Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Eseza
MUKAKAFU nti olukwe lwe terusobola kugwa butaka era nti tewali Muyudaaya n’omu agenda kulusimattuka. Ateekateeka olunaku olw’okutirimbulirako Abayudaaya bonna abali mu bwakabaka obutandikira e Buyindi okutuuka e Buwesiyopya. Kyokka, waliwo ekintu kimu ekikulu kye yeerabidde. Yeerabidde nti Katonda nnanyini ggulu asobola okununula abantu be okuva mu mbeera yonna ey’akabi. Engeri Katonda gy’anunulamu abantu be eyogerwako mu kitabo kya Eseza.
Ekitabo kino kyawandiikibwa Omuyudaaya ayitibwa Moluddekaayi. Ebikirimu byaliwo mu myaka 18 egy’obufuzi bwa Kabaka Akaswero oba Zaakisisi I owa Buperusi. Ebyaliwo bino biraga nti abantu ba Yakuwa ne bwe baba beesuddesudde asobola okubanunula okuva eri abalabe baabwe. Okumanya nti Katonda asobola okununula abantu be mu ngeri eyo, kizzaamu amaanyi abaweereza be leero abali mu nsi 235. Ate era, ekitabo kino kyogera ku bantu abaatuteerawo ekyokulabirako, era n’abo abeeyisa mu ngeri embi ze tusaanidde okwewala. Mazima ddala, “ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi.”—Abaebbulaniya 4:12.
KWIINI ALINA OKUYINGIRA MU NSONGA
Mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwe, nga gwe mwaka (493 B.C.E.), Kabaka Akaswero akola embaga. Kwiini Vasuti, eyali alabika obulungi asunguwaza nnyo kabaka era aggibwa ku bwa kwiini. Omuwala Omuyudaaya ayitibwa Kadassa alondebwa mu bawala embeerera abalungi okudda mu kifo kye. Ng’akolera ku magezi ga kizibwe we Moluddekaayi, Kadassa teyeemanyisa nti Muyudaaya era bwe kityo akozesa erinnya Eseza ery’Ekiperusi.
Oluvannyuma lw’ekiseera, Kamani omusajja eyali ow’amalala aweebwa obwa katikkiro. Moluddekaayi bw’agaana ‘okukutamya ku mutwe gwe mu maaso ga Kamani oba okumuvunnamira,’ Kamani asunguwala nnyo era n’akola olukwe olw’okutta Abayudaaya bonna abali mu Bwakabaka bwa Buperusi. (Eseza 3:2) Okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye, Kamani asendasenda kabaka Akaswero okukkiriza ekiteeso kye. Kabaka akkiriza ekiteeso ekyo era ayisa ekiragiro eky’okutirimbula Abayudaaya bonna. Moluddekaayi bw’ategeera byonna ebigenda okukolebwa, ayambala “ebibukutu [ne yeessaaba evvu].” (Eseza 4:1) Eseza bw’alaba ng’ebintu birinnye enkandaggo, ayingira mu nsonga. Ayita kabaka ne katikkiro ku kijjulo. Nga bali ku kijjulo ekyo, Eseza abategeeza nti n’olunaku oluddako eriyo ekijjulo ekirala. Kino kisanyusa nnyo Kamani. Kyokka, asunguwala olw’okuba Moluddekaayi agaanyi okumuvunnamira. N’olwekyo, akola olukwe olw’okutta Moluddekaayi nga tebannalya kijjulo kirala ku lunaku oluddako.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:3-5—Ddala embaga eyogerwako wano yamala ennaku 180? Ebyawandiikibwa tebiraga nti embaga eyo yamala ennaku ezo zonna, naye biraga nti kabaka yamala ennaku 180 ng’alambuza abakungu be eby’obugagga bye yalina mu bwakabaka bwe. Kirabika kabaka ekyo yakikola asobole okubakkirizisa nti ajja kuwangula olutalo olwo. N’olwekyo, olunyiriri 3 ne 5 zandiba nga zoogera ku mbaga eyaliwo oluvannyuma lw’ennaku 180 era nga yamala ennaku 7.
