Koppa Okukkiriza Kwabwe
Yalwanirira Okusinza Okulongoofu
ERIYA yatunuulira ekibiina ky’abantu nga bambuka Olusozi Kalumeeri. Wadde ng’obudde bw’ali tebunnalaba bulungi, kyali kyangu okulaba nti abantu bano baali baavu era nga bayala. Ekyeya ekyali kimaze emyaka essatu n’ekitundu kyali kibalese mu mbeera mbi nnyo.
Mu bo mwalimu bannabbi ba Baali 450 abaali ab’amalala era nga tebaagalira ddala Eriya, nnabbi wa Yakuwa. Kwiini Yezeberi yali asse abaweereza ba Yakuwa bangi, naye omusajja ono yali akyaziyiza okusinza kwa Baali. Kino Eriya yandikikoze kutuusa ddi? Oboolyawo bannabbi abo baalowooza nti omusajja oyo omu bw’ati yali tasobola kuziyiza bantu bangi bwe batyo. (1 Bassekabaka 18:3, 19, 20) Kabaka Akabu naye yali azze, ng’atambulidde mu ggaali lye. Naye yali tayagalira ddala Eriya.
Nnabbi oyo, nga yekka ye eyaliwo ku olwo awagira okusinza okulongoofu, yali anaatera okulaba ekintu ekitabangawo mu bulamu bwe. Waali wagenda kubaawo akanyoolagano wakati w’obulungi n’obubi akatabangawo ku nsi. Yawulira atya ku olwo ng’obudde bugenda bukya? Olw’okuba yali ‘muntu nga ffe’ oboolyawo yalimu okutya. (Yakobo 5:17) Wabula tuli bakakafu ku kintu kimu: Eriya teyawulira bulungi okuba obw’omu nga yeetooloddwa abantu abo abataalina kukkiriza, ne kabaka waabwe eyali kyewaggula, awamu ne bakabona abaali abatemu.—1 Bassekabaka 18:22.
Naye Isiraeri yajja etya okutuuka mu mbeera eno embi? Era ebyo ebyaliwo bikukwatako bitya leero? Baibuli etukubiriza okufumiitiriza ku kyokulabirako ky’abaweereza ba Katonda era ‘n’okukoppa okukkiriza kwabwe.’ (Abaebbulaniya 13:7, NW) Kati weetegereze ekyokulabirako kya Eriya.
Olutalo Olwali Lumaze Ebbanga Lutuuka ku Ntikko
Eriya yali amaze ebbanga ddene ng’alaba engeri okusinza okw’amazima, ekintu ekisingayo obukulu mu ggwanga lye n’eri abantu be, gye kwali kulinyirirwamu. Olutalo wakati w’eddiini ey’amazima n’ey’obulimba, wakati w’okusinza Yakuwa Katonda n’okusinza ebifaananyi eby’amawanga agaali galiraanyewo lwali lumaze ekiseera nga lubumbujja mu Isiraeri. Mu kiseera kya Eriya, embeera yali eyonoonekedde ddala.
Kabaka Akabu yali awasizza Yezeberi muwala wa kabaka w’e Sidoni. Yezeberi yali amaliridde okubunya okusinza kwa Baali mu Isiraeri, n’okumalirawo ddala okusinza kwa Yakuwa. Akabu yatandika okukolera ku magezi ga Yezeberi. Yazimbira Baali yeekaalu n’ekyoto, era n’awoma omutwe mu kusinza katonda ono ow’obulimba. Mu kukola ekyo Akabu yanyiiza nnyo Yakuwa.—1 Bassekabaka 16:30-33.a
Kiki ekyali kyesisiwaza ennyo ku kusinza kwa Baali? Okusinza okwo kwaleetera Isiraeri okuva ku Katonda ow’amazima. Enzikiriza eyo yalimu ebikolwa eby’obugwenyufu n’ettemu. Okusinza okwo kwabangamu okussaddaaka abaana, ebikujjuko omwabanga okwenda era waabangawo bamalaaya b’omu yeekaalu abasajja n’abakazi. Yakuwa yatuma Eriya eri Akabu alangirire nti waali wagenda kubaawo ekyeya okutuusa nnabbi wa Katonda lwe yandigambye kikome. (1 Bassekabaka 17:1) Nga wayiseewo ekiseera Eriya yaddayo eri Akabu n’amugamba okukunga abantu wamu ne bannabbi ba Baali bagende ku Lusozi Kalumeeri.
