Omusajja Asanyusa Omutima gwa Yakuwa
KIKI ekikujjira mu birowoozo bw’olowooza ku Dawudi omusajja ayogerwako mu Bayibuli? Obuwanguzi bwe yatuukako ng’alwana ne Goliyaasi omusajja Omufirisuuti eyali omuwagguufu? Okuddukira mu ddungu ng’ayigganyizibwa Kabaka Sawulo? Ekibi kye yakola ne Basuseba n’ebizibu ebyavaamu? Oba ennyimba ze yaluŋŋamizibwa okuwandiika, eziri mu kitabo kya Bayibuli ekya Zabbuli?
Mu bulamu bwe, Dawudi yafuna enkizo nnyingi, yatuuka ku buwanguzi mu bintu bingi, era yafuna ebizibu bingi. Naye, ekisinga okutusikiriza ky’ekyo nnabbi Samwiri kye yayogera ku Dawudi—yandibadde ‘musajja asanyusa omutima gwa Yakuwa.’—1 Samwiri 13:14, “NW.”
Obunnabbi bwa Samwiri bwatuukirizibwa nga Dawudi akyali muvubuka. Ggwe tewandyagadde kwogerwako ng’omuntu asanyusa omutima gwa Yakuwa? Kati olwo, biki Dawudi bye yakola naddala mu biseera bye eby’obuvubuka, ebisobola okukuyamba okubeera nga ye? Ka tulabe.
Amaka n’Omulimu
Yese, taata wa Dawudi era muzzukulu wa Luusi ne Bowaazi, kirabika yaweerezanga Yakuwa n’obunyiikivu. Dawudi, baganda be omusanvu, ne bannyina ababiri bwe baali bakyali bato, Yese yabayigiriza Amateeka ga Musa. Mu emu ku zabbuli ze, Dawudi yeeyogerako ng’omwana “w’omuzaana” wa Yakuwa. (Zabbuli 86:16) Kino kireetedde abamu okulowooza nti maama wa Dawudi naye yamuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo, wadde ng’erinnya lye teryogerwako mu Bayibuli. Omuwandiisi w’ebitabo omu agamba nti: “Kirabika maama we ye yasooka okumubuulira ku bintu ebyewuunyisa Katonda bye yakolera abantu be mu biseera eby’edda,” nga kw’otadde n’ebyo ebikwata ku Luusi ne Bowaazi.
Bayibuli w’esookera okwogerera ku Dawudi, emwogerako ng’omulenzi alunda endiga za kitaawe. Kirabika omulimu guno gwali guzingiramu okubeera yekka ku ttale emisana n’ekiro okumala ekiseera kiwanvu. Lowooza ku mbeera gye yalimu.
Amaka Dawudi mwe yali ava gaali mu Besirekemu, akabuga akatono akali ku busozi bw’omu Yuda. Ennimiro ez’oluyinjayinja ez’omu Besirekemu zaavangamu emmere ennungi. Obusozi n’ebiwonvu byali bibuutikiddwa ennimiro z’ebibala, ensuku z’emizeyituuni, n’ez’emizabbibu. Mu biseera bya Dawudi, ebitundu ebitaalimwangako kirabika byabanga bya kulundirako. Byali kumpi n’eddungu lya Yuda.
Omulimu gwa Dawudi gwateekanga obulamu bwe mu kabi. Mu busozi obwo mwe yayolekaganira n’empologoma awamu n’eddubu ebyali bigezaako okutwala endiga okuva mu kisibo.a Omuvubuka ono omuvumu yawondera ebisolo ebyo, n’abitta, era n’abisuuza endiga. (1 Samwiri 17:34-36) Oboolyawo mu kiseera kino Dawudi mwe yafunira obumanyirivu obw’okukasuka envuumuulo. Ekika kya Benyamini kyali kumpi n’akabuga mwe yabeeranga. Mu basajja b’eggwanga eryo abalwanyi mwalimu abaali basobola okukasuka envuumuulo ‘ne bakuba n’akantu akenkana oluviiri.’ Ne Dawudi yalina obumanyirivu ng’obwo mu kukasuka envuumuulo.—Ekyabalamuzi 20:14-16; 1 Samwiri 17:49.
