Yakuwa Akufaako
‘Katonda mumusindikirenga okweraliikirira kwammwe kwonna kubanga abafaako.’—1 PEETERO 5:7.
1. Yakuwa ne Setaani baawukana mu ngeri ki ez’enjawulo?
YAKUWA ne Setaani tebafaanagana n’akamu. Omuntu yenna ayagala okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, ateekwa okuziyizibwa Omulyolyomi. Enjawulo eno eyogerwako mu kitabo ekimu. Ku bikwata ku bikolwa bya Setaani ebyogerwako mu kitabo kya Yobu, ekitabo Encyclopædia Britannica (ekya 1970) kigamba: ‘Setaani atambulatambula wano na wali mu nsi yonna ng’anoonya abo ab’okuvunaana omusango olw’okukola ebibi; n’olwekyo, ebikolwa bye byawukana nnyo ku bya ‘Katonda waffe,’ anoonya abakola ebirungi mu nsi (II Chron. xvi, 9). Setaani abuusabuusa ebiruubirirwa by’abantu ebirungi era Katonda amukkiriza okubagezesa naye ng’amuteerawo ekkomo.’ Yee, Setaani ne Katonda nga baawukana nnyo!—Yobu 1:6-12; 2:1-7.
2, 3. (a) Amakulu agali mu kigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “Omulyolyomi” gaalabikira gatya mu ebyo ebyatuuka ku Yobu? (b) Baibuli eraga etya nti Setaani akyeyongera okuwaayiriza abaweereza ba Yakuwa abali ku nsi?
2 Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “Omulyolyomi” kitegeeza “omulimba,” “omuwaayiriza.” Ekitabo kya Yobu, kiraga lwatu nti Setaani yagamba nti omuweereza wa Yakuwa omwesigwa, Yobu, yali aweereza Katonda olw’okwagala okubaako kye yeefunira, bwe yagamba: “Yobu atiira bwereere Katonda?” (Yobu 1:9) Ebiri mu kitabo kya Yobu biraga nti wadde nga Yobu yafuna ebizibu bingi nnyo, yeeyongera okunyweza enkolagana ye ne Yakuwa. (Yobu 10:9, 12; 12:9, 10; 19:25; 27:5; 28:28) Ng’amaze okuyita mu kubonaabona okwo kwonna, yagamba Katonda: “Nali nkuwuliddeko n’okuwulira kw’okutu; naye kaakano eriiso lyange likulaba.”—Yobu 42:5.
3 Setaani alekedde awo okuwaayiriza abaweereza ba Katonda abeesigwa okuva mu kiseera kya Yobu? Nedda. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti mu kiseera kino eky’enkomerero, Setaani akyeyongera okuwaayiriza baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta awamu ne bannaabwe abalala abeesigwa. (2 Timoseewo 3:12; Okubikkulirwa 12:10, 17) N’olwekyo, ffenna Abakristaayo ab’amazima kye twetaaga okukola, kwe kugondera Yakuwa, Katonda waffe atufaako, nga tumuweereza lwa kwagala, era mu ngeri eyo, tujja kukakasa nti Setaani by’ayogera bya bulimba. Bwe tukola bwe tutyo, tujja kusanyusa omutima gwa Yakuwa.—Engero 27:11.
Yakuwa Ayagala Okutuyamba
4, 5. (a) Okwawukana ku Setaani, kiki Yakuwa ky’atunuulira ku nsi? (b) Bwe tuba ab’okusaasirwa Yakuwa, kiki kye tusaanidde okukola?
4 Omulyolyomi atambulatambula mu nsi ng’anoonya omuntu gw’anaalya. (Yobu 1:7, 9; 1 Peetero 5:8) Okumwawukanako, Yakuwa ye ayagala okuyamba abo abeetaaga obuyambi bwe. Nnabbi Kanani yagamba Kabaka Asa: “Amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” (2 Ebyomumirembe 16:9) Nga waliwo enjawulo ya maanyi nnyo wakati w’ebikolwa bya Setaani eby’obukyayi n’ebya Yakuwa eby’okwagala!
