Tujja Kutambuliranga mu Bugolokofu Bwaffe!
“Naye nze, nnaatambuliranga mu bugolokofu bwange.”—ZAB. 26:11, NW.
1, 2. Kiki Yobu kye yayogera ku bugolokofu bwe, era ebigambo bye ebiri mu Yobu essuula 31 biraga ki?
MU BISEERA by’edda, abantu baakozesanga minzaani okupima ebintu ebimu. Minzaani yabanga n’ensaniya bbiri. Ekintu kye baayagalanga okupima kyateekebwanga ku lusaniya ku ludda olumu olwa minzaani ate ejjinja eripima ne liteekebwa ku lusaniya ku ludda olulala. Abantu ba Katonda baalinanga okukozesa minzaani entuufu n’amayinja amatuufu.—Nge. 11:1.
2 Omuweereza wa Katonda omwesigwa Yobu bwe yali abonyaabonyezebwa Sitaani, yagamba nti: “[Yakuwa] ajja kumpima mu minzaani entuufu era Katonda ajja kumanya obugolokofu bwange.” (Yob. 31:6, NW ) Yobu yayogera ku mbeera ezitali zimu eziyinza okuleetera omuntu akuuma obugolokofu okugezesebwa. Naye ng’ebigambo bye ebiri mu Yobu essuula 31 bwe biraga, Yobu yasobola okukuuma obugolokofu bwe mu mbeera ezo zonna. Ekyokulabirako kye ekirungi naffe kisobola okutukubiriza okukola kye kimu, bwe kityo ne tusobola okwogera ebigambo ng’eby’omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi eyagamba nti: “Naye nze, nnaatambuliranga mu bugolokofu bwange.”—Zab. 26:11, NW.
3. Lwaki kikulu okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda mu bintu ebinene n’ebitono?
3 Wadde nga Yobu yagezesebwa nnyo, yasigala nga mwesigwa eri Katonda. Abamu bayinza n’okugamba nti Yobu yali muzira olw’okuba yasobola okukuuma obugolokofu bwe mu mbeera ng’ezo. Tewali n’omu ku ffe abonaabona nga Yobu. Wadde kiri kityo, tulina okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda mu bintu ebinene n’ebitono bwe tuba ab’okukuuma obugolokofu bwaffe n’okuwagira obufuzi bwe.—Soma Lukka 16:10.
Kikulu Okuba n’Empisa Ennungi
4, 5. Ng’omuntu eyali amaliridde okukuuma obugolokofu bwe, kiki Yobu kye yeewalanga?
4 Okusobola okukuuma obugolokofu bwaffe eri Yakuwa, naffe tulina okunywerera ku mitindo gye egy’empisa nga Yobu bwe yakola. Yagamba nti: “N[n]alagaana endagaano n’amaaso gange; kale nandiyinzizza ntya okutunuulira omuwala? . . . Omutima gwange oba nga gwali gusendeddwa eri omukazi, ne nteegera ku mulyango gwa munnange: kale mukazi wange aseere omulala, era abalala bakutame ku ye.”—Yob. 31:1, 9, 10.
5 Olw’okuba yali amaliridde okukuuma obugolokofu bwe eri Katonda, Yobu yeewalanga okutunuulira abakazi ng’abeegomba. Ng’omusajja omufumbo, teyazanyiriranga na bakazi batali bafumbo era teyeegwanyizanga baka basajja. Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yayogera ku kintu ekikulu ennyo ekikwata ku by’okwetaba abo bonna abaagala okukuuma obugolokofu kye balina okulowoozaako.—Soma Matayo 5:27, 28.
Tusaanidde Okwewala Obukuusa
6, 7. (a) Nga bwe kyali eri Yobu, Katonda akozesa ki okupima obugolokofu bwaffe? (b) Lwaki tusaanidde okwewala obukuusa oba obulimba?
