Onoogoberera Obulagirizi bwa Yakuwa?
“Nkyaye buli kkubo ery’obulimba.”—ZAB. 119:128.
1, 2. (a) Bw’osaba mukwano gwo akulagirire ekkubo erikutuusa gy’oyagala okugenda, kulabula ki kw’ayinza okukuwa, era lwaki wandikkirizza okukukolerako? (b) Kiki Yakuwa ky’atulabulako, era lwaki?
LOWOOZA ku kino: Olina gy’oyagala okugenda naye nga tomanyi kkubo likutuusaayo. Osaba mukwano gwo gwe weesiga amanyiiyo obulungi akulagirire ekkubo. Bw’aba akulagirira ayinza okukugamba nti: “Weegendereze bw’otuuka mu kkoona. Waliwo akapande akabuzaabuza. Abantu bangi bakagoberedde ne babula.” Wandikkirizza okukolera ku kulabula okwo? Mu ngeri emu, naffe tuli ku kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo. Yakuwa ye mukwano gwaffe atuwa obulagirizi bwe twetaaga okusobola okubeerawo emirembe gyonna. Era atulabula ku bintu ebiyinza okutuleetera okuwaba ne tuva ku kkubo eryo.—Ma. 5:32; Is. 30:21.
2 Mu kitundu kino n’ekiddako, tujja kulaba ebimu ku bintu Mukwano gwaffe Yakuwa by’atulabulako ebiyinza okutuwabya. Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa atulabula olw’okuba atufaako era olw’okuba atwagala. Ayagala tufune obulamu obutaggwaawo. Tasanyuka kulaba muntu yenna ng’awaba okuva ku kkubo ery’obulamu. (Ez. 33:11) Mu kitundu kino, tugenda kwetegereza ebintu bisatu ebiyinza okutuwabya. Ekisooka kiva eri abantu abalala. Eky’okubiri kiva munda mu ffe. Ate eky’okusatu kyo tekirinayo naye ng’ate kya kabi nnyo. Twetaaga okumanya ebintu ebyo n’engeri Kitaffe ow’omu ggulu gy’atuyamba okubiziyiza. Omuwandiisi wa Zabbuli omu yagamba Yakuwa nti: “Nkyaye buli kkubo ery’obulimba.” (Zab. 119:128) Naawe bw’otyo bw’owulira? Kati ka twetegereze engeri gye tuyinza okukyawa ‘ekkubo lyonna ery’obulimba.’
“Togobereranga Bangi”
3. (a) Bw’oba oli ku lugendo naye nga tomanyi kkubo ttuufu lya kukwata, lwaki kiba kya kabi okumala gagoberera abantu abalala? (b) Musingi ki oguli mu Okuva 23:2?
3 Bw’oba oli ku lugendo oluwanvu naye n’otuuka awantu nga tomanyi kkubo ttuufu lya kukwata, kiki ky’oyinza okukola? Oyinza okwagala okukwata ekkubo abantu abangi lye baba bakutte. Ekyo kiyinza okuba eky’akabi kubanga abantu abo bayinza okuba nga gye bagenda si gy’olaga, oba bayinza okuba nga nabo babuze. Ku nsonga eno, weetegereze omusingi oguli mu limu ku mateeka agaaweebwa Isiraeri ey’edda. Abalamuzi awamu n’abo abaawanga obujulizi baalabulwa ku kabi akali mu ‘kugoberera abangi.’ (Soma Okuva 23:2.) Kyangu abantu abatatuukiridde okutwalirizibwa okupikirizibwa, ne bataba benkanya. Naye abalamuzi n’abo abaawanga obujulizi be bokka abaalinanga okukolera ku musingi ogwo ogukwata ku butagoberera bangi? Nedda.
4, 5. Mbeera ki eyali eyinza okuleetera Yoswa ne Kalebu okugoberera abangi, naye kiki ekyabayamba okunywerera ku kituufu?
