikoze? Yakuwa yagamba nti Ibulayimu yali ‘mukwano ggwe.’—Isaaya 41:8.
6. (a) Ibulayimu yayoleka ki bwe yali omwetegefu okuwaayo omwana we? (b) Busika ki obw’omuwendo Ibulayimu bwe yali ayinza okutuusa ku zzadde lye?
6 Ibulayimu yali alinze emyaka mingi okufuna omwana we, Isaaka, gwe yali ayagala ennyo. Omwana bwe yakula, Yakuwa yalagira Ibulayimu okuwaayo omwana we nga ssaddaaka. Ibulayimu yali tamanyi nti yali ali kumpi okwoleka ekyo Katonda kennyini kye yandikoze mu kuwaayo Omwana we ng’ekinunulo; kyokka yamugondera era yali anaatera okuwaayo Isaaka nga ssaddaaka malayika wa Yakuwa n’alyoka omuziyiza. (Olubereberye 22:9-14) Yakuwa yali amaze okugamba nti ebisuubizo bye eri Ibulayimu byandituukiriziddwa okuyitira mu Isaaka. Bwe kityo, Ibulayimu yalina okukkiriza nti, singa kiba kyetaagisa, Katonda yandikomezzaawo Isaaka okuva mu bafu, wadde ng’ekintu ng’ekyo kyali tekibangawo. (Olubereberye 17:15-18; Abaebbulaniya 11:17-19) Olw’okuba Ibulayimu teyagaana kuwaayo mwana we, Yakuwa yagamba: “Mu zzadde lyo amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweebwa omukisa.” (Olubereberye 22:15-18) Kino kyalaga nti Ezzadde eryogerwako mu Olubereberye 3:15, Masiya omununuzi, lyandiyitidde mu lunyiriri lwa Ibulayimu. Nga bwali busika bwa muwendo nnyo obw’okutuusa ku balala!
7. Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo baalaga batya nti basiima obusika bwabwe?
7 Ibulayimu yali tamanyi makulu g’ekyo Yakuwa kye yali akola mu kiseera ekyo; wadde mutabani we Isaaka oba muzzukulu we Yakobo abaafuuka ‘abasika ab’okusuubizibwa okwo.’ Naye bonna baalina obwesige mu Yakuwa. Tebeemalira ku bibuga eby’omu nsi kubanga baali balindirira ekintu ekisingako obulungi—‘ekibuga kiri ekirina emisingi, Katonda kye yategeka era kye yazimba.’ (Abaebbulaniya 11:8-10, 13-16) Kyokka, ezzadde lya Ibulayimu bonna tebaasiima busika obw’omuwendo obwayitira mu Ibulayimu.
Abamu Abaanyooma Obusika
8. Esawu yalaga atya nti teyasiima busika bwe?
8 Esawu, omwana wa Isaaka eyali asinga obukulu, yalemererwa okusiima enkizo ye ng’omwana omuggulanda. Teyasiima bintu bitukuvu. N’olwekyo, lumu Esawu bwe yali alumwa enjala, yatunda enkizo ye ey’okubeera omwana omuggulanda eri muganda we, Yakobo. Yasasulwa ki? Yasasulwa omugaati n’omugoyo! (Olubereberye 25:29-34; Abaebbulaniya 12:14-17) Eggwanga omwandituukiriziddwa ebisuubizo bya Katonda eri Ibulayimu lyasibuka mu Yakobo, era Katonda yakyusa erinnya lye ne lifuuka Isiraeri. Obusika obwo bwa bawa mikisa ki?
9. Olw’obusika bwabwe obw’eby’omwoyo, ezzadde lya Yakobo, oba Isiraeri baanunulwa batya?
9 Mu kiseera ky’enjala, Yakobo n’amaka ge baasengukira e Misiri. Eyo beeyongera ne bafuuka bangi nnyo, naye era ne bafuuka abaddu. Kyokka, Yakuwa teyeerabira ndagaano gye yakola ne Ibulayimu. Mu kiseera kya Katonda ekigereke, yanunula abaana ba Isiraeri okuva mu busibe era n’abategeeza nti yali agenda kubaleeta mu nsi ‘ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki,’ ensi gye yali asuubiza Ibulayimu.—Okuva 3:7, 8; Olubereberye 15:18-21.
