“Muleke Obugumiikiriza Butuukirize Omulimu Gwabwo”
“Muleke obugumiikiriza butuukirize omulimu gwabwo, mulyoke mubeere abatuukiridde era abakola obulungi mu byonna nga temulina kibabulako mu buli kintu kyonna.”—YAK. 1:4.
1, 2. (a) Kiki kye tuyigira ku ngeri Gidiyoni n’abasajja be 300 gye baayolekamu obugumiikiriza? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Okusinziira ku Lukka 21:19, lwaki kikulu okuba abagumiikiriza?
OLUTALO lwali lwa maanyi nnyo. Eggye lya Isirayiri eryali liduumirwa Omulamuzi Gidiyoni lyali limaze ekiro kiramba nga liwondera abalabe baalyo Abamidiyaani n’abalala abaali babeegasseeko okulwanyisa Isirayiri. Lyali lyakabawondera ebbanga lya mayiro nga 20! Bayibuli etubuulira ekyaddirira: “Awo Gidiyoni n’atuuka ku Yoludaani n’asomoka. Ye n’abasajja ebisatu abaali naye, baali bakooye.” Kyokka Gidiyoni n’abasajja be baali tebannawangula lutalo, kubanga abalabe baabwe baali bakyasigaddewo bangi nga bawerera ddala nga 15,000. Okuva bwe kiri nti Abayisirayiri baali bamaze emyaka mingi nga babonyaabonyezebwa Abamidiyaani, Gidiyoni n’abasajja be baali bakimanyi nti kino si kye kyali ekiseera okulekulira. N’olwekyo, okusobola okusaanyizaawo ddala abalabe baabwe, beeyongera okubawondera okutuusa lwe baabawangula.—Balam. 7:22; 8:4, 10, 28.
2 Naffe tuli mu lutalo olw’amaanyi. Abalabe baffe bazingiramu Sitaani, ensi ye, n’obutali butuukirivu bwaffe. Abamu ku ffe tumaze emyaka mingi nga tulwana olutalo olwo era Yakuwa atuyambye okutuuka ku buwanguzi obutali bumu. Kyokka oluusi tuyinza okuwulira nga tukooye okulwanyisa abalabe baffe oba okulindirira enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu. Mu butuufu, tetunnawangulira ddala lutalo lwaffe. Yesu yagamba nti ffe abandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero twandyolekaganye n’okugezesebwa okw’amaanyi era n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi. Era yagamba nti okusobola okutuuka ku buwanguzi kyanditwetaagisizza okugumiikiriza. (Soma Lukka 21:19.) Okugumiikiriza kye ki? Biki ebinaatuyamba okugumiikiriza? Biki bye tuyigira ku abo abaagumiikiriza? Era tuyinza tutya ‘okuleka obugumiikiriza okutuukiriza omulimu gwabwo’?—Yak. 1:4.
OKUGUMIIKIRIZA KYE KI?
3. Okugumiikiriza kye ki?
3 Okusinziira ku Bayibuli, okugumiikiriza kisingawo ku kugumira obugumizi ebigezo oba ebizibu. Okugumiikiriza kizingiramu ebirowoozo byaffe n’omutima gwaffe, oba engeri gye tweyisaamu nga tufunye ebizibu. Omuntu omugumiikiriza ayoleka obuvumu era aba munywevu. Ekitabo ekimu kigamba nti Okugumiikiriza “kwe kuba n’omwoyo ogusobola okugumira ebintu nga totuusa butuusa luwalo wabula ng’olina essuubi ekkakafu. Ye ngeri esobozesa omuntu okwaŋŋanga embeera enzibu, n’atassa birowoozo bye ku bizibu by’afuna wabula n’abissa ku birungi ebiri mu maaso.”
4. Lwaki tuyinza okugamba nti okwagala kwe kutukubiriza okuba abagumiikiriza?
4 Okwagala kwe kukubiriza Abakristaayo okuba abagumiikiriza. (Soma 1 Abakkolinso 13:4, 7.) Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutukubiriza okugumira ekintu kyonna kasita kiba nti kituukagana ne by’ayagala. (Luk. 22:41, 42) Okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe kutusobozesa okugumiikiriza obutali butuukirivu bwabwe. (1 Peet. 4:8) Okwagala kwe tulina eri bannaffe mu bufumbo kutuyamba okugumira “okubonaabona” abafumbo bonna kwe bafuna era kutuyamba okunyweza obufumbo bwaffe.—1 Kol. 7:28.
