Abantu ba Yakuwa ‘Balekayo Obutali Butuukirivu’
“Buli akoowoola erinnya lya Yakuwa alekeyo obutali butuukirivu.”—2 TIM. 2:19.
1. Ekimu ku bintu bye tutwala ng’ebikulu mu kusinza kwaffe kye kiruwa?
WALI olabye ekizimbe oba ekintu ekirala kyonna nga kiwandiikiddwako erinnya Yakuwa? Ekyo kiteekwa okuba nga kyakusanyusa nnyo. Ekyo kiri kityo kubanga ffe ng’Abajulirwa ba Yakuwa, erinnya lya Katonda kintu kikulu nnyo mu kusinza kwaffe! Tewali bantu balala mu nsi bakozesa linnya lya Katonda nga ffe bwe tulikozesa. Kyokka okuva bwe kiri nti tuyitibwa erinnya lya Katonda, tulina okubaako kye tukolawo okusobola okuliweesa ekitiibwa.
2. Okuva bwe kiri nti tulina enkizo okuyitibwa erinnya lya Katonda, kiki kye tulina okukola?
2 Okukozesa obukozesa erinnya lya Katonda ku bwakyo tekituleetera kusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Tulina okufuba okutuukanya obulamu bwaffe n’emitindo gye egy’empisa. N’olw’ensonga eyo, Bayibuli ekubiriza abantu ba Yakuwa okulekayo ebintu ebibi. (Zab. 34:14) Omutume Pawulo yakkaatiriza ensonga eyo bwe yagamba nti: “Buli akoowoola erinnya lya Yakuwa alekeyo obutali butuukirivu.” (Soma 2 Timoseewo 2:19.) Abajulirwa ba Yakuwa, tumanyiddwa ng’abantu abakoowoola erinnya lya Katonda. Naye tuyinza tutya okulekayo obutali butuukirivu?
“MUVE” MU BANTU ABABI
3, 4. Bigambo ki abantu abamu bye batategeera makulu gaabyo, era lwaki?
3 Mu 2 Timoseewo 2:19, Pawulo ayogera ku ‘musingi gwa Katonda omugumu’ era n’alaga nti ku musingi ogwo kuliko obubaka bwa mirundi ebiri. Obusooka bugamba nti, “Yakuwa amanyi ababe,” era awo Pawulo yali ajuliza ebyo ebiri mu Okubala 16:5. (Laba ekitundu ekyayita.) Obubaka obw’okubiri bugamba nti, “Buli akoowoola erinnya lya Yakuwa alekeyo obutali butuukirivu.” Ebigambo ebiri mu bubaka obw’okubiri, abantu abamu tebategeera bulungi makulu gaabyo. Lwaki?
4 Ebigambo bya Pawulo biraga nti yalina awalala w’ajuliza. Kyokka, mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya temuli lunyiriri lwonna lufaanagana na bigambo bya Pawulo ebyo. Kati olwo Pawulo yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Buli akoowoola erinnya lya Yakuwa alekeyo obutali butuukirivu”? Amangu ddala nga yaakogera ebigambo ebyo, Pawulo yajuliza ebigambo ebiri mu Okubala essuula 16, awoogera ku bujeemu bwa Koola. Kyandiba nti ebigambo ebyo nabyo birina akakwate n’obujeemu bwa Koola?
5-7. Bintu ki ebyaliwo mu kiseera kya Musa ebirina akakwate n’ebigambo bya Pawulo ebiri mu 2 Timoseewo 2:19? (Laba ekifaananyi ku lupapula 12)
5 Bayibuli egamba nti batabani ba Eriyaabu, Dasani ne Abiraamu, beegatta ku Koola ne bakulemberamu abantu okujeemera Musa ne Alooni. (Kubal. 16:1-5) Baakiraga kaati nti baali tebassa kitiibwa mu Musa era baagaana okukkiriza obuyinza Katonda bwe yali amuwadde. Abajeemu abo beeyongera okubeera mu bantu ba Yakuwa, era ne batandika okwonoona abo abaali abeesigwa. Ekiseera bwe kyatuuka Yakuwa okwawula abajeemu abo ku bantu be abeesigwa, yawa ekiragiro ekyali ekyangu okutegeera.
6 Bayibuli egamba nti: “Mukama n’agamba Musa nti Gamba ekibiina nti Mugolokoke muve ku weema ya Koola, Dasani, ne Abiraamu. Musa n’agolokoka n’agenda eri Dasani ne Abiraamu; abakadde ba Isiraeri ne bamugoberera. N’agamba ekibiina nti Mbeegayiridde, muve ku weema ez’abantu bano ababi, so temukoma ku kintu kyonna ku byabwe, muleme okuzikirizibwa mu bibi byabwe byonna. Awo ne bagolokoka [mangu] okuva ku nnyumba ya Koola, Dasani, ne Abiraamu, enjuyi zonna.” (Kubal. 16:23-27) Ekyaddirira, Yakuwa yatta abajeemu bonna. Kyokka abo abaali abeesigwa, ne balekayo obutali butuukirivu nga beeyawula ku bajeemu abo, baawonawo.
