Ssaayo Omwoyo ku Bikolwa bya Katonda eby’Ekitalo
“Ebikolwa eby’ekitalo bye wakola, ai Mukama Katonda wange, bingi, n’ebirowoozo byo ebiri gye tuli: tebiyinzika kukulongookera kinnakimu.”—ZABBULI 40:5.
1, 2. Tulina bujulizi ki obw’ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo, era kino kyandituleetedde kukola ki?
BW’OSOMA Baibuli, okiraba mangu nti Katonda yakolera abantu be ab’edda, Isiraeri, ebintu eby’ekitalo. (Yoswa 3:5; Zabbuli 106:7, 21, 22) Ne bwe kiba nti kati Yakuwa takyayingira mu nsonga z’abantu nga bwe yakolanga, okutwetooloola waliwo obujulizi bungi obw’ebikolwa bye eby’ekitalo. N’olwekyo, tulina ensonga ennungi okwegatta ku muwandiisi wa Zabbuli eyagamba: “Ai Mukama, emirimu gyo nga gya ngeri nnyingi! Wagikola gyonna mu magezi: ensi ejjudde obugagga bwo.”—Zabbuli 104:24; 148:1-5.
2 Bangi leero babuusa amaaso oba bagaana obujulizi obw’ebikolwa by’Omutonzi. (Abaruumi 1:20) Kyokka, kya muganyulo era kisaanidde ffe okubifumiitirizaako ne tusalawo okusinziira ku kifo kyaffe n’obuvunaanyizibwa bwe tulina eri Omutonzi waffe. Yobu essuula 38 okutuuka 41 nnungi nnyo ku nsonga eno, kubanga Yakuwa awo yalaga Yobu ebintu ebimu ebikwata ku bikolwa Bye eby’ekitalo. Lowooza ku nsonga ezisaanira Katonda ze yayogerako.
Ebikolwa eby’Amaanyi era eby’Ekitalo
3. Nga bwe kiri mu Yobu 38:22, 23, 25-29, Katonda yabuuza ku bintu ki?
3 Lumu, Katonda yabuuza Yobu: “Wali oyingidde mu mawanika g’amazzi amakwafu [“omuzira,” NW], oba wali olabye amawanika g’omuzira, ge nnaterekera ebiro eby’okulabiramu ennaku, olunaku olw’olutalo n’obulwa?” Mu bifo bingi mu nsi, omuzira kintu ekya bulijjo mu bulamu. Katonda yeeyongera n’agamba: “Ani eyasalira amataba olusalosalo, oba ekkubo ery’enjota ez’okubwatuka; okutonnyesa enkuba ku nsi okutali muntu; mu ddungu omutali muntu n’omu; okukkusa ettaka eryazika eryalekebwa; n’okulosa omuddo omuto? Enkuba erina kitaawe waayo? Oba ani eyazaala amatondo ag’omusulo? Mu lubuto lw’ani omwava amazzi amakwafu? N’omusulo omukwafu omweru ogw’omu ggulu ani eyaguzaala?”—Yobu 38:22, 23, 25-29.
4-6. Mu ngeri ki okumanya kw’abantu okukwata ku muzira gye kutali kujjuvu?
4 Abamu ababeera mu bitundu ebintu gye bikolebwa mu bwangu ennyo era abalina okutambula bayinza okutunuulira omuzira ng’ekizibu. Kyokka, abantu abalala bangi batunuulira omuzira ng’ekintu eky’essanyu, era ekisobozesa okukola ebintu eby’enjawulo. Ng’olina ekibuuzo Katonda kye yabuuza mu birowoozo byo, omanyi bulungi ebikwata ku muzira, wadde engeri gye gufaananamu? Tumanyi entuumo y’omuzira bw’efaanana, oboolyawo okuva mu bifaananyi by’omuzira oba kubanga tulabye omuzira mungi. Naye ate empeke z’omuzira? Omanyi bwe zifaanana, oboolyawo oluvannyuma lw’okuzeekenneenya we zisangibwa?
