Okukomolebwa Kiraga Kusajjakula?
MU BITUNDU by’ensi bingi, abaana abato abalenzi bakomolebwa olw’okubaako endwadde ze babatangira. Kyokka mu bitundu ebirala teri mpisa ya kukomola baana balenzi. Abamu, gamba ng’Abayudaaya n’Abasiraamu, tebakomola lwa kwekuuma ndwadde kyokka, wabula n’olw’enzikiriza zaabwe.
Kyokka mu nsi ezimu, abaana abalenzi bakomolebwa bwe batuuka mu myaka egy’obuvubuka. Abaana bano batera okubatwala mu masomero agayigiriza eby’obuwangwa, gye bakomolerwa era ne babeerayo okutuusa lwe bawona. Mu kiseera ekyo, omulenzi abaako obulombolombo bw’atuukiriza era n’ayigirizibwa okweyisa ng’omusajja. Ddala okukomolebwa kuno kwetaagisa okusobola okulaga nti omulenzi asajjakudde? Ka tulabe endowooza ya Katonda ku nsonga eno mu Baibuli.—Engero 3:5, 6.
Endowooza ya Katonda ku Kukomolebwa
Abantu abamu mu biseera eby’edda gamba ng’Abamisiri baakomolanga, kwe kugamba, ng’omusajja aggibwako ekikuta. Kyokka, lyo eggwanga Ibulayimu mwe yazaalibwa teryalina mpisa eyo. Mu butuufu yatuuka n’okukaddiwa nga si mukomole. Ate era, Ibulayimu yali musajja muzira wadde nga teyali mukomole. Bakabaka bana balamba bwe baali bawambye Lutti omwana wa muganda we, Ibulayimu yabawondera era n’awangula amagye gaabwe wadde nga yalina abasajja batono. (Olubereberye 14:8-16) Nga wayiseewo emyaka nga 14, Katonda yalagira Ibulayimu akomolebwe era akomole n’ab’omu maka ge bonna. Lwaki Katonda yamulagira okukola bw’atyo?
Kya lwatu nti Ibulayimu okukomolebwa tekaali kabonero akalaga nti takyali mulenzi, afuuse musajja. Weewuunye, yali musajja wa myaka 99! (Olubereberye 17:1, 26, 27) Katonda yawa ensonga lwaki yabawa ekiragiro ekyo bwe yagamba nti: “Munaakomolwanga omubiri gw’ekikuta kyammwe; era kunaabanga kabonero ak’endagaano eri nze nammwe.” (Olubereberye 17:11) Endagaano eyo Katonda gye yakola ne Ibulayimu yalimu n’ekisuubizo nti okuyitira mu Ibulayimu “ebika byonna eby’omu nsi” byandiwereddwa emikisa egy’ekitalo. (Olubereberye 12:2, 3) N’olwekyo, mu maaso ga Katonda, omuntu bw’akomolebwa tekitegeeza nti aba asajjakudde. Okukomolebwa kwalaganga nti omuntu oyo yali omu ku Baisiraeri bazzukulu ba Ibulayimu, abaaweebwa enkizo ‘ey’okuteresebwa Katonda bye yayogera.’—Abaruumi 3:1, 2.
Oluvannyuma Abaisiraeri baalaga nti baali tebakyasaanira nkizo eyo bwe baagaana okukkiririza mu Zzadde lya Ibulayimu, Yesu Kristo. Bwe kityo, Katonda yalekera awo okukolagana nabo, ne kiba nti okukomolebwa kwabwe kwali tekukyalina makulu mu maaso ge. Kyokka, Abakristaayo abamu mu kyasa ekyasooka C.E. baagamba nti Katonda yali akyetaagisa abantu okukomolebwa. (Ebikolwa 11:2, 3; 15:5) Olw’ensonga eyo, omutume Pawulo yatuma Tito “okutereeza ebintu ebitaatereera” mu bibiina eby’enjawulo. Pawulo yawandiikira Tito ng’amubuulira ekimu ku byo nti: “Waliwo abantu bangi abatafugika, aboogera ebitaliimu, abalimba, naddala abo abanywerera ku kukomolebwa. Kyetaagisa okusirisa emimwa gyabwe, kubanga abantu abo boonoona amaka gonna, nga bayigiriza ebintu bye batasaanidde kuyigiriza olw’okwagala okwefunira amagoba mu bukuusa.”—Tito 1:5, 10, 11, NW.
