Okufuna Obuvumu Okuyitira mu Kukkiriza n’Okutya Katonda
“Beera muvumu era wa maanyi . . . Yakuwa Katonda wo ali naawe.”—Yoswa 1:9, NW.
1, 2. (a) Okusinziira ku ndaba ey’obuntu, Abaisiraeri baalina essuubi okuwangula Abakanani? (b) Yoswa yakakasibwa atya?
MU 1473 B.C.E., eggwanga lya Isiraeri lyali lyetegese okuyingira mu Nsi Ensuubize. Ng’ayogera ku bizibu ebyali bijja mu maaso, Musa yajjukiza bw’ati abantu: “Wulira, ggwe Isiraeri: ogenda okusomoka Yoludaani leero, okuyingira okulya amawanga agakusinga obunene n’amaanyi, ebibuga ebinene ebyazimbibwako ebigo okutuuka mu ggulu, abantu abanene abawanvu, abaana b’Anaki, . . . be wawulirako nga bagamba nti Ani ayinza okuyimirira mu maaso g’abaana ba Anaki?” (Ekyamateeka 9:1, 2) Mazima ddala, abalwanyi abawagguufu abo baali bamanyiddwa nnyo! Ate era, Abakanani abamu baali batendeke bulungi, nga balina embalaasi n’amagaali agaalina namuziga ezaaliko ebyuma ebisala.—Ekyabalamuzi 4:13.
2 Ku luuyi olulala, Isiraeri eggwanga ery’abaddu lyali limaze emyaka 40 mu ddungu. N’olwekyo, okusinziira ku ndaba ey’obuntu, baali balabika ng’abatalina ssuubi lyonna lya kuwangula lutalo. Kyokka, Musa yalina okukkiriza; yali asobola ‘okulaba’ Yakuwa ng’abakulembedde. (Abaebbulaniya 11:27) Musa yagamba bw’ati abantu: “Mukama Katonda wo ye wuuyo asomoka okukukulembera . . . ye alibazikiriza, era alibamegga mu maaso go.” (Ekyamateeka 9:3; Zabbuli 33:16, 17) Oluvannyuma lw’okufa kwa Musa, Yakuwa yakakasa Yoswa nti ajja kumuwagira ng’agamba nti: “Golokoka, osomoke omugga guno Yoludaani, ggwe, n’abantu bano bonna, muyingire mu nsi gye mbawa bo, abaana ba Isiraeri. Tewalibeera muntu yenna aliyinza okuyimirira mu maaso go ennaku zonna ez’obulamu bwo: nga bwe nnabeeranga ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe.”—Yoswa 1:2, 5.
3. Kiki ekyasobozesa Yoswa okubeera n’okukkiriza n’obuvumu?
3 Okusobola okufuna obuyambi n’obulagirizi bwa Yakuwa, Yoswa yali ateekwa okusoma n’okufumiitiriza ku Mateeka ga Katonda era n’okugagoberera. Yakuwa yamugamba nti “bw’onootere[e]zanga bw’otyo ekkubo lyo, era bw’onooweebwanga omukisa bw’otyo.” Era yayongerezaako nti “Si nze nkulagidde? [beera muvumu era wa maanyi]; totyanga, so teweekanganga: kubanga Mukama Katonda wo ali naawe buli gy’onoogendanga yonna.” (Yoswa 1:8, 9) Olw’okuba Yoswa yawuliriza Katonda, yasobola okuba omuvumu, ow’amaanyi era ebintu byamugendera bulungi. Kyokka, abasinga obungi ab’emyaka gye, tebaawuliriza. N’ekyavaamu ebintu tebyabagendera bulungi era baafiira mu ddungu.
Abantu Abataalina Kukkiriza na Buvumu
4, 5. (a) Endowooza y’abakessi ekkumi yayawukana etya ku ya Yoswa ne Kalebu? (b) Yakuwa yayogera ki abantu bwe bataayoleka kukkiriza?
4 Emyaka ana emabega Isiraeri lwe yasooka okwolekera Kanani, Musa yatuma abasajja 12 okuketta ensi eyo. Ekkumi baakomawo nga batidde. Baagamba nti “Abantu bonna be twalaba omwo basajja bawanvu nnyo. Era twalabayo Banefiri abaana ba Anaki, abaava ku Banefiri: naffe ne tuba mu maaso gaffe ng’obwacaaka [amayanzi], era bwe twali mu maaso gaabwe.” “Abantu bonna” baali bawagguufu? Nedda, ab’Anaki bokka be baali abawagguufu. Ab’Anaki baali bazzukulu ba Banefiri abaaliwo ng’Amataba tegannabaawo? Kya lwatu nedda. Wadde kyali kityo, ebigambo ebyo eby’obulimba bye baayogera byaleetawo okutya kwa maanyi mu lusiisira. Abantu baatuuka n’okwagala okuddayo e Misiri, mu nsi gye baali abaddu!—Okubala 13:31–14:4.
