ESSUULA EY’EKKUMI N’EBBIRI
Oyinza Otya Okufuuka Mukwano Gwa Katonda?
1, 2. Abamu ku bantu abaali mikwano gya Yakuwa be baani?
MUNTU wa ngeri ki gwe wandyagadde abeere mukwano gwo? Oboolyawo wandyagadde omuntu akola ebintu ebikusanyusa, akwanguyira okukolagana naye, era alina ekisa n’engeri endala ennungi.
2 Waliwo abantu Yakuwa Katonda be yafuula mikwano gye. Ng’ekyokulabirako, Ibulayimu y’omu ku bantu abaali mikwano gya Yakuwa. (Isaaya 41:8; Yakobo 2:23) Ate era Yakuwa yayagala nnyo Dawudi. Yagamba nti Dawudi yali ‘asanyusa omutima gwe.’ (Ebikolwa 13:22) Ne nnabbi Danyeri yali wa “muwendo nnyo” eri Yakuwa.—Danyeri 9:23.
3. Lwaki Ibulayimu, Dawudi, ne Danyeri baali mikwano gya Yakuwa?
3 Lwaki Ibulayimu, Dawudi, ne Danyeri baali mikwano gya Yakuwa? Yakuwa yagamba Ibulayimu nti: “Owulirizza eddoboozi lyange.” (Olubereberye 22:18) Yakuwa afuuka mukwano gw’abo abamugondera. N’eggwanga eddamba lisobola okufuuka mikwano gya Yakuwa. Yakuwa yagamba eggwanga lya Isirayiri nti: “Mugondere eddoboozi lyange, nange nja kubeera Katonda wammwe, nammwe mubeere bantu bange.” (Yeremiya 7:23) N’olwekyo, naawe bw’oba nga ddala oyagala okufuuka mukwano gwa Yakuwa, olina okumugondera.
YAKUWA AYAMBA MIKWANO GYE
4, 5. Yakuwa ayamba atya mikwano gye?
4 Bayibuli egamba nti Yakuwa anoonya akakisa “okulaga amaanyi ge ku lw’abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” (2 Ebyomumirembe 16:9) Mu Zabbuli 32:8, Yakuwa agamba mikwano gye nti: “Nja kukuwa amagezi era nkulage ekkubo ly’olina okuyitamu. Nja kukubuulirira ng’eriiso lyange likuliko.”
5 Kyokka waliwo omulabe ow’amaanyi ayagala okutulemesa okubeera mikwano gya Katonda. Naye Yakuwa mwetegefu okutuyamba. (Soma Zabbuli 55:22.) Olw’okuba tuli mikwano gya Yakuwa, tumuweereza n’omutima gwaffe gwonna era tusigala tuli beesigwa gy’ali ne bwe tuba mu mbeera enzibu. Tumwesigira ddala ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Olw’okuba ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana.” (Zabbuli 16:8; 63:8) Naye Sitaani ageezaako atya okutulemesa okubeera mikwano gya Yakuwa?
EBY’OBULIMBA SITAANI BYE YAYOGERA KU YOBU
6. Bya bulimba ki Sitaani by’ayogera ku bantu?
6 Mu Ssuula ey’ekkumi n’emu twalaba nti Sitaani alina eby’obulimba bye yayogera ku Yakuwa. Yagamba nti mulimba era nti si mwenkanya olw’okuba teyaleka Adamu ne Kaawa okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu. Ekitabo kya Yobu kiraga nti Sitaani alina n’ebintu eby’obulimba by’ayogera ku bantu abaagala okubeera mikwano gya Katonda. Sitaani agamba nti baweereza Katonda olw’okuba balina bye bamufunako so si lwa kuba nti bamwagala. Ate era Sitaani agamba nti asobola okuggya abantu bonna ku Katonda. Ka tulabe kye tuyigira ku Yobu n’engeri Yakuwa gye yamuyambamu.
7, 8. (a) Kiki ekyafuula Yobu okuba ow’enjawulo ku bantu abaaliwo mu kiseera kye? (b) Biki Sitaani bye yayogera ku Yobu?