10. Ku Lusozi Sinaayi, bintu ki ebitali bya bulijjo ebyaliwo ebikwata ku busika bw’abaana ba Isiraeri?
10 Abaana ba Isiraeri bwe baali bagenda mu Nsi Ensuubize, Yakuwa yabakuŋŋaanya ku Lusozi Sinaayi. Eyo yabagamba: “Kale, kaakano, bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna: kubanga ensi yonna yange: nammwe mulimbeerera obwakabaka bwa bakabona, n’eggwanga ettukuvu. Bino bye bigambo by’olibabuulira abaana ba Isiraeri.” (Okuva 19:5, 6) Abantu bonna bwe bakkiriza kino kyeyagalire, Yakuwa yabawa Amateeka—ekintu ky’ataakola eri abantu abalala bonna.—Zabbuli 147:19, 20.
11. Bintu ki ebimu eby’omuwendo ebyali mu busika obw’eby’omwoyo obw’abaana ba Isiraeri?
11 Ng’eggwanga eryo eppya lyalina obusika obw’ekitalo obw’eby’omwoyo! Baali basinza Katonda yekka ow’amazima. Yali abanunudde okuva mu Misiri era baalabako n’agaabwe ebintu ebiwuniikiriza Amateeka bwe gaaweebwa ku Lusozi Sinaayi. Obusika bwabwe bweyongera bwe baafuna ‘ebirangiriro ebirala okuva eri Katonda’ okuyitira mu bannabbi. (Abaruumi 3:1, 2) Baalondebwa Yakuwa okuba abajulirwa be. (Isaaya 43:10-12) Ezzadde eryali ery’okubeera Masiya lyali lya kuyitira mu ggwanga lyabwe. Amateeka gaamusongako, gandibayambye okumutegeera, era gandibayambye okutegeera nti bamwetaaga. (Abaggalatiya 3:19, 24) Ate era, bandiweereddwa omukisa okuweereza awamu n’Ezzadde eryandifuuse Masiya ng’obwakabaka bwa bakabona era eggwanga ettukuvu.—Abaruumi 9:4, 5.
12. Wadde baayingira mu Nsi Ensuubize, Abaisiraeri baalemererwa kufuna ki? Lwaki?
12 Nga bwe yasuubiza, Yakuwa yakulembera Abaisiraeri mu Nsi Ensuubize. Naye nga omutume Pawulo bwe yannyonnyola oluvannyuma, olw’obutaba na kukkiriza, ensi eyo teyafuuka ‘kiwummulo.’ Ng’abantu, tebaayingira mu ‘kiwummulo kya Katonda’ kubanga baagaana okutegeera n’okukolera awamu n’ekigendererwa ky’olunaku lwa Katonda olw’okuwummula, olwatandika oluvannyuma lw’okutonda Adamu ne Kaawa.—Abaebbulaniya 4:3-10.
13. Olw’okulemererwa okusiima obusika bwabwe obw’eby’omwoyo, Isiraeri ng’eggwanga baafiirwa ki?
13 Isiraeri ey’omubiri yandisobodde okuvaamu omuwendo gwonna ogw’abo abandibadde ne Masiya mu Bwakabaka obw’omu ggulu nga obwakabaka bwa bakabona era eggwanga ettukuvu. Naye tebaasiima busika bwabwe obw’omuwendo. Ensigalira yokka eya Isiraeri ey’omubiri ye yakkiriza Masiya bwe yajja. N’ekyavaamu, batono nnyo be bali mu bwakabaka bwa bakabona obwalagulwa. Obwakabaka bwaggibwa ku Isiraeri ey’omubiri ne ‘buweebwa eggwanga eribala ebibala byabyo.’ (Matayo 21:43) Ggwanga ki eryo?
Obusika mu Ggulu
14, 15. (a) Oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, amawanga gaatandika gatya okuweebwa omukisa okuyitira mu ‘zzadde’ lya Ibulayimu? (b) Kiki ‘Isiraeri wa Katonda’ ky’afuna ng’obusika?
14 Eggwanga eryaweebwa Obwakabaka lyali ‘Isiraeri wa Katonda,’ Isiraeri ow’eby’omwoyo, alimu abagoberezi ba Yesu Kristo 144,000 abazaalibwa omwoyo. (Abaggalatiya 6:16; Okubikkulirwa 5:9, 10; 14:1-3) Abamu ku abo 144,000 baali Bayudaaya nzaalwa, naye abasinga obungi baava mu b’Amawanga. Mu ngeri eyo ekisuubizo kya Yakuwa eri Ibulayimu nti okuyitira mu ‘zzadde’ eryo, amawanga gonna mwe gandiweereddwa omukisa, kyatandika okutuukirizibwa. (Ebikolwa 3:25, 26; Abaggalatiya 3:8, 9) Mu kutuukirizibwa okwo okwasooka, abantu b’amawanga baafukibwako omwoyo omutukuvu era ne bazaalibwa Yakuwa Katonda ng’abaana ab’eby’omwoyo, baganda ba Yesu Kristo. Bwe kityo, nabo baafuuka ekitundu eky’okubiri ‘eky’ezzadde’ eryo.—Abaggalatiya 3:28, 29.