4 Kyo kituufu nti ffenna tusobola okupikirizibwa ‘okugoberera abangi.’ Okupikirizibwa kuyinza okujjawo mu kiseera kye tutakusuubiriramu, era kiyinza okutubeerera ekizibu ennyo okukuziyiza. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Yoswa ne Kalebu. Be bamu ku basajja 12 abaagenda okuketta Ensi Ensuubize. Bwe baakomawo, abasajja abalala ekkumi baayogera ebintu ebyaleetera Baisiraeri bannaabwe okuggwaamu amaanyi. Baatuuka n’okugamba nti abamu ku bantu abaali babeera mu nsi eyo baali bawagguufu nnyo era nga bazzukulu ba Banefuli, abaana bamalayika abajeemu be baazaala mu bakazi. (Lub. 6:4) Ekyo tekyali kituufu kubanga Abanefuli Amataba gaali gaabasaanyawo ebyasa bingi emabega, era tebaaleka mwana yenna. Omuntu bw’aba n’okukkiriza okutono, kyangu okutwalirizibwa endowooza z’abantu enkyamu n’alekera awo okwesiga Katonda. Abaisiraeri bakkiriza ebyo abakessi ekkumi bye baayogera olw’okuba okukkiriza kwabwe kwali kutono. Abasinga obungi ku bo baatandika okulowooza nti tekyali kya magezi kuyingira mu Nsi Ensuubize nga Yakuwa bwe yali abalagidde. Kiki Yoswa ne Kalebu kye baakola bwe beesanga mu mbeera eyo eyali enzibu ennyo?—Kubal. 13:25-33.
5 Tebaagoberera bangi. Wadde ng’Abaisiraeri baali tebaagala kuwulira bye baali boogera, Yoswa ne Kalebu baayogera ekituufu era ne bakinywererako—ne bwe babatiisatiisa okubakuba amayinja babatte! Kiki ekyabayamba okuba abavumu? Okukkiriza okw’amaanyi kwe baalina. Abantu abalina okukkiriza okw’amaanyi bakkiriza ebyo Yakuwa Katonda by’agamba mu kifo ky’okukkiriza ebyo abantu abalina endowooza enkyamu bye bagamba. Oluvannyuma Yoswa ne Kalebu bwe baali boogera ku kukkiriza okw’amaanyi kwe baalina mu Yakuwa, baakiraga nti Yakuwa bulijjo atuukiriza ebisuubizo bye. (Soma Yoswa 14:6, 8; 23:2, 14.) Baali baagala nnyo Katonda waabwe omwesigwa, era baali tebaagala kumunyiiza nga bagoberera abantu abataalina kukkiriza. Baanywerera ku kituufu, bwe batyo ne batuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo.—Kubal. 14:1-10.
6. Mbeera ki eziyinza okutuleetera okwagala okugoberera abangi?
6 Ebiseera ebimu owulira ng’oyagala okugoberera abangi? Abantu abasinga obungi leero beeyawudde ku Yakuwa era tebaagala kugoberera mitindo gye egy’empisa. Balina endowooza ezaabwe ku bwabwe bwe kituuka ku kituufu n’ekikyamu era bagezaako okutuleetera okuzigoberera. Ng’ekyokulabirako, bagamba nti si kikyamu kulaba programu za ttivi ne firimu ezirimu ebikolwa eby’obugwenyufu, ettemu, n’eby’obusamize. (2 Tim. 3:1-5) Bw’oba osalawo engeri gy’oneesanyusaamu awamu n’ab’omu maka go, ogoberera bugoberezi abalala bye boogera oba bye bakola? Bw’okola bw’otyo, ddala awo oba togoberedde bangi?
7, 8. (a) Tuyinza tutya okutendeka ‘obusobozi bwaffe obw’okutegeera,’ era lwaki ekyo kisinga okugoberera obugoberezi olukalala lw’amateeka? (b) Lwaki kikusanyusa okulaba ng’abavubuka bangi Abakristaayo bateekawo ekyokulabirako ekirungi?
7 Yakuwa yatuwa ekirabo eky’omuwendo ekituyamba nga tuliko bye tusalawo—‘obusobozi bwaffe obw’okutegeera.’ Naye obusobozi obwo tulina okubutendeka nga ‘tubukozesa.’ (Beb. 5:14) Tetusobola kutendeka busobozi bwaffe obw’okutegeera singa tumala gagoberera bugoberezi ebyo abalala bye bakola oba singa buli kiseera twagala abalala batubuulire eky’okukola. Mu bintu bingi bye tusalawo twetaaga okukozesa omuntu waffe ow’omunda. Eyo ye nsonga lwaki abantu ba Yakuwa tebaweebwa lukalala lwa firimu, bitabo, oba mikutu gya Intaneeti bye balina okwewala. Singa waaliwo olukalala lw’ebintu ng’ebyo lwe tugoberera, buli kiseera twandibadde twetaaga olukalala olupya okuva bwe kiri nti embeera y’ensi eno ekyukakyuka. (1 Kol. 7:31) Ate era ekyo kyandibadde kitulemesa okukozesa obusobozi bwaffe obw’okutegeera Yakuwa bwe yatuwa. Yakuwa ayagala tufumiitirize ku misingi gya Bayibuli, tumusabe atuwe obulagirizi, era tusalewo mu ngeri emusanyusa.—Bef. 5:10.
