Endowooza Katonda gy’Alina ku Buyonjo mu Mpisa
“Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu.”—ISAAYA 48:17.
1, 2. (a) Abantu okutwalira awamu balina ndowooza ki ku mpisa ez’okwetaba? (b) Ndowooza ki Abakristaayo gye balina ku mpisa ez’okwetaba?
LEERO, mu bitundu bingi eby’ensi, empisa zitwalibwa ng’ensonga ekwata ku muntu kinnoomu. Abantu batwala empisa ez’okwetaba ng’engeri eya bulijjo ey’okulagamu omukwano buli lwe baba bagadde, so si ng’ekintu ekirina okufunibwa mu bufumbo mwokka. Balowooza nti bwe watabaawo akosebwa, tewabaawo kabi mu kwesalirawo engeri y’okweyisaamu. Mu ndaba yaabwe, abantu tebalina kusalirwa musango ku nsonga ezikwata ku mpisa, naddala bwe kituuka ku by’okwetaba.
2 Abo abategedde Yakuwa bo balina endowooza ey’enjawulo. Bagoberera obulagirizi bw’omu Byawandiikibwa kubanga baagala Yakuwa era baagala okumusanyusa. Bakimanyi nti Yakuwa abaagala era abawa obulagirizi obunaabayamba, obunaabaganyula era obunaabawa essanyu. (Isaaya 48:17) Okuva Katonda bw’ali Ensibuko y’obulamu, kiba kya magezi okumutunuulira okufuna obulagirizi mu ngeri gye bakozesaamu emibiri gyabwe, naddala mu nsonga eno ekwataganyizibwa n’okubeerawo kw’obulamu.
Ekirabo Okuva eri Omutonzi Ow’Okwagala
3. Abantu bangi mu Kristendomu kiki kye bayigiriziddwa ku by’okwetaba, era ekyo kigeraageranyizibwa kitya n’ekyo Baibuli ky’eyigiriza?
3 Okwawukana ku nsi ya leero etafaayo ku bya ddiini, abamu mu Kristendomu bayigiriza nti okwetaba kintu kya nsonyi, kibi, era nti “ekibi ekyasooka” mu lusuku Adeni kwali kusendasenda Adamu ne Kaawa okwetaba. Endowooza ng’eyo eyawukana okuva ku ekyo Ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa kye bigamba. Baibuli eyogera ku bantu ababiri abaasooka nga “omusajja ne mukazi we.” (Olubereberye 2:25) Katonda yabalagira okuzaala abaana, ng’agamba: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye.” (Olubereberye 1:28) Tekyandibadde kya magezi Katonda okulagira Adamu ne Kaawa okuzaala abaana ate n’ababonereza olw’okutuukiriza ebiragiro ebyo.—Zabbuli 19:8.
4. Lwaki Katonda yawa abantu amaanyi ag’okwetaba?
4 Mu kiragiro ekyo ekyaweebwa bakadde baffe abaasooka, era ekyaddibwamu eri Nuuwa ne batabani be, tulabamu ekigendererwa ekikulu eky’okwetaba: okuzaala abaana. (Olubereberye 9:1) Kyokka, Ekigambo kya Katonda kiraga nti abaweereza be abafumbo tebalina kwetaba olw’okuzaala obuzaazi abaana kyokka. Okwetaba ng’okwo kusobola bulungi okukola ku bwetaavu obw’enneewulira ez’omunda n’obw’omubiri era ne kubeera ensibuko ey’essanyu eri abafumbo. Y’engeri gye balagaŋŋanamu okwagala okw’amaanyi.—Olubereberye 26:8, 9; Engero 5:18, 19; 1 Abakkolinso 7:3-5.