BIKI EBINAAKUYAMBA OKUGUMIIKIRIZA?
5. Lwaki Yakuwa asobola okutuyamba okugumiikiriza?
5 Saba Yakuwa akuyambe. Yakuwa ye “Katonda awa obugumiikiriza n’okubudaabuda.” (Bar. 15:5) Ye yekka asobola okutegeera mu bujjuvu ebizibu bye twolekagana nabyo awamu n’engeri embeera gye tubaamu, enneewulira zaffe, n’ekikula kyaffe gye bikwata ku ngeri gye tweyisaamu. N’olwekyo amanyi bulungi kye twetaaga okusobola okugumiikiriza. Bayibuli egamba nti: “Awa abo abamutya bye baagala; awulira okuwanjaga kwabwe n’abanunula.” (Zab. 145:19) Naye Katonda addamu atya essaala zaffe nga tumusabye okutuyamba okugumiikiriza?
6. Nga Bayibuli bw’egamba, Yakuwa ‘atuteerawo atya obuddukiro’ nga tugezesebwa?
6 Soma 1 Abakkolinso 10:13. Bwe tusaba Yakuwa atuyambe nga tufunye ebizibu, ‘atuteerawo obuddukiro.’ Yakuwa abaako ky’akolawo okuggyawo ebizibu ebyo? Oluusi bw’atyo bw’akola. Naye emirundi egisinga atuteerawo obuddukiro ‘tusobole okugumiikiriza’ ebizibu ebyo. Yakuwa atuwa amaanyi ge twetaaga okusobola “okugumira byonna n’okugumiikiriza n’essanyu.” (Bak. 1:11) Ate era olw’okuba Yakuwa atumanyi bulungi, tasobola kuleka mbeera kwonooneka kutuuka ku kigero kye tutasobola kugumira.
7. Waayo ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki twetaaga emmere ey’eby’omwoyo okusobola okugumiikiriza.
7 Nyweza okukkiriza kwo ng’olya emmere ey’eby’omwoyo. Abantu abalinnya Olusozi Everest, olusingayo obuwanvu mu nsi, bakozesa amaanyi mangi nnyo okusinga ku ago agava mu mmere omuntu owa bulijjo gy’alya. Okusobola okulinnya olusozi olwo ne balutuuka ku ntikko, abantu abo baba balina okulya emmere esinga ku ya bulijjo basobole okufuna amaanyi agamala okusobola okulutuuka ku ntikko. Mu ngeri y’emu, bwe tuba ab’okweyongera okuweereza Yakuwa okutuukira ddala ku nkomerero, tulina okufuba okulya emmere ey’eby’omwoyo nnyingi nga bwe kisoboka. Tulina okufuba ennyo okusoma Bayibuli, okwesomesa, n’okubeerawo mu nkuŋŋaana. Ebintu ebyo binyweza okukkiriza kwaffe kubanga bituyamba okufuna “emmere etaggwaawo ereeta obulamu obutaggwaawo.”—Yok. 6:27.
8, 9. (a) Okusinziira ku Yobu 2:4, 5, nsonga ki enkulu gye tusaanidde okulowoozaako nga twolekagana n’ebizibu? (b) Bw’oba oyolekagana n’ebizibu, kafaananyi ki k’oyinza okukuba?