8 Kya lwatu nti oluusi abantu abamu bayinza obutasanyuka bwe tusalawo nga tusinziira ku misingi gya Bayibuli. Abakristaayo abakyasoma bayinza okupikirizibwa okukola ebyo bayizi bannaabwe bye bakola. (1 Peet. 4:4) Naye kitusanyusa nnyo okulaba ng’Abakristaayo bangi abato n’abakulu booleka okukkiriza ng’okwa Yoswa ne Kalebu, nga beewala okugoberera abangi.
Togoberera ‘Mutima Gwo na Maaso Go’
9. (a) Bw’oba oliko gy’olaga, lwaki kiba kya kabi okumala gakwata ekkubo eriba likulabikidde obulungi? (b) Lwaki etteeka eriri mu Okubala 15:37-39 lyali kkulu nnyo eri abantu ba Katonda ab’edda?
9 Ekintu eky’okubiri eky’akabi kye tugenda okwekenneenya kiva munda mu ffe. Lowooza ku kino: Bw’oba oliko gy’ogenda era ng’olina mmaapu, kiki ekiyinza okubaawo singa ogaana okugigoberera n’osalawo okukwata ekkubo lyonna eriba likulabikidde obulungi? Kya lwatu nti singa osalawo okukola bw’otyo tojja kusobola kutuuka gy’obadde oyagala okugenda. Ku nsonga eno, lowooza ku tteeka eddala Yakuwa lye yawa Abaisiraeri ab’edda. Leero abantu bangi tebategeera nsonga lwaki Katonda yalagira Abaisiraeri okuteeka amatanvuuwa n’emiguwa egya kaniki ku byambalo byabwe. (Soma Okubala 15:37-39.) Omanyi ensonga lwaki etteeka eryo lyali kkulu nnyo eri abantu ba Katonda? Okukwata etteeka eryo kyandiyambye abantu ba Katonda okuba ab’enjawulo ku bantu ab’amawanga agaali gabeetoolodde n’okusigala nga basiimibwa mu maaso ga Yakuwa. (Leev. 18:24, 25) Naye waliwo n’ensonga endala lwaki Yakuwa yabawa etteeka eryo. Ka tulabe ensonga eyo era tulabe n’ekintu eky’okubiri ekiyinza okutuwuggula okuva ku kkubo ery’obulamu.
10. Yakuwa yalaga atya nti ategeera bulungi abantu?
10 Weetegereze ensonga lwaki Yakuwa yawa abantu be etteeka eryo: “Muleme okutambulatambula okugoberera omutima gwammwe mmwe n’amaaso gammwe mmwe, bye muyisa okugoberera okwenda nabyo.” Yakuwa ategeera bulungi abantu. Akimanyi nti kyangu omutima gwaffe, oba ekyo kye tuli munda, okwegomba ebintu bye tulaba. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti: “Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka: ani ayinza okugumanya?” (Yer. 17:9) Kati olaba ensonga lwaki Yakuwa yagamba Abaisiraeri okwewala okugoberera omutima gwabwe n’amaaso gaabwe? Yali akimanyi nti Abaisiraeri bwe banditunuulidde abantu ab’amawanga agaali gabeetoolodde, bandisikiriziddwa okwagala okubafaanana—okulowooza nga bo n’okweyisa nga bo.—Nge. 13:20.