5 Abantu abamu bamaze amakumi g’emyaka nga beekenneenya era nga bakuba empeke z’omuzira ebifaananyi. Empeke y’omuzira eyinza okubaamu ebikumi n’ebikumi by’obuweke bwa bbalaafu obusengekeddwa mu ngeri ez’enjawulo ezirabika obulungi ennyo. Ekitabo Atmosphere kigamba: “Ebika ebingi ennyo eby’empeke z’omuzira byogerwako nnyo, era wadde nga bannasayansi bagamba nti tewali tteeka lya butonde lizirobera kwawukanamu bitundu ebifaanagana, teri mpeke bbiri ez’omuzira ezifaanagana ezaali zirabiddwa. Okunoonyereza okumu okw’amaanyi ennyo kwakolebwa . . . Wilson A. Bentley, eyamala emyaka egisukka mu 40 nga yeekenneenya, era ng’akuba empeke z’omuzira ebifaananyi nga yeeyambisa ekyuma ekizimbulukusa, kyokka n’atazuulayo mpeke bbiri ezifaananira ddala.” Era singa bubiri bufaanagana, ekintu ekitatera kubaawo, ekyo kyandikyusizza ekyewuunyo eky’ebika ebingi ennyo eby’empeke z’omuzira?
6 Jjukira ekibuuzo kya Katonda: “Wali oyingedde mu mawanika g’amazzi amakwafu [“omuzira,” NW]?” Bangi balowooza ku bire ng’amaterekero g’omuzira. Osobola okukubamu ekifaananyi ng’ogenze mu ggwanika eryo okubala empeke z’omuzira ezirimu mu bika byazo ebingi ennyo n’okuyiga engeri gye zaakolebwamu? Ekitabo ekimu ekya sayansi kigamba: “Enkula era n’ensibuko y’obuweke obusirikitu obwa bbalaafu, obusobozesa obutondo bw’amazzi obuli mu bire okukwata bbalaafu ku bunnyogovu obwa 40°Celcius, temanyiddwa mu bujjuvu n’okutuusa kati.”—Zabbuli 147:16, 17; Isaaya 55:9, 10.
7. Omuntu amanyi kwenkana wa ebikwata ku nkuba?
7 Ate yo enkuba? Katonda yabuuza Yobu: “Enkuba erina kitaawe waayo? Oba ani eyazaala amatondo ag’omusulo?” Ekitabo kye kimu kigamba: “Olw’enkyukakyuka mu ntambula y’empewo mu bbanga era n’enkyukakyuka ez’amaanyi ezibaawo mu bintu ebyo byennyini ebikola empewo, kirabika nga tekisoboka okunnyonnyola mu bujjuvu ddala engeri ebire n’enkuba oba omuzira gye byekolamu.” Mu ngeri ennyangu, bannasayansi bawadde ennyinnyonnyola ezitali zimu, naye tebasobola kunnyonnyola nkuba mu bujjuvu. Kyokka, okimanyi nti enkuba etonnya, n’efukirira ensi, n’ebeesaawo ebimera, n’esobozesa obulamu okubaawo n’okubeera obulungi.
8. Lwaki ebigambo bya Pawulo ebiri mu Ebikolwa 14:17 bisaanira?
8 Tewandikiriziganyiza n’okusalawo omutume Pawulo kwe yatuukako? Yakubiriza abalala okulaba mu bikolwa bino eby’ekitalo obujulizi obukwata ku Oyo eyabikola. Pawulo yayogera bw’ati ku Yakuwa Katonda: “Teyeemalaayo nga talina mujulirwa, kubanga yakolanga bulungi, ng’abatonnyesezanga enkuba okuva mu ggulu n’ebiro eby’okubalirangamu emmere, ng’ajjuzanga emitima gyammwe emmere n’essanyu.”—Ebikolwa 14:17; Zabbuli 147:8.
9. Ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo byoleka bitya amaanyi ge amangi?