Yakozesa Bulungi Ebiseera Bye
Ebiseera ebisinga obungi, okulunda endiga gwabanga mulimu omuntu gwe yakoleranga mu kifo ekisirifu era ng’ali yekka. Naye waliwo Dawudi bye yakolanga obutawuubaala. Okubeera mu kifo ekisirifu era eky’emirembe kyamusobozesanga okufumiitiriza ku bintu ebitali bimu. Kirabika ebimu ku bintu Dawudi bye yawandiika mu zabbuli ze, yabifumiitirizangako mu buvubuka bwe. Kyandiba nti mu biseera ebyo we yabeereranga yekka we yafumiitiririza ku kifo omuntu ky’alina mu nteekateeka ya Yakuwa ne ku bitonde ebyewuunyisa ebiri mu bbanga gamba nga: enjuba, omwezi, n’emmunyeenye, ‘emirimu gy’engalo za Yakuwa’? Kyandiba nti mu nnimiro z’omu Besirekemu mwe yafumiitiririza ku ttaka eddungi, endiga, ente, ebinyonyi, “n’ensolo ez’omu nsiko”?—Zabbuli 8:3-9; 19:1-6.
Tewali kubuusabuusa nti embeera Dawudi gye yayitamu ng’omulunzi yamuleeteera okusiima ennyo engeri Yakuwa gy’afaayo ku baweereza be abeesigwa. Eyo y’ensonga lwaki Dawudi yayimba ng’agamba nti: ‘Mukama ye musumba wange; seetaagenga. Angalamiza mu ddundiro ery’omuddo omuto. Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange: oluga lwo n’omuggo gwo bye bimbudaabuda.’—Zabbuli 23:1, 2, 4.
Oyinza okuba nga weebuuza engeri ebintu bino byonna gye bikukwatako. Eky’okuddamu kiri nti emu ku nsonga lwaki Dawudi yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa era n’atuuka n’okuyitibwa “omusajja asanyusa omutima gwe” eri nti yafumiitirizanga nnyo ku mirimu gya Yakuwa ne ku nkolagana gye yalina ne Katonda. Naawe oyinza okwogerwako bw’otyo?
Muli wali owuliddeko ng’oyagala okutendereza n’okugulumiza Omutonzi oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku kimu ku bintu bye yatonda? Muli wali owuliddeko ng’omutima gwo gweyongedde okwagala Yakuwa olw’okutegeera engeri ze ezeeyolekera mu ngeri gy’akolaganamu n’abantu? Bw’oba ow’okusiima Yakuwa mu ngeri eyo, weetaaga okufuna akadde obeereko mu kifo ekisirifu ofumiitirize ku Kigambo kya Katonda awamu n’ebitonde bye. Okufumiitiriza ng’okwo kusobola okukuyamba okumanya Yakuwa obulungi era ne kikuleetera okumwagala. Abato n’abakulu basobola okuba n’enkizo eyo. Kirabika Dawudi yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa okuviira ddala mu buvubuka bwe. Ekyo tukimanya tutya?
Dawudi Afukibwako Amafuta
Kabaka Sawulo bwe yali nga takyasaanira kukulembera bantu ba Katonda, Yakuwa yagamba nnabbi Samwiri nti: ‘Olituusa wa okunakuwalira Sawulo nze nga mmaze okumugaana okuba kabaka wa Isiraeri? Jjuza ejjembe lyo amafuta ogende nnaakutuma eri Yese Omubesirekemu: kubanga nneefunidde kabaka mu batabani be.’—1 Samwiri 16:1.
Nnabbi wa Katonda bwe yatuuka mu Besirekemu, yasaba Yese ayite batabani be. Ani ku bo Samwiri gwe yandifuseeko amafuta okuba Kabaka? Bwe yalaba Eriyaabu mukulu waabwe eyali alabika obulungi, Samwiri yalowooza mu mutima gwe nti: ‘Y’ono.’ Naye Yakuwa yagamba Samwiri nti: “Totunuulira maaso ge newakubadde embala ye bw’eri empanvu; kubanga mugaanyi: kubanga Mukama talaba ng’abantu bwe balaba; kubanga abantu batunuulira okufaanana okw’okungulu, naye Mukama atunuulira mutima.” Mu ngeri y’emu, Yakuwa yagaana Abinadaabu, Sama, ne baganda baabwe abalala bana. Bayibuli eyongera okutubuulira nti: ‘Samwiri n’agamba Yese nti: “Abaana bo bonna bali wano?” N’ayogera nti: “Ekyasigaddeyo omuto, era, laba, alunda endiga.”’—1 Samwiri 16:7, 11.