11. Tuyinza tutya okusendebwasendebwa okugoberera omutima gwaffe n’amaaso gaffe?
11 Leero kyangu nnyo omutima gwaffe omulimba okutandika okwegomba ebintu bye tulaba. Ensi gye tulimu leero ekubiriza okwegomba okw’omubiri. Kati olwo tuyinza tutya okukolera ku musingi oguli mu Okubala 15:39? Lowooza ku kino: Bwe kiba nti bayizi banno, bakozi banno, oba abantu ababeera mu kitundu kyo bambala mu ngeri esiikuula okwegomba okw’okwetaba, naawe osikirizibwa okwagala okubafaanana? Kyandiba nti osendebwasendebwa ‘okugoberera omutima gwo n’amaaso go’ bw’otyo n’otwalirizibwa ebintu by’olaba? Osikirizibwa okwagala okutandika okwambala nga bo mu kifo ky’okwambala ng’Omukristaayo?—Bar. 12:1, 2.
12, 13. (a) Kiki kye tusaanidde okukola singa tuwulira nga twagala okutunuulira ebintu ebibi? (b) Lwaki tusaanidde okwewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okuleetera abalala okufuna okwegomba okubi?
12 Twetaaga okuyiga okwefuga. Singa amaaso gaffe gatandika okutunuulira ebintu ebibi, kiba kikulu okujjukira endagaano omusajja omwesigwa Yobu gye yakola n’amaaso ge—yamalirira obutatunuulira mukazi atali wuwe ng’amwegomba. (Yob. 31:1) Ne Kabaka Dawudi yagamba nti: “Siiteekenga kintu kyonna ekitasaana mu maaso gange.” (Zab. 101:3) Ekintu kyonna ekiyinza okwonoona omuntu waffe ow’omunda n’enkolagana yaffe ne Yakuwa kiba ‘kintu ekitasaana.’ Ebintu ebitasaana bizingiramu ekintu kyonna kye tulaba ekiyinza okutuleetera okufuna ebirowoozo ebibi mu mutima gwaffe ne kituleetera okukola ebintu ebikyamu.
13 Naffe tusobola okufuuka ‘ekintu ekitasaana’ eri abalala singa tukola ebintu ebireetera abalala okufuna okwegomba okubi. N’olwekyo, tusaanidde okufuba okukolera ku kubuulirira kwa Bayibuli okukwata ku kwambala engoye ezisaana era eziweesa ekitiibwa. (1 Tim. 2:9) Bwe tuba ab’okwambala mu ngeri ‘eweesa ekitiibwa’ tetulina kwerowoozaako ffekka. Tulina okufaayo ne ku balala kye balowooza. Tulina okufuba okusanyusa abalala mu kifo ky’okwesanyusa ffekka. (Bar. 15:1, 2) Mu kibiina Ekikristaayo mulimu abavubuka bangi abafuba okwambala mu ngeri esaana era eweesa ekitiibwa. Nga kitusanyusa nnyo okulaba nti abavubuka ng’abo ‘tebagoberera mitima gyabwe n’amaaso gaabwe,’ wabula basalawo okusanyusa Yakuwa mu buli kimu kye bakola—ne mu ngeri gye bambalamu!
Togoberera Bintu ‘Bitaliimu Nsa’
14. Samwiri yalabula atya Abaisiraeri ku kabi akali mu kwenoonyeza ebintu “ebitaliimu”?
14 Kuba akafaananyi ng’oli ku lugendo naye ng’ekkubo ly’okutte liyita mu ddungu eddene. Otuuka awantu n’olengera ekintu ekiri ewala ekiringa amazzi. Kiki ekiyinza okubaawo singa ova ku kkubo n’ogenda gy’olengera ekintu ekyo osobole okufuna ku mazzi? Osobola okubula era n’ofiira mu ddungu! Yakuwa amanyi bulungi akabi akali mu kussa obwesige mu kintu ekitaliimu nsa, ekitalinayo. Lowooza ku kyokulabirako kino. Abaisiraeri baali baagala okuba ne kabaka omuntu obuntu ng’amawanga agaali gabeetoolodde bwe gaali. Ekyo kye baali baagala kyali kibi nnyo, kubanga kyali kiraga nti baali bagaanye Yakuwa okuba Kabaka waabwe. Wadde nga Yakuwa yabakkiriza okufuna kabaka, ng’ayitira mu nnabbi Samwiri, yabalabula ku kabi akali mu kwenoonyeza ebintu “ebitaliimu,” kwe kugamba, okwesiga ekintu ekitasobola kubayamba.—Soma 1 Samwiri 12:21.