9 Tewali kubuusabuusa kwonna nti oyo Akola ebintu eby’ekitalo era eby’omuganyulo ng’ebyo alina amagezi mangi n’amaanyi. Ku bikwata ku maanyi ge, lowooza ku kino: Kigambibwa nti wabaawo okubwatuka kw’eggulu emirundi nga 45,000 buli lunaku ng’enkuba ey’amaanyi etonnya, gye mirundi egisukka mu bukadde 16 buli mwaka. Ekyo kitegeeza nti mu kaseera kano kennyini, waliwo okubwatuka okw’engeri eyo kwa mirundi nga 2,000. Amaanyi agali mu bire ebifukumukamu nnamutikwa w’enkuba n’okubwatuka kw’eggulu gakubisaamu emirundi kkumi aga bbomu eyali esingayo amaanyi eyakozesebwa mu Ssematalo II. Agamu ku maanyi ago ogalaba ng’okumyansa kwa laddu. Ng’oggyeko okubeera okw’entiisa, okumyansa kwa laddu kuyamba mu kugimusa ettaka. N’olwekyo, laddu maanyi ageeyoleka, naye era ereeta emiganyulo egya nnamaddala.—Zabbuli 104:14, 15.
Otuuka ku Kusalawo Ki?
10. Wandizzeemu otya ebibuuzo ebiri mu Yobu 38:33-38?
10 Kiteeberezeemu nga ggwe Yobu, nga Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna akubuuza ebibuuzo. Oyinza okukkiriza nti abantu abasinga obungi tebafaayo nnyo ku bikolwa bya Katonda eby’ekitalo. Yakuwa atubuuza ebibuuzo bye tusoma mu Yobu 38:33-38. “Omanyi ebiragiro eby’omu ggulu? Oyinza okunyweza okufuga kwalyo mu nsi? Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo eri ebire, amazzi amangi ennyo gakubikkeko? Oyinza okuweereza enjota zitambule, ne zikugamba nti Ffe tuutuno? Ani eyateeka amagezi mu bitundu eby’omunda [“emyaliiro gy’ebire,” NW]? Oba ani eyawa emmeeme okutegeera? Ani ayinza okubala ebire olw’amagezi? Oba ani ayinza okuttulula amaliba ag’omu ggulu, enfuufu bw’ekulukuta n’eba effunfugu, amafunfugu ne geegattira ddala?”
11, 12. Bintu ki ebimu ebikakasa nti Katonda ye Mukozi w’ebintu eby’ekitalo?
11 Twogedde ku nsonga ntono nnyo Eriku ze yalaga Yobu, era tulabye ebibuuzo ebimu Yakuwa bye yasaba Yobu okuddamu “ng’omusajja.” (Yobu 38:3) Tugamba nti “ebimu” kubanga mu Yobu 38 ne 39, Katonda yayogera ku bintu ebirala ebikulu ebikwata ku butonde. Ng’ekyokulabirako, yayogera ku bibinja by’emmunyeenye eziri mu bbanga. Ani amanyi amateeka gonna agabifuga? (Yobu 38:31-33) Yakuwa yagamba Yobu yekkaanye ensolo ezimu—empologoma ne nnamuŋŋoona, embulabuzi ezibeera ku nsozi n’entulege, embogo ne maaya, embalaasi era n’empungu. Kwe kugamba, Katonda yabuuza Yobu obanga ye yali awadde ensolo zino ez’enjawulo engeri zaazo, ne zisobola okubeerawo n’okwala. Oyinza okunyumirwa okusoma essuula zino naddala singa oyagala embalaasi oba ensolo endala.—Zabbuli 50:10, 11.
12 Era oyinza okwekkaanya Yobu essuula 40 ne 41, Yakuwa w’abuuliza Yobu ebibuuzo ebikwata ku bisolo bibiri. Ensolo zino tuzitegeera okuba envubu, eyagejja newola ate nga ya maanyi nnyo, awamu ne ggoonya ey’omu Mugga Nile. Buli emu ku nsolo zino, mu ngeri yaayo, kitonde kya kyewuunyo kye tugwana okulowoozaako. Kati ka tulabe okusalawo kwe tuyinza okutuukako buli omu.