6 Tetusobola kubalirwa mu abo abakuuma obugolokofu bwe tuba abakuusa oba abalimba. (Soma Engero 3:31-33.) Yobu yagamba nti: “Oba nga n[n]ali ntambudde n’obutaliimu, oba nga ekigere kyange kyanguye okukuusakuusa; [Yakuwa ampime] mu minzaani eyenkanankana, Katonda alyoke amanye obutayonoona [“obugolokofu,” NW ] bwange.” (Yob. 31:5, 6) Yakuwa apima abantu bonna mu “minzaani eyenkanankana,” oba entuufu. Nga bwe kyali eri Yobu, Katonda akozesa emitindo gye egy’obwenkanya egituukiridde okupima obugolokofu bwaffe.
7 Bwe tuba abakuusa oba abalimba, tuba tetukuumye bugolokofu bwaffe eri Katonda. Abo abakuuma obugolokofu bwabwe ‘balekayo ebintu ebikolebwa mu kyama ebikwasa ensonyi era tebatambulira mu bukuusa.’ (2 Kol. 4:1, 2) Ate kiri kitya singa ebigambo byaffe oba ebikolwa byaffe eby’obukuusa bireetera mukkiriza munnaffe okwegayirira Katonda amuyambe? Olwo nno ziba zitusanze! Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Mu kunakuwala kwange n[n]akoowoola Mukama, n’ampitaba. Omponye emmeeme yange, ai Mukama, eri emimwa egy’obulimba, n’eri olulimi olw’obukuusakuusa.” (Zab. 120:1, 2) Kirungi okukijjukira nti Katonda amanyidde ddala ekyo kye tuli munda, “agez[es]a emitima n’emmeeme” okulaba obanga ddala tukuuma obugolokofu bwaffe.—Zab. 7:8, 9.
Tusaanidde Okukolagana Obulungi n’Abalala
8. Yobu yayisanga atya abalala?
8 Okusobola okukuuma obugolokofu bwaffe, tulina okuba nga Yobu, eyali omwenkanya, omwetoowaze, era eyafangayo ennyo ku balala. Yagamba nti: “Oba nga n[n]ali nnyoomye ensonga ey’omuddu wange oba omuzaana wange, bwe bampawaabira: kale ndikola ntya, Katonda bw’aligolokoka? Era bw’alinjijira, ndimuddamu ntya? Eyankola nze mu lubuto si ye yamukola ye? Eyatubumba mu lubuto ffembi si omu?”—Yob. 31:13-15.
9. Ngeri ki Yobu ze yayoleka ng’akolagana n’abaweereza be, era tuyinza tutya okumukoppa?
9 Kirabika mu kiseera kya Yobu, engeri emisango gye gyakwatibwangamu teyabanga nzibu nnyo. Emisango gyakwatibwanga mu ngeri entegeke obulungi era n’abaddu baasobolanga okutwala ensonga zaabwe mu kkooti. Yobu yakolagananga n’abaweereza be mu ngeri ey’ekisa era ey’obwenkanya. Naffe bwe tuba ab’okukuuma obugolokofu bwaffe, tulina okwoleka engeri ng’ezo, naddala bwe tuba tuweereza ng’abakadde mu kibiina Ekikristaayo.
Beera Mugabi, Weewale Okwegomba
10, 11. (a) Kiki ekiraga nti Yobu yali mugabi era ng’ayamba abalala? (b) Ebigambo ebiri mu Yobu 31:16-25 bitujjukiza ki?
10 Yobu yali mugabi era ng’ayamba abalala, yali teyeefaako yekka era yali teyeegomba bintu. Yagamba nti: “Oba nga . . . n[n]ali mazizzaawo amaaso ga nnamwandu; oba nga n[n]ali ndidde akamere kange nzekka; so atalina kitaawe taliddeeko . . . Oba nga n[n]ali ndabye n’omu ng’afa olw’okubulwa ebyambalo . . . Oba nga n[n]ali nnyimusizza omukono gwange eri atalina kitaawe, kubanga n[n]alaba anannyamba mu mulyango: kale ekibegabega kyange kive ku nkwakwa, n’omukono gwange gukutuke okuva ku ggumba.” Era Yobu yandibadde takuumye bugolokofu bwe singa yagamba zaabu nti: “Ggwe bwesige bwange.”—Yob. 31:16-25.