Okukugira kwa Katonda
5. Kukugira ki Katonda kw’atadde ku bantu okukwata ku kwetaba?
5 Wadde ng’okwetaba kirabo okuva eri Katonda, tekulina kubaawo awatali kukugirwa. Omusingi guno gukola ne mu nteekateeka y’obufumbo. (Abaefeso 5:28-30; 1 Peetero 3:1, 7) Okwetaba tekukkirizibwa mu abo abatali bafumbo. Baibuli eyogera kaati ku nsonga eno. Mu Mateeka Katonda ge yawa eggwanga lya Isiraeri, yagamba: “Toyendanga.” (Okuva 20:14) Oluvannyuma, Yesu yagattako “obukaba” ne “obwenzi” ne “ebirowoozo ebibi” ebisibuka mu mutima ne byonoona omuntu. (Makko 7:21, 22) Omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okulabula Abakristaayo mu Kkolinso: “Mwewalenga obwenzi.” (1 Abakkolinso 6:18) Era mu bbaluwa ye eri Abebbulaniya, Pawulo yawandiika: “Okufumbiriganwa kwa kitiibwa eri bonna, n’ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango.”—Abaebbulaniya 13:4.
6. Mu Baibuli, ekigambo “obukaba” kizingiramu ki?
6 Ekigambo “obukaba” kitegeeza ki? Kiva mu kigambo ky’Oluyonaani por·neiʹa, ekitera okukozesebwa ku kwetaba wakati w’abantu abatali bafumbo. (1 Abakkolinso 6:9) Awalala wonna, gamba nga mu Matayo 5:32 ne mu Matayo 19:9, NW ekigambo kigaziwa mu makulu era kiba kitegeeza obwenzi, okwetaba n’omuntu gw’olinako oluganda era n’okwetaba n’ensolo. Engeri endala ez’okwetaba wakati w’abantu abatali bafumbo, gamba ng’okukomberera ebitundu eby’ekyama, okwetaba mu ngeri etali ya mu butonde n’okukwatirira ebitundu eby’ekyama eby’omuntu omulala, nazo ziyinza okuyitibwa por·neiʹa. Ebikolwa ebyo byonna tebikkirizibwa—buteerevu oba okusinziira ku misingi—mu Kigambo kya Katonda.—Eby’Abaleevi 20:10, 13, 15, 16; Abaruumi 1:24, 26, 27, 32.a
Okuganyulwa Okuva mu Mateeka ga Katonda ag’Empisa
7. Tuganyulwa tutya bwe tubeera abayonjo mu mpisa?
7 Okugondera obulagirizi bwa Yakuwa ku bikwata ku mpisa ez’okwetaba kuyinza okubeera okusoomooza okw’amaanyi eri abantu abatatuukiridde. Omuyudaaya omufirosoofo omumanyifu ennyo ow’omu kyasa ekye 12 ayitibwa Maimonides yawandiika: “Tewali mateeka mazibu kukwata mu Tola [Amateeka ga Musa] ng’ago agawera okwetaba.” Kyokka, singa tugondera obulagirizi bwa Katonda, tuganyulwa nnyo. (Isaaya 48:18) Ng’ekyokulabirako, obuwulize mu nsonga ezo kitukuuma okuva ku ndwadde ez’obukaba, nga ezimu ku zo teziwoonyezeka ate nga zitta.b Tukuumibwa obutafuna mbuto nga tetuli bafumbo. Okukozesa amagezi agava eri Katonda kitusobozesa okuba n’omuntu ow’omunda omulungi. Okukola ekyo kituleetera okwewa ekitiibwa era kireetera abalala okutussaamu ekitiibwa, nga mw’otwalidde ab’eŋŋanda zaffe, bannaffe mu bufumbo, abaana baffe, era ne baganda baffe ne bannyinaffe Abakristaayo. Mu ngeri eyo kitukubiriza okukulaakulanya endowooza ennuŋŋamu ku bikwata ku kwetaba enaatuleetera essanyu mu bufumbo. Omukyala omu Omukristaayo yawandiika bw’ati: “Amazima ag’omu Kigambo kya Katonda bwe bukuumi obusingirayo ddala. Nnindirira okufumbirwa, era bwe ndifumbirwa nja kuba musanyufu okubuulira omusajja Omukristaayo ampasiza nti nkumye empisa zange nga zisaanira.”