13. Ebibuuzo Katonda bye yabuuza byakola ki ku Yobu, era ensonga ezo zanditukutteko zitya?
13 Yobu essuula 42 etulaga ebibuuzo Katonda bye yabuuza kye byakola ku Yobu. Emabegako, Yobu yafaayo nnyo ku bimukwatako ye kennyini n’abalala. Naye, bwe yakkiriza okuwabulwa okwali mu bibuuzo bya Katonda, Yobu yakyusa endowooza ye. Yagamba: “Mmanyi nga ggwe [Yakuwa] oyinza byonna, era nga tewali kigambo kye wateesa ekiziyizika. Ani ono akisa okuteesa awatali kumanya? Kyennavudde njatula ebyo bye ssaategedde, ebigambo eby’ekitalo ebyannemye bye ssaamanye.” (Yobu 42:2, 3) Yee, oluvannyuma lw’okussaayo omwoyo ku bikolwa bya Katonda, Yobu yagamba nti ebintu bino byali bya kitalo nnyo gy’ali. Oluvannyuma lw’okwekenneenya ebitonde eby’ekyewuunyo, naffe twandiwuniikiridde olw’amagezi n’amaanyi ga Katonda. Lwa kigendererwa ki? Twandiwuniikiridde buwuniikirizi olw’amaanyi ga Yakuwa amangi n’obusobozi bwe kyokka? Oba twandikoze ekisinga ku ekyo?
14. Dawudi yatwala atya ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo?
14 Mu Zabbuli 86, tusangamu ebigambo ebifaananako ebyo Dawudi bye yayogera mu Zabbuli ey’emabegako ng’agamba: “Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: n’ebbanga libuulira emirimu gy’emikono gye. Omusana gugamba ebigambo omusana, n’ekiro kiraga amagezi ekiro.” (Zabbuli 19:1, 2) Naye Dawudi yayongerezaako. Mu Zabbuli 86:10, 11 tusoma: “Kubanga ggwe mukulu, era okola eby’ekitalo: ggwe Katonda wekka. Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; [n]naatambuliranga mu mazima go: ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo.” Okutya Dawudi kwe yalina eri Omutonzi olw’ebikolwa Bye byonna eby’ekitalo, kwalimu n’okuwa Katonda ekitiibwa eky’okusinza ekimugwaniddde. Oyinza okutegeera lwaki. Dawudi teyayagala kunyiiza Oyo ayinza okukola ebikolwa ebyo eby’ekitalo. Era naffe tetwandyagadde kumunyiiza.
15. Lwaki kyali kisaanira Dawudi okutya Katonda?
15 Dawudi ateekwa okuba nga yategeera nti okuva Katonda bw’alina amaanyi amangi ennyo, ayinza okugakozesa okubonereza yenna atagwanira kusaasira kwe. Kiba kya kabi nnyo eri abalinga abo. Katonda yabuuza Yobu: “Wali oyingidde mu mawanika g’amazzi amakwafu [“omuzira,” NW], oba wali olabye amawanika ag’omuzira, ge nnaterekera ebiro eby’okulabiramu ennaku, olunaku olw’olutalo n’obulwa?” Omuzira, embuyaga ne laddu biri mu tterekero lye. Nga gano maanyi mangi nnyo ag’omu butonde!—Yobu 38:22, 23.
16, 17. Kiki ekyoleka amaanyi amangi Katonda g’alina, era yakozesa atya amanyi ng’ago mu biseera ebyayita?