8 Jjukiranga ensonga ekwata ku bugolokofu bwaffe. Omuweereza wa Yakuwa bw’aba ayolekagana n’ebigezo mu bulamu bwe, wabaawo ebintu bingi ebiba bizingirwamu. Engeri gye tweyisaamu nga twolekagana n’okugezesebwa esobola okulaga obanga tutwala Yakuwa ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna. Sitaani, oyo awakanya obufuzi bwa Yakuwa yasoomooza Yakuwa ng’agamba nti: “Omuntu anaawaayo byonna by’alina olw’obulamu bwe. Kale golola omukono gwo okwate ku magumba [ga Yobu] n’omubiri gwe, olabe obanga taakwegaanire mu maaso go.” (Yob. 2:4, 5) Sitaani yagamba nti tewali muntu aweereza Yakuwa olw’okuba amwagalira ddala. Kati Sitaani yakyusa endowooza ye eyo? Nedda! Nga wayiseewo ebyasa bingi, Sitaani bwe yagobebwa mu ggulu, yayogerwako nga “avunaana baganda baffe . . . , abavunaana emisana n’ekiro mu maaso ga Katonda waffe!” (Kub. 12:10) Sitaani teyeerabiranga nsonga gye yaleetawo ekwata ku bugolokofu bw’omuntu. Ayagala nnyo okulaba nga tukkiriza ebizibu okutulemesa okweyongera okuwagira obufuzi bwa Yakuwa.
9 N’olwekyo buli lw’ofuna ebizibu, kuba akafaananyi kano. Sitaani ne badayimooni nga bali ku ludda olumu nga bagamba nti ebizibu by’olina bigenda kukuleetera okulekera awo okuweereza Yakuwa. Ate Yakuwa, Omwana we, abaafukibwako amafuta abaazuukizibwa, ne bamalayika nga bali ku ludda olulala bakuwagira. Basanyufu okukulaba nga buli lunaku oyoleka obugumiikiriza era ng’owagira obufuzi bwa Yakuwa. Era owulira Yakuwa ng’akugamba nti: “Mwana wange beeranga wa magezi osanyusenga omutima gwange, ndyoke mbeere n’eky’okuddamu eri oyo ansoomooza.”—Nge. 27:11.
10. Bwe kituuka ku kufumiitiriza ku mikisa egiva mu kugumiikiriza, tuyinza tutya okukoppa Yesu?
10 Lowooza ku birungi ebiva mu kugumiikiriza. Kuba akafaananyi ng’otambula olugendo oluwanvu era ng’otuuse mu kibira ekikutte enzikiza. Buli wamu w’otunula wakutte enzikiza. Kyokka oli mukakafu nti singa weeyongera okutambula ojja kutuuka ku nkomerero y’ekibira ekyo olabe ekitangaala. Mu ngeri y’emu, oluusi tuyinza okuwulira ng’ebizibu bye twolekagana nabyo bituyitiriddeko. Ne Yesu ayinza okuba nga yawulirako bw’atyo. Bwe yali ku ‘muti ogw’okubonaabona,’ yali mu bulumi bwa maanyi era abantu ababi baamwogerera ‘ebigambo ebifeebya.’ Ekyo kye kiseera ekyasingayo okuba ekizibu mu bulamu bwe! Wadde kyali kityo, Yesu yagumiikiriza “olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge.” (Beb. 12:2, 3) Yafumiitiriza ku birungi ebyandivuddemu ng’agumiikirizza, naddala ku ky’okuba nti ekyo kyandiviiriddeko erinnya lya Katonda okutukuzibwa n’okukiraga nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Embeera enzibu Yesu gye yayolekagana nayo yali ya kaseera buseera, naye empeera gye yandifunye mu ggulu yandibadde ya lubeerera. Naffe leero ebimu ku bizibu bye twolekagana nabyo bya maanyi nnyo era bitunyiga. Naye tusaanidde okukijjukira nti ebizibu bye twolekagana nabyo nga tuli mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo bya kaseera buseera.
“ABO ABAAGUMIIKIRIZA”
11. Lwaki tusaanidde okulowooza ku byokulabirako by’abo “abaagumiikiriza”?
11 Si ffe ffekka abagumiikiriza. Okusobola okuyamba Abakristaayo okugumira ebizibu Sitaani by’abaleetera, omutume Peetero yawandiika nti: “Mumuziyizenga nga muli banywevu mu kukkiriza, nga mumanyi nti ne baganda bammwe bonna mu nsi boolekagana n’okubonaabona kwe kumu kwe mwolekagana nakwo.” (1 Peet. 5:9) Ebyokulabirako by’abo “abaagumiikiriza” bituyamba okulaba engeri gye tuyinza okusigala nga tuli banywevu, bitukakasa nti tujja kutuuka ku buwanguzi, era bitujjukiza nti bwe tunaasigala nga tuli beesigwa tujja kufuna empeera. (Yak. 5:11) Ka tulabeyo abamu ku abo abaagumiikiriza.[1]