Yese yali ng’agamba nti: ‘Sisuubira nti Yakuwa alonze Dawudi.’ Olw’okuba ye yali asembayo okuba omuto era nga y’asingayo okuba owa wansi mu maka, Dawudi ye yali aweereddwa omulimu gw’okulunda endiga. Wadde kyali kityo, Katonda yali alonze ye. Yakuwa alaba ekyo ekiri mu mutima, era tewali kubuusabuusa nti yali alabye ekintu eky’omuwendo mu muvubuka ono. N’olwekyo, Yese bwe yatumya Dawudi, Yakuwa yagamba Samwiri nti: ‘“Golokoka omufukeko amafuta: kubanga ye wuuyo.” Awo Samwiri n’alyoka addira ejjembe ery’amafuta, n’amufukako amafuta wakati mu baganda be: omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Dawudi n’amaanyi okuva ku lunaku olwo n’okweyongerayo.’—1 Samwiri 16:12, 13.
Bayibuli teyogera ku myaka Dawudi gye yalina kino we kyabeererawo. Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera, baganda be abakulu abasatu, Eriyaabu, Abinadaabu, ne Sama, baayingira mu ggye lya Sawulo. Oboolyawo abalala abataano baali bato nnyo nga tebasobola kwegatta ku bakulu baabwe. Kyandiba nti tewali n’omu ku bo yali aweza myaka 20, abasajja kwe baayingiriranga mu ggye lya Isiraeri. (Okubala 1:3; 1 Samwiri 17:13) K’ebe nsonga ki eyaliwo, Dawudi yali akyali muto nnyo Yakuwa we yamulondera. Wadde kyali kityo, kirabika Dawudi yali yafuna dda enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, gye yakulaakulanya ng’afumiitiriza ku ebyo bye yali amumanyiiko.
Leero, abavubuka basaanidde okukubirizibwa okukola kye kimu. Abazadde, mukubiriza abaana bammwe okufumiitiriza ku by’omwoyo, okusiima ebitonde bya Katonda, n’okuyiga ekyo Bayibuli ky’eyogera ku Mutonzi? (Ekyamateeka 6:4-9) Ate mmwe abavubuka, kino mukikola ku lwammwe? Ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli gamba nga magazini ya Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!b bitegekeddwa okubayamba.
Yali Mukugu mu Kukuba Entongooli
Nga zabbuli za Dawudi eziwerako bwe zitusobozesa okumanya ebikwata ku biseera bye ng’omusumba, kirabika n’amaloboozi g’ennyimba ze nago bwe gatyo. Kyo kituufu nti, amaloboozi agaakozesebwanga ku nnyimba ze ezaaluŋŋamizibwa tegakyaliwo leero. Kyokka kye tumanyi kiri nti eyaziyiiya yali mukugu mu kukuba entongooli. Mu butuufu, ensonga lwaki Dawudi yayitibwa okuva ku mulimu gwe ogw’obusumba okujja okukubira Kabaka Sawulo entongooli eri nti yali mukugu mu kugikuba.—1 Samwiri 16:18-23.c
Obumanyirivu obwo Dawudi yabufunira wa era ddi? Ayinza okuba nga yabufunira mu kiseera kye yabeereranga ku ttale ng’alunda endiga. Ate era, tusobola okugamba nti ne bwe yali akyali muto, Dawudi yali yatandika dda okuyimbira Katonda we ennyimba ezimutendereza. Dawudi yali munyiikivu era yafangayo nnyo ku by’omwoyo, eyo y’ensonga lwaki Yakuwa yamulonda.
Wadde ng’ekitundu kino kyogedde ku Dawudi ng’akyali muto, ne mu bukulu bwe, yalina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Naye ekyasobozesa Dawudi okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa mu bulamu bwe bwonna kyeyolekera mu bigambo bye ebitujjukiza kye yakolanga ng’ali ku ttale e Besirekemu. Kuba akafaananyi nga Dawudi ayimbira Yakuwa nti: “Njijukira ennaku ez’edda; ndowooza ebikolwa byo byonna: nfumiitiriza omulimu ogw’engalo zo.” (Zabbuli 143:5) Ebigambo ebirungi ebiri mu zabbuli eno ne mu zabbuli za Dawudi endala bisobola okuyamba abo bonna abaagala okusanyusa omutima gwa Yakuwa.
[Obugambo obuli wansi]
a Eddubu lya kitaka ery’e Busuuli, eryabeeranga mu Palesitayini, lyali liweza kiro nga 140 era lyali lisobola okutta omuntu oba ekisolo nga likozesa ebigere byalyo ebinene. Mu kitundu ekyo mwabeerangamu empologoma nnyingi. Isaaya 31:4 wagamba nti ‘n’abasumba abangi’ baali tebasobola kugoba ‘mpologoma nto’ ku muyiggo gwayo.
b Zikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
c Omuwi w’amagezi owa kabaka nga ye yasemba Dawudi naye yagamba nti yali ‘mwogezi mulungi era omuntu omulungi ne Mukama ali naye.’—1 Samwiri 16:18.