Bino byonna birina makulu ki gye tuli leero? Abamu bayinza okulowooza nti ebikwata ku kusinza Baali tebirina mugaso leero olw’okuba tewakyali yeekaalu za Baali wadde ebyoto bye. Kituufu nti bino byaliwo dda, naye birina kye bituyigiriza. (Abaruumi 15:4) Ekigambo “Baali” kitegeeza “nnanyini” oba “mukama.” Yakuwa yagamba abantu be nti bandimulonze abeere “baali” waabwe oba bbaabwe. (Isaaya 54:5) Tokikkiriza nti abantu balina bakama baabwe bangi be baweereza mu kifo ky’okuweereza Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna? Mu butuufu, abantu bwe beemalira mu kunoonya ssente, okuluubirira emirimu egya waggulu, okwesanyusamu, okwenda, oba okuweereza omu ku bakatonda abalala mu kifo ky’okusinza Yakuwa, baba bamaze okulondawo ani mukama waabwe. (Matayo 6:24; Abaruumi 6:16) N’olwekyo mu ngeri emu oba endala, ebintu ebyakolebwanga mu kusinza Baali na kati bikyakolebwa. Olutalo olwo olw’edda olwali wakati wa Yakuwa ne Baali lutuyamba okusalawo ani gwe tunaaweereza.
“Okutta Aga n’Aga”—Mu Ngeri Ki?
Bw’oyimirira ku ntikko y’Olusozi Kalumeeri, osobola okulaba ekitundu kinene ekya Isiraeri—okuva ku kiwonvu ky’e Kisoni okuyita ku Nnyanja Ennene (Ennyanja Meditereniyani), okutuukira ddala ku nsozi za Lebanooni eziri mu bukkika ddyo.b Naye ku makya g’olunaku luno olw’ebyafaayo, ensi yali mu mbeera mbi nnyo. Ensi eno eyali engimu nga Yakuwa agiwa abaana ba Ibulayimu kati yali erabika ng’eddungu. Omusana gwali gwokezza buli kamu olw’ensobi y’abantu ba Katonda! Abantu abo bwe baakuŋŋaana, Eriya yajja gye bali n’abagamba nti: “Mulituusa wa okutta aga n’aga nga mulowooza wabiri? Mukama oba ye Katonda, mumugoberere: naye oba Baali, kale mumugoberere ye.”—1 Bassekabaka 18:21.
Eriya yali ategeeza ki bwe yakozesa ebigambo “okutta aga n’aga nga mulowooza wabiri”? Abantu abo baali tebakimanyi nti balina okusalawo okusinza Yakuwa oba okusinza Baali. Baalowooza nti basobola okusaba Yakuwa Katonda okubayamba ng’ate eno bwe bawaayo ssaddaaka eri Baali. Oboolyawo baalowooza nti Baali yandiwadde ebimera byabwe n’amagana omukisa, ate “Mukama ow’eggye” n’abawa obukuumi mu ntalo. (1 Samwiri 17:45) Okufaananako abantu bangi leero, baali beerabidde ekintu ekikulu ennyo nti Yakuwa tagabana kitiibwa kye na muntu mulala yenna. Ye yekka asaanidde okusinzibwa. Tayagalira ddala kumugattika na bakatonda balala era kimunyiiza!—Okuva 20:5.
N’olwekyo, Abaisiraeri abo baali ‘batta aga n’aga’ ng’omusajja ageezaako okutambulira mu makubo abiri mu kiseera kye kimu. Abantu bangi bakola ensobi y’emu leero, nga bakkiriza okuweereza ‘babaali’ abalala, okusinza Katonda ne bakussa mu kifo ekyokubiri! Omulanga Eriya gwe yakubira abantu okulekera awo okutta aga n’aga gutuyamba okwekebera okulaba kye tusoosa mu bulamu n’engeri gye tusinzamu.
Ekigezo Ekikulu Ennyo
Eriya yateesa nti wabeewo okugezesa. Ekyo kyali kyangu nnyo. Yagamba bakabona ba Baali bazimbe ekyoto era bakisseeko ssaddaaka; oluvannyuma basabe katonda waabwe agikumeko omuliro. Eriya naye yali wa kukola kye kimu. Yabagamba nti: ‘Katonda anaddamu n’omuliro oyo nga ye Katonda ow’amazima.’ Eriya yali amanyi bulungi ani eyali Katonda ow’amazima. Okukkiriza kwe kwali kwa maanyi nnyo ne kiba nti yaleka bannabbi ba Baali bo basooke okusaba katonda waabwe akume omuliro ku ssaddaaka. Yawa abalabe be akakisa okweroboza sseddume y’ente ey’okussaddaaka era be baba basooka okusaba katonda waabwe Baali.c—1 Bassekabaka 18:24, 25, NW.
