Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yobu
YOBU yali abeera mu Uzzi, ekiri mu Buwalabu. Mu kiseera ekyo waaliwo Abaisiraeri bangi abaali babeera mu Misiri. Wadde teyali Muisiraeri, Yobu yali asinza Yakuwa Katonda. Baibuli emwogerako bw’eti: “Tewali amufaanana mu nsi, omusajja eyatuukirira era ow’amazima, atya Katonda ne yeewala obubi.” (Yobu 1:8) Ateekwa okuba nga yaliwo mu kiseera mutabani wa Yakobo, Yusufu ng’amaze okufa, naye nga Musa tannatandika kuweereza nga nnabbi.
Musa alowoozebwa okuba nga ye yawandiika ekitabo kino, oboolyawo yawulira ebikwata ku Yobu mu myaka 40 gye yamala e Midiyani, ekiri okumpi ne Uzzi. Musa ayinza okuba nga yawulira ebyatuuka ku Yobu mu myaka gy’obulamu bwe egyasembayo Abaisiraeri bwe baali okumpi ne Uzzi, ku nkomerero y’olugendo lwabwe olw’emyaka 40 gye baamala mu ddungu.a Ebyatuuka ku Yobu byawandiikibwa bulungi nnyo ne kiba nti ekitabo kino kitwalibwa okuba ekimu ku bitabo ebikyasinze okuwandiikibwa obulungi ennyo. N’ekisinga obukulu, ebiri mu kitabo kino bituyamba okufuna eky’okuddamu mu bibuuzo gamba nga: Lwaki abantu abalungi babonaabona? Lwaki Yakuwa akyaleseewo obubi? Abantu abatuukiridde basobola okukuuma obugolokofu? Ng’ekimu ku bitabo ebiri mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa, obubaka obuli mu kitabo kya Yobu busobola okutuganyula leero.—Abaebbulaniya 4:12.
“OLUNAKU LUZIKIRIRE KWE NNAZAALIRWA”
Lumu Setaani yabuusabuusa obanga Yobu yali mwesigwa eri Katonda. Yakuwa yaleka Setaani n’aleetera Yobu ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa. Naye Yobu yagaana ‘okwegaana Katonda.’—Yobu 2:9.
Mikwano gya Yobu abasatu bajja ‘okumukubagiza.’ (Yobu 2:11) Bwe bajja, baatuula awo nga tewali anyega kigambo okutuusa Yobu lwe yagamba nti: “Olunaku luzikirire kwe nnazaalirwa, n’ekiro ekyayogera nti omwana ow’obulenzi ali mu lubuto.” (Yobu 3:3) Yobu yeegomba okuba “ng’abaana abawere abatalabanga ku musana n’akatono,” oba abo abafa nga bazaalibwa.—Yobu 3:11, 16.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:4—Abaana ba Yobu baakuzanga amazaalibwa? Nedda. Ebigambo by’Olwebbulaniya ebivvuunulwa ‘olunaku’ ne ‘olunaku olw’amazaalibwa’ bya njawulo era birina amakulu ga njawulo. (Olubereberye 40:20) Mu Yobu 1:4, ekigambo ekivvuunulwa ‘olunaku,’ kitegeeza ekiseera ekiri wakati enjuba w’eviirayo ne weegwira. Kirabika, omulundi gumu mu mwaka, batabani ba Yobu omusanvu baabanga n’embaga eyamalanga ennaku musanvu. Buli mwana yalina ‘olunaku lwe’ kwe yakyalizanga banne n’abafumbira embaga.
1:6; 2:1—Baani abakkirizibwanga okukiika mu maaso ga Yakuwa? Mu abo abakkirizibwanga okukiika mwalimu Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka, ayitibwa Kigambo; bamalayika abeesigwa; ‘n’abaana ba Katonda’ abaajeema, nga mwe muli ne Setaani Omulyolyomi. (Yokaana 1:1, 18) Setaani ne balubaale be tebaagobwa mu ggulu okutuusa Obwakabaka bwa Katonda lwe bwateekebwawo mu 1914. (Okubikkulirwa 12:1-12) Yakuwa okukkiriza Setaani ne balubaale be okukiika mu maaso ge, yasobozesa ebitonde bye byonna eby’omu ggulu okuwulira okusoomooza Setaani kwe yali aleeseewo.
