KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE | YUSUFU
“Nnyinza Ntya Okukola Ekibi Ekyenkanidde Awo?”
YUSUFU yali atwalibwa e Misiri. Abasuubuzi abaali bamutwala baali batambula n’eŋŋamira zaabwe, nga bayita okumpi n’omugga Kiyira. Kuba akafaananyi nga balaba enkima ezibuukira buukira ku miti, ebinyonyi gamba nga ssekanyolya oba mpaabaana nga bibuukira mu bbanga, era nga balaba ebimuli ebiwunya obulungi ebyali okumpi n’omugga ogwo. Mu kiseera ekyo, Yusufu ateekwa okuba nga yaddamu okulowooza ku b’ewaabwe be yali alese emabega ebikumi n’ebikumi bya mayiro e Kebbulooni; yali mu nsi ndala.
Yusufu yali tategeera lulimi abantu be baayitangako lwe baali boogera. Oboolyawo yagezaako okuwuliriza obulungi asobole okubaako ebigambo by’ayiga, kubanga yali talina ssuubi lyonna lya kuddayo waabwe.
Mu kiseera ekyo, Yusufu alabika yali wa myaka 17 oba 18 gyokka, kyokka ebizibu bye yayitamu abasajja bangi leero bayinza obutabigumira. Baganda be bennyini baamukwatirwa obuggya olw’okuba kitaabwe yali amwagala nnyo, era baali baagala kumutta. Naye oluvannyuma baasalawo okumuguza abasuubuzi. (Olubereberye 37:2, 5, 18-28) Oluvannyuma lw’okumala wiiki eziwerako nga batambula, abasuubuzi bateekwa okuba nga beeyongera okusanyuka bwe baali banaatera okutuuka mu kibuga gye baali bagenda okutunda Yusufu awamu n’eby’amaguzi byabwe ebirala bafune ssente nnyingi. Kiki ekyayamba Yusufu obutennyamira? Naffe bwe tuba n’ebizibu, kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tulina okukkiriza okunywevu? Ka tulabe bye tusobola okuyigira ku Yusufu.
‘MUKAMA YALI WAMU NE YUSUFU’
Bayibuli egamba nti: ‘Yusufu ne bamuserengesa mu Misiri; Potifaali, omwami wa Falaawo, omukulu w’abambowa, Omumisiri, n’amugula mu mukono gw’Abaisimaeri, abaamuserengesa eyo.’ (Olubereberye 39:1) Lowooza ku ngeri Yusufu gye yawuliramu ng’atundibwa omulundi ogw’okubiri. Yali nga kya maguzi! Kuba akafaananyi nga Yusufu agoberera mukama we omupya, omukungu Omumisiri, nga bayita mu kibuga ekyali kikolerwamu ennyo bizineesi era nga bagenda mu maka g’Omukungu oyo.
Obulamu mu maka g’Omukungu oyo bwali bwa njawulo nnyo ku obwo Yusufu bwe yakuliramu. Yusufu n’ab’ewaabwe baali balunzi ba ndiga abaasulanga mu weema, era tebaabeeranga mu kifo kimu. Naye bo abagagga b’e Misiri, gamba nga Potifaali, baabeeranga mu nnyumba ez’ebbeeyi era ezirabika obulungi. Abanoonyereza ku bintu eby’edda baakizuula nti Abamisiri ab’omu kiseera ekyo baaberanga n’ebifo ebyabeerangako enkomera, nga birimu omuddo omulungi, emiti egy’okuwummuliramu, n’ebidiba ebyasimbibwangamu ebitoogo n’ebimuli. Ennyumba ezimu zaazimbibwanga mu bifo ng’ebyo, nga ziriko embalaza abantu kwe baawummuliranga, amadirisa amanene agaayingizanga empewo emala, era nga zirimu ebisenge bingi nga kw’otadde eddiiro n’ebisenge abakozi mwe baasulanga.