7 Yobu y’ani? Yobu yali muntu mulungi nnyo eyaliwo emyaka nga 3,600 emabega. Yakuwa yagamba nti mu kiseera ekyo ku nsi tekwaliko muntu mulala eyali nga Yobu. Yobu yali atya nnyo Katonda, era yali tayagalira ddala bintu bibi. (Yobu 1:8) Awatali kubuusabuusa Yobu yali mukwano gwa Yakuwa.
8 Sitaani yagamba nti Yobu yali taweereza Katonda mu bwesimbu. Sitaani yagamba Yakuwa nti: “Tomutaddeeko lukomera okumwetooloola ye n’ennyumba ye, ne byonna by’alina? Omulimu gw’emikono gye oguwadde omukisa, era n’ebisolo bye byaze mu nsi. Kale golola omukono gwo omuggyeko byonna by’alina, olabe obanga taakwegaanire mu maaso go.”—Yobu 1:10, 11.
9. Kiki Yakuwa kye yakkiriza Sitaani okukola?
9 Sitaani yagamba nti Yobu yali aweereza Yakuwa olw’okuba yali alina by’amuwa. Sitaani era yagamba nti yali asobola okuleetera Yobu okulekera awo okuweereza Yakuwa. Yakuwa teyakkiriza nti ebyo Sitaani bye yayogera byali bituufu, naye yamukkiriza agezese Yobu. Ekyo kyandiraze obanga Yobu yali aweereza Yakuwa olw’okuba yali amwagala.
SITAANI AGEZESA YOBU
10. Sitaani yagezesa atya Yobu, naye Yobu yeeyisa atya?
10 Okusooka, Sitaani yaleetera ensolo za Yobu okubbibwa n’okuttibwa. Oluvannyuma Sitaani yatta abaweereza ba Yobu abasinga obungi. Yobu yafiirwa ebintu bye byonna. Ate era Sitaani yakozesa omuyaga ogw’amaanyi okutta abaana ba Yobu ekkumi. Kyokka Yobu yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa. “Mu ebyo byonna ebyamutuukako, Yobu teyayonoona wadde okunenya Katonda.”—Yobu 1:12-19, 22.
11. (a) Kiki ekirala Sitaani kye yakola Yobu? (b) Yobu yeeyisa atya?
11 Sitaani teyakoma awo. Yasoomooza Katonda ng’agamba nti: “Golola omukono gwo okwate ku magumba ge n’omubiri gwe, olabe obanga taakwegaanire mu maaso go.” Bw’atyo Sitaani yaleetera Yobu obulwadde obw’amaanyi ennyo. (Yobu 2:5, 7) Kyokka Yobu yasigala mwesigwa eri Yakuwa. Yagamba nti: “Okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange!”—Yobu 27:5.
12. Yobu yakyoleka atya nti Sitaani mulimba?
12 Yobu yali tamanyi Sitaani bye yali amwogeddeko era yali tamanyi na nsonga lwaki yali abonaabona nnyo. Yali alowooza nti Yakuwa ye yali amuleetedde ebizibu ebyo. (Yobu 6:4; 16:11-14) Wadde kyali kityo, Yobu yasigala mwesigwa eri Yakuwa. Waali tewakyaliwo kubuusabuusa kwonna ku nsonga lwaki Yobu yali aweereza Yakuwa. Yali amuweereza lwa kuba yali amwagala. Sitaani bye yali amwogeddeko byonna byali bya bulimba!
13. Yobu okusigala nga mwesigwa kyavaamu birungi ki?
13 Wadde nga Yobu yali tamanyi byaliwo mu ggulu, yasigala nga mwesigwa eri Katonda era n’akyoleka nti Sitaani mubi nnyo. Yakuwa yawa Yobu emikisa olw’okusigala nga mwesigwa gy’ali.—Yobu 42:12-17.
EBY’OBULIMBA SITAANI BY’AKWOGERAKO
14, 15. Bya bulimba ki Sitaani by’ayogera ku bantu bonna?