1:7; 2:2—Yakuwa yayogera ne Setaani butereevu? Baibuli terina bingi by’etubuulira ku ngeri Yakuwa gy’awuliziganyamu n’ebitonde bye eby’omwoyo. Wabula etutegeeza nti, mu kwolesebwa, nnabbi Mikaaya yalaba Yakuwa ng’ayogera ne bamalayika butereevu. (1 Bassekabaka 22:14, 19-23) Okusinziira ku ekyo, kirabika Yakuwa yayogera ne Setaani butereevu.
1:21—Mu ngeri ki Yobu gye yandisobodde okudda mu ‘lubuto lwa nnyina’? Okuva bwe kiri nti Yakuwa Katonda yakola omuntu okuva mu ‘nfuufu y’ensi,’ ebigambo ‘olubuto lwa mmange’ bikozesebwa mu ngeri ya kabonero okutegeeza enfuufu.—Olubereberye 2:7.
2:9—Kiki ekyaviirako muka Yobu okugamba bba yeegaane Katonda afe? Muka Yobu yalumwa olw’eby’obugagga bye baali bafiiriddwa ne bba. Ate era ateekwa okuba nga yalumwa okulaba nga bba eyali omusajja ow’amaanyi, olumbe lwali lumukubye wansi. N’ekirala, yali afiiriddwa abaana be bonna. Ennaku ennyingi gye y’alina eyinza okuba nga ye yamuleetera okubuusa amaaso ekintu ekikulu, kwe kugamba, enkolagana gye baalina ne Katonda.
Bye Tuyigamu:
1:8-11; 2:3-5. Ekyokulabirako kya Yobu kiraga bulungi nti ng’ogyeko okweyisa n’okwogera mu ngeri ennungi, omuntu okusobola okukuuma obugolokofu kimwetaagisa okuba n’endowooza ennuŋŋamu ng’aweereza Yakuwa.
1:21, 22. Bwe tukuuma obugolokofu mu mbeera yonna, k’ebe nnungi oba mbi, tuba twoleka nti Setaani mulimba.—Engero 27:11.
2:9, 10. Okufaananako Yobu, naffe tusaanidde okusigala nga tuli banywevu mu kukkiriza ne bwe kiba nti ab’omu maka gaffe okusinza kwaffe tebakutwala ng’ekintu ekikulu, batupikiriza twekkiriranye, oba tulekulire amazima.
2:13. Mikwano gya Yobu tebalina kintu kyonna kizzaamu maanyi kye baayogera ku Katonda oba ebisuubizo bye, kubanga tebaali bantu ba bya mwoyo.
“SSIRYEGGYAKO BUGOLOKOFU BWANGE!”
Ekintu mikwano gya Yobu abasatu kye baamulumiriza kyali nti, ateekwa okuba ng’alina ekibi kye yakola, era nti, eno y’ensonga lwaki Katonda amubonereza. Erifaazi ye yasooka okwogera. Birudaadi ye yamukiina bukiinyi. Ate ye Zofali bye yayogera byali bimutyoboola.
Yobu teyakkiriza bigambo mikwano gye bye baamujwetekako. Olw’obutamanya lwaki Katonda yali amulese okubonaabona, yalaga nti yali abonaabonera bwereere. Wadde kyali kityo, Yobu yasigala ayagala Katonda era yagamba nti: “Okutuusa lwe ndifa ssiryeggyako obugolokofu bwange!”—Yobu 27:5.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
7:1; 14:14—Ebigambo “ennaku zonna ez’olutabaalo” bitegeeza ki? Ebizibu Yobu bye yayolekagana nabyo byali bya maanyi nnyo ne kiba nti yali ng’omuntu ali mu lutabaalo. (Yobu 10:17) Okuva bwe kiri nti tewali agenda magombe nga yeeyagalidde, ekiseera omuntu ky’amala emagombe nga tannazuukizibwa, Yobu yakigeraageranya ku kiseera omuntu ky’amala mu lutabaalo lw’akakiddwa okugendamu.
