KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE | DEBOLA
‘Nnayimuka nga Maama Okuyamba Isiraeri’
DEBOLA yatunuulira abasirikale abaali bakuŋŋaanidde waggulu ku Lusozi Taboli. Yeewuunya nnyo okulaba obuvumu abasirikale abo n’omuduumizi waabwe Balaki bwe baayoleka. Wadde nga baali bawerera ddala 10,000, ku lunaku luno okukkiriza kwabwe n’obuvumu byali bigenda kugezesebwa. Baali tebalina byakulwanyisa bimala kyokka nga bagenda kwaŋŋanga abalabe ab’amaanyi era ababasinga obungi. Naye ebyo Debola bye yagamba Balaki by’abazzaamu amaanyi ne basalawo okujja okulwana.
Kuba akafaananyi nga Debola ne Balaki bali ku Lusozi Taboli nga batunuulidde olusenyi. Olusozi olwo waggulu lwali luseeteevu, era ng’omuntu bw’aba aluyimiriddeko asobola okulaba Olusenyi Esidulayironi, oluli ffuuti 1,300 wansi ku ludda olw’ebukiikaddyo bw’ebugwanjuba. Omugga Kisoni ogukulukuta nga guyita okumpi n’Olusozi Kalumeeri ne guyiwa mu Nnyanja Meditereniyani, kirabika ku olwo tegwalimu mazzi naye olusenyi lwonna lwali lutemagana. Eggye lya Sisera eryali lisembera lye lyalina ebyuma ebyali bitemagana kubanga lyajja n’amagaali 900 ag’olutalo era nga kirabika gaaliko ebyuma ebisala. Sisera yali amaliridde okutta Abaisiraeri ng’omuntu bw’atta ebiyenje!
Debola yali akimanyi nti Balaki n’abasajja be baali balinda abeeko ky’abagamba balyoke balwanyise omulabe. Ye mukazi yekka eyali nabo? Yawulira atya okubeera n’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kiseera ekyo eky’olutalo? Yali yeebuuza lwaki ali mu kifo ekyo? Nedda! Yakuwa Katonda we yali amugambye nti ye yandiragidde Abaisiraeri okutandika okulwana. Yakuwa yandikozesezza omukazi okukomya olutalo olwo. (Ekyabalamuzi 4:9) Kiki kye tuyigira ku Debola n’abasirikale abo abaali abavumu era abaalina okukkiriza okw’amaanyi?
‘GENDA MUKUŊŊAANIRE KU LUSOZI TABOLI’
Omulundi Bayibuli gw’esooka okwogera ku Debola, emwogerako nga “nnabbi.” Ekyo kiraga nti Debola yali mukazi wa njawulo, naye si ye mukazi yekka eyali nnabbi.a Debola yalina obuvunaanyizibwa obulala. Yayambanga abantu okugonjoola obutakkaanya ng’asinziira ku bulagirizi Yakuwa bwe yamuwanga.—Ekyabalamuzi 4:4, 5.
Debola yali abeera mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi, wakati w’obubuga Beseri ne Laama. Debola yatuulanga wansi w’omuti gw’enkidu n’agonjoola ensonga z’abantu ng’asinziira ku bulagirizi Yakuwa bwe yamuwanga. Obuvunaanyizibwa obwo tebwali bwangu, naye tekyamumalaamu maanyi kubanga abantu baali beetaaga nnyo obuyambi bwe. Ate era Debola y’omu ku abo abaayiiya oluyimba olwalimu ebigambo bino ebikwata ku Baisiraeri abataali beesigwa: “Baalonda ba Katonda abaggya; entalo ne ziryoka zibeera mu miryango.” (Ekyabalamuzi 5:8) Olw’okuba Abaisiraeri baava ku Yakuwa ne batandika okuweereza bakatonda abalala, yabawaayo eri abalabe baabwe. Baatandika okufugibwa Yabini, kabaka w’Abakanani, ng’akozesa omuduumizi w’eggye lye ayitibwa Sisera.
