-
“Nja Kuba Naawe ng’Oyogera”Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020 | Jjuuni
-
-
“Nja Kuba Naawe ng’Oyogera”
Yakuwa yayamba Musa okuggwaamu okutya. Biki bye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Musa?
Tusaanidde okwewala okulowooza ennyo ku ebyo bye tutasobola kukola
Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa obuyambi bwonna bwe twetaaga okusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe
Okwesiga Katonda kijja kutuyamba obutatya bantu
-
-
Osobola Okubuulira n’Okuyigiriza!Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020 | Jjuuni
-
-
Osobola Okubuulira n’Okuyigiriza!
Mu kusooka, Musa yali alowooza nti tasobola kutuukiriza bulungi buvunaanyizibwa Yakuwa bwe yali amuwadde. (Kuv 4:10, 13) Naawe wali owuliddeko bw’otyo? Oyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa? Weebuuza oba ng’osobola okubuulira nnyumba ku nnyumba? Oba oyinza okuba ng’oli muvubuka atya okubuulira ku ssomero. Oba oyinza okuba ng’otya okubuulira mu bifo ebya lukale oba okubuulira ng’okozesa essimu. Saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu. (1Pe 4:11) Beera mukakafu nti asobola okukuyamba okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bw’akuwadde.—Kuv 4:11, 12.
-