7:9, 10; 10:21; 16:22—Ebigambo bino biraga nti Yobu yali takkiririza mu kuzuukira? Ebigambo bya Yobu byali bikwata ku biseera bye eby’omu maaso. Kati olwo kiki kye yali ategeeza? Oboolyawo yali ategeeza nti bwe yandifudde tewali n’omu ku mikwano gye yandizzeeyo kumulaba. Ate era Yobu ayinza okuba nga yali ategeeza nti tewali n’omu asobola kuva magombe ku lulwe. Ekiraga nti Yobu yali akkiririza mu kuzuukira bye bigambo bye ebiri mu Yobu 14:13-15.
10:10—Mu ngeri ki Yakuwa gye ‘yattulula Yobu ng’amata era n’amubumba ng’ekitole ky’omuzigo’? Yobu wano yakozesa olulimi olw’akabonero okulaga engeri gye yakolebwamu mu lubuto lwa nnyina.
19:20—Yobu yali ategeeza ki bwe yagamba nti “Mponye n’eddiba ery’oku mannyo gange”? Mu kugamba nti yali awonye n’eddiba ery’ekintu ekitalina ddiba, Yobu ayinza okuba nga yali ategeeza nti teyasigaza kantu konna.
Bye Tuyigamu:
4:7, 8; 8:5, 6; 11:13-15. Tetuteekwa kwanguyiriza kulowooza nti omuntu bw’afuna ebizibu kiba kitegeeza nti tasiimibwa Katonda.
4:18, 19; 22:2, 3. Tusaanidde okukozesa Ekigambo kya Katonda nga tubuulira abalala.—2 Timoseewo 3:16.
10:1. Obulumi obungi bwaleetera Yobu okumala googera nga tasoose kulowooza ku nsonga ezaali zimuviirako okubonaabona. Tetusaanidde kwemulugunya nga tufunye ebizibu, okuva bwe kiri nti ffe tumanyi ensonga etuviirako okubonaabona.
14:7, 13-15; 19:25; 33:24. Essuubi ery’okuzuukira lituyamba okugumiikiriza ekizibu kyonna Setaani ky’aba atuleetedde.
16:5; 19:2. Ebigambo byaffe bisaanidde okuzimba abalala so si okubamalamu maanyi.—Engero 18:21.
22:5-7. Singa tunenya omuntu nga tetulina bukakafu, kisobola okumuyisa obubi.
27:2; 30:20, 21. Okukuuma obugolokofu tekyetaagisa muntu kuba nti atuukiridde. Yobu teyali mutuufu kunenya Katonda.
27:5. Yobu yekka ye yali asobola okweggyako obugolokofu bwe, kubanga omuntu okukuuma obugolokofu kisinziira ku kwagala kw’aba nakwo eri Katonda. N’olwekyo, tusaanidde okukulaakulanya okwagala okw’amaanyi eri Yakuwa.
28:1-28. Omuntu amanyi engeri gy’asobola okufunamu eby’obugagga eby’omu ttaka. Akozesa amagezi ag’ekikugu okubisima wansi ennyo ebinyonyi ng’empungu ebiraba ewala ennyo gye bitasobola kulaba. Kyokka amagezi agakwata ku Katonda gava eri Ye.
29:12-15. Tusaanidde okuyamba abo abali mu bwetaavu.
31:1, 9-28. Yobu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi eky’okwewala okuzannyirira n’omuntu gwe mutafaananya naye butonde, obwenzi, okuyisa obubi abalala, okwagala ebintu n’okusinza ebifaananyi.
‘NNEENENYEZA MU NFUUFU NE VVU’
Omuvubuka ayitibwa Eriku yali asirise nga bw’awuliriza abalala bye boogera. Bwe baamala, naye n’atanula okwogera. Yagolola Yobu ne banne abasatu abaali bamukonjera ebigambo ebyamuleetera okunyolwa.
Nga Eriku yaakamaliriza bw’ati okwogera, Yakuwa, Omuyinza w’Ebintu Byonna yayogerera mu muyaga. Teyayogera nsonga yali eviirako Yobu kubonaabona. Wabula yabuuza Yobu ebibuuzo eby’omuddiriŋŋanwa ebyamuleetera okutegeera nti Yakuwa wa maanyi mangi era wa magezi. Yobu yakkiriza nti bye yali ayogedde yabyogera mu butamanya era n’agamba nti: “Kyenvudde neetamwa ne nneenenya mu nfuufu n’evvu.” (Yobu 42:6) Ebizibu bya Yobu bwe byaggwaawo, yaweebwa empeera olw’okukuuma obugolokofu.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
32:1-3—Eriku yajja ddi awali Yobu? Okuva bwe kiri nti Eriku yawulira byonna ebyayogerwa, ateekwa okuba nga yaliwo nga Yobu tannatandika kwogera oluvannyuma lwa mikwano gye abasatu okumala ennaku musanvu nga tewali anyega kigambo.—Yobu 3:1, 2.