5 Kyokka, abakessi ababiri Yoswa ne Kalebu, baali baagala nnyo okuyingira Ensi Ensuubize. Baagamba nti, Abakanani “kya kulya gye tuli: ekisiikirize kyabwe kiggiddwa waggulu ku bo, era Mukama ali wamu naffe: temubatya.” (Okubala 14:9) Yoswa ne Kalebu baalina kyonna kye baali basinziirako obutatya Bakanani? Yee. Awamu n’eggwanga lyonna, baalaba Yakuwa ng’afeebya Misiri ey’amaanyi awamu ne bakatonda baayo, bwe yaleeta Ebibonoobono Ekkumi. Ate oluvannyuma, baalaba nga Yakuwa azikiriza Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emmyufu. (Zabbuli 136:15) Kya lwatu, abakessi abo ekkumi awamu n’abalala tebaalina kyonna kya kwekwasa okutya abalabe baabwe. Nga munakuwavu nnyo, Yakuwa yagamba nti: “Balituusa wa obutanzikiriza olw’obubonero bwonna bwe nnakolera mu bo?”—Okubala 14:11.
6. Kakwate ki akaliwo wakati w’obuvumu n’okukkiriza, era kino kyeyolese kitya mu biseera byaffe?
6 Yakuwa yayogerera ddala ekyo ekyaviirako ekizibu—okutya abantu abo kwe baalina kwalaga nti tebaalina kukkiriza. Yee, okukkiriza n’obuvumu birina akakwate ne kiba nti omutume Yokaana yatuuka n’okuwandiika bw’ati ku bikwata ku kibiina Ekikristaayo n’olutalo olw’eby’omwoyo lwe balina. Yagamba nti: “Kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, okukkiriza kwaffe.” (1 Yokaana 5:4) Leero, okukkiriza okufaananako okwa Yoswa ne Kalebu kuviiriddeko Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu bukadde mukaaga, abato n’abakulu, abalina amaanyi n’abakosefukosefu okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna. Tewali mulabe asobodde okulemesa eggye lino ery’amaanyi.—Abaruumi 8:31.
‘Temudda Nnyuma’
7. “Okudda ennyuma” kitegeeza ki?
7 Abaweereza ba Yakuwa leero babuulira amawulire amalungi n’obuvumu kubanga balina endowooza y’emu ng’ey’omutume Pawulo eyagamba nti: “Tetuli ba kudda nnyuma mu kuzikirira, naye tuli ba kukkiriza olw’okulokola obulamu.” (Abaebbulaniya 10:39) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okudda ennyuma’ Pawulo kw’ayogerako, tekitegeeza okufuna obufunyi okutya okumala akaseera katono kubanga abaweereza ba Katonda bangi emirundi egimu bafuna okutya. (1 Samwiri 21:12; 1 Bassekabaka 19:1-4) Wabula kitegeeza “obutanywerera ku mazima,” ne kifaananako omuntu ali mu lyato akoowa n’alekera wo okukuba enkasi n’amaanyi. Kya lwatu abo abalina okukkiriza okw’amaanyi tebayinza na kulowooza ku kukuddirira singa ebizibu bijjawo—ka kube kuyigganyizibwa, okulwala oba okugezesebwa okulala kwonna. Wabula, beeyongera okuweereza Yakuwa nga bamanyi nti abafaako era nti amanyi n’ekkomo lyabwe. (Zabbuli 55:22; 103:14) Olina okukkiriza ng’okwo?
8, 9. (a) Yakuwa yanyweza atya okukkiriza kw’Abakristaayo abasooka? (b) Kiki kye tulina okukola okusobola okunyweza okukkiriza kwaffe?