7 Okuva bwe kiri nti Yakuwa alaba ebyo ebiri mu mutima, asobola okutegeera ababe era abeesigwa gy’ali. Wadde kiri kityo, abantu be abeesigwa baalina okubaako kye bakolawo nga beeyawula ku abo abaali bakola ebitali bya butuukirivu. N’olwekyo, Pawulo bwe yagamba nti “Buli akoowoola erinnya lya Yakuwa alekeyo obutali butuukirivu,” ayinza okuba nga yali ajuliza ebyo ebiri mu Okubala 16:5, 23-27. Ekyo kituukirawo bulungi bwe tulowooza ku bigambo bya Pawulo bino: “Yakuwa amanyi ababe.”—2 Tim. 2:19.
WEEWALE “EBIBUUZO EBY’EKISIRU ERA EBITALINA MAKULU”
8. Ng’oggyeko okukozesa erinnya lya Yakuwa n’okuba mu kibiina Ekikristaayo, kiki ekirala kye tulina okukola?
8 Mu kwogera ku bintu ebyaliwo mu kiseera kya Musa, Pawulo yali ayagala okuyamba Timoseewo okukiraba nti kikulu okubaako ky’akolawo okusobola okukuuma enkolagana ye ne Yakuwa. Ng’okukoowoola obukoowoozi erinnya lya Yakuwa mu kiseera kya Musa ku bwako bwe kyali tekimala, ne mu kyasa ekyasooka okubeera obubeezi mu kibiina Ekikristaayo ku bwakyo nakyo kyali tekimala. Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa balina okufuba okulekayo obutali butuukirivu. Ebigambo bya Pawulo byalina makulu ki eri Timoseewo? Era kiki abantu ba Yakuwa leero kye bayigira ku bigambo bya Pawulo ebyo?
9. Lwaki “ebibuuzo eby’ekisiru era ebitalina makulu” byali bya kabi nnyo eri ekibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka?
9 Ekigambo kya Katonda kyogera ku bintu ebitali bya butuukirivu Abakristaayo bye balina okulekayo oba okwewala. Ng’ekyokulabirako, mu bbaluwa ey’okubiri Pawulo gye yawandiikira Timoseewo, yamukubiriza “okwewalanga empaka ezikwata ku bigambo” ‘n’okwewalanga ebigambo ebitaliimu nsa.’ (Soma 2 Timoseewo 2:14, 16, 23.) Abantu abamu mu kibiina baali bayigiriza enjigiriza za bakyewaggula. Ate abalala bayinza okuba nga baalina omuze ogw’okuleetawo ebintu ebivaako okuwakana. Wadde ng’ebimu ku bintu ebyo biyinza okuba nga byali tebikontana butereevu na Byawandiikibwa, byali bireetawo enjawukana mu kibiina. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yakubiriza Timoseewo okwewala “ebibuuzo eby’ekisiru era ebitalina makulu.”
10. Tuyinza tutya okwewala bakyewaggula?
10 Leero, kizibu okusanga bakyewaggula mu kibiina kya Yakuwa. Wadde kiri kityo, tusaanidde okwewalira ddala enjigiriza yonna ekontana n’Ebyawandiikibwa. Tekiba kya magezi kudda awo kukubaganya birowoozo ne bakyewaggula oba okuwuliziganya nabo ku Intaneeti oba mu ngeri endala yonna. Ne bwe kiba nti tuwulira nti twagala okuyamba abantu ng’abo okutegeera amazima, okukubaganya nabo ebirowoozo kikontana n’amagezi agali mu Byawandiikibwa ge tuva okulaba. Mu kifo ky’ekyo, ffenna abantu ba Yakuwa, tusaanidde okwewalira ddala bakyewaggula.
11. Kiki ekiyinza okuleetawo “ebibuuzo eby’ekisiru,” era abakadde bayinza batya okuteekawo ekyokulabirako ekirungi?
11 Ng’oggyeko obwakyewaggula, waliwo n’ebintu ebirala ebisobola okutabangula emirembe gy’ekibiina. Ng’ekyokulabirako, okuba n’endowooza ez’enjawulo ku by’okwesanyusaamu kiyinza okuvaako “ebibuuzo eby’ekisiru era ebitalina makulu.” Kya lwatu nti singa wabaawo omuntu asazeewo okwesanyusaamu mu ngeri ekontana n’emitindo gya Yakuwa egy’empisa, abakadde mu kibiina tebasaanidde kusirika busirisi olw’okwagala okukuuma emirembe n’omuntu oyo. (Zab. 11:5; Bef. 5:3-5) Kyokka, abakadde basaanidde okwewala okukakaatika endowooza zaabwe ku balala. Bafuba okukolera ku bulagirizi buno obw’omu Byawandiikibwa obuweebwa abalabirizi Abakristaayo: “Mulundenga ekisibo kya Katonda ekyabakwasibwa, . . . nga temukajjala ku abo Katonda b’alinako obwannannyini, naye nga muba byakulabirako eri ekisibo.”—1 Peet. 5:2, 3; soma 2 Abakkolinso 1:24.