16 Oboolyawo ojjukira akatyabaga akamu akaaleetebwa ekimu ku ebyo—embuyaga, omuzira oba amataba. Okuwaayo ekyokulabirako, ng’omwaka 1999 gunaatera okuggwako, embuyaga ey’amaanyi yakunta mu bugwanjuba bw’omu maserengeta ga Bulaaya. Yewuunyisa nnyo n’abakugu mu mbeera z’obudde. Embuyaga yali ku sipiidi ya mayiro 125 buli ssaawa, n’etikkulako enkumi n’enkumi z’obusolya bw’amayumba, n’esuula emiti gy’amasannyalaze, era n’evuunika agamotoka aganene. Gezaako okukuba ekifaananyi ku kino: Embuyaga eyo yasiguukulula oba yamenyamu wakati emiti obukadde 270, nga 10,000 ku gyo gyali mu ppaaka ey’e Versailles, wabweru w’ekibuga Paris. Obukadde n’obukadde bw’amaka bw’asalibwako amasannyalaze. Abaafa kumpi bawera 100. Ebyo byonna byaliwo mu kaseera katono. Nga gaali maanyi mangi nnyo!
17 Omuntu omu ayinza okutunuulira embuyaga ng’ekintu ekitalina kigendererwa, ekitafugika. Kyokka, kiki ekiyinza okubaawo singa Oyo asingayo amaanyi akola ebikolwa bye eby’ekitalo ng’akozesa amaanyi ago mu ngeri enfuge, ey’ekigendererwa? Yakola ekifaananako bwe kityo mu kiseera kya Ibulayimu, eyategeera nti Omulamuzi w’ensi yonna yalaba obubi bw’ebibuga ebibiri, Sodomu ne Ggomola. Byali bibi nnyo ne kiba nti okwemulugunya okukwata ku bibuga ebyo kwatuuka eri Katonda, eyayamba abatuukirivu bonna okuva mu bibuga ebyo ebyali bisaliddwa omusango. Ebyawandiikibwa bigamba: “Mukama n’alyoka atonnyesa ku Sodom[u] ne ku Ggomola omuliro n’ekibiriiti nga biva mu ggulu.” Ekyo kyali kikolwa kya kitalo, okuwonyawo abatuukirivu n’okuzikiriza ababi.—Olubereberye 19:24.
18. Bintu ki eby’ekitalo Isaaya essuula 25 by’esoongako?
18 Mu kiseera ekirala, Katonda yasalira Babulooni eky’edda omusango, ekiyinza okuba nga kye kyali ekibuga ekyogerwako mu Isaaya essuula 25. Katonda yalagula nti ekibuga kyandifuuse matongo: “Ekibuga okifudde ekifunvu; ekibuga ekyaliko enkomera okifudde ebyagwa: eriyumba ery’abagenyi olifudde obutaba kibuga: tekirizimbibwa ennaku zonna.” (Isaaya 25:2) Abagenyi abakyala kati mu kifo awaali Babulooni eky’edda bakakasa nti kino kyatuukirira ddala. Okuzikirizibwa kwa Babulooni kwagwaawo bugwi? Nedda. Wabula, tuyinza okukkiriza ebigambo bya Isaaya: “Ai Mukama, ggwe Katonda wange; n[n]aakugulumizanga, n[n]aatenderezanga erinnya lyo; kubanga okoze eby’ekitalo, bye wateesa edda, mu bwesigwa n’amazima.”—Isaaya 25:1.
Ebikolwa eby’Ekitalo mu Biseera eby’Omu Maaso
19, 20. Kiki kye tusuubira mu kutuukirizibwa kwa Isaaya 25:6-8?
19 Katonda yatuukiriza obunnabbi obwo waggulu mu biseera ebyayita, era ajja kukola eby’ekitalo mu biseera eby’omu maaso. Ku nsonga eno, Isaaya wayogerera ku ‘bintu eby’ekitalo’ ebya Katonda, tusangamu obunnabbi obwesigika ng’obw’okusalira Babulooni omusango naye nga tebunnatuukirizibwa. Kintu ki ‘eky’ekitalo’ ekisuubizibwa? Isaaya 25:6 lugamba: “Mukama ow’eggye alifumbira amawanga gonna embaga ey’ebya ssava, embaga ey’omwenge omuka, ey’ebya ssava ebijjudde obusomyo, ey’omwenge omuka ogusengejjeddwa obulungi.”
