Koppa Okukkiriza Kwabwe
Yatunula era Yalindirira
ERIYA yali ayagala nnyo okuba yekka ng’asaba Kitaawe ow’omu ggulu. Abantu baali baakamala okulaba nnabbi ono ow’amazima ng’alagira omuliro okuva mu ggulu, era awatali kubuusabuusa bangi ku bo baali baagala kumufunako mukwano. Nga Eriya tannayambuka waggulu ku Lusozi Kalumeeri kusaba Yakuwa Katonda, yalina okukola ekintu ekitaali kyangu. Yalina okwogera ne Kabaka Akabu.
Eriya yali muntu wa njawulo ku Akabu. Akabu yayambalanga ebyambalo bya bbeeyi, yali musajja ayagala ennyo ebintu era yali kyewaggula. Ate Eriya ye yayambalanga kyambalo kya bannabbi—tekyali kya bbeeyi era kyali kyakolebwa mu byoya by’eŋŋamira oba eby’embuzi. Yali musajja muvumu era yalina okukkiriza kwa maanyi. Ebyali bibaddewo ku lunaku luno byali biraze bulungi buli omu ku basajja bano ky’ali.a
Akabu n’abasinza ba Baali abalala olunaku lwali terubagendedde bulungi. Kyali kyeyolese bulungi nti eddiini y’ekikaafiiri Akabu ne mukazi we, Kwiini Yezeberi, gye baali batumbudde mu Bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi yali ya bulimba. Baali yali ayanikiddwa nti katonda wa bulimba. Katonda oyo ow’obulimba yali alemeddwa okukuma omuliro wadde nga bannabbi be baali bamusabye ne batuuka n’okwesalasala. Baali yali alemereddwa okukuuma abasajja abo 450 baleme kuttibwa nga bwe kyali kibagwanira. Naye waaliwo n’ekintu ekirala ekyali kiremye katonda oyo ow’obulimba. Okumala emyaka egisukka mu esatu, bannabbi ba Baali baali beegayiridde katonda waabwe oyo akomye ekyeya ekyaliwo mu nsi eyo, naye n’alemererwa. Mu bbanga ttono, Yakuwa yali agenda kukiraga nti ye Katonda ow’amazima ng’akomya ekyeya ekyo.—1 Bassekabaka 16:30–17:1; 18:1-40.
Naye Yakuwa yali wa kukomya ddi ekyeya ekyo? Ng’ekyeya tekinnakoma, Eriya yali wa kukola ki? Era kiki kye tuyinza okuyigira ku musajja ono eyalina okukkiriza okw’amaanyi? Ka tufune eby’okuddamu nga twekenneenya ebiri mu 1 Bassekabaka 18:41-46.
Yali Ayagala Nnyo Okusaba
Eriya yatuukirira Akabu n’amugamba nti: “Golokoka olye onywe; kubanga waliwo okuwuuma kw’enkuba nnyingi.” (Olunyiriri 41) Kabaka ono omubi yalina ekintu kyonna ky’ayize mu ebyo ebyali bibaddewo ku lunaku olwo? Ekyo Baibuli tekyogerako, wadde okulaga nti Akabu yeenenya n’asaba nnabbi okumuyamba okutuukirira Yakuwa amusonyiwe. Akabu yagenda ‘kulya na kunywa.’ (Olunyiriri 42) Ate ye Eriya?
‘Eriya yalinnya ku ntikko ya Kalumeeri; n’avunnama ku ttaka, n’ateeka amaaso ge wakati w’amaviivi ge.’ Akabu bwe yagenda okulya, ye Eriya yagenda kusaba Kitaawe. Weetegereze engeri Eriya gye yali atuddemu, eraga obwetowaaze—ng’atudde ku ttaka ng’omutwe gwe aguwunzise, n’amaaso ge nga gali wakati mu maviivi ge. Eriya yali akola ki? Tekitwetaagisa na kuteebereza. Mu Yakobo 5:18, Baibuli etugamba nti Eriya yasaba ekyeya kikome. Awatali kubuusabuusa, ekyo kye yali asaba bwe yali ku ntikko y’Olusozi Kalumeeri.
Emabegako, Yakuwa yali agambye nti: “Nditonnyesa enkuba ku nsi.” (1 Bassekabaka 18:1) N’olwekyo, Eriya yasaba Kitaawe ky’ayagala kikolebwe, nga ne Yesu, nga wayise emyaka lukumi, bwe yayigiriza abagoberezi be okusaba.—Matayo 6:9, 10.
