KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE | LEBBEEKA
“Nja Kugenda Naye”
LEBBEEKA yatunuulira gye baali bagenda era nga kirabika n’enjuba yali etandise okugwa. Olugendo baali baakalumalako wiiki nnamba, era kirabika yali amanyidde okutuula ku ŋŋamira. Amaka g’ewaabwe mu Kalani yali agalese wala nnyo, mayiro bikumi na bikumi mu buvanjuba. Oboolyawo teyandizzeemu kulaba ku b’ewaabwe. Nga banaatera okutuuka gye baali balaga, kirabika yatandika okulowooza ku biseera bye eby’omu maaso.
Baali bayise mu Kanani era nga kati bali mu Negebu. (Olubereberye 24:62) Kirabika Lebbeeka yalaba endiga. Ensi gye yali atuuseemu yali ya ddungu era nga kizibu okugirimiramu, naye yalimu omuddo ogumala okulundiramu. Omuddu wa Ibulayimu ekitundu kino yali akimanyi bulungi, era yalina amawulire amalungi ge yali agenda okubuulira mukama we, nti Lebbeeka ye mukyala gwe yali afunidde Isaaka. Kyokka ye Lebbeeka ateekwa okuba yeebuuzanga bulamu bwa kika ki bwe yali agenda okubeeramu mu nsi eno. Ate era olw’okuba yali talabangako Isaaka gwe yali agenda okufumbirwa, ateekwa okuba nga yeebuuza nti, Isaaka afaanana atya? Anaasanyuka bw’anandaba?
Mu bitundu ebimu, kitwalibwa ng’ekitali kirungi okufunira omuntu oyo gw’anaafumbirwa oba gw’anaawasa. Kyokka mu bitundu ebirala, ekyo tekitwalibwa ng’ekintu ekibi. Lebbeeka yali tamanyi musajja gwe yali agenda okufumbirwa. Ekyo kyali kyetaagisa okukkiriza okw’amaanyi n’obuvumu. Naffe twetaaga okukkiriza n’obuvumu okusobola okwaŋŋanga ebizibu bye tufuna. Kyokka waliwo n’ebirala bye tusobola okuyigira ku Lebbeeka.
“N’EŊŊAMIRA ZO NJA KUZISENERA ZINYWE”
Enkyukakyuka eyajjawo mu bulamu bwa Lebbeeka yatandika mu ngeri naye gye yali tasuubira. Yakulira mu kabuga Kalani ak’omu Mesopotamiya. Bazadde be baali ba njawulo ku bantu b’omu kabuga ako. Baali tebasinza katonda ow’omwezi eyali ayitibwa Sini, wabula baali basinza Katonda waabwe ayitibwa Yakuwa.—Olubereberye 24:50.
Lebbeeka yali muwala mulungi nnyo, naye obulungi bwe tebwali bwa kungulu bwokka. Yali mukozi nnyo ate ng’alina empisa ennungi. Amaka g’ewaabwe gaali magagga era baalina n’abakozi, naye Lebbeeka teyakuzibwa kyejo; yatendekebwa okukola emirimu. Okufaananako abakazi b’omu kiseera ekyo, Lebbeeka naye yakolanga emirimu egy’amaanyi nga mw’otwalidde n’okukimira ab’awaka amazzi. Buli lwaggulo, yasitulanga ensuwa ye n’agenda okukima amazzi.—Olubereberye 24:11, 15, 16.
Lumu bwe yali amaze okujjuza ensuwa ye, waaliwo omusajja omukadde eyamutuukirira n’amugamba nti: “Nkusaba ompe ku tuzzi mu nsuwa yo nnyweko.” Omusajja oyo yayogera mu ngeri ey’obukkakkamu era Lebbeeka yali akiraba nti atambudde olugendo luwanvu. Amangu ddala yeetikkula ensuwa ye n’awa omusajja oyo amazzi agannyogoga. Lebbeeka era yalaba eŋŋamira z’omusajja oyo kkumi ezaali okumpi awo, kyokka ng’ekyesero mwe zinywera temuli mazzi. Yakwatirwa omusajja oyo ekisa era n’abaako ekintu ekirala ky’amukolera. Yamugamba nti: “N’eŋŋamira zo nja kuzisenera zinywe okutuusa ennyonta lw’eneeziggwaako.”—Olubereberye 24:17-19.