14 Ebyo ebyatuuka ku Yobu birina kye bituyigiriza. Sitaani agamba nti tuweereza Yakuwa olw’okuba tulina bye tumufunako. Mu Yobu 2:4, Sitaani yagamba nti: “Omuntu anaawaayo byonna by’alina olw’obulamu bwe.” N’olwekyo, ebyo Sitaani bye yayogera ku Yobu bikwata ku bantu bonna. Oluvannyuma lw’emyaka mingi nga Yobu amaze okufa, Sitaani yali akyasoomooza Yakuwa era ng’akyayogera eby’obulimba ku baweereza be. Ng’ekyokulabirako, Engero 27:11 wagamba nti: “Mwana wange beeranga wa magezi osanyusenga omutima gwange, ndyoke mbeere n’eky’okuddamu eri oyo ansoomooza [oba, anvuma].”
15 Osobola okusalawo okugondera Yakuwa n’ofuuka mukwano gwe, bw’otyo n’okiraga nti Sitaani mulimba. Ne bwe kiba nga kikwetaagisa okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwo okusobola okufuuka mukwano gwa Katonda, ba mukakafu nti bw’onoosalawo okukola enkyukakyuka ezo, ojja kuba osazeewo bulungi nnyo! Eno nsonga nkulu nnyo. Sitaani agamba nti bw’onoofuna ebizibu tojja kusigala ng’oli mwesigwa eri Katonda. Afuba nga bw’asobola okutulemesa okuba abeesigwa eri Katonda. Ekyo akikola atya?
16. (a) Bukodyo ki Sitaani bw’akozesa okulemesa abantu okuweereza Yakuwa? (b) Sitaani ayinza kugezaako atya okukulemesa okuweereza Yakuwa?
16 Sitaani akozesa obukodyo obw’enjawulo okugezaako okutulemesa okubeera mikwano gya Katonda. Alumba abantu ng’alinga ‘empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.’ (1 Peetero 5:8) N’olwekyo, tekyandikwewuunyisizza singa mikwano gyo, ab’eŋŋanda zo, oba abantu abalala bagezaako okukulemesa okuyiga Bayibuli n’okukola Katonda by’ayagala. Bw’obeera mu mbeera ng’eyo oyinza okuwulira ng’alumbiddwa.a (Yokaana 15:19, 20) Ate era Sitaani yeefuula nga “malayika ow’ekitangaala.” N’olwekyo ayinza okukozesa akakodyo kano okugezaako okukuleetera okujeemera Yakuwa. (2 Abakkolinso 11:14) Akakodyo akalala Sitaani k’akozesa okutulemesa okuweereza Yakuwa kwe kutuleetera okulowooza nti tetusobola kusanyusa Katonda.—Engero 24:10.
GONDERA AMATEEKA GA YAKUWA
17. Lwaki tugondera Yakuwa?
17 Bwe tugondera Yakuwa tuba tukiraga nti Sitaani mulimba. Kiki ekinaatuyamba okugondera Yakuwa? Bayibuli egamba nti: “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’obulamu bwo bwonna n’amaanyi go gonna.” (Ekyamateeka 6:5) Tugondera Yakuwa olw’okuba tumwagala. Bwe tuneeyongera okumwagala, tujja kweyongera okufuba okukola by’atulagira. Omutume Yokaana yagamba nti: “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye; era ebiragiro bye tebizitowa.”—1 Yokaana 5:3.
18, 19. (a) Ebimu ku bintu Yakuwa by’agamba nti bikyamu bye biruwa? (b) Tumanya tutya nti Yakuwa tasobola kutulagira kukola kintu kye tutasobola kukola?
18 Ebimu ku bintu Yakuwa by’agamba nti bikyamu bye biruwa? Ebimu ku bintu ebyo biragiddwa mu kasanduuko akalina omutwe ogugamba nti, “Kyawa Ebintu Yakuwa by’Akyawa.” Mu kusooka, oyinza okulowooza nti ebimu ku bintu ebyo si bibi nnyo. Naye bw’onoosoma ebyawandiikibwa ebiragiddwa era n’obifumiitirizaako, ojja kukiraba nti kya magezi okugondera amateeka ga Yakuwa. Ate era oyinza okukiraba nti waliwo enkyukakyuka ze weetaaga okukola mu bulamu bwo. Wadde ng’ekyo kiyinza okulabika ng’ekizibu, bw’onookola enkyukakyuka ezo, ojja kufuna emirembe n’essanyu olw’okubeera mukwano gwa Katonda. (Isaaya 48:17, 18) Naye tumanya tutya nti kisoboka okukola enkyukakyuka ng’ezo?