Ekyokulabirako kya Eriya kirina bingi bye kituyigiriza ku kusaba. Eriya kye yali asinga okutwala nga kikulu kwe kutuukirizibwa kw’ekyo Kitaawe ky’ayagala. Bwe tuba tusaba, kiba kirungi okujjukira nti: “Bwe tusaba ekintu kyonna nga [Katonda] bw’ayagala, atuwulira.” (1 Yokaana 5:14) N’olwekyo, tulina okumanya Katonda by’ayagala bw’aba ow’okuwuliriza okusaba kwaffe—eno ye nsonga lwaki tusaanidde okugifuula empisa yaffe okwesomesa Baibuli buli lunaku. Awatali kubuusabuusa, Eriya naye yali ayagala ekyeya kikome kubanga kyali kireetedde abantu b’omu nsi ye okubonaabona okw’amaanyi. Omutima gwe guteekwa okuba nga gwajjula essanyu bwe yalaba ekyamagero Yakuwa kye yakola ku lunaku olwo. Naffe okusaba kwaffe kusaanidde okulaga nti tufaayo ku mbeera y’abalala era nti tusiima byonna Katonda by’akola.—2 Abakkolinso 1:11; Abafiripi 4:6.
Yali Mukakafu, era Yali Bulindaala
Eriya yali mukakafu nti Yakuwa yali agenda kukomya ekyeya, naye yali tamanyi ddi lwe yandikikoze. Kati olwo nnabbi yakola ki mu kiseera ekyo? Weetegereze olunyiriri 43 kye lugamba: “N’agamba omuddu we nti Yambuka nno olengere awali ennyanja. N’alinnya n’alengera n’ayogera nti Tewali kintu. N’ayogera nti Genda nate emirundi musanvu.” Ekyokulabirako kya Eriya kituyigiriza ebintu nga bibiri. Ekisooka, weetegereze nti nnabbi yali mukakafu nti Yakuwa alina kye yandikozeewo. Ate era weetegereze nti yali bulindaala.
Eriya yanoonya ekintu kyonna ekiraga nti Yakuwa yali anaatera okubaako ky’akolawo. Bw’atyo yatuma omuweereza we okwambuka alabe obanga waaliwo akabonero konna akalaga nti enkuba yali eneetera okutonnya. Omuweereza we bwe yakomawo yagamba nti: “Tewali kintu.” Eggulu lyali jjereere, nga tekuli bire. Olina kye weetegerezza ekitali kya bulijjo? Jjukira nti Eriya yali yaakagamba Kabaka Akabu nti: “Waliwo okuwuuma kw’enkuba nnyingi.” Nnabbi yali ayinza atya okwogera ekintu ng’ekyo ng’ate ku ggulu tekwali kire kya nkuba kyonna?
Eriya yali amanyi ekisuubizo kya Yakuwa. Nga nnabbi eyali akiikirira Yakuwa, yali mukakafu nti Katonda yali ajja kutuukiriza ekigambo Kye. Eriya yali mukakafu ne kiba nti yali ng’awulira okuwuuma kw’enkuba ennyingi. Kino kitujjukiza Baibuli ky’eyogera ku Musa nti: “Yagumiikiriza ng’alaba oyo atalabika.” Naawe Katonda wa ddala gy’oli? Waliwo ensonga eziwera lwaki tulina okumukkiririzaamu n’okukkiririza mu bisuubizo bye.—Abaebbulaniya 11:1, 27.
Kati weetegereze engeri Eriya gye yali obulindaala. Yatuma omuweereza we, si mulundi gumu oba ebiri, wabula emirundi musanvu! Omuweereza oyo kiyinza okuba nga kyamukooya okuddayo emirundi egyo gyonna, naye Eriya yasigala alindirira okutuusa lwe yandifunye akabonero, era teyaggwaamu maanyi. Omuweereza bwe yaddayo omulundi ogw’omusanvu, yagamba nti: “Laba, ekire kirinnya nga kiva mu nnyanja ekiri ng’omukono gw’omuntu obutono.” (Olunyiriri 44) Osobola okukuba akafaananyi ng’omuweereza oyo agolodde omukono gwe okulaga ekire ekyo ekitono ekyali kirinnya nga kiva mu Nnyanja Ennene bwe kyali kyenkana?b Ekire ekyo ekitono omuweereza oyo ayinza okuba nga teyakitwala ng’ekintu ekikulu. Naye ate eri Eriya, ekire ekyo kyali kirina amakulu. Bw’atyo yawa omuweereza we ebiragiro bino: “Yambuka ogambe Akabu nti Teekateeka eggaali lyo, oserengete, enkuba ereme okukuziyiza.”
