ESSUULA EY’EKKUMI N’EMU
Yatunula era Yalindirira
1, 2. (a) Kiki Eriya kye yalina okukola wadde nga tekyali kyangu? (b) Mu ngeri ki Eriya ne Akabu gye baali ab’enjawulo ennyo?
ERIYA yali yeetooloddwa abantu abaali baakamala okumulaba ng’asaba omuliro ne gukka okuva mu ggulu, era nga bangi ku bo bateekwa okuba nga baali baagala okumukolako omukwano. Kyokka ye yali ayagala kuvaawo agende ayogereko ne Kitaawe ow’omu ggulu, Yakuwa Katonda. Nga Eriya tannagenda kusaba, waliwo kye yalina okusooka okukola ekitaali kyangu. Yalina okwogera ne Kabaka Akabu.
2 Akabu ne Eriya tebaalina kye bafaanaganya. Akabu eyali ayambadde ebyambalo eby’ebbeeyi eby’Obwakabaka, yali yava dda ku kusinza okw’amazima. Yali muntu eyali ayagala ennyo ebintu era nga yekkiriranya mangu. Ku luuyi olulala, ye Eriya yali ayambadde kyambalo kya bannabbi, ekiyinza okuba nga kyali kyakolebwa mu ddiba ly’ensolo oba mu byoya by’eŋŋamira oba eby’embuzi. Yali musajja muvumu nnyo era yalina okukkiriza okw’amaanyi. Ebyali bibaddewo ku lunaku olwo byali biraze bulungi enjawulo ey’amaanyi eyaliwo wakati w’abasajja bano bombi.
3, 4. (a) Lwaki Akabu n’abasinza ba Bbaali abalala olunaku lwali terubagendedde bulungi? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?
3 Akabu n’abasinza ba Bbaali abalala olunaku olwo lwali terubagendedde bulungi. Eddiini ey’obulimba ye ne mukyala we Yezebeeri gye baali bawomyeemu omutwe mu bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi yali efeebezeddwa nnyo. Kyali kyeyolese bulungi nti Bbaali yali katonda wa bulimba. Yali alemeddwa okukoleeza omuliro ku kyoto wadde nga bannabbi be baali bamusabye nnyo era ne beesalasala n’okwesalaasala. Yali alemereddwa n’okukuuma bannabbi be 450 baleme kuttibwa. Naye ate waaliwo n’ekintu ekirala ekyali kimulemye. Bannabbi be baali bamaze emyaka egisukka mu esatu nga bamwegayirira atonnyese enkuba akomye ekyeya mu nsi ya Isiraeri, n’alemererwa. Naye Yakuwa yali agenda kukomya ekyeya ekyo, bw’atyo akirage nti ye Katonda ow’amazima.—1 Bassek. 16:30–17:1; 18:1-40.
4 Yakuwa ekyeya yali agenda kukikomya ddi, era kiki Eriya kye yandibadde akola ng’alindirira ekyeya kikome? Kiki kye tuyigira ku musajja ono eyalina okukkiriza okw’amaanyi? Ka tulabe Bayibuli ky’egamba.—Soma 1 Bassekabaka 18:41-46.
Yasabanga
5. Kiki Eriya kye yagamba Akabu okukola, era waliwo ekintu kyonna ekiraga nti Akabu alina kye yali ayize?
5 Eriya yatuukirira Akabu n’amugamba nti: “Golokoka olye onywe; kubanga waliwo okuwuuma kw’enkuba nnyingi.” Waliwo ekintu kyonna kabaka ono omubi kye yali ayize mu ebyo ebyali bibaddewo ku lunaku olwo? Bayibuli tetubuulira, era teraga nti yeenenya, wadde okusaba nnabbi amwegayiririre Yakuwa amusonyiwe. Akabu yagenda bugenzi ‘kulya na kunywa.’ (1 Bassek. 18:41, 42) Ate ye Eriya yakola ki?
6, 7. Eriya yasaba ki, era lwaki?
6 Bayibuli egamba nti, ‘Eriya yalinnya ku ntikko ya Kalumeeri, n’avunnama ku ttaka, n’ateeka omutwe gwe wakati w’amaviivi ge.’ Akabu bwe yagenda okulya, ye Eriya yafuna akakisa ak’okwogera ne Kitaawe ow’omu ggulu. Eriya yavunnama ku ttaka, ng’omutwe gwe guli wakati w’amaviivi ge. Yali akola ki? Tekitwetaagisa na kuteebereza. Yakobo 5:18, wagamba nti Eriya yasaba ekyeya kikome. Kirabika ekyo kye yali asaba mu kiseera ekyo ng’ali ku ntikko y’Olusozi Kalumeeri.