8 Lumu abatume baawulira nti baali tebakyalina okukkiriza era bwe kityo baagamba Yesu nti: “Otwongereko okukkiriza.” (Lukka 17:5) Okusaba kwabwe kwaddibwamu, naddala ku lunaku lwa Pentekoote 33 C.E., omwoyo omutukuvu ogwasuubizibwa bwe gwakka ku bayigirizwa era ne gubayamba okweyongera okutegeera Ekigambo kya Katonda n’ekigendererwa kye. (Yokaana 14:26; Ebikolwa 2:1-4) Okukkiriza kwabwe kwanywezebwa, era ne batandika okukola omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi mu “bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu,” wadde nga waaliwo okuyigganyizibwa.—Abakkolosaayi 1:23; Ebikolwa 1:8; 28:22.
9 Okusobola okunyweza okukkiriza kwaffe era n’okweyongera okuba abanyiikivu mu buweereza bwaffe, naffe tuteekwa okusoma n’okufumiitiriza ku Byawandiikibwa era n’okusaba Katonda atuwe omwoyo omutukuvu. Singa amazima ga Katonda gakakata mu birowoozo byaffe ne mu mitima gyaffe nga bwe kyali eri Yoswa, Kalebu n’Abakristaayo abaasooka, tujja kusobola okuba n’okukkiriza okunaatuyamba okuba n’obuvumu obunaatusobozesa okulwana olutalo olw’eby’omwoyo era n’okuluwangula.—Abaruumi 10:17.
Tekimala Okukkiriza Obukkiriza nti Katonda Waali
10. Okukkiriza okwa nnamaddala kuzingiramu ki?
10 Nga bwe kyalagibwa abo abaakuuma obugolokofu mu biseera eby’edda, okukkiriza okusobozesa omuntu okuba n’obuvumu era n’obugumiikiriza tekukoma ku kukkiriza bukkiriza nti Katonda waali. (Yakobo 2:19) Kitwetaagisa okumanya Yakuwa ng’omuntu era n’okumwesigira ddala. (Zabbuli 78:5-8; Engero 3:5, 6) Kitwetaagisa okukkiriza n’omutima gwaffe gwonna nti tuganyulwa bwe tugondera amateeka ga Katonda era ne tugoberera emisingi gye. (Isaaya 48:17, 18) Ate era, okukkiriza kuzingiramu okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebisuubizo bye era nti ajja ‘kuwa empeera abo abamunoonya.’—Abaebbulaniya 11:1, 6; Isaaya 55:11.
11. Mu ngeri ki Yoswa ne Kalebu gye baaweebwamu omukisa olw’okukkiriza n’obuvumu bwe baalina?
11 Okukkiriza ng’okwo kugenda kweyongera. Kweyongera bwe tutambulira mu mazima, bwe ‘tulega’ ku miganyulo egivaamu, bwe ‘tulaba’ engeri okusaba kwaffe gye kuddibwamu oba bwe tutegeera engeri Yakuwa gy’atuwaamu obulagirizi mu bulamu bwaffe. (Zabbuli 34:8; 1 Yokaana 5:14, 15) Tuyinza okuba abakakafu nti okukkiriza kwa Yoswa ne Kalebu kweyongera bwe baalega ku bulungi bwa Katonda. (Yoswa 23:14) Lowooza ku nsonga zino: Nga Katonda bwe yali abasuubizza, baawonawo mu myaka 40 gye baamala nga batambulira mu ddungu. (Okubala 14:27-30; 32:11, 12) Beenyigira mu lutalo olw’okuwamba Kanani olwamala emyaka mukaaga. Ku nkomerero, baawangaala nnyo nga bali mu bulamu obulungi era ne bafuna n’obusika bwabwe. Mazima ddala Yakuwa awa empeera abo abamuweereza n’obwesigwa era n’obuvumu.—Yoswa 14:6, 9-14; 19:49, 50; 24:29.
12. Mu ngeri ki Yakuwa ‘gy’agulumizaamu ekigambo kye’?
12 Ekisa eky’ensusso Katonda kye yalaga Yoswa ne Kalebu kitujjukiza ebigambo by’omuwandiisi wa zabbuli ebigamba nti: “ogulumizizza ekigambo kyo okusinga erinnya lyo lyonna.” (Zabbuli 138:2) Yakuwa bw’akwataganya erinnya lye n’ekyo ky’aba asuubiza, okutuukirizibwa kw’ekisuubizo ekyo ‘kugulumizibwa’ mu ngeri nti kusingawo ku ekyo ekiba kisuubirwa. (Abaefeso 3:20) Yee, Yakuwa talemererwa kutuukiriza ekyo ky’aba asuubizza abo ‘abamusanyukira.’—Zabbuli 37:3, 4.
Omusajja ‘Eyasanyusa Katonda’
13, 14. Lwaki Enoka yali yeetaaga okukkiriza n’obuvumu?