12, 13. (a) Abajulirwa ba Yakuwa balina ndowooza ki ku by’okwesanyusaamu, era misingi ki gye bagoberera mu nsonga eyo? (b) Emisingi egiri mu katundu 12 gituyamba gitya mu mbeera z’obulamu ezitali zimu?
12 Ekibiina kya Yakuwa tekituwa lukalala lwa firimu, mizannyo gya kompyuta, bitabo, oba nnyimba bye tusaanidde kwewala. Lwaki? Kubanga Bayibuli ekubiriza buli muntu okutendeka ‘obusobozi bwe obw’okutegeera asobole okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.’ (Beb. 5:14) Mu Byawandiikibwa mulimu emisingi egisobola okuyamba Omukristaayo okusalawo mu ngeri ey’amagezi bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu. Mu buli kimu kye tusalawo okukola, tusaanidde ‘okufuba okumanya ekyo ekikkirizibwa Mukama waffe.’ (Bef. 5:10) Bayibuli eraga nti Katonda alina obuyinza bwe yawa emitwe gy’amaka. N’olwekyo, emitwe gy’amaka basobola okusalawo eby’okwesanyusaamu ebikkirizibwa n’ebyo ebitakkirizibwa mu maka gaabwe.a—1 Kol. 11:3; Bef. 6:1-4.
13 Ng’oggyeko okutuyamba nga tuliko bye tusalawo mu by’okwesanyusaamu, emisingi gya Bayibuli gye tulabye waggulu gisobola n’okutuyamba mu mbeera endala. Abantu ba Katonda basobola okuba n’endowooza ez’enjawulo ku nnyambala n’okwekolako, ku by’obujjanjabi n’eby’okulya, ne ku bintu ebirala. Singa tewabaawo musingi gwa Bayibuli guba gumenyeddwa, abantu ba Yakuwa beewala okukaayana ku bintu ng’ebyo kubanga Bayibuli egamba nti: “Omuddu wa Mukama tekimwetaagisa kuyomba, wabula alina okuba omukkakkamu eri bonna.”—2 Tim. 2:24.
WEEWALE EMIKWANO EMIBI!
14. Bigambo ki Pawulo bye yayogera ebiraga nti kikulu nnyo okwewala emikwano emibi?
14 Ngeri ki endala abo ‘abakoowoola erinnya lya Yakuwa gye balekeyo obutali butuukirivu’? Balekayo obutali butuukirivu nga beewala okukolagana n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu. Weetegereze nti Pawulo bwe yamala okwogera ku ‘musingi gwa Katonda omugumu,’ yayogera ne ku “nnyumba ennene.” Yagamba nti: “Mu nnyumba ennene temubaamu bibya bya zaabu na bya ffeeza byokka, naye mubaamu n’eby’emiti n’eby’ebbumba, era ebimu bikozesebwa mu mirimu egy’ekitiibwa ate ebirala mu gitali gya kitiibwa.” (2 Tim. 2:20, 21) Oluvannyuma yakubiriza Abakristaayo okwewala “ebibya ebikozesebwa mu mirimu egitali gya kitiibwa.”
15, 16. Kiki kye tuyigira ku bigambo bya Pawulo ebikwata ku “nnyumba ennene”?
15 Ebigambo bya Pawulo ebyo birina makulu ki? Pawulo yageraageranya ekibiina Ekikristaayo ku “nnyumba ennene” ate abo abakirimu n’abageraageranya ku ‘bibya,’ oba ku bintu ebibeera mu nnyumba. Ebintu ebimu ebibeera mu nnyumba bisobola okukyafuwala ne bifuuka bya kabi. Ebintu ebiba bikyafuwadde biba birina okwawulibwa ku bintu ebiyonjo.
16 Mu ngeri y’emu, abantu ba Yakuwa abaagala okusigala nga bayonjo, basaanidde okwewala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abo abali mu kibiina abatassa kitiibwa mu misingi gya Yakuwa. (Soma 1 Abakkolinso 15:33.) Bwe kiba nti waliwo abantu mu kibiina be tusaanidde ‘okwewala’ okuba n’enkolagana ey’oku lusegere nabo ate kiri kitya ku abo abali ebweru w’ekibiina, nga bangi ku bo ‘baagala nnyo ssente, tebagondera bazadde baabwe, si beesigwa, bawaayiriza, bakambwe, tebaagala bulungi, bankwe, era baagala eby’amasanyu okusinga Katonda!—2 Tim. 3:1-5.
