ESSOMO 07
Yakuwa Katonda Wa Ngeri Ki?
Bw’olowooza ku Yakuwa Katonda, kiki ekikujjira mu birowoozo? Omutwala nga wa kitiibwa nnyo era ng’akuli wala nnyo okufaananako emmunyeenye eziri ewala ennyo? Oba omutwala nga wa maanyi nnyo era nga talina nneewulira, okufaananako eggulu eribwatuka? Ddala Yakuwa Katonda wa ngeri ki? Bayibuli etubuulira ezimu ku ngeri za Yakuwa, era eraga nti akufaako.
1. Lwaki tetusobola kulaba Katonda?
“Katonda Mwoyo.” (Yokaana 4:24) Yakuwa talina mubiri ogulinga ogw’abantu. Alina mubiri gwa mwoyo, era abeera mu ggulu, ekifo kye tutasobola kulaba.
2. Ezimu ku ngeri za Yakuwa ze ziruwa?
Wadde nga tetusobola kulaba Yakuwa, wa ddala, era alina engeri ennungi ezireetera abo abamumanyi okumwagala. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa ayagala obwenkanya, era talyabulira abo abeesigwa gy’ali.” (Zabbuli 37:28) Ate era “alina okwagala kungi era musaasizi,” naddala eri abo ababonaabona. (Yakobo 5:11) “Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese; alokola abo abaweddemu amaanyi.” (Zabbuli 34:18, obugambo obuli wansi) Obadde okimanyi nti ebyo bye tukola bisobola okusanyusa Yakuwa oba okumunakuwaza? Omuntu akola ebintu ebibi mu bugenderevu anyiiza Yakuwa era amunakuwaza. (Zabbuli 78:40, 41) Naye omuntu akola ebirungi amusanyusa.—Soma Engero 27:11.
3. Yakuwa akiraga atya nti atwagala?
Engeri ya Yakuwa esingayo obukulu kwe kwagala. Mu butuufu, “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Okwagala kwa Yakuwa kweyolekera mu Bayibuli ne mu bintu bye yatonda. (Soma Ebikolwa 14:17.) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri gye yatutondamu. Yatutonda nga tulina obusobozi obw’okulaba langi ez’enjawulo, okuwuliriza ennyimba ne tunyumirwa, n’okuwoomerwa emmere. Ayagala tunyumirwe obulamu.
YIGA EBISINGAWO
Weetegereze ekyo Yakuwa ky’akozesa okukola ebintu ebyewuunyisa. Era laba engeri Yakuwa gy’atutegeezaamu engeri ze, era n’engeri gy’azoolekamu.
4. Omwoyo omutukuvu maanyi ga Katonda
Nga bwe tukozesa emikono gyaffe okukola emirimu, Yakuwa ye akozesa omwoyo gwe omutukuvu. Bayibuli eraga nti omwoyo omutukuvu si Katonda, wabula maanyi Katonda g’akozesa okukola ebintu ebitali bimu. Soma Lukka 11:13 ne Ebikolwa 2:17, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Katonda ‘afuka’ omwoyo gwe omutukuvu ku abo abamusaba agubawe. Olowooza omwoyo omutukuvu Katonda, oba maanyi ga Katonda? Lwaki ogamba bw’otyo?
Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu okukola ebintu ebyewuunyisa. Soma Zabbuli 33:6 ne 2 Peetero 1:20, 21, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Ebimu ku bintu Yakuwa bye yakola ng’akozesa omwoyo omutukuvu bye biruwa?
5. Yakuwa alina engeri ennungi era ezisikiriza
Musa yali muweereza wa Katonda omwesigwa, naye era yayagala okweyongera okumanya Omutonzi we. N’olwekyo yagamba Katonda nti: “Mmanyisa amakubo go nkumanye.” (Okuva 33:13) Yakuwa yakola ekyo Musa kye yamusaba n’amutegeeza ezimu ku ngeri ze. Soma Okuva 34:4-6, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Ezimu ku ngeri Yakuwa ze yategeeza Musa ze ziruwa?
Ngeri ki eya Yakuwa ggwe gy’osinga okwagala?
6. Yakuwa afaayo ku bantu
Abantu ba Katonda, Abebbulaniya, baali baddu mu Misiri. Yakuwa yakwatibwako atya bwe yalaba nga babonaabona? Ssaako owulirize ebyo ebyasomebwa okuva mu Bayibuli, oba soma Okuva 3:1-10. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.
Ebiri mu nnyiriri ezo bikulaga ki ku ngeri Yakuwa gy’awuliramu bw’alaba abantu nga babonaabona?—Laba olunyiriri 7 ne 8.
Olowooza Yakuwa ayagala okuyamba abantu, era asobola okubayamba? Lwaki ogamba bw’otyo?
7. Ebitonde byoleka engeri za Yakuwa
Engeri za Yakuwa zeeyolekera mu bintu bye yatonda. Laba VIDIYO. Oluvannyuma soma Abaruumi 1:20, era mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
Ngeri ki eza Yakuwa z’olaba mu bintu bye yatonda?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Katonda maanyi bwanyi agali buli wantu wonna.”
Ggwe olowooza otya?
Lwaki olowooza bw’otyo?
MU BUFUNZE
Yakuwa alina omubiri gwa mwoyo, tetusobola kumulaba era alina engeri nnyingi ezisikiriza, naddala okwagala.
Okwejjukanya
Lwaki tetusobola kulaba Yakuwa?
Omwoyo omutukuvu kye ki?
Ezimu ku ngeri za Yakuwa ze ziruwa?
LABA EBISINGAWO
Manya ebisingawo ebikwata ku ngeri za Yakuwa ennya ezisinga obukulu.
“Engeri za Katonda Ze Ziruwa?” (Omunaala gw’Omukuumi Na. 1 2019)
Weetegereze obukakafu obulaga nti Yakuwa tali buli wantu wonna.
Laba ensonga lwaki Bayibuli omwoyo omutukuvu eguyita engalo za Yakuwa.
Omusajja omuzibe w’amaaso yali azibuwalirwa okukikkiriza nti Katonda amufaako. Laba ekyamuleetera okukyusa endowooza ye.
“Kati Nsobola Okuyamba Abalala” (Omunaala gw’Omukuumi, Okitobba 1, 2015)