7 Emabegako, Yakuwa yali agambye nti: ‘Nja kutonnyesa enkuba ku nsi.’ (1 Bassek. 18:1) N’olwekyo, Eriya yasaba Yakuwa ky’ayagala kikolebwe, nga Yesu bwe yayigiriza abagoberezi be okusabanga.—Mat. 6: 9, 10.
8. Kiki kye tuyigira ku Eriya ku bikwata ku kusaba?
8 Waliwo bingi bye tuyigira ku Eriya ku bikwata ku kusaba. Eriya yali ayagala nnyo Katonda by’ayagala bikolebwe. Bwe tuba tusaba, kyandibadde kirungi naffe okukijjukira nti: “Bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.” (1 Yok. 5:14) N’olwekyo, bwe tuba twagala Katonda awulire okusaba kwaffe, tulina okumanya biki by’ayagala. Eno ye nsonga lwaki tusaanidde okwesomesa Bayibuli buli lunaku. Eriya naye ateekwa okuba nga yali ayagala nnyo ekyeya kikome, olw’okuba kyali kikosezza nnyo abantu b’omu nsi ye. Ateekwa okuba nga yeebaza nnyo Yakuwa olw’ekyamagero kye yali akoze ku lunaku olwo. Naffe tusaanidde okwebaza Yakuwa bulijjo olw’ebyo by’atukolera, ate era tusaanidde n’okusabira bannaffe.—Soma 2 Abakkolinso 1:11; Abafiripi 4:6.
Yalina Obwesige mu Yakuwa era Yamulindirira
9. Kiki Eriya kye yagamba omuweereza we okukola, era bintu ki ebibiri bye tumuyigirako?
9 Eriya yali mukakafu nti Yakuwa yali agenda kukomya ekyeya, naye yali tamanyi ddi. Kati olwo yali akola ki ng’alindirira? Bayibuli egamba nti: ‘Yagamba omuddu we nti Yambuka olengere awali ennyanja. Yalinnya n’alengera n’ayogera nti Tewali kintu. Eriya n’amugamba emirundi musanvu nti Ddayo.’ (1 Bassek. 18:43) Waliwo ebintu bibiri bye tuyigira ku Eriya. Ekisooka, yali mukakafu nti Yakuwa alina kye yandikozeewo. Eky’okubiri, yalindirira.
Eriya yayagala nnyo okulaba akabonero akalaga nti Yakuwa yali anaatera okutuukiriza kye yali asuubizza
10, 11. (a) Eriya yalaga atya nti yali mukakafu nti Yakuwa yali ajja kutuukiriza ekyo kye yali asuubizza? (b) Lwaki naffe tusobola okuba n’okukkiriza okulinga okwa Eriya?
10 Olw’okuba Eriya yali mukakafu nti Yakuwa yali agenda kutonnyesa enkuba, yayagala nnyo okulaba obanga waaliwo akabonero konna akalaga nti enkuba yali eneetera okutonnya. Bw’atyo yatuma omuweereza we agende alabe. Omuweereza we bwe yakomawo yagamba nti: “Tewali kintu.” Ku ggulu tekwali kire na kimu. Naye jjukira nti Eriya yali yaakagamba Kabaka Akabu nti: “Waliwo okuwuuma kw’enkuba nnyingi.” Lwaki nnabbi yayogera bw’atyo ng’ate ku ggulu tekwali kire kya nkuba kyonna?
11 Eriya yali amanyi bulungi ekyo Yakuwa kye yali asuubizza, era nga yali mukakafu nti Katonda we yali ajja kutuukiriza kye yali ayogedde. Yali mukakafu ddala nti enkuba yali egenda kutonnya ne kiba nti yalinga atandise n’okugiwulira ng’eyiika. Kino kitujjukiza Bayibuli ky’eyogera ku Musa. Egamba nti: “Yeeyongera okuba omunywevu ng’alinga alaba Oyo atalabika.” Naawe olina okukkiriza ng’okwo mu Katonda? Waliwo bingi ebisobola okutuyamba okuba n’okukkiriza okw’amaanyi ng’okwo mu Yakuwa era ne mu bisuubizo bye.—Beb. 11:1, 27.