Eriya era yatuteerawo ekyokulabirako ekirala ekirungi. Naffe tuli mu biseera nga Katonda anaatera okutuukiriza ekigendererwa kye. Eriya yali alindirira nkomerero ya kyeya; abaweereza ba Katonda leero bo balindirira nkomerero ya nteekateeka y’ebintu eno embi. (1 Yokaana 2:17) Tulina okusigala nga tuli bulindaala nga Eriya bwe yali okutuusa Yakuwa Katonda lw’alibaako ky’akolawo. Omwana wa Katonda, Yesu, yawa abagoberezi be amagezi nti: “Kale mutunule; kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw’alijjirako.” (Matayo 24:42) Yesu yali ategeeza nti abagoberezi be enkomerero yandibaguddeko bugwi? Nedda, kubanga yayogera bingi ebyandibaddewo mu nsi ng’enkomerero eneetera okutuuka. Buli omu ku ffe asobola okutegeera ebikwata ku kabonero ‘k’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.’—Matayo 24:3-7, NW.c
Buli kitundu ky’akabonero ako kiwa obukakafu obw’enkukunala. Obukakafu obwo busobola okutuleetera okubaako kye tukolawo mu bwangu? Ekire kimu ekitono kyaleetera Eriya okukakasa nti Yakuwa yali anaatera okubaako ky’akolawo. Nnabbi oyo yali yeesigidde bwereere Yakuwa?
Yakuwa Aleeta Obuweerero n’Emikisa
Baibuli eyongera n’egamba nti: “Awo olwatuuka ekiseera kitono bwe kyayitawo, eggulu ne libindabinda ebire n’embuyaga, ne waba enkuba nnyingi. Akabu n’alinnya mu ggaali n’agenda e Yezuleeri.” (Olunyiriri 45) Waatandika okubaawo ebintu eby’omuddiriŋŋanwa. Omuweereza wa Eriya bwe yali abuulira Akabu obubaka bwa nnabbi, ekire kiri ekitono kyafuukamu ebire bingi ne bijjuza eggulu lyonna era eggulu ne likwata ekizikiza. Kibuyaga ow’amaanyi yatandika okukunta. Enkuba eyali emaze emyaka esatu n’ekitundu nga tetonnya, yatonnya ku ttaka lya Isiraeri.d Ettaka eryali ekkalu lyanywa amazzi. Enkuba bwe yeeyongera okuba ennyingi, omugga Kisoni gwajjula era amazzi gaagwo gateekwa okuba nga gaanaazaawo omusaayi gwa bannabbi ba Baali abaali battiddwa. Abaisiraeri abaali bakutte ekkubo ekyamu nabo baali baweereddwa akakisa okuggyawo okusinza kwa Baali okwali okubi ennyo mu nsi yaabwe.
Awatali kubuusabuusa, Eriya ateekwa okuba nga yali ayagala kibeere bwe kityo. Akabu yandyenenyezza n’alekera awo okusinza Baali? Ebyaliwo ku lunaku olwo byandimuleetedde okukola ekyo. Tetumanyi kiki Akabu kye yali alowooza mu kaseera ako. Baibuli etugamba bugambi nti kabaka ‘yalinnya mu ggaali n’agenda e Yezuleeri.’ Waliwo ekintu kyonna kye yali ayize? Yali mumalirivu okukyusa amakubo ge? Ebyaddirira biraga nti si bwe kyali. Naye, waaliwo ebirala ebyaliwo ku Akabu ne ku Eriya.
Nnabbi wa Yakuwa yakwata ekkubo Akabu lye yali ayiseemu. Olugendo lwali luwanvu, enzikiza yali ekutte, era nga n’ekkubo liseerera. Naye waliwo ekintu ekyewuunyisa ekyaliwo.
“Omukono gwa Mukama ne guba ku Eriya; ne yeesiba ekimyu n’addukira mu maaso ga Akabu okutuusa awayingirirwa e Yezuleeri.” (Olunyiriri 46) Kya lwatu nti “omukono gwa Mukama” gwamuliko mu ngeri ey’ekyamagero. Yezuleeri kyali kyesudde mayiro nga 20 okuva Eriya we yali, ate era yali takyali muvubuka.e Kuba akafaananyi nga nnabbi oyo afundikidde ebyambalo bye ebiwanvu mu kiwato asobole okudduka obulungi ng’ayita mu luguudo olwali lusserera—yadduka emisinde mingi n’ayisa n’eggaali lya kabaka!
