KOPPA OKUKKIIZA KWABWE | DAWUDI
“Olutalo lwa Yakuwa”
DAWUDI yeesega abasirikale abaali bamuyitako. Bonna baali badduka era nga balabika batidde nnyo. Kiki ekyali kibatiisizza? Dawudi ateekwa okuba yabawulira nga baatula erinnya ly’omusajja omu enfunda n’enfunda. Omusajja oyo yali ayimiridde kumpi awo mu kiwonvu, era kirabika Dawudi yali talabangako muntu muwagguufu ng’omusajja oyo.
Omusajja oyo yali ayitibwa Goliyaasi! Dawudi yategeera ensonga lwaki abasirikale baali batidde nnyo, kubanga gwali mulangaatira gwa musajja. Kirabika Goliyaasi yali muzito okusinga abasajja abanene babiri, okwo nno nga totaddeeko byakulwanyisa bye. Yalina eby’okulwanyisa eby’amaanyi, nga naye wa maanyi, ate nga mulwanyi muzira. Goliyaasi yayimirira n’awaga. Kuba akafaananyi ng’aleekaana mu ddoboozi eddene ng’eno bw’ajerega eggye ly’Abayisirayiri ne kabaka waabwe, Sawulo. Yabasoomooza nti bwe wabaawo omusajja eyeetenda amaanyi aveeyo amwaŋŋange!—1 Samwiri 17:4-10.
Abayisirayiri baatya era ne Kabaka Sawulo yatya. Dawudi yakitegeerako nti Goliyaasi yali amaze ebbanga erisukka mu mwezi mulamba ng’abasoomooza bw’atyo buli lunaku. Okumala ebbanga eryo lyonna, eggye ly’Abafirisuuti n’ery’Abayisirayiri gaali gasimbye ennyiriri naye nga tewali lyaŋŋanga linnaalyo. Ekyo kyayisa bubi nnyo Dawudi. Nga kyali kiswaza nnyo okulaba nga kabaka wa Isirayiri awamu n’eggye lye lyonna, omwali ne baganda ba Dawudi basatu, batiitidde olwa Goliyaasi! Dawudi yakitwala nti Goliyaasi yali taswazizza ggye ly’Abayisirayiri kyokka, naye nti yali avumye ne Yakuwa Katonda wa Isirayiri! Naye Dawudi omulenzi obulenzi yandikozeewo ki, era kiki kye tumuyigirako?—1 Samwiri 17:11-14.
‘MUFUKEEKO AMAFUTA, KUBANGA YE WUUYO!’
Ka tuddeyo amabega tulabe ebyaliwo ng’ebyo tebinnabaawo. Obudde bwali buwungeera nga Dawudi alunda endiga za kitaawe ku lusozi okumpi n’e Besirekemu. Kirabika yali muvubuka muto era ng’alabika bulungi nnyo. Mu biseera bye eby’eddembe yakubanga entongooli. Ate era yanyumirwanga nnyo okutunuulira ebitonde bya Katonda ebirabika obulungi, era yeeyongera okukuguka mu kuyimba n’okukuba ebivuga. Naye akawungeezi ako, kitaawe yamuyita ng’ayagala okumulaba mu bwangu ddala.—1 Samwiri 16:12.
Dawudi bwe yatuuka eka, yasanga kitaawe Yese ayogera n’omusajja omukadde ennyo. Omusajja oyo yali nnabbi Samwiri. Yakuwa yali amutumye afuke amafuta ku omu ku batabani ba Yese okuba kabaka eyandizze mu bigere bya Kabaka Sawulo. Samwiri yali amaze okulaba baganda ba Dawudi omusanvu abakulu, naye ku abo Yakuwa yali talina gw’alonzeeko. Dawudi bwe yatuuka, Yakuwa yagamba Samwiri nti: ‘Mufukeeko amafuta, kubanga ye wuuyo!’ Awo Samwiri n’addira amafuta n’agafuka ku mutwe gwa Dawudi nga baganda be bonna balaba. Obulamu bwa Dawudi bwakyuka oluvannyuma lw’okufukibwako amafuta. Bayibuli egamba nti: “Okuva ku lunaku olwo omwoyo gwa Yakuwa ne gutandika okukolera ku Dawudi.”—1 Samwiri 16:1, 5-11, 13.