12. Kiki kye tuyigira ku bakerubi abaateekebwa ku ludda olw’ebuvanjuba olw’olusuku Edeni?
12 Bakerubi. Ekyokulabirako ky’abamu ku bamalayika abaasooka okulabibwa abantu kituyigiriza okubeera abagumiikiriza nga tuweereddwa omulimu ogutali mwangu. Yakuwa Katonda ‘yateeka bakerubi ku ludda olw’ebuvanjuba olw’olusuku Edeni n’ekitala ekyaka era nga kyetooloola obutasalako, okukuumanga ekkubo eryali ligenda ku muti ogw’obulamu.’[2] (Lub. 3:24) Kya lwatu nti bakerubi abo tebaatondebwa nga ba kukola mulimu ogwo! Ggwe ate oba ekibi n’obujeemu tebyali mu ntegeka za Yakuwa. Tewali wonna we tusoma nti bakerubi abo, bamalayika abali ku ddaala erya waggulu ennyo, beemulugunya nga bagamba nti omulimu ogwo gwali gwa wansi nnyo ku bo. Tebeenyiwa mulimu ogwo ne balekera awo okugukola. Mu kifo ky’ekyo, baayoleka obuwulize ne bakola omulimu ogwo okutuusa lwe baagumaliriza, oboolyawo mu kiseera ky’Amataba ga Nuuwa. Kirabika omulimu ogwo baagukolera emyaka egisukka mu 1,600!
13. Kiki ekyayamba Yobu okugumira ebizibu bye yayolekagana nabyo?
13 Yobu. Bwe kiba nti olina obulwadde obw’amaanyi, oba nga mikwano gyo oba ab’eŋŋanda zo baayogera ebigambo ebikumalamu amaanyi, oba ng’olumwa olw’okufiirwa omuntu wo, ekyokulabirako kya Yobu kisobola okukuzzaamu amaanyi. (Yob. 1:18, 19; 2:7, 9; 19:1-3) Wadde nga yali tamanyi nsibuko y’ebizibu bye yali afuna, Yobu yasigala nga mwesigwa. Lwaki? “Yali atya Katonda.” (Yob. 1:1) Yobu yali mumalirivu okusanyusa Katonda mu mbeera ennungi n’embi. Katonda yayamba Yobu okufumiitiriza ku bintu eby’ekitalo bye yali akoze ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. Ekyo kyayamba Yobu okwongera okuba omukakafu nti mu kiseera ekituufu Katonda yandiggyeewo ebizibu bye yalina. (Yob. 42:1, 2) Ekyo kyennyini kye kyaliwo. ‘Yakuwa yakomya okubonaabona kwa Yobu n’amuddizaawo eby’obugagga bye. Yamuwa ebintu ebikubisaamu emirundi ebiri ebyo bye yalina olubereberye.’ Yobu yafa “ng’akaddiye era ng’amatidde ennaku z’obulamu bwe.”—Yob. 42:10, 17.
14. Okusinziira ku 2 Abakkolinso 1:6, obugumiikiriza bwa Pawulo bwaganyula butya abalala?
14 Omutume Pawulo. Abalabe ba Katonda bakuyigganya oba bakuyisa bubi? Oli mukadde mu kibiina oba omulabirizi akyalira ebibiina era nga muli owulira nti obuvunaanyizibwa bw’olina bukusukkiriddeko? Fumiitiriza ku kyokulabirako kya Pawulo. Yayolekagana n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi era yali yeeraliikirira ng’alowooza ku bakkiriza banne abaali mu bibiina. (2 Kol. 11:23-29) Wadde kyali kityo, yasigala munywevu era yateerawo abalala ekyokulabirako ekirungi. (Soma 2 Abakkolinso 1:6.) Bw’ogumira ebizibu, kijjukirenga nti ekyokulabirako ky’oteekawo kijja kuzzaamu abalala amaanyi.
OBUGUMIIKIRIZA ‘BUNAATUUKIRIZA OMULIMU GWABWO’ MU GGWE?
15, 16. (a) ‘Mulimu’ ki obugumiikiriza gwe bulina okutuukiriza? (b) Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri gye tuyinza ‘okuleka obugumiikiriza okutuukiriza omulimu gwabwo.’