19 Yakuwa tasobola kutulagira kukola kintu kye tutasobola kukola. (Ekyamateeka 30:11-14) Olw’okuba mukwano gwaffe, atumanyi bulungi okusinga bwe twemanyi. Amanyi obusobozi bwaffe n’obunafu bwaffe. (Zabbuli 103:14) Ebigambo by’omutume Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso 10:13 bituzzaamu amaanyi. Yagamba nti: “Katonda mwesigwa, tajja kubaleka kukemebwa kusukka ku kye muyinza okugumira, naye bwe mukemebwa ajja kubateerawo obuddukiro musobole okugumiikiriza.” Tusobola okuba abakakafu nti mu buli mbeera yonna Yakuwa asobola okutuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okukola ekituufu. Naawe ajja kukuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” osobole okugumira embeera enzibu. (2 Abakkolinso 4:7) Oluvannyuma lwa Yakuwa okuyamba Pawulo mu biseera ebizibu, Pawulo yagamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.”—Abafiripi 4:13.
YAGALA EBYO KATONDA BY’AYAGALA
20. Ngeri ki ennungi z’osaanidde okwoleka mu bulamu bwo era lwaki?
20 Bwe tuba twagala okubeera mikwano gya Yakuwa, tuba tulina okulekera awo okukola ebintu by’atayagala. Naye era waliwo n’ekirala kye tuba tulina okukola. (Abaruumi 12:9) Mikwano gya Katonda gyagala ebyo by’ayagala. Ebimu ku byo byogerwako mu Zabbuli 15:1-5. (Soma.) Mikwano gya Yakuwa bafuba okumukoppa nga booleka engeri ennungi, gamba ‘ng’okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, n’okwefuga.’—Abaggalatiya 5:22, 23.
21. Kiki ekinaakuyamba okwoleka engeri ezisanyusa Katonda?
21 Kiki ekinaakuyamba okwoleka engeri ezo ennungi? Weetaaga okuyiga Yakuwa by’ayagala nga weesomesa Bayibuli obutayosa. (Isaaya 30:20, 21) Bw’onookola bw’otyo, ojja kweyongera okwagala Yakuwa, era bw’oneeyongera okumwagala, kijja kukwanguyira okumugondera.
22. Bw’onoosalawo okugondera Yakuwa, kiki ky’onoofuna?
22 Okukola enkyukakyuka mu bulamu bwo kiyinza okugeraageranyizibwa ku kweyambulamu engoye eziddugala n’oyambala ezitukula. Bayibuli egamba nti olina ‘okweyambulako omuntu ow’edda’ n’oyambala “omuntu omuggya.” (Abakkolosaayi 3:9, 10) Wadde nga kiyinza obutaba kyangu, bwe tukola enkyukakyuka era ne tugondera Yakuwa, asuubiza okutuwa ‘empeera ennene.’ (Zabbuli 19:11) N’olwekyo, salawo okugondera Yakuwa okirage nti Sitaani mulimba. Weereza Yakuwa, si lwa kuba nti osuubira empeera mu biseera eby’omu maaso, wabula olw’okuba omwagala. Bw’onookola bw’otyo, ojja kufuuka mukwano gwa Katonda!
a Kino tekitegeeza nti abantu abagezaako okukulemesa okuyiga Bayibuli Sitaani y’aba abakozesa butereevu. Sitaani ye “katonda w’ensi eno,” era “ensi yonna eri mu buyinza” bwe. N’olwekyo, tekyandikwewuunyisizza abantu abamu bwe bagezaako okukulemesa okuweereza Yakuwa.—2 Abakkolinso 4:4; 1 Yokaana 5:19.