Ennaku zino tewakyaliwo byamagero. Kyokka, Yakuwa takyuse. Tusaanidde okumwesiga nga Eriya bwe yakola. Ng’ekyokulabirako, abantu bwe bawakanya ekyo Baibuli ky’eyigiriza, tetulina kutya kubaleka kuwa ndowooza yaabwe. Okufaananako Eriya, naffe ensonga tusaanidde okuzireka mu mikono gya Katonda. Ekyo tukikola nga twesigama ku Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa “olw’okuteerezanga,” mu kifo ky’okwesigama ku magezi gaffe.—2 Timoseewo 3:16.
Bannabbi ba Baali bassa ssaddaaka yaabwe ku kyoto era ne batandika okukoowoola katonda waabwe. Baamukaabirira enfunda n’enfunda nga boogera nti: “Ai Baali, tuwulire.” Kino baakikolera essaawa eziwera. Baibuli egamba nti: “Naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n’omu.” Mu ttuntu Eriya yatandika okubaduulira, ng’agamba nti Baali ateekwa okuba ng’alina eby’okukola bingi ye nsonga lwaki tasobola kubaddamu, oba nti yali agenze mu kaabuyonjo, oba yali yeebase nga yeetaaga kumuzuukusa. Eriya yagamba bannabbi abo ab’obulimba nti “Mwogerere waggulu.” Awatali kubuusabuusa, yali akimanyi nti okusinza Baali bwali butaliimu, era yali ayagala abantu ba Katonda nabo bakitegeere.—1 Bassekabaka 18:26, 27.
Bannabbi ba Baali baatandika ‘okwogerera waggulu ne beesala n’obwambe n’amafumu ng’engeri yaabwe bwe yali okutuusa omusaayi lwe gwakulukutira ku bo.’ Kyokka byonna tebyabayamba n’akatono! ‘Tewaali ddoboozi newakubadde addamu n’omu newakubadde assaayo omwoyo.’ (1 Bassekabaka 18:28, 29) Mazima ddala Baali teyaliiyo. Baali kyali kintu Setaani kye yagunjawo okusendasenda abantu okuva ku Yakuwa. Nga bwe kyali edda, ne leero okusalawo okuweereza katonda yenna mu kifo kya Yakuwa tekivaamu kalungi konna.—Zabbuli 25:3; 115:4-8.
Ekigezo Kiddibwamu
Ng’obudde buwungedde, ekiseera kyatuuka Eriya naye okuwaayo ssaddaaka. Yaddaabiriza ekyoto kya Yakuwa abalabe b’okusinza okulongoofu kye baali baayonoona. Yakozesa amayinja 12, oboolyawo okujjukiza bangi ku Baisiraeri ab’omu bika ekkumi nti baali balina okugondera Amateeka agaaweebwa ebikka 12. Oluvannyuma yategeka ssaddaaka ye ku kyoto era n’alagira okugiyiwako amazzi, oboolyawo nga bagajja ku Nnyanja Meditereniyani eyali okumpi. Yasima n’olusalosalo okwetooloola ekyoto, n’alwo n’alujjuza amazzi. Nga bwe yali awadde bannabbi ba Baali akakisa okukola buli kye balowooza nti kibayamba, yakola buli ky’oyinza okulowooza nti kyandiremesezza Yakuwa—kino kyali kyoleka obwesige obw’amaanyi bwe yalina mu Katonda we.—1 Bassekabaka 18:30-35.
Nga buli kimu kimaze okutegekebwa, Eriya yasaba. Essaala ye eyali etegeerekeka yalaga bulungi ebyo Eriya bye yali atwala ng’ebikulu mu bulamu bwe. Ekisooka era nga kye kisinga obukulu, yali ayagala kimanyibwe nti Yakuwa ye yali “Katonda mu Isiraeri,” so si Baali. Ekyokubiri, yali ayagala buli omu okukimanya nti ye yali muweereza buweereza owa Yakuwa; n’olwekyo, ekitiibwa kyonna kyalina kuweebwa Katonda. N’ekisembayo, yakiraga nti yali akyafaayo ku bantu be, kubanga yali ayagala okulaba nga Yakuwa ‘akyusa omutima gwabwe.’ (1 Bassekabaka 18:36, 37) Wadde ng’obutali bwesigwa bwabwe bwali buvuddeko emitawaana mingi, Eriya yali akyabaagala. Naffe mu kusaba kwaffe tuyinza okulaga nti tufaayo ku linnya lya Katonda, era ne tulaga obwetoowaze n’obusaasizi eri abo abeetaaga okuyambibwa?
Nga Eriya tannasaba, abantu abo abaali abangi bayinza okuba nga beebuuza obanga Yakuwa naye yandibadde wa bulimba nga Baali. Kyokka oluvannyuma lw’okusaba kwe, baategeera ekituufu. Baibuli egamba nti: “Awo omuliro gwa Mukama ne gugwa ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa n’enku n’amayinja n’enfuufu, ne gukombera ddala amazzi agaali ku lusalosalo.” (1 Bassekabaka 18:38) Ng’okusaba okwo kwaddibwamu mu ngeri eyeewuunyisa! Abantu bo baakola ki?