1:8—Mu ngeri ki gye kyali nti ‘tewali awaliriza munne kunywa ng’amateeka bwe gaali’? Ku mulundi guno, obutafaananako nga bwe kyali mu mpisa y’Abaperusi buli muntu okukubiriza munne obutanywa kisukkiridde, Kabaka Akaswero yawa abantu ebbeetu okunywa nga bwe baagala. Ekitabo ekimu kigamba nti “ku mbaga eno buli muntu yali ayinza okunywa nga bw’asobola.”
1:10-12—Lwaki Kwiini Vasuti yagaana okujja mu maaso ga kabaka? Abeekeneenya ba Baibuli abamu bagamba nti ekyagaana kwiini okujja kwe kuba nti kyandibadde kimuweebuula okujja mu maaso g’abagenyi ba kabaka abaali batamidde. Ate era kiyinza okuba nti kwiini ono eyali alabika obulungi teyali muwulize eri bba. Wadde nga Baibuli tetubuulira nsonga yagaana kwiini kujja mu maaso ga Kabaka, abasajja abagezigezi abaaliwo mu kiseera ekyo bagamba nti teyali muwulize, era nti ekikolwa kya Vasuti ekyo kyandiviiriddeko abakazi bonna mu Buperusi obutawulira babbaabwe.
2:14-17—Eseza yeetaba ne kabaka? Nedda. Ebyawandiikibwa biraga nti abakazi abaasula ewa kabaka baakomezebwawo mu nnyumba ey’okubiri eyalabirirwanga omulaawe ‘eyakuumanga abazaana.’ Abakazi abaasula ewa kabaka baafuuka bazaana be oba bakazi be. Kyokka ye Eseza bwe yava ewa kabaka teyatwalibwa mu nnyumba y’abazaana ekintu ekyandiraze nti yali yeetabyeko ne kabaka. Eseza bwe yaleetebwa mu maaso ga Akaswero, “kabaka n’ayagala Eseza okusinga abakazi bonna, n’alaba ekisa n’okuganja mu maaso ge okusinga abawala bonna.” (Eseza 2:17) Kati olwo Eseza yatuuka atya ‘okuganja’ mu maaso ga Akaswero? Yaganja mu maaso ge mu ngeri y’emu nga bwe yaganja mu maaso g’abantu abalala. Ng’ekyokulabirako, Baibuli egamba nti: “Awo omuwala oyo [n’asanyusa Kegayi], n’afuna ekisa eri ye.” (Eseza 2:8, 9) Ekyaleetera Eseza okuganja mu maaso ga Kegayi, kwe kuba nti yali alabika bulungi era ng’alina engeri ennungi. Mu butuufu, ‘Eseza yaganja mu maaso g’abo bonna abaamutunuulira.’ (Eseza 2:15) Mu ngeri y’emu ne kabaka yakwatibwako nnyo olw’engeri ennungi ze yalaba mu Eseza era ekyo kye kyamuleetera okumwagala.
3:2; 5:9—Lwaki Moluddekaayi teyakutamya ku mutwe nga Kamani ayitawo? Tekyali kikyamu Omuisiraeri okukutamya ku mutwe mu maaso g’omuntu amusinga ekitiibwa. Kyokka, Moluddekaayi alina ensonga lwaki teyakutamyanga mutwe gwe mu maaso ga Kamani. Olw’okuba Kamani yali Mwagagi, ayinza okuba nga yali wa ggwanga lya Bamaleki, erimu ku mawanga Yakuwa ge yali alagidde gazikirizibwe. (Ekyamateeka 25:19) Singa Moluddekaayi yakutamya ku mutwe gwe mu maaso ga Kamani, yandibadde alaze obutali bwesigwa eri Yakuwa. N’olwekyo, Moluddekaayi yagaanira ddala okukutamya ku mutwe gwe mu maaso ga Kamani Omwamaleki.—Eseza 3:3, 4.