11 Ebigambo ebyo bitujjukiza ebigambo by’omuyigirizwa Yakobo bino: “Okusinza okulongoofu era okutaliiko bbala mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe kwe kuno: okulabirira bamulekwa ne bannamwandu mu nnaku yaabwe, n’okwekuuma obutaba na mabala ga nsi.” (Yak. 1:27) Era ebigambo ebyo bitujjukiza ebigambo bya Yesu bino: “Mutunule era mwekuume okwegomba okwa buli ngeri, kubanga omuntu ne bw’aba n’ebintu ebingi, obulamu bwe tebuva ku bintu ebingi by’aba nabyo.” Oluvannyuma Yesu yagera olugero olukwata ku musajja omugagga eyali omwegombi eyafa “nga si mugagga mu maaso ga Katonda.” (Luk. 12:15-21) Okusobola okukuuma obugolokofu bwaffe, tulina okwewala okwegomba oba omululu. Okwegomba kuba kusinza bifaananyi kubanga ekintu omuntu ky’alulunkanira kimuleetera okuggya ebirowoozo bye ku Yakuwa bwe kityo ne kifuuka ekifaananyi. (Bak. 3:5) N’olwekyo, obugolokofu n’omululu tebirina kakwate!
Nywerera ku Kusinza okw’Amazima
12, 13. Bwe kituuka ku kwewala okusinza ebifaananyi, kyakulabirako ki Yobu kye yateekawo?
12 Abo abakuuma obugolokofu tebava ku kusinza okw’amazima. Ne Yobu ekyo teyakikola, kubanga yagamba nti: “Oba nga n[n]ali ntunuulidde enjuba, oba omwezi nga gutambulira mu kumasamasa; omutima gwange ne gusendebwa kyama, akamwa kange ne kanywegera omukono gwange: era n’ekyo kyandibadde kibi ekigwana abalamuzi okukibonereza: kubanga nandirimbye Katonda ali waggulu.”—Yob. 31:26-28.
13 Yobu teyasinzanga bintu bitalina bulamu. Singa omutima gwe gwasendebwasendebwa oluvannyuma lw’okutunuulira ebintu ebiri mu bwengula, gamba ng’omwezi, era singa ‘akamwa ke kaanywegera omukono gwe,’ oboolyawo ng’agunywegera okulaga nti abigulumiza, yandibadde asinzizza ebifaananyi era nga yeegaanye Katonda. (Ma. 4:15, 19) N’olwekyo, okusobola okukuuma obugolokofu bwaffe eri Katonda, tulina okwewalira ddala engeri zonna ez’okusinza ebifaananyi.—Soma 1 Yokaana 5:21.
Weewale Okuwoolera Eggwanga n’Obunnanfuusi
14. Lwaki tusobola okugamba nti Yobu teyawooleranga ggwanga?
14 Yobu teyawooleranga ggwanga era teyali mukambwe. Yali akimanyi nti okuba omuntu ow’engeri eyo kyandiraze nti takuumye bugolokofu bwe, kubanga yagamba nti: “Oba nga n[n]ali nsanyukidde oyo eyankyawa ng’azikiridde, oba n[n]ali [njaganyizza] obubi bwe bwamulaba; (weewaawo, saaganya kamwa kange kwonoona nga nsaba obulamu bwe nga nkolima.)”—Yob. 31:29, 30.
15. Lwaki kikyamu okusanyuka ng’akabi katuuse ku abo abatukyawa?
15 Omusajja omwesigwa Yobu teyasanyukanga kulaba ng’akabi katuuse ku muntu eyamukyawanga. Mu kitabo ky’Engero tusoma nti: “Tosanyukanga omulabe wo bw’agwanga, so n’omutima gwo gulemenga okusanyuka bw’ameggebwanga: Mukama alemenga okukiraba ne kimunyiiza, n’akyusa obusungu bwe okumuvaako.” (Nge. 24:17, 18) Okuva bwe kiri nti Yakuwa asobola okulaba ebyo ebiri mu mutima gwaffe, asobola okumanya obanga kitusanyusa okulaba ng’akabi katuuse ku muntu omulala, era ekyo tekimusanyusa. (Nge. 17:5) Katonda ayinza okutubonereza, kubanga agamba nti: “Okuwalana kwange, n’okusasula.”—Ma. 32:35.