12. Eriya yalaga atya nti yali aliko ky’alindirira, era yakola ki ng’omuweereza we amugambye nti alengedde akale ku ggulu?
12 Kati weetegereze engeri Eriya gye yalaga nti yali aliko ky’alindirira. Yatuma omuweereza we addeyo atunule ku luuyi lw’ennyanja, si mulundi gumu oba ebiri, wabula emirundi musanvu! Omuweereza wa Eriya ayinza okuba nga yeetamwa okuddayo emirundi egyo gyonna nga tewali ky’alabayo, naye ye Eriya yasigala akyali mugumu nti akabonero kandirabise. Omuweereza bwe yaddayo omulundi ogw’omusanvu n’akomawo, yagamba nti: ‘Nnengedde akale akenkana ekibatu ky’omuntu nga kalinnya okuva mu nnyanja.’ Kuba akafaananyi ng’omuweereza oyo akozesa ekibatu kye okulaga Eriya obunene bw’akale ke yalaba nga kalinnya okuva mu Nnyanja Ennene. Omuweereza wa Eriya ayinza okuba nga yalowooza nti akale ako kaali katono nnyo okuba nti kasobola okuvaamu enkuba, naye eri Eriya akale ako kaali kakulu nnyo. Bw’atyo yagamba omuweereza we nti: ‘‘Yambuka ogambe Akabu nti Teekateeka eggaali lyo, oserengete, enkuba ereme okukuziyiza.”—1 Bassek. 18:44.
13, 14. (a) Tulaga tutya nti naffe tuli bulindaala nga Eriya? (b) Biki ebiriwo leero ebyandituleetedde okubaako kye tukolawo?
13 Waliwo ekintu ekirala kye tuyigira ku Eriya. Naffe tuli kiseera nga Katonda anaatera okubaako ky’akolawo okutuukiriza ekigendererwa kye. Eriya yali alindirira enkomerero y’ekyeya, ate ffe leero tulindirira enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno embi. (1 Yok. 2:17) Okufaananako Eriya, tulina okusigala nga tuli bulindaala okutuusa Yakuwa Katonda lw’anaaleeta enkomerero. Omwana wa Katonda Yesu, yagamba abagoberezi be nti: “Mubeere bulindaala, kubanga temumanyi lunaku Mukama wammwe lw’alijjirako.” (Mat. 24:42) Yesu yali ategeeza nti abagoberezi be tebanditegedde nti bali mu kiseera eky’enkomerero? Nedda. Yabannyonnyola embeera bwe yandibadde mu nsi ng’enkomerero eneetera okutuuka. Ffenna tulaba ebiri mu kabonero ‘k’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.’—Soma Matayo 24:3-7.
Akale akatono akaali ku ggulu kaamala Eriya okuba omukakafu nti Yakuwa yali anaatera okutonnyesa enkuba. Ebiri mu kabonero akalaga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma byandituleetedde okubaako kye tukolawo mu bwangu
14 Buli ekiri mu kabonero ako kiragira ddala bulungi nti enkomerero eri kumpi. Ekyo kituleetedde okubaako kye tukolawo mu buweereza bwaffe? Wadde nga ku ggulu kwaliko akale kamu akatono ennyo, Eriya kaamumala okuba n’okukkiriza okw’amaanyi nti Yakuwa yali anaatera okutonnyesa enkuba. Ekyo kye yali asuubira kyatuukirira?
Yakuwa Aleeta Enkuba Awamu n’Emikisa Emirala
15, 16. Bintu ki ebyaliwo ku sipiidi ey’ekitalo, era Eriya ayinza okuba nga yali asuubira nti Akabu yali ajja kukola ki?
15 Bayibuli egamba nti: “Awo olwatuuka ekiseera kitono bwe kyayitawo, eggulu ne libindabinda ebire n’embuyaga, ne waba enkuba nnyingi. Akabu n’alinnya mu ggaali n’agenda e Yezuleeri.” (1 Bassek. 18:45) Ebyaliwo byonna byajjira ku sipiidi ya kitalo. Omuweereza wa Eriya bwe yali agenda okutegeeza Akabu ekyo kye yali amutumye okumugamba, akale akaali akatono kaagejja, eggulu lyonna ne lijjula ebire. Kibuyaga ow’amaanyi yatandika okukunta era enkuba eyali emaze emyaka esatu n’ekitundu nga tetonnya n’etonnya mu nsi ya Isiraeri. Ettaka eryali ekkalu lyannyikira amazzi. Enkuba bwe yeeyongera okufukumuka, n’omugga Kisoni gwajjula ne gwanjaala, era amazzi ago amangi gateekwa okuba nga gaatwala omusaayi gwa bannabbi ba Bbaali abaali battiddwa. Kati nno kye kyali ekiseera Abaisiraeri okwekutulira ddala ku kusinza Bbaali.