Bonna baayogerera wamu nti: “Yakuwa ye Katonda ow’amazima! Yakuwa ye Katonda ow’amazima!” (1 Bassekabaka 18:39, NW) Ku nkomerero ekituufu kyamanyika. Kyokka, baali tebannalaga kukkiriza kwonna. Okugamba obugambi nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima nga balabye omuliro oguva mu ggulu oluvannyuma lw’okusaba ku bwakyo kyali tekiraga kukkiriza kwa maanyi. Bwe kityo Eriya yabasaba balage okukkiriza kwabwe mu ngeri endala. Yabagamba bakole kye bandibadde baakola edda—okugondera Amateeka ga Yakuwa. Amateeka ga Katonda gaali gagamba nti bannabbi ab’obulimba n’abasinza ebifaananyi balina okuttibwa. (Ekyamateeka 13:5-9) Bakabona ba Baali bano baali balabe ba Yakuwa Katonda abaakolanga buli kimu okulemesa ebigendererwa bye. Baali bagwana okulagibwa ekisa? Bo baali balaze ekisa kyonna eri abaana abo bonna abataalina musango be baayokyanga nga balamu okubawaayo nga ssaddaaka eri Baali? (Engero 21:13; Yeremiya 19:5) Nedda, abasajja abo baali tebasaana kulagibwa kisa n’akatono. N’olwekyo Eriya yalagira nti bannabbi abo battibwe, era bwe kityo bwe kyali.—1 Bassekabaka 18:40.
Abantu abamu leero bavumirira ekikolwa ekyo ekyaliwo ku Lusozi Kalumeeri. Abamu balowooza nti bannalukalala bayinza okukyekwasa ne bakola ebikolwa eby’ettemu olw’eddiini. Kya nnaku nti leero waliwo bannalukalala ng’abo bangi. Kyokka Eriya teyali nnalukalala. Okutta abantu abo kyali kigwana kubanga Yakuwa ye yali amulagidde. Ng’oggyeko ekyo, Abakristaayo ab’amazima bakimanyi nti tebasobola kukwata kitala kulwanyisa babi nga Eriya bwe yakola. Oluvannyuma lwa Masiya okujja, abayigirizwa ba Yesu bonna balina okugoberera ebigambo Kristo bye yagamba Peetero nti: “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo: kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.” (Matayo 26:52) Yakuwa ajja kukozesa Omwana we mu biseera eby’omu maaso okuzikiriza abo bonna Katonda b’asalidde omusango.
Omukristaayo ow’amazima ky’alina okukola kwe kwoleka okukkiriza mu bulamu bwe. (Yokaana 3:16) Engeri emu ey’okukikolamu kwe kukoppa abasajja abeesigwa nga Eriya. Yasinza Yakuwa yekka era yakubiriza abalala okukola kye kimu. N’obuvumu, yayanika obulimba bw’eddiini Setaani gye yali akozesa okusendasenda abantu okuva ku Yakuwa. Era yeesiga Yakuwa okugonjoola ensonga mu kifo ky’okwesiga obusobozi bwe ye. Mazima ddala, Eriya yalwanirira okusinza okw’amazima. Ka buli omu ku ffe akoppe okukkiriza kwe!
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebirala ebyaliwo wakati wa Eriya ne Akabu, laba ekitundu “Olina Okukkiriza ng’Okwa Eriya?” mu Watchtower eya Apuli 1, 1992.
b Olusozi Kalumeeri lubeerako omuddo mungi olw’enkuba n’omusulo omungi ebireetebwa empeewo ezikunta okuva ku nnyanja. Olw’okuba kyali kigambibwa nti Baali ye yali aleeta enkuba, olusozi luno lwali lukulu nnyo mu kusinza kwa Baali. N’olwekyo, Olusozi Kalumeeri olwali lukaze era nga tekukyali kimera kyali kifo kirungi okulagirako nti Baali yali katonda wa bulimba.
c Weetegereze nti Eriya yabagamba: “Temuteeka muliro” ku ssaddaaka. Abekenneenya ba Baibuli abamu bagamba nti abantu abaasinzanga ebifaananyi oluusi baakozesanga ebyoto ebyabanga n’ekituli wansi ekitalabika, ne kirabika ng’omuliro ogwase mu ngeri ey’ekyamagero.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 20]
Okusalawo okuweereza katonda yenna mu kifo kya Yakuwa tekivaamu kalungi konna
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
“Yakuwa ye Katonda ow’amazima!”