13 Tulina bingi bye tuyinza okuyiga ku kukkiriza n’obuvumu bwe twekenneenya ekyokulabirako kya Enoka—omujulirwa eyaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo. Ne bwe yali nga tannatandika kuweereza nga nnabbi, Enoka alabika yakimanya nti okukkiriza n’obuvumu bye yalina byandigezeseddwa. Lwaki? Kubanga Yakuwa yali ayogedde mu Adeni nti, wandibaddewo obukyayi wakati w’abo abaweereza Katonda n’abo abaweereza Setaani Omulyolyomi. (Olubereberye 3:15) Ate era, Enoka yakimanya nti obukyayi obwo bwali bwatandikawo dda Kayini bwe yatta muganda we Abeeri. Mazima ddala, taata waabwe Adamu yawangaala emyaka emirala 310 oluvannyuma lw’okuzaala Enoka.—Olubereberye 5:3-18.
14 Kyokka, wadde nga Enoka yali amanyi ebintu ebyo, n’obuvumu, ‘yeeyongera okutambula ne Katonda ow’amazima’ era yavumirira ‘ebigambo ebibi’ abantu bye baayogeranga ku Yakuwa. (Olubereberye 5:22; Yuda 14, 15) Olw’okuba Enoka teyatya kuwagira kusinza okw’amazima, ekyo kyamuleetera okufuna abalabe bangi era ne kiteeka obulamu bwe mu kabi. Mu mbeera eyo, Yakuwa yawonya nnabbi we okuttibwa abalabe be. Oluvannyuma lw’okutegeeza Enoka nti ‘yali asanyusizza Katonda,’ Yakuwa ‘yamutwala’ mu ngeri nti, yamuggyako obulamu bwe oboolyawo ng’ali mu kwolesebwa.—Abaebbulaniya 11:5, 13; Olubereberye 5:24.
15. Kyakulabirako ki ekirungi Enoka kye yateerawo abaweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino?
15 Oluvannyuma lw’okwogera ku kutwalibwa kwa Enoka, Pawulo yaddamu okuggumiza obukulu bw’okukkiriza ng’agamba nti: “Awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa [Katonda].” (Abaebbulaniya 11:6) Yee, okukkiriza Enoka kwe yalina kwamuwa obuvumu okutambula ne Yakuwa era n’okulangirira obubaka bwe obw’omusango eri ensi etatya Katonda. Mu kukola bw’atyo, Enoka yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Naffe tulina omulimu ogufaananako ng’ogwo ogw’okukola mu nsi eno eziyiza okusinza okw’amazima era ejjudde obubi obwa buli ngeri.—Zabbuli 92:7; Matayo 24:14; Okubikkulirwa 12:17.
Obuvumu Obuva mu Kutya Katonda
16, 17. Obadiya yali ani, era yali mu mbeera ki?
16 Ng’oggyeko okukkiriza waliwo engeri endala ereetera omuntu okuba omuvumu, era engeri eyo, kwe kutya Katonda. Ka twekenneenye ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’omusajja eyatya Katonda, eyaliwo mu nnaku za nnabbi Eriya ne Kabaka Akabu eyali afuga obwakabaka bwa Isiraeri obw’omu bukiika kkono. Mu bufuzi bwa Akabu, abantu b’omu bwakabaka obw’omu bukiika kkono beenyigira mu kusinza Baali ku kigero ekyali kitabangawo. Mu butuufu bannabbi ba Baali 450 ne bannabbi 400 aba baaseri, baali ‘balya ku mmeeza ya Yezeberi,’ mukazi wa Akabu.—1 Bassekabaka 16:30-33; 18:19.
17 Yezeberi omulabe wa Yakuwa omukambwe, yagezaako okusaanyaawo okusinza okw’amazima mu nsi ya Isiraeri. Yatta abamu ku bannabbi ba Yakuwa era yagezaako n’okutta Eriya kennyini. N’olwekyo, Eriya yaddukira emitala wa Yoludaani nga Katonda bwe yali amulagidde. (1 Bassekabaka 17:1-3; 18:13) Oyinza okuteeberezaamu engeri gye kyali ekizibu okunywerera ku kusinza okw’amazima mu bwakabaka obw’ebukiika kkono obwaliwo mu kiseera ekyo? Tekyandibadde kizibu nnyo n’okusingawo singa wali okolera mu lubiri lwa Kabaka? Eyo ye mbeera Obadiya,a omusajja eyali atya Katonda era eyali omuwanika mu nnyumba ya Akabu, gye yalimu.—1 Bassekabaka 18:3.