5 Yakuwa tatuketta ng’alina ekigendererwa eky’okuzuula ebibi bye tulina. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Mukama, bw’onoolabanga ebitali bya butuukirivu, Ai Mukama, aliyimirira aluwa?” (Zabbuli 130:3) Eky’okuddamu kiri nti: tewali n’omu. (Omubuulizi 7:20) Singa tubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, amaaso ge gajja kubeera ku ffe, si olw’okutunenya, wabula olw’okusobola okutuddamu nga tumusabye, okutuyamba n’okutusonyiwa. Omutume Peetero yawandiika: “Amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, n’amatu ge gali eri okusaba kwabwe: Naye obwenyi bwa Mukama buli ku abo abakola obubi.”—1 Peetero 3:12.
6. Ebyatuuka ku Dawudi, bisobola bitya okutubudaabuda n’okutulabula?
6 Dawudi yali tatuukiridde era yakola ebibi eby’amaanyi ennyo. (2 Samwiri 12:7-9) Naye yeeyabiza Yakuwa okuyitira mu kusaba. (Zabbuli 51:1-12) Yakuwa yawulira okusaba kwe era n’amusonyiwa, wadde nga Dawudi yafuna ebizibu olw’ebibi bye yakola. (2 Samwiri 12:10-14) Ebyo ebyatuuka ku Dawudi bisaanidde okutubudaabuda era n’okutulabula. Kizzaamu amaanyi okumanya nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa ebibi byaffe singa twenenya mu bwesimbu, naye era kiba kirungi okumanya nti ebibi bulijjo bivaamu ebintu ebitali birungi. (Abaggalatiya 6:7-9) Bwe tuba nga twagala okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, tusaanidde okwewala ekintu kyonna ekitamusanyusa.—Zabbuli 97:10.
Yakuwa Asembeza Abantu Be gy’Ali
7. Bantu ba ngeri ki Yakuwa b’atunuulira, era abasembeza atya gy’ali?
7 Dawudi yawandiika bw’ati mu emu ku Zabbuli ze: “Mukama newakubadde nga ye mukulu, naye n’alowooza abeetoowaza: naye ab’amalala abamanya ng’ayima wala.” (Zabbuli 138:6) Mu ngeri y’emu, Zabbuli endala egamba: “Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, alina entebe ye waggulu, eyeetoowaza okutunuulira ebiri mu ggulu ne mu nsi? Ayimusa omwavu mu nfuufu, agolokosa omunafu mu lubungo.” (Zabbuli 113:5-7) Yee, Omutonzi w’obutonde bwonna yeetoowaza n’atunuulira ebiri mu nsi, era amaaso ge galaba “abawombeefu,” ‘abaavu,’ ‘abantu abassa ebikowe era abakaabira emizizo gyonna egikolebwa mu nsi.’ (Ezeekyeri 9:4) Abalinga abo abasembeza gy’ali ng’akozesa Omwana we. Yesu bwe yali ku nsi yagamba: “Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw’atamuwalula [bwatamusembeza] . . . Tewali ayinza kujja gyendi bw’atakiweebwa Kitange.”—Yokaana 6:44, 65.
8, 9. (a) Lwaki ffenna twetaaga okujja eri Yesu? (b) Kiki ekyewuunyisa ennyo ku nteekateeka y’ekinunulo?
8 Abantu bonna basaanidde okujja eri Yesu era bakkiririze mu kinunulo kye kubanga baazaalibwa nga boonoonyi era nga beeyawudde ku Katonda. (Yokaana 3:36) Beetaaga okutabaganyizibwa ne Katonda. (2 Abakkolinso 5:20) Katonda teyasooka kulinda bantu kumwegayirira alyoke abateerewo enteekateeka eyinza okubasobozesa okutabagana naye. Omutume Pawulo yawandiika: “Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n’atufiirira. Kuba obanga bwe twali tukyali balabe, twatabaganyizibwa ne Katonda olw’okufa kw’Omwana we, okusinga ennyo bwe twatabaganyizibwa tulirokoka olw’obulamu bwe.”—Abaruumi 5:8, 10.