Bye Tuyigamu:
2:10, 20; 4:12-16. Eseza yagoberera okubuulirira okwamuweebwa omusinza wa Yakuwa eyali omukulu mu by’omwoyo. N’olwekyo, kiba kirungi ‘okuwulira abo abatufuga era ne tubagondera.’—Abebbulaniya 13:17.
2:11; 4:5. Tetusaanidde ‘kutunuuliranga buli muntu ebibye yekka, era naye buli muntu n’eby’abalala.’—Abafiripi 2:4.
2:15. Eseza yeefuga nnyo n’atabaako kintu kyonna kya muwendo ky’asaba kabaka okuggyako ebyo byokka Kegayi omulaawe wa kabaka bye yali amuwadde. Ekyaleetera Eseza okuganja mu maaso ga kabaka ye ‘muntu ow’omwoyo atalabika, mu kyambalo ekitayonooneka, gwe mwoyo omuwombeefu omuteefu, gwe gw’omuwendo omungi mu maaso ga Katonda.’—1 Peetero 3:4.
2:21-23. Eseza ne Moluddekaayi baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ‘eky’okuwulira abakulu abafuga.’—Abaruumi 13:1.
3:4. Mu mbeera ezimu kiyinza okuba eky’amagezi obuteemanyisa kye tuli, nga Eseza bwe yakola. Kyokka, singa kiba kyetaagisizza okulaga oludda lw’oliko ku nsonga ezimu enkulu, gamba nga ezikwata ku kuwagira Obufuzi bwa Yakuwa n’okuba abeesigwa, tetulina kutya kwemanyisa nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa.
4:3. Bwe twolekagana n’ebizibu, tusaanidde okutuukirira Yakuwa mu kusaba atuwe amaanyi n’amagezi.
4:6-8. Moluddekaayi yategeeza ab’obuyinza ku lukwe lwa Kamani.—Abafiripi 1:7.
4:14. Moluddekaayi yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi eky’okussa obwesige mu Yakuwa.
4:16. Olw’okuba yalina obwesige mu Yakuwa, Eseza yasobola okwolekagana n’embeera eyanditadde obulamu bwe mu kabi. Kikulu okuyiga okwesiga Yakuwa so si maanyi gaffe.
5:6-8. Okusobola okusanyusa kabaka Akaswero, Eseza yamuyita ku kijjulo omulundi ogw’okubiri. Naffe twandyeyisizza mu ngeri ey’amagezi nga Eseza.—Engero 14:15.
EBINTU BYEFUULIRA KAMANI N’ABALALA
Ekiseera bwe kiyitawo, ebintu byefuulira Kamani. Awanikibwa ku muti gw’abadde ateeseteese okuwanikako Moluddekaayi, era Moluddekaayi adda mu kifo kye eky’obwa katikkiro! Ate olukwe olw’okutta Abayudaaya bonna? Nalwo lugwa butaka.
Eseza addamu okwogera ne kabaka. Ateeka obulamu bwe mu kabi n’agenda mu maaso ga kabaka okumwegayirira awandiike ebbaluwa esazaamu ekiragiro Kamani kye yali awadde eky’okutirimbula Abayudaaya. Kabaka Akaswero akkiriza okukola ekyo Eseza ky’amusabye. Bwe kityo, olunaku olubadde olw’okutirimbulirako Abayudaaya bwe lutuuka, ebintu bikyuka ne kiba nti abo ababadde beeteeseteese okubatta be battibwa. Moluddekaayi ayisa ekiragiro eky’okukwatanga Embaga ya Pulimu buli mwaka okujjukiranga olunaku lwe baawonyezebwawo. Olw’okuba kati yaddirira Kabaka Akaswero, Moluddekaayi ‘akolera abantu be ebirungi era ng’abuulira ezzadde lyabwe emirembe.’—Eseza 10:3.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
7:4—Mu ngeri ki okuzikirizibwa kw’Abayudaaya gye ‘kwandifiiriza kabaka’? Mu ngeri ey’amagezi Eseza ategeeza kabaka nti yandifunye ssente ezisukka mu bitundu bya feeza 10,000 Kamani ze yali asuubizza okumuwa singa Abayudaaya batundibwa ng’abaddu mu kifo ky’okuttibwa. Ate era singa Abayudaaya battibwa ne kwiini yali wa kuttibwa.