18. Kiki ekyaleetera Obadiya okuba omusinza wa Yakuwa ow’enjawulo?
18 Awatali kubuusabuusa, Obadiya yali mwegendereza era yakozesa amagezi okusobola okusinza Yakuwa. Wadde nga yali mu mbeera enzibu, teyekkiriranya. Mu butuufu, 1 Bassekabaka18:3 lutugamba nti: ‘Obadiya yatya nnyo Yakuwa.’ Yee, engeri Obadiya gye yatyamu Katonda yali ya njawulo nnyo! Okutya okwo kwamusobozesa okuba n’obuvumu era ekyo kyeyoleka mangu ddala nga Yezeberi yakatemula bannabbi ba Yakuwa.
19. Kiki Obadiya kye yakola ekyayoleka obuvumu bwe?
19 Tusoma nti: “Olwatuuka Yezeberi bwe yamalawo bannabbi ba Mukama, Obadiya naddira bannabbi kikumi n’abakweka mu mpuku ataano ataano, n’abaliisanga emigaati n’amazzi.” (1 Bassekabaka 18:4) Nga bw’oyinza okukiteeberezaamu, okuliisa abasajja kikumi mu bubba, kyateeka obulamu bwe mu kabi. Obadiya teyalina kwewala kukwatibwa Akabu ne Yezeberi kyokka, naye era yalina n’okwewala okulabibwa bannabbi 850 ab’obulimba abajjanga mu lubiri. Ng’oggyeko ekyo, abasinza bangi ab’obulimba abaali mu nsi eyo, nga mw’otwalidde abantu aba bulijjo n’abalangira, bandikozesezza omukisa gwonna gwe bandifunye okukwata Obadiya ng’atwalira bannabbi emmere basobole okuganja mu maaso ga Akabu ne Yezeberi. Wadde kyali kityo, Obadiya yayoleka obuvumu n’alabirira bannabbi ba Yakuwa wadde ng’abasinza b’ebifaananyi abo bonna baaliwo. Ng’okutya Katonda kuyinza okuyamba omuntu okuba omuvumu ennyo!
20. Okutya Katonda kwayamba kutya Obadiya, era ekyokulabirako kye kikuyamba kitya?
20 Olw’okuba Obadiya yayoleka obuvumu okuyitira mu kutya Katonda, Yakuwa yamuwonya abalabe be. Engero 29:25 lugamba nti: “Okutya abantu kuleeta ekyambika: Naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.” Obadiya yali muntu buntu nga ffe; yali atya okukwatibwa n’okuttibwa, nga naffe bwe twandibadde. (1 Bassekabaka 18:7-9, 12) Wadde kyali kityo, okutya Katonda kwamuwa obuvumu n’asobola okuvvuunuka ekizibu ky’okutya abantu. Obadiya yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ffenna, naddala eri abo abayinza okufiirwa eddembe lyabwe oba obulamu bwabwe olw’okusinza Yakuwa. (Matayo 24:9) Yee, ka ffenna tufube okuweereza Yakuwa ‘nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya.’—Abaebbulaniya 12:28.
21. Kiki ekijja okwogerwako mu kitundu ekiddako?
21 Okukkiriza n’okutya Katonda si ze ngeri zokka ezitusobozesa okuba n’obuvumu; okwagala kuyinza okutusobozesa okuba abavumu n’okusingawo. Pawulo yagamba nti “Katonda teyatuwa ffe omwoyo ogw’okutya, wabula ogw’amaanyi era ogw’okwagala era ogw’okwegenderezanga.” (2 Timoseewo 1:7) Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri okwagala gye kuyinza okutuyamba okuweereza Yakuwa n’obuvumu mu biro bino eby’okulaba ennaku.—2 Timoseewo 3:1.
[Obugambo obuli wansi]
a Si ye nnabbi Obadiya.
Osobola Okuddamu?
• Kiki ekyasobozesa Yoswa ne Kalebu okubeera abavumu?
• Okukkiriza okwa nnamaddala kuzingiramu ki?
• Lwaki Enoka teyatya kulangirira obubaka bwa Katonda obw’omusango?
• Okutya Katonda kusobola kutya okutuyamba okubeera abavumu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Yakuwa yagamba Yoswa nti: “Beera muvumu era wa maanyi”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Enoka yalangirira ekigambo kya Katonda n’obuvumu