9 Omutume Yokaana yakakasa ensonga eyo nti Katonda atabaganya abantu naye, bwe yawandiika: “Ku kino okwagala kwa Katonda kwe kwalabisibwa gye tuli, kubanga Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu tulyoke tube abalamu ku bw’oyo. Mu kino mwe muli okwagala, so si nga ffe twayagala Katonda, naye nga ye yatwagala ffe, n’atuma Omwana we okuba omutango olw’ebibi byaffe.” (1 Yokaana 4:9, 10) Katonda ye yasooka okubaako ky’akolawo so si abantu. Muli towulira ng’osikirizibwa eri Katonda eyalaga okwagala okwenkana awo eri abantu “aboonoonyi,” era abaali ‘abalabe’ be?—Yokaana 3:16.
Twetaaga Okunoonya Yakuwa
10, 11. (a) Kiki kye tuteekwa okukola okunoonya Yakuwa? (b) Twanditunuulidde tutya enteekateeka ya Setaani ey’ebintu?
10 Kya lwatu, Yakuwa tatuwaliriza kugenda gy’ali. Tuteekwa okumunoonya, ‘okumuwammanta n’okumuzuula, newakubadde nga tali wala wa buli omu ku ffe.’ (Ebikolwa 17:27) Tuteekwa okukitegeera nti tugwanidde okugondera Yakuwa. Omutume Yakobo yawandiika: “Mugonderenga Katonda, naye muziyizenga Omulyolyomi, era naye anaabaddukanga. Mufune enkolagana ennungi ne Katonda, naye anaabeera mukwano gwammwe. Muyonje emikono gyammwe, mmwe aboonoonyi, era mutukuze emitima gyammwe, mmwe abatasalawo.” (Yakobo 4:7, 8, NW) Tetusaanidde kulonzalonza okuziyiza Omulyolyomi tusobole okusigala nga tuli ku ludda lwa Yakuwa.
11 Ekyo kitegeeza okweyawula ku nteekateeka ya Setaani ey’ebintu bino. Yakobo era yawandiika: “Temumanyi ng’omukwano gw’ensi bwe bulabe bwa Katonda? Kale, omuntu yenna bw’ayagala okubeera mukwano gw’ensi yeefuula mulabe wa Katonda.” (Yakobo 4:4) Ku luuyi olulala, bwe tuba twagala okubeera mikwano gya Yakuwa, twandisuubidde ensi ya Setaani okutukyawa.—Yokaana 15:19; 1 Yokaana 3:13.
12. (a) Bigambo ki ebibudaabuda Dawudi bye yawandiika? (b) Kulabula ki Yakuwa kwe yawa okuyitira mu nnabbi Azaliya?
12 Ensi ya Setaani bw’etuziyiza mu ngeri ezimu, tuba twetaaga okusaba Yakuwa atuyambe. Dawudi eyanunulibwa Yakuwa emirundi egiwerako, yawandiika ebigambo ebisobola okutubudaabuda: “Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira, bonna abamukaabira n’amazima. Anaatuukirizanga abo kye baagala abamutya; era anaawuliranga okukaaba kwabwe, anaabalokolanga. Mukama akuuma abo bonna abamwagala; naye ababi bonna alibazikiriza.” (Zabbuli 145:18-20) Zabbuli eno eraga nti Yakuwa asobola okutulokola singa tugezesebwa kinnoomu era nti ajja kulokola abantu be ng’ekibiina mu kiseera ‘eky’ekibonyoobonyo ekinene.’ (Okubikkulirwa 7:14) Yakuwa ajja kubeera mukwano gwaffe singa tubeera n’enkolagana ennungi naye. Ng’aliko “omwoyo gwa Katonda,” nnabbi Azaliya yayogera ekyo kye tuyinza okutwala ng’amazima agakwata ku bantu bonna okutwalira awamu: “Mukama ali nammwe bwe munaabanga naye; era bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga; naye bwe munaamuvangako, anaabavangako mmwe.”—2 Ebyomumirembe 15:1, 2.