Weetegereze nti Lebbeeka teyagamba nti yali ayagala eŋŋamira zinyweko bunywi ku mazzi, wabula yagamba nti yali ayagala zinywe okutuusa ennyonta lwe yandiziweddeko. Eŋŋamira bw’eba erumwa ennyonta eyinza okunywa lita z’amazzi ezisukka mu 95! Bwe kiba nti zonna ekkumi zaanywa, Lebbeeka ateekwa okuba yamala essaawa eziwerako ng’asomba amazzi. Kyokka kirabika ennyonta yali teziruma nnyo.a Naye olowooza ekyo Lebbeeka yakirowoozaako nga tannatandika kusomba mazzi? Nedda. Yali mwetegefu okuyamba omusajja oyo omukadde, era n’omusajja yakkiriza okuyambibwa. Omusajja oyo yali yeetegereza Lebbeeka ng’asomba amazzi nga bw’agayiwa mu kyesero.—Olubereberye 24:20, 21.
Waliwo bingi bye tuyigira ku Lebbeeka. Leero abantu bangi beefaako bokka. Bayibuli egamba nti abantu “beeyagala bokka,” tebafaayo ku balala. (2 Timoseewo 3:1-5) Tusaanidde okukoppa Lebbeeka ne tutaba ng’abantu abeefaako bokka.
Kirabika Lebbeeka yalaba engeri omusajja oyo gye yali amutunuuliddemu. Omusajja oyo yali musanyufu era nga yeewuunyizza. Lebbeeka bwe yamaliriza, omusajja oyo yamuwa amajolobero aga zzaabu ng’ekirabo! Oluvannyuma omusajja yamubuuza nti: “Nkwegayiridde mbuulira, oli muwala w’ani? Mu nnyumba ya kitaawo eriyo ekifo mwe tuyinza okusula?” Omuwala bwe yamubuulira ebikwata ku b’ewaabwe, omusajja oyo yabugaana essanyu. Omuwala naye kirabika yali musanyufu nnyo era yagamba nti: “Tulina ebisubi n’emmere endala nnyingi ey’ensolo, era n’ekifo aw’okusula.” Ekyo kyali kirungi kubanga omusajja oyo yalina abantu abalala be yali atambudde nabo. Oluvannyuma Lebbeeka yadduka n’agenda okubuulira maama we buli kimu ekyali kibaddewo.—Olubereberye 24:22-28, 32.
Awatali kubuusabuusa, Lebbeeka yayigirizibwa okusembeza abagenyi. Abantu bangi leero tebaagala kusembeza bagenyi, naye ffe tusaanidde okukoppa Lebbeeka. Bwe tuba n’okukkiriza mu Katonda kijja kutukubiriza okusembeza abagenyi. Yakuwa asembeza bonna, kubanga mugabi era ayagala n’abaweereza be bakole bwe batyo. Bwe tusembeza abalala nga mw’otwalidde n’abo abatasobola kubaako kye batukolera, tusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu.—Matayo 5:44-46; 1 Peetero 4:9.
‘FUNIRA MUTABANI WANGE OMUKAZI’
Omusajja oyo omukadde eyali ku luzzi yali ani? Yali muweereza wa Ibulayimu era nga Ibulayimu yali muganda wa jjajja wa Lebbeeka. N’olwekyo, yayanirizibwa nnyo mu maka ga Besweri, taata wa Lebbeeka. Kirabika omuweereza wa Ibulayimu oyo ye yali Eriyeza.b Ab’omu maka ago baamugabula ekijjulo, naye yagaana okulya nga tannababuulira nsonga eyali emuleese. (Olubereberye 24:31-33) Kuba akafaananyi nga yenna ayogera musanyufu kubanga yali mukakafu nti Katonda we, Yakuwa, yali awadde olugendo lwe omukisa.
Kuba akafaaananyi nga Eriyeza anyumiza Besweri, taata wa Lebbeeka, ne Labbaani mwannyina wa Lebbeeka, ebyali bibaddewo. Yabagamba nti Yakuwa yali awadde Ibulayimu emikisa era nti Ibulayimu ne Saala baali bazadde omwana ayitibwa Isaaka, eyali ow’okusikira ebintu byabwe byonna. Ibulayimu yali awadde omuweereza we obuvunaanyizibwa obw’amaanyi ennyo. Yali amutumye mu b’eŋŋanda ze e Kalani okunoonyeza Isaaka omukyala.—Olubereberye 24:34-38.