20 Obunnabbi obwo bujja kutuukirizibwa mu nsi empya Katonda gye yasuubiza, mu maaso awo. Mu kiseera ekyo, abantu bajja kutikkulwako ebizibu ebinyigiriza abantu bangi leero. Mu butuufu, obunnabbi obuli mu Isaaya 25:7, 8 bukakasa nti Katonda ajja kukozesa amaanyi ge ag’obutonzi okukola ekikolwa ekisingirayo ddala okuba eky’ekitalo: “[Ali]mirira ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna; n’ekivume eky’abantu be alikiggya ku nsi yonna: kubanga Mukama akyogedde.” Oluvannyuma omutume Pawulo yajuliza ebigambo ebyo n’abikozesa ku ngeri Katonda gy’anaazuukizaamu abafu. Ng’ekyo kiriba kikolwa kya kitalo!—1 Abakkolinso 15:51-54.
21. Bikolwa ki eby’ekitalo Katonda by’anaakolera abafu?
21 Ensonga endala lwaki amaziga ag’ennaku galivaawo eri nti abantu baliba bawonyezeddwa endwadde zaabwe zonna. Yesu bwe yali ku nsi, yawonya bangi—n’asobozesa bamuzibe okulaba, bakiggala okuwulira, n’abateesobola okufuna amaanyi. Yokaana 5:5-9 ziraga nti yawonya omusajja eyali omulema okumala emyaka 38. Abalabi baalowooza nti ekyo kyali kyewuunyo, oba ekikolwa eky’ekitalo. Era ddala bwe kyali! Kyokka, Yesu yabagamba nti okuzuukiza abafu kulisingawo okuba okw’ekitalo: “Temwewuunya ekyo: kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n’abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.”—Yokaana 5:28, 29.
22. Lwaki abaavu n’ababonaabona bandibadde n’essuubi?
22 Ekyo kijja kubaawo kubanga oyo akisuubiza ye Yakuwa. Beera mukakafu nti bw’akozesa n’obwegendereza amaanyi ge amangi, ebivaamu biba bya kitalo. Zabbuli 72 esonga ku ky’anaakola okuyitira mu Mwana we Kabaka. Mu kiseera ekyo abatuukirivu baliyala. Walibaawo emirembe mingi. Katonda alinunula abaavu n’ababonaabona. Asuubiza: “Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi; ebibala byayo binaayuganga nga Lebanooni [eky’edda]: n’ab’ekibuga banaameranga ng’omuddo ogw’oku nsi.”—Zabbuli 72:16.
23. Ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo byandituleetedde kukola ki?
23 Kya lwatu, tulina ensonga ennungi okussaayo omwoyo ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo—bye yakola mu biseera ebyayita, by’akola leero, ne by’anaakola mu biseera eby’omu maaso. “Yeebazibwenga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri, akola eby’amagero yekka: n’erinnya lye ery’ekitiibwa lyebazibwenga emirembe gyonna; era ensi zonna zijjuzibwenga ekitiibwa kye. Amiina, era Amiina.” (Zabbuli 72:18, 19) Ebyo bye twandyogeddengako n’ab’eŋŋanda n’abalala. Yee, ‘ka tubuulirenga ekitiibwa kye mu mawanga, n’ebikolwa bye eby’ekitalo mu bantu bonna.’—Zabbuli 78:3, 4; 96:3, 4.
Wandizzeemu Otya?
• Ebibuuzo ebyabuuzibwa Yobu biraga bitya ekkomo ly’okumanya kw’omuntu?
• Byakulabirako ki eby’ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo ebikuwuniikiriza ebyogerwako mu Yobu essuula 37-41?
• Twandikoze ki oluvannyuma lw’okwekenneenya ebimu ku bikolwa bya Katonda eby’ekitalo?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Olowooza ki ku bikwata ku bika eby’enjawulo eby’empeke z’omuzira n’amaanyi amangi ennyo aga laddu?
[Ensibuko y’ekifaananyi]
snowcrystals.net
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]
Ebikolwa bya Katonda eby’ekitalo ka bibe ebintu by’oyogerako obutayosa