8. Mu ngeri ki empisa zaffe ennongoofu mwe ziyinza okutumbula okusinza okulongoofu?
8 Bwe tukuuma empisa ezisaanira, tusobola okuggyawo endowooza enkyamu ezikwata ku kusinza okw’amazima era ne tusikiriza abantu abalala eri Katonda gwe tusinza. Omutume Peetero yawandiika: “Nga mulina empisa zammwe mu b’amawanga ennungi, nga bwe baboogerako ng’abakola obubi, olw’ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku olw’okulabirwamu.” (1 Peetero 2:12) Wadde ng’abo abataweereza Yakuwa balemererwa okumanya oba okusiima empisa zaffe ezisaanidde, tusobola okuba abakakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu alaba, asiima, era asanyukira okufuba kwaffe okugoberera obulagirizi bwe.—Engero 27:11; Abaebbulaniya 4:13.
9. Lwaki twandibadde n’obwesige mu bulagirizi bwa Katonda, wadde nga tuyinza obutategeerera ddala ensonga ze? Waayo ekyokulabirako.
9 Okubeera n’okukkiriza mu Katonda kitwaliramu okuba n’obwesige nti amanyi ekitugwanidde, wadde nga tetutegeerera ddala ensonga zonna lwaki atukulembera mu ngeri emu. Lowooza ku kyokulabirako ekimu okuva mu Mateeka ga Musa. Ekiragiro ekimu ekyali kikwata ku baserikale abakuŋŋaanye awamu kyali kyetaagisa obubi bwabwe okuziikibwa wabweru w’olusisira. (Ekyamateeka 23:13, 14) Oboolyawo Abaisiraeri beebuuza ensonga lwaki obulagirizi ng’obwo bwaweebwa; abamu bayinza okuba baalowooza nti tebwetaagisa. Kyokka, okuva olwo, sayansi ow’ekisawo akitegedde nti eteeka eryo lyayamba okukuuma ensulo z’amazzi obutayonoonebwa era lyawa obukuumi okuva ku ndwadde nnyingi ezireetebwa ebiwuka. Mu ngeri y’emu, waliwo ensonga ezikwata ku by’omwoyo, ku nkolagana y’abantu, ku nneewulira ez’omunda, ku mubiri ne ku ndowooza y’omuntu lwaki Katonda akkiriza abafumbo bokka okwetaba. Kati ka twekenneenye eby’okulabirako ebimu okuva mu Baibuli eby’abo abaakuuma obuyonjo mu mpisa.
Yusufu—Yaweebwa Omukisa olw’Empisa Ze Ennungi
10. Ani yagezaako okusendasenda Yusufu, era yayanukula atya?
10 Oyinza okuba ng’omanyi ekyokulabirako eky’omu Baibuli ekikwata ku Yusufu, mutabani wa Yakobo. Ng’aweza emyaka 17 egy’obukulu, yeesanga nga muddu wa Potifali, omukulu w’abambowa ba Falaawo ow’Emisiri. Yakuwa yawa Yusufu omukisa, era bwe waayitawo ekiseera yalondebwa okukulira ennyumba ya Potifali. We yawereza emyaka 20 egy’obukulu, Yusufu yali afuuse‘mulungi, mu kikula kye era ne mu ndabika ye.’ Mukyala wa Potifali yamwegomba, era n’agezaako okumusendasenda. Yusufu yalaga bulungi nnyo ennyimirira ye, ng’annyonnyola nti okukkiriza ekyo tekyandibadde kulyamu lukwe mukama we kyokka naye era “n’okusobya mu maaso ga Katonda.” Lwaki Yusufu yalowooza bw’atyo?—Olubereberye 39:1-9.
11, 12. Wadde nga tewaaliwo tteeka lya Katonda mu buwandiike erigaana obukaba n’obwenzi, lwaki Yusufu yali ateekwa okukola nga bwe yakola?