Ibulayimu yali abeera Kanani, era yalayiza omuweereza we Eriyeza obutafunira Isaaka mukazi kuva mu bawala b’e Kanani kubanga Abakanani baali tebasinza Yakuwa era nga bakola ebintu ebibi. Ibulayimu yali akimanyi nti Yakuwa ajja kubonereza Abakanani olw’ebikolwa byabwe ebibi. Ibulayimu yali tayagala mutabani we Isaaka akolagane n’Abakanani abo. Ate era yali akimanyi nti Katonda yali agenda kukozesa mutabani we okutuukiriza ebyo bye yali asuubizza.—Olubereberye 15:16; 17:19; 24:2-4.
Eriyeza yabannyonnyola nti bwe yatuuse ku luzzi okumpi n’e Kalani, yasabye Yakuwa Katonda amuyambe okulaba omukazi Isaaka gw’anaawasa. Eriyeza yasaba Katonda nti omukazi oyo yandizze ku luzzi okukima amazzi. Bwe yandimusabye amazzi okunywa, yandigamuwadde era n’asenera n’eŋŋamira ne zinywa. (Olubereberye 24:12-14) Ani eyakolera ddala nga Eriyeza bwe yasaba? Ye Lebbeeka! Lowooza ku ngeri Lebbeeka gye yawuliramu bwe yawulira ebigambo ebyo Eriyeza bye yagamba ab’omu maka ga Labbaani!
Ebyo Eriyeza bye yayogera byewuunyisa nnyo Besweri ne Labbaani. Baagamba nti: “Ekintu kino kivudde eri Yakuwa.” Ng’empisa yaabwe bwe yali, baakola endagaano eraga nti bakkirizza Lebbeeka afumbirwe Isaaka. (Olubereberye 24:50-54) Naye ekyo kyali kitegeeza nti Lebbeeka yalina kukkiriza bukkiriza ekyo taata we ne mwannyina kye baali basazeewo?
Nedda. Ibulayimu bwe yali atuma Eriyeza, Eriyeza yamubuuza nti: “Watya singa omukazi talikkiriza kujja nange?” Ibulayimu yamuddamu nti: “Awo ojja kuba tokyavunaanyizibwa olw’ekirayiro ky’ondayiridde.” (Olubereberye 24:39, 41) Ate era n’ab’omu maka ga Besweri baali bassa ekitiibwa mu ndowooza ya Lebbeeka. Olw’okuba Katonda yali awadde olugendo lwa Eriyeza omukisa, Eriyeza yali musanyufu nnyo era yali ayagala kuddayo e Kanani ne Lebbeeka enkeera. Kyokka, ab’ewaabwe wa Lebbeeka baali baagala asigale nabo waakiri ennaku endala kkumi. Okusobola okugonjoola ensonga eyo, baagamba nti: “Ka tuyite omuwala tumubuuze.”—Olubereberye 24:57.
Lebbeeka yali ayolekaganye n’okusalawo okw’amaanyi mu bulamu bwe. Kiki kye yandisazeewo? Olw’okuba kitaawe ne mwannyina baali tebaagala agenderewo, yandikozesezza akakisa ako okubeegayirira baleme kumuleka kugenda gy’atamanyi? Oba yandigitutte ng’enkizo okugenda n’omusajja Yakuwa gwe yali awadde emikisa? Ebyo bye yayogera byalaga ekyo kye yali alowooza. Yagamba nti: “Nja kugenda naye.”—Olubereberye 24:58.
Lebbeeka nga yalina endowooza ennuŋŋamu! Wadde nga leero empisa ezigobererwa ng’omuntu agenda okuwasa oba okufumbirwa za njawulo, waliwo bingi bye tusobola okuyigira ku Lebbeeka. Lebbeeka yakulembeza ebyo Yakuwa Katonda we bye yali ayagala, so si ye bye yali ayagala. Ne leero, bwe kituuka ku bufumbo, Bayibuli etuwa amagezi agasingayo obulungi agakwata ku muntu ki ow’okufumbiriganwa naye, n’engeri y’okubeera omwami omulungi oba omukyala omulungi. (2 Abakkolinso 6:14, 15; Abeefeso 5:28-33) Kiba kirungi okukoppa Lebbeeka nga tukola ebintu nga Katonda bw’ayagala.
‘OMUSAJJA OLI AJJA Y’ANI?’