Yakuwa Asaanidde Okubeera Owa Ddala gye Tuli
13. Tusobola tutya okulaga nti Yakuwa wa ddala gye tuli?
13 Omutume Pawulo yayogera bw’ati ku Musa: “Yagumiikiriza ng’alaba oyo atalabika.” (Abaebbulaniya 11:27) Kya lwatu nti, Musa teyalaba Yakuwa maaso ku maaso. (Okuva 33:20) Naye Yakuwa yali wa ddala gy’ali ne kiba nti yali ng’amulabidde ddala. Mu ngeri y’emu, oluvannyuma lw’okubonaabona, amaaso ga Yobu ag’okukkiriza gaalaba bulungi Katonda, era n’akitegeera nti wadde Katonda akkiriza abaweereza be abeesigwa okugezesebwa, tayinza kubalekulira. (Yobu 42:5) Enoka ne Nuuwa baayogerwako ‘ng’abaatambulanga ne Katonda.’ Ekyo baakikola nga bafuba okusanyusa Katonda era n’okumugondera. (Olubereberye 5:22-24; 6:9, 22; Abaebbulaniya 11:5, 7) Yakuwa bw’abeera owa ddala gye tuli nga bwe yali eri Enoka, Nuuwa Yobu ne Musa, tujja ‘kumwatulanga’ mu makubo gaffe gonna era “anaaluŋŋamyanga olugendo lwaffe.”—Engero 3:5, 6.
14. Kitegeeza ki “okunywerera” ku Yakuwa?
14 Ng’Abaisiraeri banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, Musa yabagamba: “Munaatambulanga okugoberera Mukama Katonda wammwe ne mwekuumanga ebiragiro bye ne muwuliranga eddoboozi lye, era munaamuweerezanga, ne mwegattanga naye [ne mumunywererako].” (Ekyamateeka 13:4) Baali baakugoberera Yakuwa, okumutya, okumuwulira era n’okumunywererako. Omwekenneenya omu owa Baibuli yagamba nti “ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyakozesebwa okuvvuunula ‘okumunywererako’ kyoleka enkolagana ey’oku lusegere ebeerawo.” Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: ‘Abo abatya Mukama baba n’enkolagana ennungi naye.’ (Zabbuli 25:14) Tujja kubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa singa anaabeera wa ddala gye tuli era singa tumwagala nnyo ne kiba nti tutya okukola ekintu kyonna ekimunyiiza.—Zabbuli 19:9-14.
Omanyi nga Yakuwa Akufaako?
15, 16. (a) Zabbuli 34 eraga etya engeri Yakuwa gy’atufaako? (b) Kiki kye tusaanidde okukola bwe kiba nga kituzibuwalira okujjukira ebirungi Yakuwa by’atukolera?
15 Akamu ku bukodyo Setaani bw’akozesa kwe kutuleetera okwerabira nti Katonda waffe Yakuwa, buli kiseera afaayo ku baweereza be abeesigwa. Kabaka Dawudi owa Isiraeri yali amanyi bulungi nti Yakuwa asobola okumukuuma wadde ng’ayolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi ennyo. Bwe yeesuula eddalu ng’ali mu maaso ga Kabaka Akisi ow’e Gaasi, yayiiya oluyimba, Zabbuli ennungi ennyo, erimu ebigambo bino ebyoleka okukkiriza: “Mumukuze Mukama wamu nange, tugulumize erinnya lye fenna. N[n]anoonya Mukama, n’anziramu, n’andokola mu kutya kwange kwonna. Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, n’abalokola. Mulege mutegeere Mukama nga mulungi: aweereddwa omukisa oyo amwesiga. Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde. Ebibonoobono eby’omutuukirivu bye bingi: naye Mukama amulokola mu byonna.”—Zabbuli 34:3, 4, 7, 8, 18, 19; 1 Samwiri 21:10-15.
16 Okkiriza nti Yakuwa alina amaanyi agasobola okulokola? Okimanyi nti bamalayika be basobola okukukuuma? Omaze okulegako n’otegeera nti Yakuwa mulungi? Ddi lwe wasembayo okumanya nti Yakuwa abadde mulungi gy’oli? Gezaako okujjukira. Ekyo kyaliwo mu maka ge wasembayo okukyalira ng’oli mu buweereza bw’ennimiro, mu kiseera lwe wali owulira ng’okooye? Oboolyawo mu kiseera ekyo, emboozi yaggwa amakerenda ne nnyinimu. Wajjukira okwebaza Yakuwa olw’okukuwa amaanyi ge wali weetaaga era n’okukuwa omukisa? (2 Abakkolinso 4:7) Ku luuyi olulala, kiyinza okukubeerera ekizibu okujjukira ebintu ebirungi Yakuwa bye yakukolera. Oyinza okulowooza ku ebyo ebyaliwo wiiki emu emabega, omwezi gumu, omwaka gumu oba n’okusingawo. Bwe kiba bwe kityo, lwaki tofuba nnyo okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa era n’olaba engeri gy’akuwaamu obulagirizi? Omutume Peetero yagamba Abakristaayo: ‘Kale mwewombeekenga wansi w’omukono ogw’amaanyi ogwa Katonda. Nga mumusindiikiririzanga ye okweraliikirira kwammwe kwonna, kubanga abafaako.’ (1 Peetero 5:6, 7) Mazima ddala, kijja kukwewuunyisa okutegeera engeri gy’akufaako!—Zabbuli 73:28.