11 Kya lwatu, okusalawo kwa Yusufu kwali tekwesigamye ku kutya okusangibwa abantu. Ab’omu maka ga Yusufu baali babeera wala nnyo, ate nga kitaawe yali alowooza nti yafa. Singa Yusufu yeenyigira mu bwenzi, ab’omu maka ge tebandikitegedde n’akamu. Era ekibi ng’ekyo oboolyawo kyandibadde kikwekebwa okuva ku Potifali n’abaweereza be abasajja, okuva oluusi bwe bataabeerangawo mu nnyumba. (Olubereberye 39:11) Kyokka, Yusufu yali akimanyi nti ekikolwa ng’ekyo kyali tekiyinza kukwekebwa ku Katonda.
12 Yusufu ateekwa okuba nga yafumiitiriza ku kye yali amanyi ekikwata ku Yakuwa. Awatali kubuusabuusa yali amanyi Yakuwa kye yalangirira mu lusuku Adeni: “Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu.” (Olubereberye 2:24) Okwongereza ku ekyo, Yusufu ayinza okuba yali amanyi Yakuwa kye yagamba kabaka Omufirisuuti eyali asendasenda jjajja wa Yusufu omukazi Saala. Yakuwa yagamba kabaka oyo nti: “Laba, ggwe oli mufu bufu, olw’omukazi gwe watwala; kubanga alina bba. . . . Era nange ne nkuziyiza okunnyonoona: kyennava nnema okukuganya okumukwatako.” (Olubereberye 20:3, 6, italiki zaffe.) Wadde nga Yakuwa yali tannateeka mateeka mu buwandiike, endowooza gye yalina ku bufumbo yali etegeerekeka bulungi. Empisa za Yusufu ennungi, awamu n’okwagala kwe okusanyusa Yakuwa, byamuleetera obutakola bwenzi.
13. Lwaki Yusufu yali tayinza kwewala mukyala wa Potifali?
13 Kyokka, mukyala wa Potifali yamwesibako, nga amwegayirira “buli lunaku” okwetaba naye. Lwaki Yusufu teyamwewala bwewazi? Ng’omuddu, yalina emirimu egy’okukola era nga tayinza kukyusa mbeera ye. Obujulizi bw’abasima eby’omu ttaka bulaga nti enzimba y’amayumba g’Abamisiri yali yeetaaza omuntu okuyita munda mu nnyumba okutuuka mu bisenge omuterekebwa ebintu. Bwe kityo, kiyinzika okuba nti Yusufu yali tayinza kwewala mukyala wa Potifali.—Olubereberye 39:10.
14. (a) Kiki ekyatuuka ku Yusufu oluvannyuma lw’okudduka okuva ku mukyala wa Potifali? (b) Yakuwa yawa atya Yusufu omukisa olw’obwesigwa bwe?
14 Olunaku lwatuuka nga bali bokka mu nnyumba. Mukyala wa Potifali n’akwata Yusufu n’amugamba nti: “Sula nange!” Ye yadduka. Ng’awulira bubi olw’okumugaana, yamuwayiriza nti yagezaako okumukwata. Biki ebyavaamu? Yakuwa yamusasulirawo olw’okukuuma obugolokofu? Nedda. Yusufu yasuulibwa mu kkomera era n’asibibwa n’enjegere. (Olubereberye 39:12-20; Zabbuli 105:18) Yakuwa yalaba obutali bwenkanya era oluvannyuma n’agulumiza Yusufu n’amuggya mu kkomera n’amutwala mu lubiri. Yafuuka ow’okubiri mu buyinza mu Misiri era nnaaweebwa omukisa n’afuna omukazi n’abaana. (Olubereberye 41:14, 15, 39-45, 50-52) Okwongereza ku ekyo, ebikwata ku bugolokofu bwa Yusufu byawandiikibwa emyaka 3,500 egiyise abaweereza ba Katonda basobolenga okubyekenneenya. Nga guba mukisa gwa maanyi nnyo okunywerera ku mateeka ga Katonda ag’obutuukirivu! Mu ngeri y’emu, naffe leero tuyinza obutalabirawo emiganyulo egy’okukuuma empisa ennungi, naye tuyinza okubeera abakakafu nti Yakuwa alaba era ajja kutuwa emikisa ekiseera nga kituuse.—2 Ebyomumirembe 16:9.