Yusufu yasanyuka nnyo ng’atuuse mu maka ng’ago? Kirabika nedda. Alabika yawuliranga ekiwuubaalo. Olulimi Abamisiri lwe baali boogera yali talumanyi, era waaliwo n’ebintu bye yali tafaanaganya nabo gamba ng’ennyambala, okwekolako, n’okusinza. Abamisiri baasinzanga bakatonda bangi, beenyigiranga mu by’obusamize n’obufuusa, era baakolanga emikolo mingi egikwata ku bafu. Naye waliwo ekyayamba Yusufu obutennyamira nnyo. Bayibuli etutegeeza nti: ‘Mukama yali wamu ne Yusufu.’ (Olubereberye 39:2) Yusufu ateekwa okuba nga yasabanga Katonda ng’amubuulira byonna ebyamuli ku mutima. Bayibuli egamba nti “Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira.” (Zabbuli 145:18) Biki ebirala ebyayamba Yusufu okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda we?
Mu kifo ky’okudda awo okwennyamira, Yusufu yakolanga n’obunyiikivu emirimu gye. Yakuwa Katonda yamuwa emikisa mingi, era mukama we Potifaali yamwagala nnyo. Potifaali yakiraba nti Yakuwa, Katonda wa Yusufu yali awa Yusufu emikisa, era ng’olw’emikisa egyo Potifaali yali yeeyongedde okugaggawala. Yusufu yeeyongera okuganja mu maaso ma mukama we Potifaali okutuusa lwe yamukwasa byonna bye yalina.—Olubereberye 39:3-6.
Abavubuka abaweereza Katonda balina kye basobola okuyigira ku Yusufu. Ng’ekyokulabirako, bwe baba ku ssomero oluusi bayinza okwennyamira, olw’okuba ababeetoolodde beenyigira mu by’obusamize era tebalina ssuubi lyonna ku biseera byabwe eby’omu maaso. Bw’oba oli mu mbeera ng’eyo, kijjukire nti Yakuwa takyukanga. (Yakobo 1:17) Akyayamba abo abeesigwa gy’ali era abafuba ennyo okukola ebimusanyusa. Abawa emikisa era naawe ajja kukuwa emikisa.
Bwe tuddayo ku Yusufu, Bayibuli etutegeeza nti yali yeeyongera okukula. Omuvubuka oyo yakula n’afuuka omusajja, ‘yali yakula bulungi era ng’alabika bulungi.’ Ekyo nno kiraga nti Yusufu yali ayolekedde emitawaana, kubanga omuntu bw’aba alabika bulungi abantu abalina ebigendererwa ebikyamu baba bamwegwanyiza.
‘TEYAKKIRIZA’
Yusufu yali mwesigwa era ng’atya Katonda, naye muka Potifaali teyali mwesigwa. Bayibuli egamba nti: “Omukazi wa mukama we n’atunuulira Yusufu; n’ayogera nti Sula nange.” (Olubereberye 39:7) Olowooza Yusufu yasikirizibwa okwegatta n’omukazi oyo? Yusufu naye yalina enneewulira ng’abavubuka abalala bonna. Ate era olw’okuba omukazi oyo yali muka mukungu, ateekwa okuba nga yali alabika bulungi. Yusufu yandirowoozezza nti mukama we teyandikitegedde? Yandisikiriziddwa olw’eby’obugagga omukazi oyo by’ayinza okuba nga yamusuubiza?
Mu butuufu, tetuyinza kumanya Yusufu bye yalowoozaako mu kiseera ekyo. Naye ebyo bye yagamba muka mukama we biraga ekyali ku mutima gwe. Yamugamba nti: “Mukama wange talina kintu kye kyonna kye yeeraliikirira mu nnyumba kubanga nze wendi, era ankwasizza byonna by’alina. Tewali ansinga buyinza mu nnyumba muno era tewali na kimu ky’atankwasa okuggyako ggwe, kubanga oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkanidde awo ne nnyonoona mu maaso ga Katonda?” (Olubereberye 39:8, 9, NW) Kuba akafaananyi ng’omuvubuka oyo ayogera ebigambo ebyo mu bwesimbu. Bwe yalowooza ku ekyo muka mukama we kye yali ayagala akole, yawulira bubi nnyo. Lwaki?