Weeyongere Okunoonya Yakuwa
17. Kiki kye twetaaga okukola okusobola okweyongera okunoonya Yakuwa?
17 Tuteekwa okweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Yesu yagamba bw’ati ng’asaba eri Kitaawe: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe, Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Kitwetaagisa okufuba buli kiseera okusobola okufuna okumanya okukwata ku Katonda n’Omwana we. Twetaaga okusaba obuyambi bw’omwoyo omutukuvu okusobola okutegeera ‘ebintu bya Katonda eby’omunda ennyo.’ (1 Abakkolinso 2:10; Lukka 11:13) Era twetaaga obulagirizi ‘bw’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ n’okutuwa emmere ey’eby’omwoyo ‘mu kiseera ekituufu.’ (Matayo 24:45) Okuyitira mu mukutu ogwo, Yakuwa atukubiriza okusoma Ekigambo kye buli lunaku, okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa, era n’okwenyigira mu kubuulira “amawulire amalungi ag’Obwakabaka.” (Matayo 24:14) Bwe tukola bwe tutyo, tujja kuba tweyongera okunoonya Yakuwa, Katonda waffe afaayo.
18, 19. (a) Tusaanidde kumalirira kukola ki? (b) Singa tweyongera okuziyiza Omulyolyomi era ne tweyongera okunoonya Yakuwa, tunaaweebwa tutya omukisa?
18 Setaani akola kyonna ky’asobola okuleetera abantu ba Katonda okuyigganyizibwa, okuziyizibwa, n’okupikirizibwa okuva mu njuyi zonna. Agezaako okutabangula emirembe gyaffe era n’okwonoona enkolagana ennungi gye tulina ne Katonda. Tayagala tweyongere okukola omulimu gwaffe ogw’okunoonya abo ab’emitima emyesigwa era n’okubayamba okuwagira obufuzi bwa Yakuwa. Naye, tuteekwa okumalirira okubeera abeesigwa eri Yakuwa, era nga tumwesiga okutununula okuva eri omubi. Bwe tukulemberwa Ekigambo kya Katonda era ne tunyiikira okukolera awamu n’entegeka ye erabika, tuyinza okubeera abakakafu nti buli kiseera ajja kuba mwetegefu okutuyamba.—Isaaya 41:8-13.
19 N’olwekyo, ka ffenna tweyongere okuziyiza Omulyolyomi n’enkwe ze, ng’eno bwe tweyongera okunoonya Katonda waffe Yakuwa, gwe twagala ennyo, atajja kulemererwa ‘okutunyweza.’ (1 Peetero 5:8-11) Mu ngeri eyo, ‘tujja kusigala mu kwagala kwa Katonda, nga tulindirira okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo, olw’obulamu obutaggwaawo.’—Yuda 21.
Wandizzeemu Otya?
• Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “Omulyolyomi” kitegeeza ki, era Omulyolyomi atuukana atya n’amakulu g’ekigambo ekyo?
• Yakuwa ayawukana atya ku Mulyolyomi mu ngeri gy’atunuuliramu abantu abali ku nsi?
• Lwaki omuntu ateekwa okukkiriza ekinunulo ng’ayagala okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa?
• Kitegeeza ki “okunywerera” ku Yakuwa, era tuyinza tutya okweyongera okumunoonya?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Wadde nga yabonyaabonyezebwa nnyo, Yobu yamanya nti Yakuwa yali amufaako
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16, 17]
Okusoma Baibuli buli lunaku, okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa, n’okwenyigira ennyo mu mulimu gw’okubuulira, bitujjukiza nti Yakuwa atufaako