15 Nga tannafa, Yesu yayanjula eri Abayudaaya abandifuuse eggwanga eppya endagaano empya, eyanditongozeddwa n’omusaayi gwe. Okusinziira ku kukkiriza kwe baalina mu ssaddaaka eyo, abo abaali mu ndagaano eyo bandifuuliddwa ‘abatuukirivu emirembe gyonna.’ (Abaebbulaniya 10:14-18) ‘Bandiweereddwa obutuukirivu’ era ebibi byabwe ne bisonyiyibwa. (1 Abakkolinso 6:11) Bwe kityo, mu ngeri eyo, baalinga Adamu nga tannayonoona. Kyokka, bano si ba kubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Yesu yagamba nti yali agenda okubateekerateekera ebifo mu ggulu. (Yokaana 14:2, 3) Beefiiriza essuubi lyabwe ery’oku nsi basobole ‘okufuna obusika obwabaterekerwa mu ggulu.’ (1 Peetero 1:4) Eyo bakolayo ki? Yesu yannyonnyola: “Nkola endagaano nammwe . . . ey’obwakabaka.”—Lukka 22:29, NW.
16. Mulimu ki ogw’ekitalo ogw’obuweereza Abakristaayo abaafukibwako amafuta gwe balindiridde?
16 Nga bali mu ggulu, abo abanaafuga ne Kristo bajja kuyamba okuggya ku nsi byonna ebyava mu bujeemu eri obufuzi bwa Yakuwa. (Okubikkulirwa 2:26, 27) Ng’ekitundu eky’okubiri eky’ezzadde lya Ibulayimu ery’omwoyo, bajja kwenyigira mu kuleetera abantu b’amawanga gonna emikisa gy’obulamu obutuukiridde. (Abaruumi 8:17-21) Nga balina obusika bwa kitalo nnyo!—Abaefeso 1:16-18.
17. Bintu ki ku busika bwabwe Abakristaayo abaafukibwako amafuta bye bafuna nga bakyali ku nsi?
17 Naye obusika bwonna obw’abagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta tebuli mu biseera bya mu maaso. Mu ngeri omuntu yenna gy’atandisobodde, Yesu yabayamba okumanya Yakuwa, Katonda yekka ow’amazima. (Matayo 11:27; Yokaana 17:3, 26) Okuyitira mu bigambo n’ebyokulabirako, yabayigiriza kye kyali kitegeeza ‘okwesiga Yakuwa’ era n’ekitwalirwa mu buwulize eri Yakuwa. (Abaebbulaniya 2:13; 5:7-9) Yesu yabakwasa okumanya kw’amazima okukwata ku kigendererwa kya Katonda era n’abakakasa nti omwoyo omutukuvu gwandibayambye okukitegeera mu bujjuvu. (Yokaana 14:24-26) Yabategeeza obukulu bw’Obwakabaka bwa Katonda. (Matayo 6:10, 33) Yesu era yabakwasa omulimu gw’okuwa obujulirwa n’okufuula abantu abayigirizwa mu Yerusaalemi, Buyudaaya, Samaliya ne mu bitundu by’ensi eby’essudde.—Matayo 24:14; 28:19, 20; Ebikolwa 1:8.
Obusika obw’Omuwendo obw’Ekibiina Ekinene
18. Mu ngeri ki ekisuubizo kya Yakuwa nti amawanga gonna galiweebwa omukisa okuyitira mu ‘zzadde’ lya Ibulayimu gye kituukirizibwamu leero?
18 Kirabika, omuwendo omujjuvu ogwa Isiraeri ey’omwyo, “ekisibo ekitono” eky’abasika b’Obwakabaka, bamaze okulondebwa. (Lukka 12:32) Okumala amakumi g’emyaka kati, Yakuwa abadde akuŋŋaanya ekibiina ekinene eky’abantu abalala okuva mu mawanga. Bwe kityo, ekisuubizo kya Yakuwa eri Ibulayimu nti okuyitira mu ‘zzadde’ lye amawanga gonna gandiweereddwa omukisa kituukirizibwa mu ngeri esingawo. N’essanyu, abaweereddwa omukisa bano nabo benyigira mu buweereza obutukuvu eri Yakuwa era bakitegeera nti obulokozi bwabwe bwesigamye ku kukkiririza mu Mwana gw’endiga owa Katonda, Yesu Kristo. (Okubikkulirwa 7:9, 10) Oyanukudde omulanga gwa Yakuwa ogw’okufuuka ekitundu ky’ekibiina ekyo ekisanyufu?