15. Abaisiraeri baagoberera batya ebintu ebitaliimu nsa?
15 Kyandiba nti Abaisiraeri baali balowooza nti kabaka omuntu obuntu gwe balabako yandibadde asobola okubayamba okusinga Yakuwa? Bwe kiba nti bwe batyo bwe baali balowooza, baali bagoberera ekintu ekitaliimu nsa! Ate era okugoberera ekintu ekyo ekitaliimu nsa kyali kisobola okubaleetera okugoberera ebintu ebirala ebitaliimu nsa ebiva eri Sitaani. Bakabaka baali basobola okubaleetera okusinza ebifaananyi. Abantu abasinza ebifaananyi balowooza nti basobola okwesiga bakatonda abaakolebwa mu mayinja oba mu miti olw’okuba basobola okulaba bakatonda abo n’okubakwatako. Bagaana okwesiga Yakuwa, Katonda atalabika, eyatonda ebintu byonna. Naye ng’omutume Pawulo bwe yagamba, ebifaananyi “si kintu.” (1 Kol. 8:4) Tebisobola kulaba, kuwulira, kwogera, wadde okukola ekintu kyonna. N’olwekyo, kiba kya busirusiru okusinza ebifaananyi olw’okuba osobola okubiraba n’okubikwatako. Tebisobola kuyamba muntu yenna. Bintu ebitaliimu nsa era ‘buli abyesiga alibifaanana.’—Zab. 115:4-8.
16. (a) Sitaani aleetera atya abantu bangi leero okugoberera ebintu ebitaliimu nsa? (b) Lwaki tusobola okugamba nti ssente n’ebintu bintu ebitaliimu nsa, naddala bw’obigeraageranya ku Yakuwa Katonda?
16 Ne leero Sitaani akozesa obukujjukujju okuleetera abantu okugoberera ebintu ebitaliimu nsa. Ng’ekyokulabirako, aleetedde abantu bangi okulowooza nti okuba n’essente, omulimu omulungi, n’ebintu ebingi kisobola okubaleetera essanyu n’okubawa obukuumi. Abaleetedde okulowooza nti ebintu ebyo bisobola okubayamba okugonjoola ebizibu byabwe byonna. Naye ddala bukuumi bwenkana wa ebintu ebyo bwe bisobola okuwa omuntu ng’alwadde, ng’eby’enfuna bigootaanye, oba nga waguddewo akatyabaga? Ebintu ebyo bisobola okuwa abantu obulagirizi, okubayamba okuba n’ekigendererwa mu bulamu, oba okubawa eby’okuddamu mu bibuuzo ebisinga obukulu mu bulamu? Ebintu ebyo bisobola okuyamba omuntu obutafa? Singa tussa obwesige bwaffe mu bintu mu kifo ky’okwesiga Katonda, tujja kwejjusa. Ssente n’ebintu tebisobola kutuwa ssanyu lya nnamaddala, era tebisobola kututangira kulwala na kufa. Bintu ebitaliimu nsa. (Nge. 23:4, 5) Naye Katonda waffe Yakuwa ye wa ddala, si kintu ekitaliimu nsa! Bwe tuba n’enkolagana ennungi naye, tuba n’obukuumi obwa nnamaddala. Ng’eyo nkizo ya maanyi nnyo! N’olwekyo, ka tufube okumunywererako, twewale okugoberera ebintu ebitaliimu nsa.
17. Kiki ky’omaliridde okukola bwe kituuka ku bintu eby’akabi bye tulabye mu kitundu kino?
17 Ddala si nkizo ya maanyi okuba nti Yakuwa mukwano gwaffe atuwa obulagirizi mu lugendo lwaffe olw’obulamu? Singa tukolera ku kulabula kw’atuwa, tujja kusobola okubeerawo emirembe gyonna. Mu kitundu kino tulabye ebintu bisatu ebireetera abantu okuwaba ne bava ku kkubo ery’obulamu—okugoberera abangi, omutima gwaffe, n’ebintu ebitaliimu nsa. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ebintu ebirala bisatu ebinaatuyamba okukyawa n’okwewala ekkubo ery’obulimba bangi lye bakutte ne bawaba.—Zab. 119:128.
Olowooza Otya?
Oyinza otya okukolera ku misingi egiri mu byawandiikibwa bino?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Oluusi owulira ng’oyagala okugoberera abangi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Lwaki kiba kya kabi okugoberera omutima gwaffe n’amaaso gaffe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Olina ekintu kyonna ekitaliimu nsa ky’ogoberera?