‘Endagaano Yobu gye Yakola n’Amaaso Ge’
15. ‘Endagaano Yobu gye yakola n’amaaso ge y’eruwa?
15 Omulala eyakuuma obugolokofu yali Yobu. Mu kugezesebwa okwamutuusibwako Omulyolyomi, Yobu yakebera obulamu bwe era n’agamba nti yali mwetegefu okufuna ekibonerezo ekikakali bwe kiba nti yali amenye omusingi gwa Yakuwa ogukwata ku mpisa ez’okwetaba, awamu n’obutatuukiriza bintu birala. Yobu yagamba: “N[n]alagaana endagaano n’amaaso gange; kale nnaandiyinzizza ntya okutunuulira omuwala?” (Yobu 31:1) Mu kino, Yobu yali ategeeza nti mu bumalirivu bwe okukuuma obugolokofu bwe eri Katonda, yali asazewo okwewala okutunuulira omukazi mu ngeri ey’okumwegomba. Kya lwatu, yayinzanga okulaba abakazi mu bulamu obwa bulijjo era oboolyawo n’abayambanga nga beetaaze obuyambi. Naye teyalina mu birowoozo bye kiruubirirwa kyonna eky’okwetaba nabo. Ng’okugezesebwa kwe tekunnatandika, yali musajja mugagga nnyo, “yali mukulu okusinga abaana bonna ab’ebuvanjuba.” (Yobu 1:3) Kyokka, teyakozesa bugagga bwe okusikiriza abakazi bangi. Mazima ddala, teyalowoozaako n’akamu ku ky’okwetaba n’abawala abato mu ngeri emenya amateeka.
16. (a) Lwaki Yobu kyakulabirako kirungi eri Abakristaayo abafumbo? (b) Empisa z’abasajja b’omu kiseera kya Malaki zaali za njawulo zitya okuva ku ezo ez’omu kiseera kya Yobu, era kiri kitya leero?
16 Mu ngeri eyo, mu biseera ebirungi era ne biseera ebizibu, Yobu yakuuma obugolokofu mu mpisa. Yakuwa kino yakiraba era n’amuwa emikisa mingi. (Yobu 1:10; 42:12) Nga Yobu kyakulabirako kirungi eri Abakristaayo abafumbo, abasajja n’abakazi! Tekyewuunyisa nti Yakuwa yamwagala nnyo! Okwawukana ku ekyo, empisa z’abantu bangi leero zifaanaganira ddala n’ekyo ekyaliwo mu biseera bya Malaki. Nnabbi oyo yanakuwalira nnyo engeri abaami bangi gye baalekamu bakazi baabwe, okuwasa abawala abato. Ekyoto kya Yakuwa kyabikibwa amaziga g’abakazi abagobeddwa, era Katonda yanenya abo “ab’obukusa” eri bannabwe mu bufumbo.—Malaki 2:13-16.