19. Busika ki ab’amawanga abaweebwa omukisa kati bwe beesunga?
19 Busika ki Yakuwa bw’awa abo abatali ba kisibo kitono? Si busika obw’omu ggulu. Bwe busika Adamu bwe yandituusizza ku zzadde lye—essuubi ery’obulamu obutaggwaawo mu mbeera etuukiridde mu lusuku lwa Katonda olwandibunye ensi yonna. Ejja kuba nsi ‘omutali kufa, nnaku newakubadde okukaaba n’okulumwa.’ (Okubikkulirwa 21:4) N’olwekyo, Ekigambo kya Katonda kikugamba: “Weesigenga Mukama, okolenga obulungi; beeranga mu nsi, ogobererenga obwesigwa. Era sanyukira Mukama: naye anaakuwanga omutima gwo bye gusaba. Kubanga waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo . . . Naye abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi. Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:3, 4, 10, 11, 29.
20. “Endiga endala” banyumirwa batya obusika bw’Abakristaayo abaafukibwako amafuta?
20 ‘Endiga endala’ eza Yesu zirina obusika mu twale ly’Obwakabaka obw’omu ggulu ery’oku nsi. (Yokaana 10:16a) Wadde tebajja kubeera mu ggulu, obusika obw’eby’omwoyo abaafukibwako amafuta bwe balina bubatuusibwako. Okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi,’ ekibiina ky’abaafukibwako amafuta, ab’endiga endala basobodde okutegeera ebisuubizo eby’omuwendo ebiri mu Kigambo kya Katonda. (Matayo 24:45-47; 25:34) Nga bali wamu, abaafukibwako amafuta n’endiga endala bamanyi era basinza Katonda omu ow’amazima, Yakuwa. (Yokaana 17:20, 21) Awamu, beebaza Katonda olwa ssaddaaka ya Yesu etangirira ebibi. Baweerereza wamu ng’ekisibo kimu wansi w’Omusumba omu, Yesu Kristo. (Yokaana 10:16b) Bonna bali kitundu ky’oluganda olw’okwagala, olw’ensi yonna. Bagabanira wamu enkizo ey’okubeera Abajulirwa ba Yakuwa n’ab’Obwakabaka bwe. Yee, bw’oba oli muweereza wa Yakuwa eyeewaddeyo era omubatize, bino byonna bitwalirwa mu busika bwo obw’eby’omwoyo.
21, 22. Ffenna tuyinza tutya okulaga nti tusiima obusika bwaffe obw’eby’omwoyo?
21 Obusika buno obw’eby’omwoyo bwa muwendo gy’oli kw’enkana wa? Obutwala nga bwa muwendo nnyo ne kikuleetera okukola Katonda by’ayagala okuba ekintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwo? Ng’obujulizi obulaga ekyo, ogoberera okubuulirira kw’Ekigambo kye n’entegeka ye, obutayosa kubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo? (Abaebbulaniya 10:24, 25) Obusika obwo bwa muwendo nnyo gy’oli ne kiba nti weeyongera okuweereza Katonda wadde nga waliwo obuzibu? Okusiima kw’olina eri obusika obwo kwa maanyi nnyo ne kiba nti osobola okuziyiza okukemebwa kwonna okw’okugoberera ekkubo eriyinza okukuviiramu okubufiirwa?
22 Ffenna ka tusiime obusika obw’eby’omwoyo Katonda bw’atuwadde. Nga tusimbye amaaso gaffe ku Lusuku lwa Katonda olujja, ka twenyigire mu bujjuvu mu nkizo z’eby’omwoyo Yakuwa z’atuwa kati. Nga tuzimba obulamu bwaffe ku nkolagana gye tulina ne Yakuwa, tuwa obujulizi obulaga engeri obusika obwatuweebwa Katonda gye buli obw’omuwendo. Ka tubeere mu abo abalangirira: “N[n]aakugulumizanga, Katonda wange, ai Kabaka; era neebazanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.”—Zabbuli 145:1.
Wandinnyonnyodde Otya?
• Singa Adamu yali mwesigwa eri Katonda, yanditutuusizzaako busika ki?
• Ezzadde lya Ibulayimu ly’atwala litya obusika bwe baali bayinza okufuna?
• Kiki ekitwalirwa mu busika bw’abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta?
• Obusika obw’ekibiina ekinene bwe buluwa, era bayinza batya okulaga nti ddala babusiima?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 29]
Ezzadde lya Ibulayimu lyafuna ekisuubizo ky’obusika obw’omuwendo
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Osiima obusika bwo obw’eby’omwoyo?