Dawudi yatandikirawo okwagala okufuga? Nedda, yalindirira okutuusa omwoyo gwa Yakuwa lwe gwamulaga ekiseera ekituufu eky’okufuniramu obuvunaanyizibwa obusingako. Ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, yeeyongera okukola omulimu gwe ogw’okulunda endiga. Omulimu ogwo yali agwagala nnyo era yagukolanga bulungi. Lumu empologoma yali agenda kulya endiga za kitaawe, ate olulala eddubu lye lyali ligenda okuzirya. Dawudi teyagoba nsolo ezo ng’aziri wala, wabula yazisemberera n’azirwanyisa n’asobola okutaasa endiga za kitaawe. Emirundi gyombi yatta ensolo ezo enkambwe ng’ali bw’omu!—1 Samwiri 17:34-36; Isaaya 31:4.
Nga wayiseewo ekiseera, Sawulo yawulira ebikwata ku Dawudi. Wadd nga Sawulo yali akyali mulwanyi wa maanyi, Yakuwa yali takyamuwagira kubanga yali amujeemedde. Yakuwa yali amuggyeeko omwoyo gwe, era ng’omwoyo omubi gumutawaanya. Yali atandise okwekengera abantu era nga mukambwe nnyo. Omwoyo ogwo omubi bwe gwajjanga ku Sawulo, tewaaliwo kintu kisobola kumukkakkanya okuggyako ennyimba. Abamu ku basajja ba Sawulo baali baakitegeerako nti Dawudi yali muyimbi mulungi era mulwanyi muzira. Waayita mbale Sawulo n’atumya Dawudi, era amangu ddala Dawudi n’afuuka omu ku bayimbi b’omu lubiri lwa Sawulo era omu ku abo abaamusituliranga eby’okulwanyisa.—1 Samwiri 15:26-29; 16:14-23.
Ffenna tulina bye tusobola okuyigira ku Dawudi, naye abavubuka balina bingi bye basobola okumuyigirako. Weetegereze nti ebiseera bye eby’eddembe yabimaliranga ku kukola bintu ebyamuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Okugatta ku ekyo, yagumiikiriza okutuusa lwe yafuna obumanyirivu obwamusobozesa okuba ow’omugaso. N’ekisinga byonna, yakolera ku bulagirizi bw’omwoyo gwa Yakuwa. Nga Dawudi yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi!—Omubuulizi 12:1.
“ABANTU KA BALEME KUGGWAAMU MAANYI.”
Dawudi bwe yabeeranga ewa Sawulo ng’amuweereza, yaddangayo eka okulunda endiga, era oluusi yamalangayo ekiseera kiwanvu. Lwali lumu Yese n’atuma Dawudi okugenda okulambula baganda be abasatu abaali baweereza mu ggye lya Sawulo. Dawudi yagondera kitaawe n’agenda mu Kiwonvu Ela baganda be gye baali, era alina bye yabatwalira. Dawudi bwe yatuukayo, yasanga amagye ga Isirayiri n’ag’Abafirisuuti gasimbye ennyiriri nga bwe kiragiddwa ku ntadikwa. Buli ggye lyali liyimiridde ku luuyi olumu olw’ekiwonvu nga gatunuuliganye.—1 Samwiri 17:1-3, 15-19.
Dawudi yali tayinza kugumiikiriza mbeera eyo. Eggye lya Yakuwa Katonda omulamu lyali liyinza litya okutiitiira olw’omuntu obuntu? Dawudi yakitwala nti Goliyaasi yali asoomooza Yakuwa kennyini, bw’atyo n’atandika okwogera n’abasirikale ku ky’okuwangula Goliyaasi. Eriyaabu muganda wa Dawudi omukulu yali kumpi awo, era ebigambo ebyo olwamugwa mu matu, yaboggolera Dawudi era n’amubuuza ekyali kimututte mu ddwaniro. Naye Dawudi n’amuddamu nti: “Kati nkoze ki? Mbadde mbuuza bubuuza kibuuzo!” Yeeyongera okwogera n’obuvumu ku ky’okuwangula Goliyaasi, okutuusa bye yayogera lwe byatuuka ku Kabaka Sawulo. Amangu ago Sawulo yatumya Dawudi.—1 Samwiri 17:23-31.