16. Ne bwe tuba nga tetuli bagagga, tuyinza tutya okusembeza abagenyi?
16 Yobu yasembezanga abagenyi. (Yob. 31:31, 32) Wadde nga tetuli bagagga, tusobola ‘okusembeza abagenyi.’ (Bar. 12:13) Tusobola okuteekerateekerayo bannaffe ak’okulya akatonotono, nga tukijjukira nti “amaluma awali okwagalana gasinga ente eya ssava awali okukyawagana.” (Nge. 15:17) Okutuulako awamu ne bannaffe abakuuma obugolokofu nga tuliko kye tulya ne bwe kiba kitono kitya, kijja kutuganyula nnyo mu by’omwoyo.
17. Bwe tuba tukoze ekibi eky’amaanyi, lwaki tetulina kugezaako kukikweka?
17 Abantu abaakyalanga ewa Yobu bateekwa okuba nga bazzibwangamu nnyo amaanyi mu by’omwoyo, kubanga teyali munnanfuusi. Yobu teyali ng’abasajja abatatya Katonda abayingira mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka abaali “bawaanawaana abalala olw’okwagala okubaako bye beefunira.” (Yud. 3, 4, 16) Yobu teyabikkanga ku kusobya kwe oba ‘teyakisanga butali butuukirivu bwe mu kifuba kye,’ ng’atya nti abalala bandimunyoomye bwe banditegedde ensobi ze. Yali mwetegefu okukkiriza Katonda amukebere, kubanga gwe yalina okwenenyeza ensobi ze. (Yob. 31:33-37) Bwe tukola ekibi eky’amaanyi, tetulina kugezaako kukikweka nga tutya okuswala. Bwe twesanga mu mbeera ng’eyo, tuyinza tutya okulaga nti tukuuma obugolokofu? Nga tukkiriza ensobi zaffe, nga twenenya, nga tufuba okufuna obuyambi obw’eby’omwoyo, era nga tukola kyonna ekisoboka okutereeza ensonga.—Nge. 28:13; Yak. 5:13-15.
Omusajja Omugolokofu Mwetegefu Okulamulwa
18, 19. (a) Lwaki kiyinza okugambibwa nti Yobu teyanyunyunta muntu yenna? (b) Yobu yali mwetegefu kukola ki bwe kyandizuuliddwa nti alina omusango?
18 Yobu yali mwesigwa era nga mwenkanya. Eyo ye nsonga lwaki yali asobola okugamba nti: “Ensi yange bw’enempawaabira, n’ebibibi byayo ne bikaabira wamu amaziga; oba nga n[n]ali ndidde ebibala byamu awatali ffeeza, oba n[n]ali nfiisizza bannyini yo: omwennyango gudde mu kifo ky’eŋŋaano, ne ssere mu kifo kya sayiri.” (Yob. 31:38-40) Yobu teyanyaganga ttaka ly’abalala era teyanyunyuntanga bakozi be. Okufaananako Yobu, naffe tusaanidde okukuuma obugolokofu bwaffe eri Yakuwa mu bintu ebinene n’ebitono.
19 Bwe yali ayogera ne banne abasatu awamu ne Eriku, Yobu yababuulira ku ngeri gye yali atambuzizzaamu obulamu bwe. Yobu yasaba omuntu yenna aveeyo amulumirize ku ngeri gye yali atambuzizzaamu obulamu bwe, kubanga ye yali ataddeko “akabonero” ng’akakasa nti yali abutambuzizza bulungi. Bwe kyandizuuliddwa nti alina omusango, Yobu yali mwetegefu okubonerezebwa. Bw’atyo yasaba Katonda amulamule. Awo, ‘ebigambo bya Yobu we byakoma.’—Yob. 31:35, 40.
Osobola Okukuuma Obugolokofu Bwo
20, 21. (a) Lwaki Yobu yasobola okukuuma obugolokofu bwe? (b) Tusobola tutya okukulaakulanya okwagala kwaffe eri Katonda?