BWE TUBA ABEESIGWA, YAKUWA ATUWA EMIKISA
17. Abaisiraeri abaali abeesigwa baakiraga batya nti baali beesambye obutali butuukirivu?
17 Yakuwa bwe yalagira Abaisiraeri ‘okuva ku weema ya Koola, Dasani, ne Abiraamu,’ amangu ago Abaisiraeri abaali abeesigwa baava ku weema ezo. (Kubal. 16:24, 27) Baasitukiramu ne beeyawula ku bajeemu. Ekyo baakikola n’omutima gwabwe gwonna kubanga Bayibuli egamba nti baava ku ‘njuyi zonna’ eza weema. Abantu abo abaali abeesigwa baagondera Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna era baakiraga kaati nti baali bawagira obufuzi bwa Yakuwa era nti baali beesambye obutali butuukirivu. Ekyo kituyigiriza ki?
18. Kiki Pawulo kye yali ategeeza bwe yagamba Timoseewo ‘okudduka okwegomba okw’omu buvubuka’?
18 Enkolagana yaffe ne Yakuwa tugitwala nga ya muwendo nnyo era tusaanidde okubaako kye tukolawo mu bwangu nga waliwo ekintu kyonna ekyagala okugyonoona. Ekyo tukirabira mu bigambo bino Pawulo bye yagamba Timoseewo: “Ddukanga okwegomba okw’omu buvubuka.” (2 Tim. 2:22) Mu kiseera ekyo, Timoseewo yali musajja mukulu, oboolyawo ng’ali mu myaka 30. Ekyo kiraga nti n’abantu abakulu basobola okufuna “okwegomba okw’omu buvubuka.” Timoseewo bwe yandifunye okwegomba ng’okwo yalina ‘okukudduka.’ Mu ngeri endala, Timoseewo yalina ‘okulekayo obutali butuukirivu.’ Ne Yesu yayogera ekintu ekifaananako ng’ekyo, bwe yagamba nti: “Singa eriiso lyo likwesittaza, liggyemu olisuule.” (Mat. 18:9) Abakristaayo abakolera ku bigambo ebyo, babaako kye bakolawo mu bwangu bwe wabaawo ekintu kyonna ekyagala okwonoona enkolagana yaabwe ne Yakuwa.
19. Kiki abamu kye bakoze okusobola okwewala ebintu ebiyinza okwonoona enkolagana yaabwe ne Yakuwa?
19 Ab’oluganda abamu abaalina omuze ogw’okwekamirira omwenge nga tebannafuuka Bajulirwa ba Yakuwa basazeewo okwewalira ddala okukomba ku mwenge. Abalala basazeewo okwewala eby’okwesanyusaamu ebimu, omuli n’ebyo ebitali bibi naye nga biyinza okuzuukusa emize emibi gye baalekayo. (Zab. 101:3) Ng’ekyokulabirako, bwe yali tannafuuka Mujulirwa wa Yakuwa, ow’oluganda omu yanyumirwanga nnyo okugenda mu mazina ageetabwangamu abantu abaseegu. Kyokka bwe yayiga amazima, yasalawo obutaddamu kuzina ne bw’aba agenze ku kabaga akategekeddwa Abajulirwa ba Yakuwa, kubanga ekyo kisobola okuzuukusa omuze omubi gwe yalina. Kya lwatu nti si kikyamu Abakristaayo okunywako ku mwenge, okuzinamu, oba okukola ebintu ebirala ebitamenya misingi gya Bayibuli. Wadde kiri kityo, ffenna tulina okwewala ekintu kyonna ekiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.
20. Wadde nga kiyinza obutaba kyangu ‘okulekayo obutali butuukirivu,’ lwaki tusaanidde okufuba okukikola?
20 Nkizo ya maanyi okuyitibwa erinnya lya Yakuwa, era tusaanidde okufuba okuliweesa ekitiibwa. Tulina ‘okulekayo obutali butuukirivu’ n’okwewala ebintu ebibi. (Zab. 34:14) Kyo kituufu nti ebiseera ebimu ekyo tekiba kyangu. Wadde kiri kityo, tusaanidde okufuba okukikola kubanga Yakuwa ayagala nnyo abo abafuba okunywerera mu makubo ge ag’obutuukirivu.—2 Tim. 2:19; soma 2 Ebyomumirembe 16:9a.
a Genda ku jw.org. ku kitundu ekirina omutwe “Mulina Firimu, Ebitabo, oba Ennyimba Bye Mutakkiriza?” wansi wa ABOUT US > FREQUENTLY ASKED QUESTIONS.