Omuwala ow’Empisa Ennyonjo
17. Omuwala Omusulamu yafaanana atya “olusuku olusibiddwa”?
17 Ow’okusatu eyakuuma obugolokofu yali omuwala Omusulamu. Yali muto ate nga mulungi, era teyasikiriza omuvubuka omusumba yekka naye era ne kabaka wa Isiraeri omugagga, Sulemaani. Mu lugero lwonna olulungi oluli mu Oluyimba lwa Sulemaani, omuwala Omusulamu yakuuma empisa ezisaanira, bwe kityo ne kimuleetera okussibwamu ekitiibwa abo be yali nabo. Wadde ng’omuwala yagaana Sulemaani, Sulemaani yaluŋŋamizibwa okuwandiika olugero olukwata ku muwala. Omusumba gwe yayagala naye yassa ekitiibwa mu mpisa z’omuwala ezisaanira. Olumu yayogera nti omuwala Omusulamu yali nga “[o]lusuku olwasibibwa.” (Oluyimba 4:12) Mu Isiraeri ey’edda, ensuku ennungi zaalingamu enva ennungi ez’ebika eby’enjawulo, ebimuli eby’akaloosa, n’emiti eminnene. Ensuku ng’ezo zeetoololwanga olukomera oba ekisenge ng’oyinza okuziyingira okuyitira mu mulyango gwokka ogwalinga omuggale. (Isaaya 5:5) Eri omusumba, empisa z’omuwala Omusulamu ennongoofu n’obulungi bwe byalinga olusuku ng’olwo olulungi ennyo olwali lutasangikasangika. Yalina ddala empisa ennongoofu. Okwagala kwe kwandibadde kw’oyo yekka eyandibadde bba we mu biseera eby’omu maaso.
18. Ebyawandiikibwa ebikwata ku Yusufu, Yobu, n’omuwala Omusulamu bitujjukiza ki?
18 Mu mpisa ennungi, omuwala Omusulamu yassaawo ekyokulabirako ekirungi eri abakazi Abakristaayo leero. Yakuwa yalaba era n’asiima empisa ennungi ez’omuwala Omusulamu era n’amuwa omukisa nga bwe yawa Yusufu ne Yobu omukisa. Olw’okutuwa obulagirizi, ebikwata ku bugolokofu bwabwe biwandiikiddwa mu Kigambo kya Katonda. Wadde ng’okufuba kwaffe okukuuma obugolokofu leero tekuwandiikibwa mu Baibuli, Yakuwa alina “ekitabo eky’okujjukira” abo abanoonya okukola by’ayagala. Ka tuleme kwerabira nti Yakuwa “awulira” era asanyuka nga tufuba okukuuma obuyonjo mu mpisa.—Malaki 3:16.
19. (a) Twandibadde na ndowooza ki ku buyonjo mu mpisa? (b) Kiki ekinnayogerwako mu kitundu ekiddako?
19 Wadde ng’abo abatalina kukkiriza bayinza okutunyooma, tusanyukira mu buwulize bwaffe eri Omutonzi waffe ow’okwagala. Tulina empisa ez’ekika ekya waggulu, empisa ez’okutya Katonda. Kye kintu kye tulina okwenyumirizaamu, ekintu eky’okutwala ng’eky’omuwendo. Bwe tubeera abayonjo mu mpisa, tuyinza okusanyukira mu mikisa gya Katonda era tuyinza okubeera n’essuubi etangaavu ery’okufuna emikisa egitakoma mu biseera eby’omu maaso. Kyokka, mu ngeri ey’omuganyulo, kiki kye tuyinza okukola okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa? Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku kibuuzo kino ekikulu.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba The Watchtower, aka Maaki 15, 1983, empapula 29-31.
b Eky’ennaku, waliwo embeera ezimu Omukristaayo mw’ayinza okufunira obulwadde bw’obukaba okuva eri munne mu bufumbo atali mukkiriza atagoberedde bulagirizi bwa Katonda.
Oyinza Okunnyonnyola?
• Kiki Baibuli ky’eyigiriza ku bikwata ku kwetaba?
• Mu Baibuli ekigambo “obukaba” kitegeeza ki?
• Tuganyulwa tutya bwe tusigala nga tuli bayonjo mu mpisa?
• Lwaki Yusufu, Yobu, n’omuwala Omusulamu byakulabirako birungi eri Abakristaayo leero?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Yusufu yadduka empisa ez’obugwenyufu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]
Omuwala Omusulamu yalinga “olusuku olusibiddwa”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Yobu yali akoze ‘endagaano n’amaaso ge’