Yusufu yagamba nti mukama we yali amwesiga. Potifaali yali akwasizza Yusufu buli kimu ekyali mu nnyumba ye, okuggyako mukazi we. Singa Yusufu yeegatta ne muka mukama we, kyandiraze nti si mwesigwa eri mukama we. Naye ekyasinga okumuleetera obutakikola kwe kuba nti yali tayagala kunyiiza Yakuwa Katonda. Bazadde ba Yusufu bateekwa okuba nga baali baamuyigiriza engeri Katonda gy’atwalamu obufumbo, era nti Katonda akyawa obwenzi. Yakuwa ye yatandikawo enteekateeka y’obufumbo, era yalaga endowooza gy’alina ku bufumbo. Ayagala omusajja ne mukazi we buli omu anywerere ku munne, babe “omubiri gumu.” (Olubereberye 2:24) Abo abatassanga kitiibwa mu nteekateeka y’obufumbo baanyiizanga Katonda. Ng’ekyokulabirako, abasajja abaali baagala okweddiza muka Ibulayimu ne muka Isaaka, bajjajja ba Yusufu, Yakuwa yali anaatera okubabonereza. (Olubereberye 20:1-3; 26:7-11) Ebyo byonna Yusufu yali abimanyi bulungi era yali tayagala kunyiiza Katonda.
Muka Potifaali teyasanyukira ebyo Yusufu bye yamugamba. Ayinza okuba nga yali yeebuuza ensonga lwaki Yusufu, omuddu obuddu, yagaana ekyo kye yali amugamba, era n’akiyita ‘ekibi eky’amaanyi’! Wadde nga Yusufu yagaana, muka mukama we yalemerako. Oboolyawo olw’okwetwala nti wa kitalo nnyo n’olw’okuwulira ng’aswadde, yamalirira okukola kyonna ekisoboka Yusufu akkirize. Bw’atyo yayoleka omwoyo ng’ogwa Sitaani eyakema Yesu. Yesu yaziyiza ebikemo bya Sitaani, naye mu kifo kya Sitaani okubivaako, yamuleka “okutuusa lwe yandifunye akakisa omulundi omulala.” (Lukka 4:13) N’olwekyo omuntu bw’aba ow’okuziyiza ebikemo, ateekwa okuba omumalirivu. Era bw’atyo Yusufu bwe yali. Wadde nga muka mukama we yamusendasendanga “buli lunaku,” Yusufu ‘teyakkiriza.’ (Olubereberye 39:10) Naye ne muka Potifaali yali amaliridde.
Yagera ekiseera ng’abakozi bonna tebali mu nnyumba era ng’akimanyi nti Yusufu yandizze mu nnyumba okukola emirimu gye nga bulijjo. Yusufu olwayingira mu nnyumba, omukazi oyo yakwata ekyambalo kya Yusufu nga bw’amugamba nti: “Sula nange.” Amangu ddala Yusufu yatandika okumwesikambulako, naye omukazi ne yeeyongera okunyweza ekyambalo kya Yusufu. Yusufu yafuba nga bw’asobola ne yeetakkuluza ku mukazi oyo n’adduka, naye omukazi yasigaza ekyambalo kye!—Olubereberye 39:11, 12.
Ekyo Yusufu kye yakola kitujjukiza ebigambo by’omutume Pawulo bino: “Muddukenga obwenzi.” (1 Abakkolinso 6:18) Yusufu yateerawo Abakristaayo bonna ekyokulabirako ekirungi. Olw’embeera eziteebeereka, abantu abatassa kitiibwa mu mitindo gya Katonda egy’empisa bayinza okutusendasenda, naye ekyo tekitegeeza nti tusaanidde okwekkiriranya ne tukola ebyo bye baagala. Wadde ng’ebiyinza okuvaamu biyinza obutaba birungi, tusaanidde okudduka.
Yusufu yadduka naye ebyavaamu tebyali birungi. Muka Potifaali yali ayagala kumwesasuza. Amangu ddala omukazi oyo yatandika okukuba enduulu abakozi abalala ne bajja mu nnyumba. Yabagamba nti Yusufu yali agezaako okumukwata, naye mbu olwakuba enduulu Yusufu n’adduka. Yatereka ekyambalo kya Yusufu ng’ekizibiti n’alinda omwami we Potifaali akomewo. Potifaali bwe yadda, mukyala we yamugamba ebigambo bye bimu eby’obulimba ng’alaga nti yali nsobi ya bba okuleeta omugwira oyo mu maka gaabwe. Ekyo Potifaali kyamuyisa kitya? Bayibuli egamba nti: “Obusungu bwe ne bubuubuuka”! Yalagira Yusufu asibibwe mu kkomera.—Olubereberye 39:13-20.