20 Yobu yasobola okukuuma obugolokofu bwe kubanga yali ayagala Katonda, era ne Yakuwa yali amwagala era yamuyamba. Yobu yagamba Yakuwa nti: “Wampa obulamu n’okuganja, n’okujja kwo gyendi kwe kwakuuma omwoyo gwange.” (Yob. 10:12) Ate era Yobu yali ayagala bantu banne, olw’okuba yali akimanyi nti omuntu yenna atayagala bantu banne aba talaze nti atya Omuyinza w’Ebintu Byonna. (Yob. 6:14) Abantu abakuuma obugolokofu baba baagala Katonda ne bantu bannaabwe.—Mat. 22:37-40.
21 Tusobola okukulaakulanya okwagala kwaffe eri Katonda nga tusoma Ekigambo kye buli lunaku era nga tufumiitiriza ku ebyo bye kituyigiriza ku Katonda. Okuyitira mu kusaba, tusobola okutendereza Yakuwa n’okumwebaza olw’ebirungi by’atukoledde. (Baf. 4:6, 7) Tusobola okuyimbira Yakuwa era tusobola okuganyulwa singa tukuŋŋaana wamu n’abantu be. (Beb. 10:23-25) Era okwagala kwaffe eri Katonda kujja kweyongera bwe tuneenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’okulangirira “amawulire amalungi ag’obulokozi bwe.” (Zab. 96:1-3, NW ) Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kusobola okukuuma obugolokofu bwaffe ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Kirungi nze nsemberere Katonda: Mukama [Afuga Byonna Yakuwa] mmufudde ekiddukiro kyange.”—Zab. 73:28.
22, 23. Ng’abo abawagira obufuzi bwa Yakuwa, bintu ki bye tufaanaganya n’abo abaakuuma obugolokofu bwabwe mu biseera by’edda?
22 Okuva edda n’edda, Yakuwa azze awa abantu be abakuuma obugolokofu emirimu egitali gimu. Nuuwa yazimba eryato era yali ‘mubuulizi wa butuukirivu.’ (2 Peet. 2:5) Yoswa yakulembera Abaisiraeri okuyingira mu Nsi Ensuubize, era ng’ekyo yasobola okukikola olw’okuba yasomanga ‘ekitabo ky’amateeka emisana n’ekiro’ era n’akolera ku ebyo bye yasomanga mu kitabo ekyo. (Yos. 1:7, 8) Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baafuulanga abantu abayigirizwa era baakuŋŋaananga obutayosa okusoma Ebyawandiikibwa.—Mat. 28:19, 20.
23 Naffe tulaga nti tuwagira obufuzi bwa Yakuwa era nti tukuuma obugolokofu bwaffe nga tubuulira obutuukirivu, nga tufuula abantu abayigirizwa, nga tukolera ku ebyo bye tuyiga mu Byawandiikibwa, era nga tuba wamu ne bakkiriza bannaffe mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene. Ebintu ng’ebyo bituyamba okuba abavumu, okuba abanywevu mu by’omwoyo, n’okukola Katonda by’ayagala. Si kizibu kukola Katonda by’ayagala n’okukuuma obugolokofu bwaffe kubanga tulina obuyambi bwa Kitaffe ow’omu ggulu awamu n’Omwana we. (Ma. 30:11-14; 1 Bassek. 8:57) Okugatta ku ekyo, tulina n’obuyambi bwa ‘baganda baffe bonna,’ abafuba okutambulira mu bugolokofu era abassa ekitiibwa mu Yakuwa nga Mukama Afuga Byonna.—1 Peet. 2:17.
Wandizzeemu Otya?
• Tusaanidde kutwala tutya emitindo gya Yakuwa egy’empisa?
• Ngeri ki Yobu ze yayoleka ezisinga okukusikiriza?
• Nga bwe kiragibwa mu Yobu 31:29-37, Yobu yeeyisanga atya?
• Lwaki tusobola okukuma obugolokofu bwaffe eri Katonda?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Yobu yakuuma obugolokofu bwe eri Yakuwa. Naffe tusobola okubukuuma!
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Tusobola okukuuma obugolokofu bwaffe!