7:8—Lwaki Kamani baamubikka ku maaso? Kino kirabika kyali kitegeeza nti akabi kaali kagenda kumutuukako. Ekitabo ekimu kigamba nti, “mu biseera eby’edda abantu abaalinga bagenda okuttibwa baababikkanga ku mitwe.”
8:17—Mu ngeri ki ‘abantu b’omu mawanga ag’omu nsi gye bafuuka Abayudaaya’? Kirabika Abaperusi bangi baakyuka ne bayingira eddiini y’Ekiyudaaya. Kino kyalaga nti baali bakitegedde nti Katonda yali awagira Abayudaaya. Ekintu ekifaananako ekyo kyogerwako mu bunnabbi obusangibwa mu kitabo kya Zekkaliya. Obunnabbi obwo bugamba nti: “Abantu kkumi balikwata, okuva mu nnimi zonna ez’amawanga, balikwata ku lukugiro lw’omuntu Omuyudaaya nga boogera nti Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde Katonda ali nammwe.”—Zekkaliya 8:23.
9:10, 15, 16—Wadde ng’etteeka lyali libakkiriza, lwaki Abayudaaya tebaatwala munyago? Eky’okugaana okutwala omunyago kyalaga nti ekigendererwa kyabwe kyali kya kuwonya bulamu so si kufuna bya bugagga.
Bye Tuyigamu:
6:6-10. “Amalala gakulembera okuzikirira, n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.”—Engero 16:18.
7:3, 4. Twemanyisa nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa, wadde nga kiyinza okutuviirako okuyigganyizibwa?
8:3-6. Tusobola era tusaanidde okwekubira enduulu mu b’obuyinza oba mu kkooti nga waliwo abatwogeddeko eby’obulimba.
8:5. Mu ngeri ey’amagezi, Eseza yeewala okukiraga nti ne kabaka avunaanyizibwa olw’okuyisa etteeka ery’okutta abantu ba Eseza. Mu ngeri y’emu, naffe twetaaga okukozesa amagezi nga tuwa ab’obuyinza obujulirwa.
9:22. Tusaanidde okufaayo ku baavu.—Abaggalatiya 2:10.
Yakuwa Ajja ‘Kutulokola era Atuwonye’
Moluddekaayi agamba nti kyali kigendererwa kya Katonda Eseza okufuuka kwiini. Bwe baali batiisibwatiisibwa abalabe baabwe, Abayudaaya basiiba era ne basaba Yakuwa okubawa obuyambi. Kwiini alabika mu maaso ga kabaka wadde nga yali tayitiddwa era afuna ekisa n’okuganja ku buli mulundi gw’alabika mu maaso ga kabaka. Mu kiro ekimu kabaka abulwa otulo. Mazima ddala, ekitabo kya Eseza kiraga engeri Yakuwa gy’asobola okukyusa embeera okuyamba abantu be.
Ebiri mu kitabo kya Eseza bituzzaamu nnyo amaanyi ffe abali mu “kiseera eky’enkomerero.” (Danyeri 12:4) “Mu nnaku ez’oluvannyuma,” oba mu kiseera eky’enkomerero, Googi ow’e Magoogi—Setaani Omulyolyomi—ajja kulumba abantu ba Yakuwa. Ekigendererwa kye kwe kuzikiriza abasinza ab’amazima. Naye nga bwe kyali nnaku za Eseza, Yakuwa ajja ‘kulokola era awonye’ abasinza be.—Ezeekyeri 38:16-23; Eseza 4:14.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Eseza ne Moluddekaayi nga bali mu maaso ga Akaswero