34:7—Mu ngeri ki Yobu gye yalinga omuntu “anywa okunyoomebwa ng’amazzi”? Yobu yagumiikiriza ebyo mikwano gye abasatu bye baamwogerako wadde nga mu butuufu ebigambo ebyo byali bivumirira Katonda. (Yobu 42:7) Bwe kityo yanywa okunyoomebwa ng’omuntu bwe yandinywedde amazzi.
Bye Tuyigamu:
32:8, 9. Obukulu mu myaka ku bwakyo si kye kifuula omuntu okuba ow’amagezi. Omuntu okuba ow’amagezi kimwetaagisa okutegeera obulungi Ekigambo kya Katonda, era ng’alina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.
34:36. Tekiyinza kugambibwa nti omuntu akuumye obugolokofu, okuggyako ng’agezeseddwa ‘okutuusa ku nkomerero.’
35:2. Eriku yasooka kuwuliriza bulungi ensonga zonna nga tannaba kwogera. (Yobu 10:7; 16:7; 34:5) Kyandibadde kirungi abakadde ne basooka okwetegereza ensonga zonna, nga tebannabuulirira wa luganda.—Engero 18:13.
37:14; 38:1–39:30. Singa tufumiitiriza ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo ebyoleka amagezi ge n’amaanyi, kijja kutuleetera okwetoowaza era kituyambe n’okulaba nti kikulu nnyo okugulumiza obufuzi bwe mu kifo ky’okusoosa ebyo bye twagala.—Matayo 6:9, 10.
40:1-4. Tusaanidde ‘okussa omukono gwaffe ku kamwa’ bwe tuwulira nga twagala okwemulugunyiza Katonda.
40:15–41:34. Ng’envubu ne ggoonya birina amaanyi mangi! Okusobola okweyongera okuweereza Katonda, twetaaga amaanyi okuva eri Oyo Eyatonda ebisolo bino eby’amaanyi.—Abafiripi 4:13.
42:1-6. Yobu bwe yawulira eddoboozi lya Yakuwa era n’ategeera nti wa maanyi mangi, kyamuyamba ‘okulaba Katonda’ oba okutegeera amazima agamukwatako. (Yobu 19:26) Kino kyamuyamba okukyusa mu ndowooza ye. Bwe tuweebwa okubuulirira okuva mu Baibuli, tusaanidde okukkiriza ensobi zaffe era ne tukola enkyukakyuka.
Beera ‘Mugumiikiriza nga Yobu’
Ekitabo kya Yobu kiraga bulungi nti Katonda si yaleetera abantu okubonaabona. Setaani y’aleeta okubonaabona. Katonda okuleka obubi okubaawo kituwa omukisa okulaga oludda kwe tuli ku nsonga ekwata ku bw’annanyini bwa Yakuwa okufuga obutonde bwonna.
Okufaananako Yobu, abo bonna abaagala Yakuwa bajja kugezesebwa. Ebikwata ku Yobu biraga nti tusobola okugumiikiriza. Bitujjukiza nti ebizibu bye tulina tebigenda kuba bya lubeerera. Yakobo 5:11 lugamba nti: “Mwawulira okugumiikiriza kwa Yobu, era mwalaba Mukama ku nkomerero bw’akola.” Yakuwa yawa Yobu empeera olw’okuba yakuuma obugolokofu bwe. (Yobu 42:10-17) Nga naffe tulina essuubi ery’ekitalo—obulamu obutaggwaawo mu Lusuku lwa Katonda ku nsi! Okufaananako Yobu, ka tube bamalirivu okukuuma obugolokofu bwaffe.—Abaebbulaniya 11:6.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebiri mu kitabo kya Yobu byaliwo mu bbanga lya myaka egisukka mu 140, okuva mu 1657 okutuuka 1473 B.C.E.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 32]
Kiki kye tuyigira ku ‘bugumiikiriza bwa Yobu’?