“EBIGERE BYE BAABISIBA ENJEGERE”
Tumanyi kitono nnyo ku mbeera eyali mu makomera g’e Misiri mu kiseera ekyo. Abanoonyereza ku bintu eby’edda baazuula ebifo ebyalimu amakomera ago era baalaba obuduukulu n’ebinnya ebiwanvu. Yusufu bwe yali ayogera ku kkomera lye yasibibwamu yakozesa ekigambo ekitegeeza ekinnya, ekiraga nti kyali kifo ekitaliimu kitangaala. (Olubereberye 40:15) Ekitabo kya Zabbuli kiraga nti Yusufu yeeyongera okubonyaabonyezebwa. Kigamba nti: “Ebigere bye baabisiba enjegere; obulago bwe baabussa mu byuma.” (Zabbuli 105:17, 18, NW) Oluusi Abamisiri baasibanga abasibe akandooya nga bakozesa enjegere; abalala baabasibanga ebyuma mu bulago. Nga Yusufu ateekwa okuba nga yabonaabona nnyo ng’ate yali tazzizza musango gwonna!
Okugatta ku ebyo, Bayibuli egamba nti Yusufu “n’abeera omwo mu kkomera.” Yamala emyaka mingi ng’ali mu mbeera eyo eyali enzibu ennyo!a Ate Yusufu yali tamanyi na kumanya oba ng’ekiseera kyandituuse n’ateebwa. Kiki ekyamuyamba obutaggwaamu maanyi na ssuubi mu kiseera kye yamala mu kkomera?
Bayibuli egamba nti: “Mukama n’aba wamu ne Yusufu, n’amulaga ebirungi [“okwagala okutajjulukuka,” NW].” (Olubereberye 39:21) Abaweereza ba Yakuwa ka babe nga bali mu mbeera ki, tewali kintu kyonna kiyinza kulemesa Yakuwa okubalaga okwagala okutajjulukuka. (Abaruumi 8:38, 39) Yusufu ateekwa okuba nga yasabanga Kitaawe ow’omu ggulu ng’amubuulira ennaku ye yonna era “Katonda ow’okubudaabuda kwonna” n’amuwa emirembe mu mutima n’asobola okusigala nga mukkakkamu. (2 Abakkolinso 1:3, 4; Abafiripi 4:6, 7) Kiki ekirala Yakuwa kye yakolera Yusufu? Bayibuli eraga nti Katonda yaleetera Yusufu okusiimibwa “mu maaso g’omukuumi w’ekkomera.”
Abasibe bateekwa okuba nga baaweebwanga emirimu egy’okukola. Yusufu yali mukozi nnyo era yakolanga buli mulimu ogwamuweebwanga, ensonga endala zonna n’azikwasa Yakuwa. Yakuwa yawa Yusufu omukisa, n’ayagalibwa nnyo era n’assibwamu ekitiibwa nga bwe kyali ng’ali mu maka ga Potifaali. Bayibuli egamba nti: “Omukuumi w’ekkomera n’ateresa Yusufu mu mukono gwe abasibe bonna abaali mu kkomera; ne byonna bye baakola eyo oyo ye [yabibalagiranga]. Omukuumi w’ekkomera teyatunuulira kintu ekyali wansi w’omukono gwe, kubanga Mukama yali wamu naye; n’ebyo bye yakola, Mukama n’abiwa omukisa.” (Olubereberye 39:22, 23) Yusufu ateekwa okuba nga yabudaabudibwanga nnyo okukimanya nti Yakuwa yali amufaako!
Naffe tusobola okufuna ebizibu ebitali bimu, era oluusi ne tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, naye waliwo bingi bye tuyigira ku Yusufu. Bwe tweyongera okusaba Katonda, ne tusigala nga tukwata amateeka ge, era ne tufuba okukola ebimusanyusa, ajja kutuwa emikisa. Yakuwa yawa Yusufu emikisa emirala mingi, nga bwe tujja okulaba mu butabo obunaddako.
a Bayibuli eraga nti Yusufu yatuuka mu maka ga Potifaali nga wa myaka nga 17 oba 18 era yabeera mu maka ago okutuusa lwe yasajjakula, oboolyawo oluvannyuma lw’emyaka mitono. We yaviira mu kkomera yalina emyaka 30 egy’obukulu.—Olubereberye 37:2; 39:6; 41:46.