Dawudi bwe yatuuka eri kabaka, yayogera ebigambo ebizzaamu amaanyi. Yamugamba nti: ‘Abantu ka baleme kuggwaamu maanyi olw’Omufirisuuti oyo.’ Mu butuufu, Sawulo n’abasirikale be baali baweddemu amaanyi. Oboolyawo baali beegeraageranyizza ku musajja oyo eyali omuwagguufu ne balaba nga tebasobola kumwaŋŋanga. Baalowooza nti Goliyaasi okubalwanyisa yandibadde amenya mu jjenje kkalu. Naye ye Dawudi yali talowooza bw’atyo. Nga bwe tujja okulaba, embeera eyo yali agiraba mu ngeri ndala nnyo, era ye kennyini yeewaayo okulwanyisa Goliyaasi.—1 Samwiri 17:32.
Sawulo yagaanirawo n’agamba nti: “Tosobola kulwanyisa Mufirisuuti oyo, kubanga oli mwana bwana, ate nga ye abadde musirikale okuviira ddala mu buvubuka bwe.” Naye ddala Dawudi yali mwana bwana? Nedda, wabula yali tannatuusa myaka gya kuyingira mu magye, era yali alabika ng’omulenzi omuto. Kyokka Dawudi yali amanyiddwa ng’omulwanyi omuzira era ayinza okuba nga yali wakati w’emyaka 16 ne 19.—1 Samwiri 16:18; 17:33.
Dawudi yakakasa Sawulo nti yali asobola okuwangula Goliyaasi era n’amubuulira engeri gye yatta empologoma n’eddubu. Yali yeewaana bwewaanyi? Nedda. Dawudi yali amanyi ekyamusobozesa okutta ensolo ezo. Yagamba nti: “Yakuwa eyannunula mu maala g’empologoma n’ag’eddubu, y’ajja okunnunula ne mu mukono gw’Omufirisuuti oyo.” Sawulo yalwaddaaki n’amatira, era n’agamba Dawudi nti: “Genda, Yakuwa abeere naawe.”—1 Samwiri 17:37.
Naawe oyagala okuba n’okukkiriza ng’okwa Dawudi? Weetegereze nti ebyo Dawudi bye yali amanyi ku Katonda ne bye yali ayiseemu mu bulamu bye byamuyamba okuba n’okukkiriza okunywevu. Yali akimanyi nti Yakuwa akuuma abaweereza be era atuukiriza ebisuubizo bye. Bwe tuba twagala okuba n’okukkiriza ng’okwo, tulina okweyongera okuyiga ebikwata ku Katonda ow’amazima. Bwe tussa mu nkola bye tuyiga era ne tulaba ebirungi ebivaamu, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera.—Abebbulaniya 11:1.
“YAKUWA AJJA KUKUGABULA MU MUKONO GWANGE”
Mu kusooka, Sawulo yaddira ekyambalo kye eky’olutalo n’akyambaza Dawudi. Kyali kifaananako ekya Goliyaasi, nga kyakolebwa mu kikomo, era nga kirabika kyaliko eky’omu kifuba ekinene nga kiriko obuntu obulinga amagalagamba. Dawudi yagezaako okutambula ng’ayambadde ekyambalo ekyo ekizito, naye n’alaba nga tekijja kumukolera. Olw’okuba teyali musirikale mutendeke, yali tamanyidde kwambala byambalo bya lutalo. Era yali tasobola kwambala byambalo bya Sawulo, omusajja eyali asingayo obuwanvu mu ggwanga lya Isirayiri. (1 Samwiri 9:2) Yakiggyamu n’ayambala engoye ze eza bulijjo ze yalundirangamu endiga.—1 Samwiri 17:38-40.
Dawudi yakwata omuggo gwe, ensawo ye, era n’envuumuulo. Mu kiseera kino, envuumuulo erabika ng’etalina mugaso, naye mu kiseera ekyo kyali kyakulwanyisa kya maanyi. Envuumuulo kaabanga kagoye oba kaliba nga kasibiddwako akaguwa eruuyi n’eruuyi, era abasumba baagikozesanga ng’eky’okulwanyisa. Baatekanga ejjinja mu nvuumuulo, ne bagiwuuba nnyo, oluvannyuma ne bata akaguwa akamu ne bagivuumuula, era kyabanga kizibu nnyo ejjinja obutakwasa ekyo kye baabanga baagala okukuba. Olw’okuba envuumuulo kyali kyakulwanyisa kya maanyi, amagye agamu gaabanga n’ebibinja by’abasirikale abaakozesanga envuumuulo.
Bw’atyo Dawudi yabagalira eby’okulwanyisa bye. Kuba akafaananyi ng’akutama okulonda amayinja mu kiwonvu ng’eno bw’asaba Yakuwa. Oluvannyuma yadduka mbiro n’agenda okwaŋŋanga omulabe!