Okubuulirira kwa Pawulo kukyali kwa muganyulo ne leero. Ddala kiba kikontana n’ebyawandiikibwa Omukristaayo ow’amazima okukubiriza omuntu omulala okukomola omwana we. Mu kifo ‘ky’okweyingiza mu nsonga z’abantu abalala,’ Omukristaayo asaanidde okuleka abazadde ne beesalirawo. (1 Peetero 4:15, NW) Ate era, Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika ku kukomolebwa okwalagirwa mu Mateeka ga Musa ng’agamba nti: “Omuntu yenna yayitibwa nga mukomole? [T]eyeggyangako bukomole bwe. Omuntu yenna yayitibwa nga si mukomole? Takomolebwanga. Okukomolwa si kintu, n’obutakomolwa si kintu, wabula okukwatanga ebiragiro bya Katonda. Buli muntu abeerenga mu kuyitibwa kwe yayitirwamu.”—1 Abakkolinso 7:18-20.
Ate “Amasomero Gye Bakomolera”?
Kiri kitya singa abazadde Abajulirwa ba Yakuwa basalawo okukomola abaana baabwe abalenzi? Kiba kituukana n’emisingi gya Baibuli bwe batwala abaana baabwe mu masomero agaayogeddwako waggulu gye bakomolera? Omwana okugenda mu masomero ng’ago tekikoma ku kumukomola bukokomozi. Okumala wiiki eziwerako, ajja kubeera wamu n’abaana era n’abasomesa abatali basinza ba Yakuwa. Bingi ebiyigirizibwa mu masomero ago bikontana n’emitindo gya Baibuli egy’empisa egya waggulu ennyo. Baibuli erabula nti: “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.”—1 Abakkolinso 15:33, NW.
Ate era kyeyongedde okuba eky’akabi eri obulamu bw’abaana abagenda mu masomero ago. Mu 2003 akatabo akayitibwa South African Medical Journal kaagamba nti: “Ne mu mwaka guno wabaddewo ebizibu bingi ebivudde ku kukomolebwa, era lipoota ezikwata ku baana abafudde n’abo abakomoleddwa obubi zifulumiziddwa ku mikutu gy’eby’empuliziganya egitali gimu okwetooloola ensi. . . . Mu bufunze tuyinza okugamba nti, mangi ku ‘masomero gye bakomolera’ ga bikwangala era ga kabi nnyo.”
Ekisinga ne ku kabi akayinza okumutuusibwako ng’akomolebwa, embeera ye ey’eby’omwoyo eyinza okwonooneka. Ebiyigirizibwa n’ebikolebwa mu masomero gano birimu eby’obusamize bingi n’okusinza bajjajja abaafa. Ng’ekyokulabirako, mu kifo ky’okukkiriza nti obuzibu bwava ku bulagajjavu ng’omwana akomolebwa ne ku bulwadde obuva ku bujama, bangi balowooza nti obuzibu buva ku kuba nti omuntu bamuloze oba nti bajjajja be abaafa banyiivu. Ku bikwata ku kuba n’enkolagana n’eddiini ez’obulimba, Baibuli egamba nti: “Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana: kubanga obutuukirivu n’obujeemu bugabana butya? oba omusana gussa kimu gutya n’ekizikiza? . . . Kale Muve wakati w’abo, mweyawule, bw’ayogera Mukama, so temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; nange ndibasembeza.” (2 Abakkolinso 6:14-17.) Okusinziira ku kubuulirira kuno, tekyandibadde kya magezi n’akatono abazadde Abakristaayo okutwala abaana baabwe abalenzi mu masomero ago.
Kiki Ekiraga Nti Omukristaayo Musajja Ddala?
Omusajja Omukristaayo okuba nti mukomole si kye kiraga nti musajja ddala. Ekisinga obukulu eri Abakristaayo ab’amazima kwe kuba nti basiimibwa mu maaso ga Katonda, so si “okwenyumiriza mu mubiri.”—Abaggalatiya 6:12, NW.
Kyokka, okusobola okusanyusa Katonda, Omukristaayo ateekwa ‘okukomolebwa omutima.’ (Ekyamateeka 10:16; 30:6; Matayo 5:8) Kino tekikolebwa na kambe, wabula kikolebwa ng’omuntu aleka okwegomba okukyamu n’okwegulumiza, gamba ng’alowooza nti okukomolebwa kuleetera omuntu okuba owa waggulu okusinga abalala. Omukristaayo bw’agumiikiriza ng’agezesebwa era ‘n’anywerera mu kukkiriza,’ kye kiraga nti ddala musajja ka kibe nti mukomole oba nedda.—1 Abakkolinso 16:13; Yakobo 1:12.