Nga Eriya yafuna omukisa gwa maanyi! Okuwulira amaanyi ng’ago—oboolyawo nga gasinga n’ago ge yalina mu buvubuka—kiteekwa okuba nga kyamusanyusa nnyo. Kino kitujjukiza obunnabbi obugamba nti mu lusuku lwa Katonda olunaabeera ku nsi, abantu abeesigwa bajja kufuna obulamu obutuukiridde omutali kulwala. (Isaaya 35:6; Lukka 23:43) Eriya bwe yali adduka, muli ateekwa okuba nga yali akimanyi nti asiimibwa Kitaawe, Katonda omu ow’amazima, Yakuwa!
Yakuwa ayagala nnyo okuwa abantu be emikisa. Tulina okufuba ennyo okugifuna. Okufaananako Eriya, tulina okubeera obulindaala tusobole okwetegereza obukakafu obulaga nti Yakuwa anaatera okubaako ky’akolawo mu biseera bino ebizibu. Okufaananako Eriya, tulina ensonga ennungi kwe tusinziira okwesiga ebisuubizo bya Yakuwa, “Katonda ow’amazima.”—Zabbuli 31:5.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo, laba ekitundu “Yalwanirira Okusinza Okulongoofu,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali-Maaki, 2008.
b Leero Ennyanja Ennene emanyiddwa nga Meditereniyani.
c Ebisingawo ebiwa obukakafu nti ebigambo bya Yesu bituukirizibwa leero, laba essuula 9 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
d Abamu bayinza okugamba nti Baibuli ekontana ku bikwata ku kiseera ekyeya kye kyamala. Laba akasanduuko ku lupapula 11.
e Mangu ddala nga kino kya kabaawo, Yakuwa yagamba Eriya okutendeka Erisa, eyamanyibwa ng’oyo “eyafukiriranga amazzi mu ngalo za Eriya.” (2 Bassekabaka 3:11) Erisa yali muweereza wa Eriya era ye yakoleranga omusajja ono eyali akaddiye emirimu.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Ekyeya ky’Omu Kiseera kya Eriya Kyamala Bbanga Ki?
Nnabi wa Yakuwa Eriya yategeeza Kabaka Akabu nti ekyeya ekyali kimaze ebbanga eddene kyali kinaatera okukoma. Ekyo kyaliwo “mu mwaka ogw’okusatu”—okuva ku lunaku Eriya lwe yasooka okulangirira ekyeya ekyo. (1 Bassekabaka 18:1) Yakuwa yatonnyesa enkuba nga Eriya yaakamala okugamba nti yali egenda kutonnya. Abamu bayinza okulowooza nti ekyeya kyakoma mu mwaka ogwo gwe nnyini ogwali ogw’okusatu, era nti tekyaweza myaka essatu. Kyokka, Yesu ne Yakobo batugamba nti ekyeya kyamala ‘emyaka esatu n’emyezi mukaaga.’ (Lukka 4:25; Yakobo 5:17) Kino kiraga nti Baibuli ekontana ku nsonga eno?
N’akatono. Ekiseera eky’omusana mu Isiraeri ey’edda kyalinga kiwanvu, ng’oluusi kiweza n’emyezi omukaaga. Awatali kubuusabuusa, Eriya we yagendera eri Akabu okulangirira ekyeya, omusana gwali gwakidde ebbanga ddene okusinga ku lya bulijjo. Ekyo kitegeeza nti ekyeya kyali kyakamala emyezi nga mukaaga. N’olwekyo, Eriya bwe yagamba nti ekyeya kyali kijja kukoma “mu mwaka ogw’okusatu” okuva ku lunaku lwe yasooka okukirangirira, ekyeya kyali kimaze emyaka esatu n’ekitundu. Ekiseera abantu bonna we baakuŋŋaanira ku Lusozi Kalumeeri, ‘ng’emyaka esatu n’emyezi omukaaga’ gyali giweze.
Kati lowooza ku kiseera Eriya we yasookera okugenda eri Akabu. Abantu baali bakkiriza nti Baali ye yali “atambulira ku bire,” era nti ye katonda eyandireese enkuba n’akomya ekyeya. Bwe kiba nti omusana gwali gwakidde ekiseera kiwanvu okusinga bwe kyabanga bulijjo, abantu bateekwa okuba nga baali beebuuza nti: ‘Baali ali ku ki? Anaatonnyesa ddi enkuba?’ Eriya bwe yagamba nti waali tewagenda kubaawo nkuba wadde omusulo okutuusa ng’alagidde, kiteekwa okuba nga kyayisa bubi nnyo abasinza ba Baali.—1 Bassekabaka 17:1.
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Pictorial Archive (Near Eastern History) Est.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Okusaba kwa Eriya kwalaga nti yali ayagala nnyo Katonda by’ayagala bikolebwe