Goliyaasi bwe yalaba Dawudi, kiki kye yalowooza? Bayibuli egamba nti: ‘Yamunyooma, kubanga yali muvubuka buvubuka era ng’alabika bulungi.’ Awo Goliyaasi n’amugamba nti: “Ndi mbwa olyoke ojje gye ndi n’emiggo?” Kirabika yalaba omuggo gwa Dawudi naye teyalaba nvuumuulo. Yakolimira Dawudi mu mannya ga bakatonda b’Abafirisuuti era n’awera nti omulambo gwa Dawudi yali agenda kuguwa ebinyonyi bigulye.—1 Samwiri 17:41-44.
Ebigambo Dawudi bye yayogera ng’addamu Goliyaasi byayoleka okukkiriza okw’amaanyi. Teeberezaamu ng’omuvubuka oyo omuto agamba Goliyaasi nti: “Ojja gye ndi ng’olina ekitala n’amafumu abiri, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Yakuwa ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomoozezza.” Dawudi yali akimanyi nti amaanyi g’omuntu n’eby’okulwanyisa si bye byali ebikulu. Goliyaasi yali anyoomye Yakuwa Katonda, era Yakuwa yandibaddeko ne ky’akolawo. Nga Dawudi bwe yagamba, “olutalo lwa Yakuwa.”—1 Samwiri 17:45-47.
Kyo kituufu Dawudi yali akiraba nti Goliyaasi yali musajja muwagguufu era yalina eby’okulwanyisa eby’amaanyi. Naye ekyo tekyamutiisa. Dawudi teyakola nsobi ya kwegeraageranya ne Goliyaasi nga Sawulo n’abasirikale be bwe baakola, wabula yageraageranya Goliyaasi ne Yakuwa. Goliyaasi yali wa ffuuti nga mwenda n’ekitundu obuwanvu era ng’asinga abasajja abalala bonna abaaliwo, naye yali muwanvu kwenkana wa bw’omugeraageranya n’Omufuzi w’obutonde bwonna? Mu maaso ga Yakuwa, Goliyaasi yali ng’omuntu omulala yenna, era Yakuwa yali asobola okumusaanyaawo mu bwangu.
Dawudi yakwata mu nsawo ye n’aggyamu ejjinja n’aliteeka mu nvuumuulo n’agiwuuba. Goliyaasi naye yasemberera Dawudi, oboolyawo ng’amusitulira engabo amuli mu maaso. Obuwanvu bwa Goliyaasi buyinza okuba nga bwamuviirako omutawaana. Eyali amusitulidde engabo yali tasobola kugiwanika kusiikiriza mutwe gwe, ate nga Dawudi yali aluubirira kukuba mutwe.—1 Samwiri 17:41.
Dawudi yavuumuula ejjinja. Kuba akafaananyi nga liwuuma ligenda eri Goliyaasi. Yakuwa yakakasa nti ejjinja eryo teriremererwa. Lyakuba Goliyaasi mu kyenyi ne liyingira, ne yeerindiggula ennume y’ekigwo nga yeevuunise! Eyali asitulidde Goliyaasi engabo ateekwa okuba nga yafubutuka n’adduka olw’okutya okungi. Dawudi yagenda Goliyaasi we yali agudde, n’akwata ekitala kya Goliyaasi n’amutemako omutwe.—1 Samwiri 17:48-51.
Sawulo n’abasirikale be baddamu amaanyi ne bagoba Abafirisuuti ng’eno bwe balaya enduulu z’olutalo. Olutalo olwo lwagenda nga Dawudi bwe yali agambye Goliyaasi nti ‘Yakuwa ajja kubawaayo mmwenna mu mukono gwaffe.’—1 Samwiri 17:47, 52, 53.
Leero, abaweereza ba Katonda tebalwana ntalo ng’ezo. (Matayo 26:52) Wadde kiri kityo, tusaanidde okukoppa okukkiriza kwa Dawudi. Okufaananako Dawudi, Yakuwa tusaanidde okumutwala nga wa ddala, era ye yekka gwe tusaanidde okutya n’okuweereza. Oluusi tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi olw’ebizibu bye tulina, naye ebizibu byaffe bitono nnyo bw’obigeraageranya n’amaanyi ga Yakuwa agataliiko kkomo. Bwe tusalawo okusinza Yakuwa Katonda yekka era ne tumwesiga nga Dawudi bwe yakola, tewali kizibu kyandituleetedde kuggwaamu maanyi. Tewali kiyinza kulema Yakuwa!