16 Eriya ateekwa okuba nga yali asuubira nti ekyo kyennyini Abaisiraeri kye baali bagenda okukola. Oboolyawo era yali yeebuuza obanga Akabu yandibaddeko ne ky’akolawo. Yandyenenyezza era n’alekera awo okusinza Bbaali, katonda ow’obulimba? Tetumanyi kiki Akabu kye yali alowooza mu kiseera ekyo. Bayibuli etugamba bugambi nti kabaka yavuga ‘eggaali lye n’agenda e Yezuleeri.’ Waliwo ekintu kyonna kye yali ayize? Yali mwetegefu okukyusa amakubo ge? Ebyaliwo biraga nti si bwe kyali. Naye ka tulabe biki ebyaddirira.
17, 18. (a) Kiki ekyatuuka ku Eriya ng’agenda e Yezuleeri? (b) Kiki ekyewuunyisa ennyo ku ngeri Eriya gye yaddukamu okuva e Kalumeeri okutuuka e Yezuleeri? (Laba n’obugambo obuli wansi.)
17 Nnabbi wa Yakuwa naye yakwata ekkubo lye limu Akabu lye yali akutte. Gye yali agenda waali wala, ate ng’enzikiza yali ekutte, era nga n’enkuba etonnya. Naye bwe yali agenda waabaawo ekintu ekitaali kya bulijjo.
18 Bayibuli egamba nti: “Omukono gwa Mukama ne guba ku Eriya . . . n’addukira mu maaso ga Akabu okutuusa awayingirirwa e Yezuleeri.” (1 Bassek. 18:46) “Omukono gwa Mukama” gwamuwa amaanyi agataali ga bulijjo. Yezuleeri kyali mayiro nga 19 okuva Eriya we yali, ate yali musajja mukadde.a Mukube akafaananyi ng’asise ebyambalo bye era ng’abisibidde mu kiwato asobole okudduka obulungi. Yaddukira ku sipiidi ya maanyi ne kiba nti yasobola n’okusanga eggaali lya kabaka ate n’aliyisa n’okuliyisa!
19. (a) Eky’okuba nti Katonda yawa Eriya amaanyi agatali ga bulijjo kitujjukiza bunnabbi ki? (b) Bwe yali adduka ng’agenda e Yezuleeri, kiki Eriya ky’ateekwa okuba nga yali amanyi?
19 Eriya okuwulira amaanyi amangi bwe gatyo—oboolyawo ge yali tawulirangako bukya azaalibwa, kiteekwa okuba nga kyamusanyusa nnyo. Kino kitujjukiza obunnabbi obulaga nti mu Lusuku lwa Katonda olunaabeera ku nsi abantu bajja kuba balamu bulungi era nga ba maanyi. (Soma Isaaya 35:6; Luk. 23:43) Eriya bwe yali adduka ng’agenda e Yezuleeri, muli ateekwa okuba nga yali akimanyi nti Kitaawe, Yakuwa Katonda omu ow’amazima, yali wamu naye!
20. Kiki kye tulina okukola okusobola okufuna emikisa gya Yakuwa?
20 Yakuwa ayagala nnyo okuwa abantu be emikisa. Ka tufube okulaba nga tukola kyonna ekisoboka okufuna emikisa egyo. Okufaananako Eriya, tulina okubeera obulindaala, nga bwe twetegereza ebyo byonna ebiraga nti Yakuwa anaatera okuzikiriza enteekateeka y’ebintu eno embi. Okufaananako Eriya, naffe tuli bakakafu nti Yakuwa ‘ajja kutuukiriza byonna bye yasuubiza kubanga ye ‘Katonda omwesigwa.’—Ma. 32:4.
a Waayita ekiseera kitono Yakuwa n’agamba Eriya atendeke Erisa, era Erisa yatuuka okumanyibwa ng’oyo “eyafukiriranga amazzi mu ngalo za Eriya.” (2 Bassek. 3:11) Erisa yali muweereza wa Eriya, era bwe kityo alina emirimu egitali gimu gye yayambangako Eriya eyali akaddiye.