Abaisiraeri baali batya nnyo Sisera. Engeri Abakanani gye beeyisangamu n’engeri gye baasinzangamu yalimu ebikolwa ebibi gamba ng’okusaddaaka abaana n’obwamalaaya mu yeekaalu. Kati olwo embeera yali etya nga Sisera n’eggye lye be bafuga Abaisiraeri? Mu luyimba Debola lwe yayimba yalaga nti kyabanga kya bulabe okutambulira mu makubo era nti abantu baali tebakyabeera mu byalo. (Ekyabalamuzi 5:6, 7) Kuba akafaananyi ng’abantu beekwese mu nsiko oba mu nsozi, nga batya okubeera oba okulimira mu byalo ebitaliiko nkomera era nga batya okutambulira mu makubo olw’okuba baali bayinza okulumbibwa, abaana baabwe okuwambibwa, oba bakazi baabwe okukwatibwa.b
Abaisiraeri baali mu ntiisa ey’engeri eyo okumala emyaka 20, okutuusa Yakuwa lwe yalaba nti baali baboneredde, oba ng’oluyimba lwa Debola ne Balaki olwaluŋŋamizibwa bwe lugamba nti, ‘Okutuusa nze Debola lwe nnayimuka, okutuusa lwe nnayimuka nga maama okuyamba Isiraeri.’ Tetumanyi obanga Debola mukazi wa Lappidosi yazaala abaana. Ka kibe nti yazaala oba teyazaala, ekigambo “maama” kikozesebwa mu ngeri ya kabonero. Kiraga nti Yakuwa yawa Debola obuvunaanyizibwa obw’okuyamba Abaisiraeri nga maama bw’ayamba abaana be. Ng’akolera ku bulagirizi bwa Yakuwa, Debola yatumya Omulamuzi Balaki, omusajja eyalina okukkiriza okw’amaanyi, n’amugamba alwanyise Sisera.—Ekyabalamuzi 4:3, 6, 7; 5:7, NW.
Ng’ayitira mu Debola, Yakuwa yalagira Balaki nti: ‘Genda mukuŋŋaanire ku lusozi Taboli.’ Balaki yalina okukuŋŋaanya abasajja abalwanyi 10,000 okuva mu bika bya Isiraeri bibiri. Debola yamutegeeza nti Yakuwa yali asuubizza okubayamba okuwangula Sisera n’eggye lye ery’amaanyi eryalina amagaali g’olutalo 900! Ekisuubizo ekyo kyewuunyisa nnyo Balaki. Abaisiraeri tebaalina ggye ttendeke era baalina eby’okulwanyisa bitono nnyo. Wadde kyali kityo, Balaki yakkiriza okugenda mu lutalo, naye Debola yalina okugenda nabo ku Lusozi Taboli.—Ekyabalamuzi 4:6-8; 5:6-8.
Abantu abamu balowooza nti Balaki okugamba Debola nti yalina okugenda nabo kiraga nti teyalina kukkiriza, naye ekyo si kituufu. Singa Balaki teyalina kukkiriza, yandisabye Katonda abongere ebyokulwanyisa. Naye olw’okuba yalina okukkiriza, yali akimanyi nti bwe bandigenze n’omubaka wa Yakuwa, yandibazizzaamu amaanyi. (Abebbulaniya 11:32, 33) Yakuwa yakkiriza Debola okugenda nabo nga Balaki bwe yali asabye. Kyokka Yakuwa yaluŋŋamya nnabbi Debola okugamba nti ekitiibwa eky’okuwangula olutalo tekyandiweereddwa musajja. (Ekyabalamuzi 4:9) Katonda yali yasalawo nti Sisera yandittiddwa mukazi!
Leero abakazi bayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, batulugunyizibwa, era bajolongebwa. Tebaweebwa kitiibwa Katonda ky’ayagala baweebwe. Naye Katonda abasajja n’abakazi abayisa kyenkanyi, era bonna basiimibwa mu maaso ge. (Abaruumi 2:11; Abaggalatiya 3:28) Ekyokulabirako kya Debola kiraga nti n’abakazi Yakuwa abawa enkizo, abeesiga, era abaagala nnyo. Tusaanidde okwewala endowooza enkyamu abantu bangi gye abalina ku bakazi leero.
‘ENSI YAKANKANA, EBIRE NE BITONNYA AMAZZI’
Balaki yagenda n’akuŋŋaanya abasajja abalwanyi 10,000, abaali abamalirivu era nga beetegefu okulwanyisa eggye lya Sisera ery’amaanyi. Balaki yakulemberamu abasajja bano okugenda ku Lusozi Taboli, era kyabazzaamu amaanyi okulaba nga ‘Debola ayambukira wamu naye.’ (Ekyabalamuzi 4:10) Lowooza ku ngeri abalwanyi abo gye baawuliramu okulaba omukazi oyo eyali omuvumu era eyalina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa ng’agenda nabo ku lusozi Taboli, wadde ng’ekyo kyali kiyinza okuteeka obulamu bwe mu kabi!