15 Yakobo yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Muleke obugumiikiriza butuukirize omulimu gwabwo.” Mulimu ki ogwo? Obugumiikiriza butusobozesa ‘okubeera abatuukiridde era abakola obulungi mu byonna nga tetulina kitubulako mu buli kintu kyonna.’ (Yak. 1:4) Emirundi mingi ebizibu bye tufuna byoleka wa obunafu bwaffe we buli, ekyo ne kituyamba okulaba we tulina okutereezaamu. Bwe tugumira ebizibu ebyo, kituyamba okwongera okukulaakulanya engeri ennungi. Ng’ekyokulabirako, kiyinza okutuyamba okwongera okuba abagumiikiriza, okubeera abantu abasiima, n’okuba abantu ab’ekisa.
16 Okuva bwe kiri nti obugumiikiriza butuukiriza omulimu ogw’okutuyamba okwongera okwoleka engeri ennungi, tetusaanidde kumenya misingi gya Bayibuli olw’okwagala okuva mu bizibu bye tubaamu. Ng’ekyokulabirako, watya singa oyolekagana n’ekizibu eky’okulowooza ku bintu ebibi? Mu kifo ky’okugenda mu maaso ng’olowooza ku bintu ebyo, fuba okulaba ng’obyeggyamu mu bwangu. Ekyo kijja kukuyamba okuyiga okwefuga. Oyigganyizibwa omu ku b’eŋŋanda zo atali mukkiriza? Mu kifo ky’okulekera awo okuweereza Yakuwa, beera mumalirivu okweyongera okumuweereza. Ekyo kijja kukuyamba okweyongera okwesiga Yakuwa. Kijjukire nti bwe tuba ab’okusiimibwa mu maaso ga Katonda tulina okuba abagumiikiriza.—Bar. 5:3-5; Yak. 1:12.
17, 18. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga obukulu bw’okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero. (b) Ng’enkomerero egenda esembera, tusaanidde kuba bakakafu ku ki?
17 Tulina okugumiikiriza okutuukira ddala ku nkomerero, so si kumala kaseera katono. Ng’ekyokulabirako: Watya singa emmeeri eyeetisse abantu ebbira. Okusobola okuwonawo, abantu abo baba balina okuwuga ne batuuka ku lukalu. Omuntu alekera awo okuwuga ng’ebula akabanga katono atuuke ku lukalu ekimutuukako kiba kye kimu n’ekyo ekituuka ku oyo eyalekedde awo amangu okuwuga. N’olwekyo, bwe tuba nga twagala okutuuka mu nsi empya, tulina okugumiikiriza okutuukira ddala ku nkomerero. Tusaanidde okuba n’endowooza ng’ey’omutume Pawulo eyagamba nti: “Tetulekulira.”—2 Kol. 4:1, 16.
18 Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero. Tukkiriziganya n’ebigambo bya Pawulo ebiri mu Abaruumi 8:37-39 awagamba nti: “Tuwangula okuyitira mu oyo eyatwagala. Ndi mukakafu nti ka kube kufa, oba bulamu, oba bamalayika, oba bufuzi, oba ebintu ebiriwo kati, oba ebigenda okujja, oba maanyi, oba bugulumivu, oba buziba, oba ekitonde ekirala kyonna, tewali kiyinza kutwawukanya ku kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.” Kyo kituufu nti oluusi n’oluusi tujja kuwulira nga tuweddemu amaanyi. Wadde kiri kityo, ka tube bamalirivu okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero, naffe tusobole okwogerwako nga Gidiyoni n’abasajja be nti: “Baali bakooye naye nga bakyawondera abalabe baabwe.”—Balam. 8:4.
^ [1] (akatundu 11) Osobola n’okusoma ku baweereza ba Katonda ab’omu kiseera kyaffe abaagumiikiriza. Ng’ekyokulabirako, Yearbook eya 1992, eya 1999, n’eya 2008 zoogera ku ngeri baganda baffe mu Ethiopia, mu Malawi, ne mu Russia gye baagumiikirizaamu.
^ [2] (akatundu 12) Bayibuli tetubuulira muwendo gwa bakerubi abaaweebwa omulimu ogwo.