Ab’omu maka ga Besweri baawa Lebbeeka omukisa. Oluvannyuma, ye ne Debola eyali omulezi we ng’akyali muto, n’abawala abaweereza baasitula ne bagenda ne Eriyeza awamu n’abasajja be. (Olubereberye 24:59-61; 35:8) Olugendo lwe baalina okutambula lwali lwa mayiro ezisukka mu 500 okuva e Kalani, era baali baakumala wiiki nga ssatu mu kkubo. Olugendo olwo kirabika terwali lwangu. Lebbeeka yakula alaba eŋŋamira, naye kirabika yali tagitambulirangako lugendo luwanvu bwe lutyo. Bayibuli eraga nti ab’omu maka ga Lebbeeka baali balunzi ba ndiga, so si basuubuzi abaatambuliranga ku ŋŋamira. (Olubereberye 29:10) Abantu abaatambulirako ku ŋŋamira bagamba nti si nnyangu kutambulirako, olugendo ne bwe luba olumpi!
Wadde kyali kityo, Lebbeeka ebirowoozo bye teyabimalira ku lugendo olwo, yabula yabimalira ku bulamu bwe yali anaatera okutandika, era ateekwa okuba nga yabuuza Eriyeza ebikwata ku Isaaka. Kuba akafaananyi nga Eriyeza anyumiza Lebbeeka ku ekyo Yakuwa kye yasuubiza mukwano gwe Ibulayimu. Katonda yasuubiza nti ezzadde eryandireetedde abantu bonna emikisa, lyandivudde mu Ibulayimu. Tebeerezaamu essanyu Lebbeeka lye yalina bwe yakimanya nti ekisuubizo kya Katonda ekyo kyandituukiriziddwa okuyitira mu ye ne Isaaka gwe yali agenda okufumbirwa!—Olubereberye 22:15-18.
Kyaddaaki, baatuuka e Kanani nga bwe twalabye ku ntandikwa. We baatukira mu Negebu, obudde bwali buwungedde era Lebbeeka yalengera omusajja eyali atambula ku ttale. Omusajja oyo yali alabika ng’alina ky’afumiitirizaako. Lebbeeka ‘yava mangu ku ŋŋamira’ era kirabika teyagirinda na kukka wansi. Yabuuza Eriyeza nti: “Omusajja oli atambula ku ttale ajja gye tuli y’ani?” Bwe yakitegeera nti ye Isaaka, yaddira ekitambaala ne yeebikka ku mutwe. (Olubereberye 24:62-65) Ekyo yakikola okulaga nti assaamu Isaaka ekitiibwa. Abamu bayinza okugamba nti ekyo Lebbeeka kye yakola kyaggwa ku mulembe. Naye, ani ku ffe atayagala muntu mwetoowaze nga Lebbeeka?
Isaaka, eyali atemera mu gy’obukulu 40, yali akyakungubagira maama we Saala, eyali yafa emyaka ng’esatu emabega. N’olwekyo, tuyinza okugamba nti Isaaka yali musajja alina okwagala okw’amaanyi. Nga gwali mukisa gwa maanyi nnyo omusajja ng’oyo okufuna omukyala omukozi, ayagala ennyo okusembeza abagenyi, era omuwombeefu! Naye Isaaka ne Lebbeeka baasobola okukwatagana? Bayibuli egamba nti: “Isaaka n’ayagala nnyo Lebbeeka.”—Olubereberye 24:67; 26:8.
Wadde nga wayiseewo emyaka nga 3900, naffe bwe tusoma ebikwata ku Lebbeeka tuwulira nga tumwagala. Twegomba engeri ze ennungi gamba ng’obuvumu, okuba omukozi, okusembeza abagenyi, n’obuwombeefu bwe. Ffenna—ka tube bato oba bakulu, basajja oba bakazi, bafumbo oba abali obwannamunigina—tusaanidde okukoppa okukkiriza kwe!
a Obudde bwali bwa kawungeezi. Bayibuli teraga nti Lebbeeka yamala essaawa nnyingi ng’ali ku luzzi. Era teraga nti we yaddirayo eka yasanga beebase oba nti waliwo eyajja okulaba ekyali kimulwisizzaayo.
b Ku nsonga eno, Bayibuli teyogera ku linnya Eriyeza, naye kirabika ye muweereza ayogerwako. Lumu Ibulayimu yali asazeewo eby’obugagga bye byonna okubiwa Eriyeza kubanga Ibulayimu yali talina mwana wa kumusikira. Ate era Eriyeza ye yali omuweereza wa Ibulayimu omukulu era gwe yali asinga okwesiga.—Olubereberye 15:2; 24:2-4.