Sisera bwe yakitegeera nti Abaisiraeri bakuŋŋaanyizza abalwanyi baabwe okumulwanyisa, yabaako ky’akolawo mu bwangu. Bakabaka abalala Abakanani baagatta amagye gaabwe n’aga Kabaka Yabini, ayinza okuba nga ye yali abasinga amaanyi. Awo Sisera n’eggye lye ery’amaanyi n’alyoka alumba Abaisiraeri ng’olusenyi lwonna lulinga oluyitamu musisi ow’amaanyi olw’omusinde gw’amagaali amangi ag’olutalo. Abakanani baali bakakafu nti okulwana n’Abaisiraeri kwali kugenda kuba kuyisa mazzi mu kisero!—Ekyabalamuzi 4:12, 13; 5:19.
Balaki ne Debola bandikoze ki nga balaba omulabe asembera? Bwe bandisagadde ku Lusozi Taboli, oboolyawo kyandibabeeredde kyangu okulwanyisa eggye ly’Abakanani kubanga amagaali g’Abakanani gaali tegasobola kulinnya lusozi. Naye olw’okuba Balaki yali ayagala okulwana olutalo olwo ng’agoberera bulagirizi bwa Yakuwa, yalinda Debola abagambe eky’okukola. Debola yalwaddaaki n’agamba Balaki nti: “Golokoka; kubanga leero Mukama lw’agabudde Sisera mu mukono gwo: Mukama takukulembedde okutabaala?” Awo “Balaki n’ava ku lusozi Taboli, abasajja [10,000] ne bamugoberera.”—Ekyabalamuzi 4:14.c
Eggye ly’Abaisiraeri lyakka okuva ku lusozi ne lyolekera olusenyi okwaŋŋanga eggye ly’abalabe baabwe ery’amaanyi. Yakuwa yabayamba nga Debola bwe yali asuubizza? Yee, Yakuwa yabayamba. Bayibuli egamba nti: “Ensi n’ekankana, era n’eggulu ne litonnya, weewaawo, ebire ne bitonnya amazzi.” Yakuwa yatabulatabula eggye lya Sisera, era enkuba yatandika okutonnya! Enkuba yafukumuka era kirabika mu kaseera katono olusenyi lwonna lwajjula amazzi. Mu kaseera ako akazibu ennyo, amagaali g’olutalo gafuuka mugugu eri Sisera n’eggye lye. Gaasikkattira mu ttosi ne gaba nga tegakyasobola kutambula.—Ekyabalamuzi 4:14, 15; 5:4.
Balaki n’abasajja be bo tebaatya nkuba kubanga baamanya ensonga lwaki yali etonnya. Nga batuukiriza omusango Katonda gwe yali asalidde Abakanani, Abaisiraeri baalumba eggye lya Sisera ne balizikiriza lyonna. Omugga Kisoni gwajjula ne gwanjaala era amazzi ne gakulukusa emirambo gy’Abakanani paka mu Nnyanja Meditereniyani.—Ekyabalamuzi 4:16; 5:21.
Leero, Yakuwa tasindika baweereza be kwenyigira mu ntalo z’amawanga. Wadde kiri kityo, akubiriza abaweereza be okwenyigira mu lutalo olw’eby’omwoyo. (Matayo 26:52; 2 Abakkolinso 10:4) Bwe tufuba okugondera Katonda mu nsi eno embi, tuba tulaga oludda lwe tuliko. Twetaaga okuba abavumu kubanga leero abo abali ku ludda lwa Katonda bayinza okuziyizibwa ennyo. Naye Yakuwa takyukanga. Nga bwe yalwanirira Debola, Balaki, n’abalwanyi ba Isiraeri abaali abavumu, ne leero alwanirira abo abamukkiririzaamu era abamwesiga.
“ALIBA N’OMUKISA OKUSINGA ABAKAZI” BONNA
Omulabe lukulwe Omukanani yadduka! Omulabe oyo Sisera, eyali asinga okutulugunya abantu ba Katonda yadduka mu ddwaniro ku bigere. Yaleka abasajja be okufiira mu ddwaniro n’addukira mu kitundu gye yali asuubira okufunira obukuumi. Yadduka mayiro eziwerera ddala, ng’atya nti abalwanyi Abaisiraeri bayinza okumusanga. Yaddukira mu weema za Keberi Omukeeni eyeeyawula ku balunzi banne n’asiisira mu kitundu eky’ebukiikaddyo era eyalina enkolagana ne Kabaka Yabini.—Ekyabalamuzi 4:11, 17.
Sisera eyali akooye yalwaddaaki n’atuuka ku weema za Keberi. Yasangawo Yayeeri muka Keberi, naye Keberi teyaliwo. Kirabika Sisera yalowooza nti Yayeeri yandimuwadde obukuumi olw’okuba omwami we yalina enkolagana ne Kabaka Yabini. Ate era kirabika yali alowooza nti omukyala tasobola kuba na ndowooza eyawukana ku y’omwami we. Kirabika Sisera yali tamanyi bulungi Yayeeri! Kya lwatu Yayeeri yali alabye engeri Abakanani gye baali batulugunyaamu abantu; kirabika yakiraba nti yali afunye akakisa okulaga oludda lw’awagira. Yali asobola okuyamba omusajja oyo omutemu oba okumutta n’akiraga nti ali ku ludda lwa Yakuwa. Yayeeri yasalawo kukola ki? Omukazi yandisobodde atya okutta omulwanyi nnamige?
Yayeeri yalina okuyiiya eky’okukola mu bwangu. Yalaga Sisera aw’okuwummulira. Sisera yamugamba obutabuulira muntu yenna amunoonya nti yeekwese mu weema. Bwe yeebaka, Yayeeri yamubikka bulangiti era bwe yasaba amazzi yamuwaamu mata amasunde. Mu kaseera katono Sisera yeebaka otulo otw’amaanyi. Yayeeri yakwata enkondo n’ennyondo, ebintu abakazi abaabeeranga mu weema bye baakozesanga ennyo. Yasooba n’asembera kumpi n’omutwe gwa Sisera, asobole okumutta. Singa yalwawo oba singa waabaawo ekintu kyonna ne kizuukusa Sisera, yandisse Yayeeri. Yayeeri yandiba nga yalowooza ku bantu ba Katonda n’engeri omusajja oyo gye yali abatulugunyizzaamu okumala emyaka mingi? Oba yalowooza ku nkizo ey’okulaga nti ali ku ludda lwa Yakuwa? Bayibuli teyogera ku nsonga ezo, naye eraga nti Yayeeri yatta Sisera!—Ekyabalamuzi 4:18-21; 5:24-27.
Oluvannyuma Balaki yajja ng’anoonya Sisera. Yayeeri bwe yamulaga omulambo gwa Sisera eyali akubiddwa enkondo n’eyita mu mutwe, Balaki yamanya nti obunnabbi bwa Debola bwali butuukiridde. Omukazi ye yali asse Sisera, omulwanyi nnamige! Abantu abamu abawakanya ebiri mu Bayibuli bavumirira ekyo Yayeeri kye yakola, naye ye Balaki ne Debola bamanyi nti kye yakola kituufu. Mu luyimba lwe baayimba, baatendereza Yayeeri nga bagamba nti wa ‘mukisa okusinga abakazi’ bonna olw’ekikolwa ekyo eky’obuzira. (Ekyabalamuzi 4:22; 5:24) Debola yalina omutima omulungi kubanga teyakwatirwa Yayeeri buggya era teyagaana kumutendereza. Debola kye yali asinga okufaako kwe kuba nti ekigambo kya Yakuwa kyali kituukiriziddwa.
Sisera bwe yafa, Kabaka Yabini Omukanani yali takyalina ky’ayinza kukola Baisiraeri, era yali tekyasobola kubafuga. Emyaka 40 egyaddirira, Abaisiraeri baali mu mirembe. (Ekyabalamuzi 4:24; 5:31) Debola, Balaki, ne Yayeeri baafuna emikisa mingi olw’okukkiririza mu Yakuwa Katonda. Bwe tukoppa Debola nga tunywerera ku ludda lwa Yakuwa era nga tukubiriza abalala okukola kye kimu, Yakuwa ajja kutuyamba okuvvuunuka okusoomoozebwa kwe twolekagana nakwo era ajja kutuwa emirembe egya nnamaddala.
a Abakazi abalala abaali bannabbi mwalimu Miriyamu, Kuluda, ne mukyala wa Isaaya.—Okuva 15:20; 2 Bassekabaka 22:14; Isaaya 8:3.
b Oluyimba lwa Debola lulaga nti Sisera bwe yagendanga mu lutabaalo yanyaganga ebintu bingi nga mw’otwalidde n’abawala, era ebiseera ebimu buli mulwanyi yaweebwanga abawala abasukka mu omu. (Ekyabalamuzi 5:30) Ekigambo “omuwala” ekikozesebwa mu lunyiriri luno obutereevu kitegeeza “enda.” Ekigambo ekyo kiraga nti ekigendererwa ekikulu eky’okuwamba abawala abo kwabanga kwegatta nabo. Kirabika mu kiseera ekyo abasajja baakwatanga nnyo abakazi.
c Olutalo olwo lwogerwako emirundi ebiri mu Bayibuli—mu byafaayo ebiri mu Ekyabalamuzi essuula 4 ne mu luyimba lwa Debola ne Balaki mu ssuula 5. Essuula zino buli emu ejjuuliriza ginnaayo, kwe kugamba essuula 4 erina by’eyogerako ebitali mu ssuula 5, n’essuula 5 erina by’eyogerako ebitali mu ssuula 4.